×

Surah Ar-Rad in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Raad

Translation of the Meanings of Surah Raad in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Raad translated into Ganda, Surah Ar-Rad in Ganda. We provide accurate translation of Surah Raad in Ganda - لوغندا, Verses 43 - Surah Number 13 - Page 249.

بسم الله الرحمن الرحيم

المر ۚ تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ ۗ وَالَّذِي أُنزِلَ إِلَيْكَ مِن رَّبِّكَ الْحَقُّ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يُؤْمِنُونَ (1)
Alif Laam Miim Raa, zino aya za kitabo (Kur’ani) ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ge mazima. Naye abantu abasinga obungi tebakkiriza
اللَّهُ الَّذِي رَفَعَ السَّمَاوَاتِ بِغَيْرِ عَمَدٍ تَرَوْنَهَا ۖ ثُمَّ اسْتَوَىٰ عَلَى الْعَرْشِ ۖ وَسَخَّرَ الشَّمْسَ وَالْقَمَرَ ۖ كُلٌّ يَجْرِي لِأَجَلٍ مُّسَمًّى ۚ يُدَبِّرُ الْأَمْرَ يُفَصِّلُ الْآيَاتِ لَعَلَّكُم بِلِقَاءِ رَبِّكُمْ تُوقِنُونَ (2)
Katonda yooyo eyasitula eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, oluvanyuma yatebenkera ku ntebe ye, era yagonza enjuba n'omwezi buli kimu kigenda kutambula okumala ebbanga eryakigererwa, atambuza buli kintu, annyonnyola ebigambo, kibasobozese okukkiriza nti mugenda kusisinkana Mukama omulabirizi wa mmwe
وَهُوَ الَّذِي مَدَّ الْأَرْضَ وَجَعَلَ فِيهَا رَوَاسِيَ وَأَنْهَارًا ۖ وَمِن كُلِّ الثَّمَرَاتِ جَعَلَ فِيهَا زَوْجَيْنِ اثْنَيْنِ ۖ يُغْشِي اللَّيْلَ النَّهَارَ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (3)
Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza
وَفِي الْأَرْضِ قِطَعٌ مُّتَجَاوِرَاتٌ وَجَنَّاتٌ مِّنْ أَعْنَابٍ وَزَرْعٌ وَنَخِيلٌ صِنْوَانٌ وَغَيْرُ صِنْوَانٍ يُسْقَىٰ بِمَاءٍ وَاحِدٍ وَنُفَضِّلُ بَعْضَهَا عَلَىٰ بَعْضٍ فِي الْأُكُلِ ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَعْقِلُونَ (4)
Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi
۞ وَإِن تَعْجَبْ فَعَجَبٌ قَوْلُهُمْ أَإِذَا كُنَّا تُرَابًا أَإِنَّا لَفِي خَلْقٍ جَدِيدٍ ۗ أُولَٰئِكَ الَّذِينَ كَفَرُوا بِرَبِّهِمْ ۖ وَأُولَٰئِكَ الْأَغْلَالُ فِي أَعْنَاقِهِمْ ۖ وَأُولَٰئِكَ أَصْحَابُ النَّارِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (5)
Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo
وَيَسْتَعْجِلُونَكَ بِالسَّيِّئَةِ قَبْلَ الْحَسَنَةِ وَقَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِهِمُ الْمَثُلَاتُ ۗ وَإِنَّ رَبَّكَ لَذُو مَغْفِرَةٍ لِّلنَّاسِ عَلَىٰ ظُلْمِهِمْ ۖ وَإِنَّ رَبَّكَ لَشَدِيدُ الْعِقَابِ (6)
Bakusaba batuusibweko ekibi mu bwangu mu kifo ky'okuba nga bandibadde bakusaba birungi, ate nga ebibonerezo bingi ebyaliwo oluberyeberye. era mazima Mukama Omulabiriziwo ajjudde okusonyiwa eri abantu ku kweyisa kwa bwe obubi, era ddala Mukama omulabiriziwo muyitirivu wa bibonerezo
وَيَقُولُ الَّذِينَ كَفَرُوا لَوْلَا أُنزِلَ عَلَيْهِ آيَةٌ مِّن رَّبِّهِ ۗ إِنَّمَا أَنتَ مُنذِرٌ ۖ وَلِكُلِّ قَوْمٍ هَادٍ (7)
Era abo abaakaafuwala bagamba nti: singa aweebwa eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe (wabula) mazima ddala ggwe oli mutiisa. Anti bulijjo buli bantu balina omulungamya waabwe
اللَّهُ يَعْلَمُ مَا تَحْمِلُ كُلُّ أُنثَىٰ وَمَا تَغِيضُ الْأَرْحَامُ وَمَا تَزْدَادُ ۖ وَكُلُّ شَيْءٍ عِندَهُ بِمِقْدَارٍ (8)
Katonda amanyi buli kikazi ekyo kye kiba kirina mu lubuto lwa kyo, n'ekyo nnabaana kyayongera ne kyakendeeza, (ku bbanga olubuto lye lumala) era buli kintu kyonna ewa Mukama Katonda kikolera ku kigero (ekyakiweebwa)
عَالِمُ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ الْكَبِيرُ الْمُتَعَالِ (9)
Amanyi ebyekusifu n'ebirabwako, ow'ekitiibwa ennyo eyeesukulumya yekka
سَوَاءٌ مِّنكُم مَّنْ أَسَرَّ الْقَوْلَ وَمَن جَهَرَ بِهِ وَمَنْ هُوَ مُسْتَخْفٍ بِاللَّيْلِ وَسَارِبٌ بِالنَّهَارِ (10)
Kye kimu (ewa Katonda) mu mmwe oyo aba akweese, ekigambo n'oyo akyatula, n'oyo akukuta ekiro, n'oyo assa ebibye mu musana
لَهُ مُعَقِّبَاتٌ مِّن بَيْنِ يَدَيْهِ وَمِنْ خَلْفِهِ يَحْفَظُونَهُ مِنْ أَمْرِ اللَّهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ لَا يُغَيِّرُ مَا بِقَوْمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُوا مَا بِأَنفُسِهِمْ ۗ وَإِذَا أَرَادَ اللَّهُ بِقَوْمٍ سُوءًا فَلَا مَرَدَّ لَهُ ۚ وَمَا لَهُم مِّن دُونِهِ مِن وَالٍ (11)
(Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Katonda bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Katonda mukuumi mulala yenna
هُوَ الَّذِي يُرِيكُمُ الْبَرْقَ خَوْفًا وَطَمَعًا وَيُنشِئُ السَّحَابَ الثِّقَالَ (12)
Yye yooyo abalaga ekimyanso waggulu ne muba mu kutya ate nemuba nga muyaayaanira (enkuba), era yassaawo ebire ebizito ebitonnyesa enkuba
وَيُسَبِّحُ الرَّعْدُ بِحَمْدِهِ وَالْمَلَائِكَةُ مِنْ خِيفَتِهِ وَيُرْسِلُ الصَّوَاعِقَ فَيُصِيبُ بِهَا مَن يَشَاءُ وَهُمْ يُجَادِلُونَ فِي اللَّهِ وَهُوَ شَدِيدُ الْمِحَالِ (13)
Okubwatuka okuva waggulu kutendereza Katonda nga bwe kumusuuta, ba Malayika (nabo bamutendereza) olw'okumutya era asindika okubwatuka kwe ggulu naazikiriza nakwo oyo gwaba ayagadde okuzikiriza. (Awamu n'ekyo) bo abakaafiiri bagenda mu maaso nga bawakana ku bwomu bwa Katonda mazima yye Katonda amaanyige masuffu
لَهُ دَعْوَةُ الْحَقِّ ۖ وَالَّذِينَ يَدْعُونَ مِن دُونِهِ لَا يَسْتَجِيبُونَ لَهُم بِشَيْءٍ إِلَّا كَبَاسِطِ كَفَّيْهِ إِلَى الْمَاءِ لِيَبْلُغَ فَاهُ وَمَا هُوَ بِبَالِغِهِ ۚ وَمَا دُعَاءُ الْكَافِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَالٍ (14)
Okusaba okutuufu kwolekezebwa yye, bo abo abasaba atali yye tebasobola kubaanukula ku kintu kyonna, okugyako okuba nga omuntu agolodde ebibatu bye eri amazzi agaleete eri omumwa gwe naye nga tasobola kugatuuka. Era tekuli okusaba kwa bakaafiiri okugyako okubeera mu bubuze
وَلِلَّهِ يَسْجُدُ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ طَوْعًا وَكَرْهًا وَظِلَالُهُم بِالْغُدُوِّ وَالْآصَالِ ۩ (15)
Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bivunnamira Katonda mu kwagala oba mu kukakibwa nga n'ebisikirize bya byo ku makya n'olweggulo (bikola bityo)
قُلْ مَن رَّبُّ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ قُلِ اللَّهُ ۚ قُلْ أَفَاتَّخَذْتُم مِّن دُونِهِ أَوْلِيَاءَ لَا يَمْلِكُونَ لِأَنفُسِهِمْ نَفْعًا وَلَا ضَرًّا ۚ قُلْ هَلْ يَسْتَوِي الْأَعْمَىٰ وَالْبَصِيرُ أَمْ هَلْ تَسْتَوِي الظُّلُمَاتُ وَالنُّورُ ۗ أَمْ جَعَلُوا لِلَّهِ شُرَكَاءَ خَلَقُوا كَخَلْقِهِ فَتَشَابَهَ الْخَلْقُ عَلَيْهِمْ ۚ قُلِ اللَّهُ خَالِقُ كُلِّ شَيْءٍ وَهُوَ الْوَاحِدُ الْقَهَّارُ (16)
Gamba (Ggwe Muhammad) nti ani Mukama omulabirizi w'eggulu omusanvu n'ensi bagambe nti: Katonda ate bagambe nti ate olwo mweteerawo mutya abakuumi, yye ne mumuleka, so nga ekirungi n'ekibi ebibatuukako tebiri mu mikono gya bwe, bagambe nti abaffe muzibe n'omuntu alaba benkana oba ebizikiza n'ekitangaala byenkana oba Katonda bamussaako ababeezi nga batonda nga okutondakwe nekiba nti okutonda (okw'emirundi ebiri) kwe kwabatabula, bagambe nti Katonda ye Mutonzi wa buli kintu, era yye y'oyo ali omu (obwannamunigina) nnantalemwa
أَنزَلَ مِنَ السَّمَاءِ مَاءً فَسَالَتْ أَوْدِيَةٌ بِقَدَرِهَا فَاحْتَمَلَ السَّيْلُ زَبَدًا رَّابِيًا ۚ وَمِمَّا يُوقِدُونَ عَلَيْهِ فِي النَّارِ ابْتِغَاءَ حِلْيَةٍ أَوْ مَتَاعٍ زَبَدٌ مِّثْلُهُ ۚ كَذَٰلِكَ يَضْرِبُ اللَّهُ الْحَقَّ وَالْبَاطِلَ ۚ فَأَمَّا الزَّبَدُ فَيَذْهَبُ جُفَاءً ۖ وَأَمَّا مَا يَنفَعُ النَّاسَ فَيَمْكُثُ فِي الْأَرْضِ ۚ كَذَٰلِكَ يَضْرِبُ اللَّهُ الْأَمْثَالَ (17)
Atonnyesa enkuba okuva waggulu, amazzi negakulukutira mu nsenyi okusinziira ku bunene bwazo, Mukama naaleeta ebisejja nga bibimbye ate ekifaananyi ekirala ebintu bye bakumako omuliro olw'okwagala okufunamu eby'okwewunda oba eby'okukozesa, mu kukola ekyo namwo muvaamu ebisejja nga biri, bwa tyo Katonda bwa lambika amazima n'obwonoonefu wabula byo ebisejja bifuuka kasasiro, wabula kyo ekigasa abantu kisigala mu ttaka. Bwa tyo Katonda bwakuba ebifaananyi
لِلَّذِينَ اسْتَجَابُوا لِرَبِّهِمُ الْحُسْنَىٰ ۚ وَالَّذِينَ لَمْ يَسْتَجِيبُوا لَهُ لَوْ أَنَّ لَهُم مَّا فِي الْأَرْضِ جَمِيعًا وَمِثْلَهُ مَعَهُ لَافْتَدَوْا بِهِ ۚ أُولَٰئِكَ لَهُمْ سُوءُ الْحِسَابِ وَمَأْوَاهُمْ جَهَنَّمُ ۖ وَبِئْسَ الْمِهَادُ (18)
Abo abanaayanukula Mukama omulabirizi waabwe balina okufuna obulungi, naye abo abataamwanukule ebiri mu nsi yonna ne bwe byandibadde bya bwe nga balina n'ebirala ebibifaanana awamu nabiri bandyenunudde nabyo (ku lunaku lw'enkomerero), abonno balifuna okubalibwa okubi era omuliro Jahannama bwe buliba obuddo bwa bwe era bwe buliri obusinga obubi
۞ أَفَمَن يَعْلَمُ أَنَّمَا أُنزِلَ إِلَيْكَ مِن رَّبِّكَ الْحَقُّ كَمَنْ هُوَ أَعْمَىٰ ۚ إِنَّمَا يَتَذَكَّرُ أُولُو الْأَلْبَابِ (19)
Abaffe oyo amanyi nti ebyassibwa ku ggwe okuva ewa Mukama omulabiriziwo ge mazima ayinza okuba nga oyo muzibe (atalaba mazima ago). Mazima aba magezi be bajjukira
الَّذِينَ يُوفُونَ بِعَهْدِ اللَّهِ وَلَا يَنقُضُونَ الْمِيثَاقَ (20)
(Aba magezi) beebo abatuukiriza endagaano za Katonda nebatamenya bweyamo
وَالَّذِينَ يَصِلُونَ مَا أَمَرَ اللَّهُ بِهِ أَن يُوصَلَ وَيَخْشَوْنَ رَبَّهُمْ وَيَخَافُونَ سُوءَ الْحِسَابِ (21)
Era abo abayunga ekyo Katonda kyeyalagira okuyunga era ne batya ne babeera nga buli kiseera beeraliikirira Mukama omulabirizi waabwe, era ne batya okubalibwa okubi (okutaliimu kulekera kwonna)
وَالَّذِينَ صَبَرُوا ابْتِغَاءَ وَجْهِ رَبِّهِمْ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ وَأَنفَقُوا مِمَّا رَزَقْنَاهُمْ سِرًّا وَعَلَانِيَةً وَيَدْرَءُونَ بِالْحَسَنَةِ السَّيِّئَةَ أُولَٰئِكَ لَهُمْ عُقْبَى الدَّارِ (22)
Era abo abagumiikiriza ku lw'okwagala okubeera ku ludda lwa Mukama omulabirizi waabwe era nebayimirizaawo e sswala, era nebawaayo ku ebyo bye twabagabirira nga bakikola mu kyama ne mu lwatu era nga ekibi bakiggyisaawo ekirungi, abo nno balifuna ekifo ekisiimwa ku nkomerero
جَنَّاتُ عَدْنٍ يَدْخُلُونَهَا وَمَن صَلَحَ مِنْ آبَائِهِمْ وَأَزْوَاجِهِمْ وَذُرِّيَّاتِهِمْ ۖ وَالْمَلَائِكَةُ يَدْخُلُونَ عَلَيْهِم مِّن كُلِّ بَابٍ (23)
(Ekifo ekyo) ze jjana ez'olubeerera zebaliyingira, nga baliba wamu n'abo abalongoosa mu bakadde babwe, ne be baali nabo mu bufumbo, ne zzadde lya bwe ba Malayika baliba bayingira gye bali, nga bayita mu buli mulyango
سَلَامٌ عَلَيْكُم بِمَا صَبَرْتُمْ ۚ فَنِعْمَ عُقْبَى الدَّارِ (24)
(Balibagambanga) nti emirembe gibe ku mmwe olw'ebyo bye mwagumiikiriza, ekyengera ekisinga obulungi kye kifo ekyo ekirisiimwa ku nkomerero
وَالَّذِينَ يَنقُضُونَ عَهْدَ اللَّهِ مِن بَعْدِ مِيثَاقِهِ وَيَقْطَعُونَ مَا أَمَرَ اللَّهُ بِهِ أَن يُوصَلَ وَيُفْسِدُونَ فِي الْأَرْضِ ۙ أُولَٰئِكَ لَهُمُ اللَّعْنَةُ وَلَهُمْ سُوءُ الدَّارِ (25)
Ate abo abamenya endagaano za Katonda oluvanyuma lw'okuzikakasa, ne bakutula ekyo Katonda kye yalagira okuyunga era ne boonoona mu nsi abo baliko ekikolimo era bagenda kuweebwa e nyumba embi (ku lunaku lw'enkomerero)
اللَّهُ يَبْسُطُ الرِّزْقَ لِمَن يَشَاءُ وَيَقْدِرُ ۚ وَفَرِحُوا بِالْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَمَا الْحَيَاةُ الدُّنْيَا فِي الْآخِرَةِ إِلَّا مَتَاعٌ (26)
Katonda agaziya riziki eri oyo gwaba ayagadde era agifundiza (gwaba ayagadde, bo abantu abalowoolereza mu by'ensi) badda mu kusanyuka n'obulamu obw'ensi so nga ate obulamu bw'ensi tebulina kye buli ku bulamu bw'enkomerero okugyako mpozzi lusanyuka lwa mulundi gumu
وَيَقُولُ الَّذِينَ كَفَرُوا لَوْلَا أُنزِلَ عَلَيْهِ آيَةٌ مِّن رَّبِّهِ ۗ قُلْ إِنَّ اللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَاءُ وَيَهْدِي إِلَيْهِ مَنْ أَنَابَ (27)
Abo abaakaafuwala ne bagamba nti: singa assibwako (Nabbi Muhammad) eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe. Bagambe nti mazima Katonda abuza oyo gwaba ayagadde naalungamya okudda gyali oyo yenna eyeemenya
الَّذِينَ آمَنُوا وَتَطْمَئِنُّ قُلُوبُهُم بِذِكْرِ اللَّهِ ۗ أَلَا بِذِكْرِ اللَّهِ تَطْمَئِنُّ الْقُلُوبُ (28)
(Abeenenya) be bo abakkiriza Katonda, era nga emitima gya bwe gitebenkera olw'okwogera ku Katonda. Abange anti bulijjo emitima gitebenkera olw'okwogera ku Katonda
الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ طُوبَىٰ لَهُمْ وَحُسْنُ مَآبٍ (29)
Be bo abakkiriza ne bakola e mirimu emirongoofu, bagenda kufuna okwesiima n'obuddo obulungi
كَذَٰلِكَ أَرْسَلْنَاكَ فِي أُمَّةٍ قَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِهَا أُمَمٌ لِّتَتْلُوَ عَلَيْهِمُ الَّذِي أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ وَهُمْ يَكْفُرُونَ بِالرَّحْمَٰنِ ۚ قُلْ هُوَ رَبِّي لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ عَلَيْهِ تَوَكَّلْتُ وَإِلَيْهِ مَتَابِ (30)
Nabwekityo twakutuma ggwe (Nabbi Muhammad) mu bantu nga oluberyeberye lwa bwe waaliyo ebibiina bingi obe nga obasomera ekyo kye twassa gyoli, nga bali ku kuwakanya Katonda ow'ekisa ekingi, bagambe nti yye ye Mukama omulabirizi wange, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye, ye gwenneekwasizza era gyali gye njolekeza okwenenya kwange
وَلَوْ أَنَّ قُرْآنًا سُيِّرَتْ بِهِ الْجِبَالُ أَوْ قُطِّعَتْ بِهِ الْأَرْضُ أَوْ كُلِّمَ بِهِ الْمَوْتَىٰ ۗ بَل لِّلَّهِ الْأَمْرُ جَمِيعًا ۗ أَفَلَمْ يَيْأَسِ الَّذِينَ آمَنُوا أَن لَّوْ يَشَاءُ اللَّهُ لَهَدَى النَّاسَ جَمِيعًا ۗ وَلَا يَزَالُ الَّذِينَ كَفَرُوا تُصِيبُهُم بِمَا صَنَعُوا قَارِعَةٌ أَوْ تَحُلُّ قَرِيبًا مِّن دَارِهِمْ حَتَّىٰ يَأْتِيَ وَعْدُ اللَّهِ ۚ إِنَّ اللَّهَ لَا يُخْلِفُ الْمِيعَادَ (31)
Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano
وَلَقَدِ اسْتُهْزِئَ بِرُسُلٍ مِّن قَبْلِكَ فَأَمْلَيْتُ لِلَّذِينَ كَفَرُوا ثُمَّ أَخَذْتُهُمْ ۖ فَكَيْفَ كَانَ عِقَابِ (32)
Era mazima ababaka bangi abaagyejebwa oluberyeberyelwo, naye nennindiriza abo abaakaafuwala, oluvanyuma nnabakwata (ggwe) olaba okubonereza kwange kwali kutya
أَفَمَنْ هُوَ قَائِمٌ عَلَىٰ كُلِّ نَفْسٍ بِمَا كَسَبَتْ ۗ وَجَعَلُوا لِلَّهِ شُرَكَاءَ قُلْ سَمُّوهُمْ ۚ أَمْ تُنَبِّئُونَهُ بِمَا لَا يَعْلَمُ فِي الْأَرْضِ أَم بِظَاهِرٍ مِّنَ الْقَوْلِ ۗ بَلْ زُيِّنَ لِلَّذِينَ كَفَرُوا مَكْرُهُمْ وَصُدُّوا عَنِ السَّبِيلِ ۗ وَمَن يُضْلِلِ اللَّهُ فَمَا لَهُ مِنْ هَادٍ (33)
Abaffe oyo alina obuyinza ku buli mwoyo olw'ebyo bye gukola (ayinza okufaanana nga oyo atali bwatyo). Abantu nebatuuka okugatta ku Katonda ebisinzibwa ebirala. Bagambe nti: muboogere (be baani) bwe kitaba ekyo muba nga abamutegeeza ebyo byatamanyi ku nsi, oba mumala gakozesa bigambo ku ngulu kwabyo (nga bwe mulaba), (wabula) ekituufu kiri nti abo abaakaafuwala enkwe zaabwe zaabalabikira okuba nga nnungi olwo nno ne baggyibwa ku kkubo. Oyo yenna Katonda gwaba abuzizza tayinza kubaako alungamya
لَّهُمْ عَذَابٌ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ وَلَعَذَابُ الْآخِرَةِ أَشَقُّ ۖ وَمَا لَهُم مِّنَ اللَّهِ مِن وَاقٍ (34)
Balina ebibonerezo mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali. Tebagenda kufuna mutaasa yenna ku Katonda
۞ مَّثَلُ الْجَنَّةِ الَّتِي وُعِدَ الْمُتَّقُونَ ۖ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ ۖ أُكُلُهَا دَائِمٌ وَظِلُّهَا ۚ تِلْكَ عُقْبَى الَّذِينَ اتَّقَوا ۖ وَّعُقْبَى الْكَافِرِينَ النَّارُ (35)
Ekifaananyi kye jjana eyo eyalagaanyisibwa abatya Katonda (efaanana bweti) emigga gikulukutira wansi waayo, eby'okulya byamu bya lubeerera n'ekisiikirize kyamu bwe kityo, eyo y'enkomerero yaabo abatya Katonda so nga enkomerero ya bakaafiiri muliro
وَالَّذِينَ آتَيْنَاهُمُ الْكِتَابَ يَفْرَحُونَ بِمَا أُنزِلَ إِلَيْكَ ۖ وَمِنَ الْأَحْزَابِ مَن يُنكِرُ بَعْضَهُ ۚ قُلْ إِنَّمَا أُمِرْتُ أَنْ أَعْبُدَ اللَّهَ وَلَا أُشْرِكَ بِهِ ۚ إِلَيْهِ أَدْعُو وَإِلَيْهِ مَآبِ (36)
N'abo be twawa ekitabo basanyuka olw'ekyo ekyassibwa gyoli ate mu bibiina byabwe (ebimu) mulimu abawakanya ebimu ku bye watumwa nabyo, bagambe nti nalagirwa okuba nga nsinza Katonda era mbe nga simugattako kintu kyonna, nkowoola abantu okudda gyali era gyali yeeri obuddo bwange
وَكَذَٰلِكَ أَنزَلْنَاهُ حُكْمًا عَرَبِيًّا ۚ وَلَئِنِ اتَّبَعْتَ أَهْوَاءَهُم بَعْدَمَا جَاءَكَ مِنَ الْعِلْمِ مَا لَكَ مِنَ اللَّهِ مِن وَلِيٍّ وَلَا وَاقٍ (37)
Era bwe tutyo bwe twassa Kur’ani nga esalawo ku buli kintu nga eri mu luwarabu, singa ogoberera okwagala kwa bwe oluvanyuma lw'okumanya okukujjidde, tolina mukuumi wadde omutaasa ku Katonda
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا رُسُلًا مِّن قَبْلِكَ وَجَعَلْنَا لَهُمْ أَزْوَاجًا وَذُرِّيَّةً ۚ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأْتِيَ بِآيَةٍ إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۗ لِكُلِّ أَجَلٍ كِتَابٌ (38)
Mazima twatuma ababaka bangi oluberyeberyelwo, netubawa abakyala n'ezadde, tewali Mubaka yenna yali asobola kuleeta kyamagero kyonna okugyako kulwa kukkiriza kwa Katonda. Buli ntuuko eba mpandiike ewa Katonda
يَمْحُو اللَّهُ مَا يَشَاءُ وَيُثْبِتُ ۖ وَعِندَهُ أُمُّ الْكِتَابِ (39)
Katonda asangulawo kyaba ayagadde, ate ebirala naabireka nga bwe yabisalawo, ekitabo ekikulu (Llawuhul – Mahfuzu) ekiwandiikibwamu ebintu byonna yakyesigaliza
وَإِن مَّا نُرِيَنَّكَ بَعْضَ الَّذِي نَعِدُهُمْ أَوْ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِنَّمَا عَلَيْكَ الْبَلَاغُ وَعَلَيْنَا الْحِسَابُ (40)
Oba singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tukulagaanyisa oba netukutuusa ku ntuukoyo (nga tobirabye, byonna kye kimu) ggwe kyoteekwa okukola kwe kubatuusaako obubaka, kwo okubala kuli ku ffe
أَوَلَمْ يَرَوْا أَنَّا نَأْتِي الْأَرْضَ نَنقُصُهَا مِنْ أَطْرَافِهَا ۚ وَاللَّهُ يَحْكُمُ لَا مُعَقِّبَ لِحُكْمِهِ ۚ وَهُوَ سَرِيعُ الْحِسَابِ (41)
Abaffe tebalaba nti mazima ffe mpolampola tugenda tukendeeza ensi nga tutandikira gy'ekoma, kiri nti Katonda yasalawo tewali agobereza kigambo ku kusalawo kwe, era nga ye mwangu mu kubala
وَقَدْ مَكَرَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ فَلِلَّهِ الْمَكْرُ جَمِيعًا ۖ يَعْلَمُ مَا تَكْسِبُ كُلُّ نَفْسٍ ۗ وَسَيَعْلَمُ الْكُفَّارُ لِمَنْ عُقْبَى الدَّارِ (42)
Mazima abo abaabakulembera bakola enkwe naye nga enkwe zonna ziggwera eri Katonda, amanyi buli kyonna omuntu kyakola, abakaafiiri bagenda kumanya nti enkomerero ennungi eriba yaani
وَيَقُولُ الَّذِينَ كَفَرُوا لَسْتَ مُرْسَلًا ۚ قُلْ كَفَىٰ بِاللَّهِ شَهِيدًا بَيْنِي وَبَيْنَكُمْ وَمَنْ عِندَهُ عِلْمُ الْكِتَابِ (43)
Era abo abaakaafuwala bagamba nti toli mutume, bagambe nti Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati wange na mmwe, n'abo abalina okumanya nga kuva mu kitabo (Abayudaaya na Banaswara)
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas