×

Surah Al-Muminun in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Muminun

Translation of the Meanings of Surah Muminun in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Muminun translated into Ganda, Surah Al-Muminun in Ganda. We provide accurate translation of Surah Muminun in Ganda - لوغندا, Verses 118 - Surah Number 23 - Page 342.

بسم الله الرحمن الرحيم

قَدْ أَفْلَحَ الْمُؤْمِنُونَ (1)
Mazima abakkiriza batuuse ku buwanguzi
الَّذِينَ هُمْ فِي صَلَاتِهِمْ خَاشِعُونَ (2)
Abo bbo abeewombeka mu sswala zaabwe
وَالَّذِينَ هُمْ عَنِ اللَّغْوِ مُعْرِضُونَ (3)
Era abo bbo abatabeera mu bintu bitaliimu makulu
وَالَّذِينَ هُمْ لِلزَّكَاةِ فَاعِلُونَ (4)
Era abo bbo abajjumbize mu kutoola Zakka
وَالَّذِينَ هُمْ لِفُرُوجِهِمْ حَافِظُونَ (5)
Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe
إِلَّا عَلَىٰ أَزْوَاجِهِمْ أَوْ مَا مَلَكَتْ أَيْمَانُهُمْ فَإِنَّهُمْ غَيْرُ مَلُومِينَ (6)
Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa
فَمَنِ ابْتَغَىٰ وَرَاءَ ذَٰلِكَ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْعَادُونَ (7)
Naye oyo anaayiza okusukka ku ekyo abo bbo be babuuka ensalo (z'amateeka ga Katonda)
وَالَّذِينَ هُمْ لِأَمَانَاتِهِمْ وَعَهْدِهِمْ رَاعُونَ (8)
(Abakkiriza) era beebo bbo abakuuma obutiribiri obwesigwa bwa bwe n'endagaano zaabwe
وَالَّذِينَ هُمْ عَلَىٰ صَلَوَاتِهِمْ يُحَافِظُونَ (9)
Era bbo beebo abeekubiriza okutuukiriza e sswala zaabwe
أُولَٰئِكَ هُمُ الْوَارِثُونَ (10)
Abo nno bbo be bagenda okusikira (okuyingira e jjana)
الَّذِينَ يَرِثُونَ الْفِرْدَوْسَ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (11)
Abo abalisikira Firidausi (e jjana) nga bbo mu yo baakutuulamu bugenderevu
وَلَقَدْ خَلَقْنَا الْإِنسَانَ مِن سُلَالَةٍ مِّن طِينٍ (12)
Mazima twatonda omuntu nga tumuggya mu nsibuko ya ttaka
ثُمَّ جَعَلْنَاهُ نُطْفَةً فِي قَرَارٍ مَّكِينٍ (13)
Oluvanyuma tumufuula amazzi agazaala ge tukuumira mu kifo ekinywevu (nnabaana)
ثُمَّ خَلَقْنَا النُّطْفَةَ عَلَقَةً فَخَلَقْنَا الْعَلَقَةَ مُضْغَةً فَخَلَقْنَا الْمُضْغَةَ عِظَامًا فَكَسَوْنَا الْعِظَامَ لَحْمًا ثُمَّ أَنشَأْنَاهُ خَلْقًا آخَرَ ۚ فَتَبَارَكَ اللَّهُ أَحْسَنُ الْخَالِقِينَ (14)
Oluvanyuma netutonda mu mazzi ago e kisaayisaayi ate e kisaayisaayi ne tukitondamu e kinyama ate e kinyama ne tukitonderamu amagumba olwo nno amagumba ne tugambaza e nnyama, ate oluvanyuma ne tumutonda nga kitonde kirala (naafuuka omuntu nga afuuyiddwamu omwoyo) n'olwekyo Katonda musukkulumu oyo asinga abakozi be bintu bonna
ثُمَّ إِنَّكُم بَعْدَ ذَٰلِكَ لَمَيِّتُونَ (15)
Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa
ثُمَّ إِنَّكُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ تُبْعَثُونَ (16)
Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa
وَلَقَدْ خَلَقْنَا فَوْقَكُمْ سَبْعَ طَرَائِقَ وَمَا كُنَّا عَنِ الْخَلْقِ غَافِلِينَ (17)
Era mazima twatonda waggulu wa mmwe eggulu omusanvu era tetubangako bagayaalira (kulabirira) bitonde
وَأَنزَلْنَا مِنَ السَّمَاءِ مَاءً بِقَدَرٍ فَأَسْكَنَّاهُ فِي الْأَرْضِ ۖ وَإِنَّا عَلَىٰ ذَهَابٍ بِهِ لَقَادِرُونَ (18)
Era tussa okuva waggulu amazzi mu ngeri ya kigero netugabeeza mu ttaka era nga mazima ddala ffe tuba tusobola okugabuzaawo
فَأَنشَأْنَا لَكُم بِهِ جَنَّاتٍ مِّن نَّخِيلٍ وَأَعْنَابٍ لَّكُمْ فِيهَا فَوَاكِهُ كَثِيرَةٌ وَمِنْهَا تَأْكُلُونَ (19)
Netubamereza nago e nnimiro ez'emitende ne nzabibu nga zirimu ebibala bingi era nga ku byo kwe mulya
وَشَجَرَةً تَخْرُجُ مِن طُورِ سَيْنَاءَ تَنبُتُ بِالدُّهْنِ وَصِبْغٍ لِّلْآكِلِينَ (20)
Era netumeza nago omuti (omuzaituni) ogwo ogusibuka ku lusozi Sinaa, guvaamu omuzigo (abantu gwe beesiiga) era nga muwoomu eri abali
وَإِنَّ لَكُمْ فِي الْأَنْعَامِ لَعِبْرَةً ۖ نُّسْقِيكُم مِّمَّا فِي بُطُونِهَا وَلَكُمْ فِيهَا مَنَافِعُ كَثِيرَةٌ وَمِنْهَا تَأْكُلُونَ (21)
Era mazima mulina mmwe mu nsolo ezirundibwa eky'okuyiga, tubanywesa mu ebyo ebiri mu mbuto zaazo era mulina mu zo emigaso mingi era nga mulya ezimu ku zo
وَعَلَيْهَا وَعَلَى الْفُلْكِ تُحْمَلُونَ (22)
Nga era ku zo ne ku maato kwe mutwalirwa
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوْمِهِ فَقَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ أَفَلَا تَتَّقُونَ (23)
Era mazima twatuma Nuhu eri a bantube naagamba nti: abange bantu bange musinze Katonda yekka temulinaayo kintu kirala kyonna kisaana kusinzibwa. Abaffe temutya (Katonda)
فَقَالَ الْمَلَأُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَوْمِهِ مَا هَٰذَا إِلَّا بَشَرٌ مِّثْلُكُمْ يُرِيدُ أَن يَتَفَضَّلَ عَلَيْكُمْ وَلَوْ شَاءَ اللَّهُ لَأَنزَلَ مَلَائِكَةً مَّا سَمِعْنَا بِهَٰذَا فِي آبَائِنَا الْأَوَّلِينَ (24)
Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti: tali ono (Nuhu) okugyako muntu nga mmwe, ayagala kwe sukkulumya ku mmwe singa Katonda yayagala (kutuma Malayika) yaalibadde atuma ba Malayika, kino tetukiwulirangako mu bakadde baffe abaasooka
إِنْ هُوَ إِلَّا رَجُلٌ بِهِ جِنَّةٌ فَتَرَبَّصُوا بِهِ حَتَّىٰ حِينٍ (25)
Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa)
قَالَ رَبِّ انصُرْنِي بِمَا كَذَّبُونِ (26)
(Nuhu) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa (kwa bwe)
فَأَوْحَيْنَا إِلَيْهِ أَنِ اصْنَعِ الْفُلْكَ بِأَعْيُنِنَا وَوَحْيِنَا فَإِذَا جَاءَ أَمْرُنَا وَفَارَ التَّنُّورُ ۙ فَاسْلُكْ فِيهَا مِن كُلٍّ زَوْجَيْنِ اثْنَيْنِ وَأَهْلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيْهِ الْقَوْلُ مِنْهُمْ ۖ وَلَا تُخَاطِبْنِي فِي الَّذِينَ ظَلَمُوا ۖ إِنَّهُم مُّغْرَقُونَ (27)
Awo nno twamutumira nti kola eryato nga okolera ku biragiro byaffe, era ne tumutumira nti ekigambo kyaffe bwe kinaatuuka e ttanuuru neefukumukamu amazzi olwo nno pakira mu lyo (eryato) ku buli kintu bibiri ekisajja n'ekikazi era pakiramu abantubo okugyako omuntu oyo ekigambo gwe kyakakatako edda mu bo, era toyogera nange ku abo abeeyisa obubi, mazima bbo ba kuzikirira
فَإِذَا اسْتَوَيْتَ أَنتَ وَمَن مَّعَكَ عَلَى الْفُلْكِ فَقُلِ الْحَمْدُ لِلَّهِ الَّذِي نَجَّانَا مِنَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (28)
Ggwe n'abo abali naawe bwe mukkalira mu lyato olwo nno gamba nti okutenderezebwa kwonna kwa Katonda oyo atuwonyezza abantu abeeyisa obubi
وَقُل رَّبِّ أَنزِلْنِي مُنزَلًا مُّبَارَكًا وَأَنتَ خَيْرُ الْمُنزِلِينَ (29)
Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange (bwe ntuuka okuva mu lyato lino) nzisa mu kifo eky'omukisa anti ggwe osinga bonna abasalawo ebifo (eby'okubeeramu)
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ وَإِن كُنَّا لَمُبْتَلِينَ (30)
Mazima ekyo kijjuddemu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) newaakubadde nga ate tubagezesa
ثُمَّ أَنشَأْنَا مِن بَعْدِهِمْ قَرْنًا آخَرِينَ (31)
Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe omulembe omulala
فَأَرْسَلْنَا فِيهِمْ رَسُولًا مِّنْهُمْ أَنِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ أَفَلَا تَتَّقُونَ (32)
Netubatumamu omubaka ng'ava mu bo ng'abagamba nti musinze Katonda temulina kirala kyonna kye musaanye kusinza kitali yye, abaffe temutya (Katonda)
وَقَالَ الْمَلَأُ مِن قَوْمِهِ الَّذِينَ كَفَرُوا وَكَذَّبُوا بِلِقَاءِ الْآخِرَةِ وَأَتْرَفْنَاهُمْ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا مَا هَٰذَا إِلَّا بَشَرٌ مِّثْلُكُمْ يَأْكُلُ مِمَّا تَأْكُلُونَ مِنْهُ وَيَشْرَبُ مِمَّا تَشْرَبُونَ (33)
Abakungu abaakaafuwala mu bantube, era abaalimbisa okusisinkana olunaku lwe'nkomerero, era abo be twawa okweyagala mu bulamu bw'ensi, baagamba nti ono talina kyali okugyako muntu buntu nga mmwe, bye mulyako byalya, ne bye munywa byanywa
وَلَئِنْ أَطَعْتُم بَشَرًا مِّثْلَكُمْ إِنَّكُمْ إِذًا لَّخَاسِرُونَ (34)
Ate singa mugondera omuntu obuntu nga mmwe, mazima mmwe olwo munaaba mufaafaaganiddwa
أَيَعِدُكُمْ أَنَّكُمْ إِذَا مِتُّمْ وَكُنتُمْ تُرَابًا وَعِظَامًا أَنَّكُم مُّخْرَجُونَ (35)
Mbu abalagaanyisa nti mazima mmwe singa mufa ne muba ettaka era amagumba ameereere, nti mazima mmwe mugenda kudda
۞ هَيْهَاتَ هَيْهَاتَ لِمَا تُوعَدُونَ (36)
Tekisoboka era tekisobokera ddala ekyo kye mulagaanyisibwa
إِنْ هِيَ إِلَّا حَيَاتُنَا الدُّنْيَا نَمُوتُ وَنَحْيَا وَمَا نَحْنُ بِمَبْعُوثِينَ (37)
(Ekituufu kiri nti) tewali bulamu bulala bwonna okugyako obulamu obw'ensi abamu muffe bava mu bulamu abalala ne bayingira. Era ffe tetugenda kuzuukuzibwa
إِنْ هُوَ إِلَّا رَجُلٌ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا وَمَا نَحْنُ لَهُ بِمُؤْمِنِينَ (38)
Tali yye okugyako okuba nti musajja agunja ku Katonda ebigambo eby'obulimba, era ffe tetujja kumukkiriza
قَالَ رَبِّ انصُرْنِي بِمَا كَذَّبُونِ (39)
(Omubaka) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange ntaasa ku kunnimbisa kwa bwe
قَالَ عَمَّا قَلِيلٍ لَّيُصْبِحُنَّ نَادِمِينَ (40)
(Katonda) naagamba nti mu kaseera katono nnyo bajja kuba bejjusa
فَأَخَذَتْهُمُ الصَّيْحَةُ بِالْحَقِّ فَجَعَلْنَاهُمْ غُثَاءً ۚ فَبُعْدًا لِّلْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (41)
Okubwatuka ne kubatuukako era nga kye kibasaanira ne tubafuula ebisasiro. N'olwekyo babeere wala nnyo abantu abeeyisa obubi
ثُمَّ أَنشَأْنَا مِن بَعْدِهِمْ قُرُونًا آخَرِينَ (42)
Ekyo nga kiwedde twatandikawo oluvanyuma lwa bwe emirembe emirala
مَا تَسْبِقُ مِنْ أُمَّةٍ أَجَلَهَا وَمَا يَسْتَأْخِرُونَ (43)
Tewali mulembe guyinza kukulembera kiseera kyagugererwa, era tebayinza kwagala kwongezebwayo (nebakufuna)
ثُمَّ أَرْسَلْنَا رُسُلَنَا تَتْرَىٰ ۖ كُلَّ مَا جَاءَ أُمَّةً رَّسُولُهَا كَذَّبُوهُ ۚ فَأَتْبَعْنَا بَعْضَهُم بَعْضًا وَجَعَلْنَاهُمْ أَحَادِيثَ ۚ فَبُعْدًا لِّقَوْمٍ لَّا يُؤْمِنُونَ (44)
Oluvanyuma twatuma ababaka baffe nga bagoberegana, buli bantu bwe bajjirwanga omubaka waabwe nga bamulimbisa, olwo nno abamu ne tubakwasa ekkubo bannaabwe lye baakwata (mu kuzikirira) ne tubafuula eky'okwogerwako kale nno babeere wala nnyo abantu abatakkiriza
ثُمَّ أَرْسَلْنَا مُوسَىٰ وَأَخَاهُ هَارُونَ بِآيَاتِنَا وَسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (45)
Oluvanyuma twatuma Musa ne Mugandawe Haruna nga tubawadde eby'amagero byaffe n'obujulizi obw'enkukunala
إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِ فَاسْتَكْبَرُوا وَكَانُوا قَوْمًا عَالِينَ (46)
Bagende ewa Firaawo n'abakungube (wabula be twatuma bwe baagenda gye bali) ne beekuza ne babeera abantu abeetwala okuba aba waggulu
فَقَالُوا أَنُؤْمِنُ لِبَشَرَيْنِ مِثْلِنَا وَقَوْمُهُمَا لَنَا عَابِدُونَ (47)
Nebagamba nti tukkirize abantu ababiri abafaanana nga ffe ng'ate abantu baabwe batusinza businza
فَكَذَّبُوهُمَا فَكَانُوا مِنَ الْمُهْلَكِينَ (48)
Ne babalimbisa bombi olwo nno ne baba mu abo abaazikirizibwa
وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْكِتَابَ لَعَلَّهُمْ يَهْتَدُونَ (49)
Era mazima twawa Musa ekitabo babe nga balungama
وَجَعَلْنَا ابْنَ مَرْيَمَ وَأُمَّهُ آيَةً وَآوَيْنَاهُمَا إِلَىٰ رَبْوَةٍ ذَاتِ قَرَارٍ وَمَعِينٍ (50)
Twafuula Mutabani wa Mariam ne Maamawe akabonero, ne tubawa obutuulo mu kifo e kisitufu e kibeerekamu nga kirimu n'amazzi agakulukuta
يَا أَيُّهَا الرُّسُلُ كُلُوا مِنَ الطَّيِّبَاتِ وَاعْمَلُوا صَالِحًا ۖ إِنِّي بِمَا تَعْمَلُونَ عَلِيمٌ (51)
Abange mmwe ababaka mulye ebikkirizibwa okuliibwa, era mukole emirimu emirungi mazima nze manyidde ddala ebyo bye mukola
وَإِنَّ هَٰذِهِ أُمَّتُكُمْ أُمَّةً وَاحِدَةً وَأَنَا رَبُّكُمْ فَاتَّقُونِ (52)
Mazima ddala e kibiina kya mmwe kino (eddiini yammwe) kiri ekibiina kimu nange nze Mukama omulabirizi wa mmwe kale muntye
فَتَقَطَّعُوا أَمْرَهُم بَيْنَهُمْ زُبُرًا ۖ كُلُّ حِزْبٍ بِمَا لَدَيْهِمْ فَرِحُونَ (53)
Naye abantu beekutulamu wakati waabwe ku kigambo kyaabwe (eky'eddiini), ebibiina bingi nga buli kibinja (abantu baakyo) basanyuka n'ebyo bye balina
فَذَرْهُمْ فِي غَمْرَتِهِمْ حَتَّىٰ حِينٍ (54)
Kale baleke mu bubuze bwa bwe okutuusa ekiseera (ekyabagererwa)
أَيَحْسَبُونَ أَنَّمَا نُمِدُّهُم بِهِ مِن مَّالٍ وَبَنِينَ (55)
Abaffe balowooza bye tubawa mu mmaali n'abaana
نُسَارِعُ لَهُمْ فِي الْخَيْرَاتِ ۚ بَل لَّا يَشْعُرُونَ (56)
Tuba tubanguyiza kwe yongera kufuna birungi! wabula tebategeera
إِنَّ الَّذِينَ هُم مِّنْ خَشْيَةِ رَبِّهِم مُّشْفِقُونَ (57)
Mazima abo abeeraliikirira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okutya Mukama omulabirizi waabwe
وَالَّذِينَ هُم بِآيَاتِ رَبِّهِمْ يُؤْمِنُونَ (58)
Era abo ebigambo ebyassibwa okuva ewa Mukama omulabirizi waabwe babikkiriza
وَالَّذِينَ هُم بِرَبِّهِمْ لَا يُشْرِكُونَ (59)
Era abo abatagatta kintu kirala ku Mukama omulabirizi wa bwe
وَالَّذِينَ يُؤْتُونَ مَا آتَوا وَّقُلُوبُهُمْ وَجِلَةٌ أَنَّهُمْ إِلَىٰ رَبِّهِمْ رَاجِعُونَ (60)
Era abo abawaayo bye baba bawaddeyo (ku lwa Katonda wa bwe) nga emitima gyabwe gitidde okuba nti mazima bbo bagenda kudda ewa Mukama omulabirizi wa bwe
أُولَٰئِكَ يُسَارِعُونَ فِي الْخَيْرَاتِ وَهُمْ لَهَا سَابِقُونَ (61)
Abo nno bayaayaanira okukola ebirungi era nga bo mu ekyo be bakulembera
وَلَا نُكَلِّفُ نَفْسًا إِلَّا وُسْعَهَا ۖ وَلَدَيْنَا كِتَابٌ يَنطِقُ بِالْحَقِّ ۚ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (62)
Era tetuwaliriza muntu (kukola) okugyako ekyo ekiri mu busobozibwe era tulina ekitabo ekiraga mu butuufu (ebikolebwa) nabo nga tebagenda kulyazaamaanyizibwa
بَلْ قُلُوبُهُمْ فِي غَمْرَةٍ مِّنْ هَٰذَا وَلَهُمْ أَعْمَالٌ مِّن دُونِ ذَٰلِكَ هُمْ لَهَا عَامِلُونَ (63)
Wabula emitima gya bwe (abakaafiiri) giri mu kugayaalirira (Kur’ani) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere)
حَتَّىٰ إِذَا أَخَذْنَا مُتْرَفِيهِم بِالْعَذَابِ إِذَا هُمْ يَجْأَرُونَ (64)
Okutuusa bwe tussa ebibonerezo ku beejalabi mu bo olwo nno bo nebalajaana
لَا تَجْأَرُوا الْيَوْمَ ۖ إِنَّكُم مِّنَّا لَا تُنصَرُونَ (65)
Temulaajana leero, mazima mmwe temuli ba kututaasibwako
قَدْ كَانَتْ آيَاتِي تُتْلَىٰ عَلَيْكُمْ فَكُنتُمْ عَلَىٰ أَعْقَابِكُمْ تَنكِصُونَ (66)
Mazima ebigambo byange byabasomerwanga naye mmwe mwalinga mukyukira ku bisinziro bya mmwe ne mubikuba amabega
مُسْتَكْبِرِينَ بِهِ سَامِرًا تَهْجُرُونَ (67)
Nga mwekuza olw'okugiwalana (Kur’ani), nga mugyogerako mu ngeri e mbi nga mutudde ku byoto bya mmwe ekiro
أَفَلَمْ يَدَّبَّرُوا الْقَوْلَ أَمْ جَاءَهُم مَّا لَمْ يَأْتِ آبَاءَهُمُ الْأَوَّلِينَ (68)
Abaffe tebeetegereza ekigambo (Kur’ani ne balaba nti ntuufu) oba (ekibabuza kwe kuba nti) bajjiddwa ebyo ebitajjira bakadde baabwe abaakulembera
أَمْ لَمْ يَعْرِفُوا رَسُولَهُمْ فَهُمْ لَهُ مُنكِرُونَ (69)
Oba tebaamanya mubaka waabwe n'eba nga y'ensonga lwaki bamuwakanya
أَمْ يَقُولُونَ بِهِ جِنَّةٌ ۚ بَلْ جَاءَهُم بِالْحَقِّ وَأَكْثَرُهُمْ لِلْحَقِّ كَارِهُونَ (70)
Oba bagamba nti mulalu, wabula (ekituufu kiri nti) yabajjira n'amazima, naye nga abasinga obungi mu bo batamwa amazima
وَلَوِ اتَّبَعَ الْحَقُّ أَهْوَاءَهُمْ لَفَسَدَتِ السَّمَاوَاتُ وَالْأَرْضُ وَمَن فِيهِنَّ ۚ بَلْ أَتَيْنَاهُم بِذِكْرِهِمْ فَهُمْ عَن ذِكْرِهِم مُّعْرِضُونَ (71)
Singa amazima gaagoberera okwagala kwa bwe, eggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebirimu byandi yonoonese, wabula twabawa ekyo ekibaweesa ekitiibwa (Kur’ani) naye (eky'ennaku) bbo beesamba ekitiibwa kya bwe
أَمْ تَسْأَلُهُمْ خَرْجًا فَخَرَاجُ رَبِّكَ خَيْرٌ ۖ وَهُوَ خَيْرُ الرَّازِقِينَ (72)
Oba obasaba musaala (ne kiba nga kye kibagaana okukkiriza naye nakyo tokikola), anti omusaala gwa Mukama omulabiriziwo gwe gusinga obulungi era yye y'asinga abagabirizi bonna
وَإِنَّكَ لَتَدْعُوهُمْ إِلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (73)
Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri e kkubo eggolokofu
وَإِنَّ الَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ بِالْآخِرَةِ عَنِ الصِّرَاطِ لَنَاكِبُونَ (74)
Era mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ddala be bava ku kkubo
۞ وَلَوْ رَحِمْنَاهُمْ وَكَشَفْنَا مَا بِهِم مِّن ضُرٍّ لَّلَجُّوا فِي طُغْيَانِهِمْ يَعْمَهُونَ (75)
Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta
وَلَقَدْ أَخَذْنَاهُم بِالْعَذَابِ فَمَا اسْتَكَانُوا لِرَبِّهِمْ وَمَا يَتَضَرَّعُونَ (76)
Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda
حَتَّىٰ إِذَا فَتَحْنَا عَلَيْهِم بَابًا ذَا عَذَابٍ شَدِيدٍ إِذَا هُمْ فِيهِ مُبْلِسُونَ (77)
Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa
وَهُوَ الَّذِي أَنشَأَ لَكُمُ السَّمْعَ وَالْأَبْصَارَ وَالْأَفْئِدَةَ ۚ قَلِيلًا مَّا تَشْكُرُونَ (78)
(Katonda) yye, yooyo eyabatondera mmwe amatu n'amaaso n'emitima (naye) mwebaza kitono
وَهُوَ الَّذِي ذَرَأَكُمْ فِي الْأَرْضِ وَإِلَيْهِ تُحْشَرُونَ (79)
Era yye yooyo (eyabatonda) n'abassa mu nsi era gyali gye mulikungaanyizibwa
وَهُوَ الَّذِي يُحْيِي وَيُمِيتُ وَلَهُ اخْتِلَافُ اللَّيْلِ وَالنَّهَارِ ۚ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (80)
Era yye yooyo awa obulamu era natta era ku kwe okwawukana kw'ekiro n'emisana, abaffe temutegeera
بَلْ قَالُوا مِثْلَ مَا قَالَ الْأَوَّلُونَ (81)
Wabula (ekivaako obuzibu) bagamba nga abaabasooka kye baagamba
قَالُوا أَإِذَا مِتْنَا وَكُنَّا تُرَابًا وَعِظَامًا أَإِنَّا لَمَبْعُوثُونَ (82)
Bagamba nti bwe tulifa ne tuba e nfuufu n'amagumba abaffe tugenda kuzuukizibwa
لَقَدْ وُعِدْنَا نَحْنُ وَآبَاؤُنَا هَٰذَا مِن قَبْلُ إِنْ هَٰذَا إِلَّا أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ (83)
Mazima ffe ne bakadde baffe kino kyatulagaanyisibwa dda, tekirina kye kiri okugyako okuba enfumo z'abasooka
قُل لِّمَنِ الْأَرْضُ وَمَن فِيهَا إِن كُنتُمْ تَعْلَمُونَ (84)
Bagambe nti: ensi n'ebigirimu byani bwe muba nga mumanyi
سَيَقُولُونَ لِلَّهِ ۚ قُلْ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ (85)
Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temwebuulirira
قُلْ مَن رَّبُّ السَّمَاوَاتِ السَّبْعِ وَرَبُّ الْعَرْشِ الْعَظِيمِ (86)
Bagambe nti ani Mukama Omulabirizi w'eggulu omusanvu era Mukama Omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa
سَيَقُولُونَ لِلَّهِ ۚ قُلْ أَفَلَا تَتَّقُونَ (87)
Bajja kugamba nti bya Katonda, bagambe nti abaffe temutya
قُلْ مَن بِيَدِهِ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيْءٍ وَهُوَ يُجِيرُ وَلَا يُجَارُ عَلَيْهِ إِن كُنتُمْ تَعْلَمُونَ (88)
Bagambe nti obufuzi bwa buli kintu buli mu mukono gw'ani? Alina obusobozi obuwa obukuumi (oyo aba yeekubidde enduulu gyali, ate bwaba yeetaaga omuntu) takugirwa ku ye, (mwanukule) bwe muba nga mumanyi
سَيَقُولُونَ لِلَّهِ ۚ قُلْ فَأَنَّىٰ تُسْحَرُونَ (89)
Bajja kugamba nti (obufuzi) bwa Katonda, bagambe nti mubuzibwabuzibwa mutya
بَلْ أَتَيْنَاهُم بِالْحَقِّ وَإِنَّهُمْ لَكَاذِبُونَ (90)
Wabula twabaleetera amazima naye ddala bbo balimba
مَا اتَّخَذَ اللَّهُ مِن وَلَدٍ وَمَا كَانَ مَعَهُ مِنْ إِلَٰهٍ ۚ إِذًا لَّذَهَبَ كُلُّ إِلَٰهٍ بِمَا خَلَقَ وَلَعَلَا بَعْضُهُمْ عَلَىٰ بَعْضٍ ۚ سُبْحَانَ اللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ (91)
Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera
عَالِمِ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ فَتَعَالَىٰ عَمَّا يُشْرِكُونَ (92)
(Katonda) mumanyi wa byekusifu n'ebirabikako ali wala nnyo ku ebyo bye bamugattako
قُل رَّبِّ إِمَّا تُرِيَنِّي مَا يُوعَدُونَ (93)
Gamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, lwolindaga (ebibonerezo) ebyo bye balagaanyisibwa
رَبِّ فَلَا تَجْعَلْنِي فِي الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (94)
Ayi Mukama omulabirizi wange tonteekanga mu bantu abeeyisa obubi
وَإِنَّا عَلَىٰ أَن نُّرِيَكَ مَا نَعِدُهُمْ لَقَادِرُونَ (95)
Era mazima ffe ku ky'okukulaga bye tubalagaanyisa tusobolera ddala
ادْفَعْ بِالَّتِي هِيَ أَحْسَنُ السَّيِّئَةَ ۚ نَحْنُ أَعْلَمُ بِمَا يَصِفُونَ (96)
Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera
وَقُل رَّبِّ أَعُوذُ بِكَ مِنْ هَمَزَاتِ الشَّيَاطِينِ (97)
Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane
وَأَعُوذُ بِكَ رَبِّ أَن يَحْضُرُونِ (98)
Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera
حَتَّىٰ إِذَا جَاءَ أَحَدَهُمُ الْمَوْتُ قَالَ رَبِّ ارْجِعُونِ (99)
(Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi)
لَعَلِّي أَعْمَلُ صَالِحًا فِيمَا تَرَكْتُ ۚ كَلَّا ۚ إِنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَائِلُهَا ۖ وَمِن وَرَائِهِم بَرْزَخٌ إِلَىٰ يَوْمِ يُبْعَثُونَ (100)
Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa
فَإِذَا نُفِخَ فِي الصُّورِ فَلَا أَنسَابَ بَيْنَهُمْ يَوْمَئِذٍ وَلَا يَتَسَاءَلُونَ (101)
Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya
فَمَن ثَقُلَتْ مَوَازِينُهُ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (102)
Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima
وَمَنْ خَفَّتْ مَوَازِينُهُ فَأُولَٰئِكَ الَّذِينَ خَسِرُوا أَنفُسَهُمْ فِي جَهَنَّمَ خَالِدُونَ (103)
Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama
تَلْفَحُ وُجُوهَهُمُ النَّارُ وَهُمْ فِيهَا كَالِحُونَ (104)
Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde
أَلَمْ تَكُنْ آيَاتِي تُتْلَىٰ عَلَيْكُمْ فَكُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ (105)
Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa
قَالُوا رَبَّنَا غَلَبَتْ عَلَيْنَا شِقْوَتُنَا وَكُنَّا قَوْمًا ضَالِّينَ (106)
Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula
رَبَّنَا أَخْرِجْنَا مِنْهَا فَإِنْ عُدْنَا فَإِنَّا ظَالِمُونَ (107)
Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi
قَالَ اخْسَئُوا فِيهَا وَلَا تُكَلِّمُونِ (108)
Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange
إِنَّهُ كَانَ فَرِيقٌ مِّنْ عِبَادِي يَقُولُونَ رَبَّنَا آمَنَّا فَاغْفِرْ لَنَا وَارْحَمْنَا وَأَنتَ خَيْرُ الرَّاحِمِينَ (109)
Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna
فَاتَّخَذْتُمُوهُمْ سِخْرِيًّا حَتَّىٰ أَنسَوْكُمْ ذِكْرِي وَكُنتُم مِّنْهُمْ تَضْحَكُونَ (110)
Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera
إِنِّي جَزَيْتُهُمُ الْيَوْمَ بِمَا صَبَرُوا أَنَّهُمْ هُمُ الْفَائِزُونَ (111)
Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima
قَالَ كَمْ لَبِثْتُمْ فِي الْأَرْضِ عَدَدَ سِنِينَ (112)
(Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka
قَالُوا لَبِثْنَا يَوْمًا أَوْ بَعْضَ يَوْمٍ فَاسْأَلِ الْعَادِّينَ (113)
Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi
قَالَ إِن لَّبِثْتُمْ إِلَّا قَلِيلًا ۖ لَّوْ أَنَّكُمْ كُنتُمْ تَعْلَمُونَ (114)
Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi
أَفَحَسِبْتُمْ أَنَّمَا خَلَقْنَاكُمْ عَبَثًا وَأَنَّكُمْ إِلَيْنَا لَا تُرْجَعُونَ (115)
Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli
فَتَعَالَى اللَّهُ الْمَلِكُ الْحَقُّ ۖ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ الْعَرْشِ الْكَرِيمِ (116)
Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa
وَمَن يَدْعُ مَعَ اللَّهِ إِلَٰهًا آخَرَ لَا بُرْهَانَ لَهُ بِهِ فَإِنَّمَا حِسَابُهُ عِندَ رَبِّهِ ۚ إِنَّهُ لَا يُفْلِحُ الْكَافِرُونَ (117)
Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima
وَقُل رَّبِّ اغْفِرْ وَارْحَمْ وَأَنتَ خَيْرُ الرَّاحِمِينَ (118)
Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas