×

Surah Fussilat in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Fussilat

Translation of the Meanings of Surah Fussilat in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Fussilat translated into Ganda, Surah Fussilat in Ganda. We provide accurate translation of Surah Fussilat in Ganda - لوغندا, Verses 54 - Surah Number 41 - Page 477.

بسم الله الرحمن الرحيم

حم (1)
Ha Miim
تَنزِيلٌ مِّنَ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ (2)
(Kur’ani) bubaka obussibwa okuva ewa Katonda omusaasizi ennyo era omusaasizi owenjawulo
كِتَابٌ فُصِّلَتْ آيَاتُهُ قُرْآنًا عَرَبِيًّا لِّقَوْمٍ يَعْلَمُونَ (3)
(Kyo) kitabo, ebigambo byakyo ebyannyonnyolwa obulungi nga bisomwa, ebiri mu luwarabu (yassibwa) eri abantu abamanyi
بَشِيرًا وَنَذِيرًا فَأَعْرَضَ أَكْثَرُهُمْ فَهُمْ لَا يَسْمَعُونَ (4)
(Yakka nga) ewa amawulire agessanyu eri (abakkiriza) era nga ewa amawulire agatiisa (eri abatakkiriza) naye abasinga obungi mu bo bagyesamba olwo nno bo tebawulira
وَقَالُوا قُلُوبُنَا فِي أَكِنَّةٍ مِّمَّا تَدْعُونَا إِلَيْهِ وَفِي آذَانِنَا وَقْرٌ وَمِن بَيْنِنَا وَبَيْنِكَ حِجَابٌ فَاعْمَلْ إِنَّنَا عَامِلُونَ (5)
Nebagamba nti emitima gyaffe giri mu kibikka, tegiyinza kuwulira ekyo kyotuyitira, ate mu matu gaffe mulimu envumbo ate nga wakati waffe nawe waliwo ekyawula (n'olwekyo tetuyinza kukola bifaanagana) kale kola naffe katukule
قُلْ إِنَّمَا أَنَا بَشَرٌ مِّثْلُكُمْ يُوحَىٰ إِلَيَّ أَنَّمَا إِلَٰهُكُمْ إِلَٰهٌ وَاحِدٌ فَاسْتَقِيمُوا إِلَيْهِ وَاسْتَغْفِرُوهُ ۗ وَوَيْلٌ لِّلْمُشْرِكِينَ (6)
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad nti) mazima nze ndi muntu nga mmwe, mpeebwa obubaka nti mazima Katonda wa mmwe, Katonda omu yekka, kale mudde gyali mubwesimbu, era mumwegayirire era okubonaabona kuli eri abagatta ebintu ebirala ku Katonda
الَّذِينَ لَا يُؤْتُونَ الزَّكَاةَ وَهُم بِالْآخِرَةِ هُمْ كَافِرُونَ (7)
Abo abatatoola Zakka ate nga ddala nabo olunaku lw'enkomererp bo baluwakanya
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُمْ أَجْرٌ غَيْرُ مَمْنُونٍ (8)
Mazima abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu balina empeera etaggwawo
۞ قُلْ أَئِنَّكُمْ لَتَكْفُرُونَ بِالَّذِي خَلَقَ الْأَرْضَ فِي يَوْمَيْنِ وَتَجْعَلُونَ لَهُ أَندَادًا ۚ ذَٰلِكَ رَبُّ الْعَالَمِينَ (9)
Bagambe nti abaffe mmwe muwakanya oyo eyatonda ensi mu nnaku bbiri nemumuteekako ebisinzibwa ebirala, oyo (gwe mukola ebyo) ye mulezi w'ebitonde
وَجَعَلَ فِيهَا رَوَاسِيَ مِن فَوْقِهَا وَبَارَكَ فِيهَا وَقَدَّرَ فِيهَا أَقْوَاتَهَا فِي أَرْبَعَةِ أَيَّامٍ سَوَاءً لِّلسَّائِلِينَ (10)
Era yassa mu yo (ensi) ensozi nga asinziira ku ngulu kwayo, (olwo nno nezikka wansi) era naagissaamu omukisa era yagererera mu yo ebyokulya byayo (ebiriibwa ebiramu byonna ebigirimu, ebyo byonna yabimalira) mu nnaku nnya, (ekyo kye kyokwanukula) ekituufu eri ababuuza
ثُمَّ اسْتَوَىٰ إِلَى السَّمَاءِ وَهِيَ دُخَانٌ فَقَالَ لَهَا وَلِلْأَرْضِ ائْتِيَا طَوْعًا أَوْ كَرْهًا قَالَتَا أَتَيْنَا طَائِعِينَ (11)
Oluvanyuma yadda ku kukola eggulu nga nalyo (mu kusooka) lyali mukka, olwo nno naligamba n'ensi, nti mujje okwagala n'obutayagala, byombi nebigamba nti tuzze nga tugonze
فَقَضَاهُنَّ سَبْعَ سَمَاوَاتٍ فِي يَوْمَيْنِ وَأَوْحَىٰ فِي كُلِّ سَمَاءٍ أَمْرَهَا ۚ وَزَيَّنَّا السَّمَاءَ الدُّنْيَا بِمَصَابِيحَ وَحِفْظًا ۚ ذَٰلِكَ تَقْدِيرُ الْعَزِيزِ الْعَلِيمِ (12)
Olwo naagamaliriza nga gali eggulu musanvu mu nnaku bbiri, naalagira mu buli ggulu ne mussibwamu ebintu byamu era netuwunda eggulu eririraanye ensi n’amataala n’abakuumi, okwo nno kugera kwa nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo
فَإِنْ أَعْرَضُوا فَقُلْ أَنذَرْتُكُمْ صَاعِقَةً مِّثْلَ صَاعِقَةِ عَادٍ وَثَمُودَ (13)
Singa bawuguka (nebatakukkiriza) bagambe nti mbatiisizza ebibonerezo ebikakali okufaanana nga ebibonerezo ebyatuuka ku bantu ba A-adi ne Thamud
إِذْ جَاءَتْهُمُ الرُّسُلُ مِن بَيْنِ أَيْدِيهِمْ وَمِنْ خَلْفِهِمْ أَلَّا تَعْبُدُوا إِلَّا اللَّهَ ۖ قَالُوا لَوْ شَاءَ رَبُّنَا لَأَنزَلَ مَلَائِكَةً فَإِنَّا بِمَا أُرْسِلْتُم بِهِ كَافِرُونَ (14)
Mu kiseera ababaka bwe baabajjira nga babava mu maaso ne mabega waabwe nga bagamba nti, temusinzanga okugyako Katonda (abatakkiriza) ne bagamba nti singa Mukama omulabirizi waffe yayagala (kututumira) yandiisizza Malayika n’olwekyo mazima ffe tuwakanya ebyo bye mutumiddwa nabyo
فَأَمَّا عَادٌ فَاسْتَكْبَرُوا فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَقَالُوا مَنْ أَشَدُّ مِنَّا قُوَّةً ۖ أَوَلَمْ يَرَوْا أَنَّ اللَّهَ الَّذِي خَلَقَهُمْ هُوَ أَشَدُّ مِنْهُمْ قُوَّةً ۖ وَكَانُوا بِآيَاتِنَا يَجْحَدُونَ (15)
Bo abantu ba A-adi anti beekuza mu nsi mu butali butuufu, era nebagamba nti ani atusinga amaanyi? abaffe baali tebakiraba nti mazima Katonda oyo eyabatonda, yye yaabasinga amaanyi. Okukola ekyo baali bawakanya obubonero bwaffe
فَأَرْسَلْنَا عَلَيْهِمْ رِيحًا صَرْصَرًا فِي أَيَّامٍ نَّحِسَاتٍ لِّنُذِيقَهُمْ عَذَابَ الْخِزْيِ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ وَلَعَذَابُ الْآخِرَةِ أَخْزَىٰ ۖ وَهُمْ لَا يُنصَرُونَ (16)
Netubasindikira kibuyaga owamaanyi mu nnaku ezaali zijjudde ebizibu tulyoke tubakombese ku bibonerezo ebyobuswavu mu bulamu obwensi, so nga ate ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga okuswaza era bo tebagenda kutaasibwa
وَأَمَّا ثَمُودُ فَهَدَيْنَاهُمْ فَاسْتَحَبُّوا الْعَمَىٰ عَلَى الْهُدَىٰ فَأَخَذَتْهُمْ صَاعِقَةُ الْعَذَابِ الْهُونِ بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (17)
Bo aba Thamud twabalaga ekkubo ly'obulungamu naye bo nebakulembeza obwamuzibe ku bulungamu, olwo nno okubwatuka kwe bibonerezo ebinyomesa ne kubatuukako olwebyo bye baakolanga
وَنَجَّيْنَا الَّذِينَ آمَنُوا وَكَانُوا يَتَّقُونَ (18)
Era twawonya abakkiriza era nga baali batya Katonda
وَيَوْمَ يُحْشَرُ أَعْدَاءُ اللَّهِ إِلَى النَّارِ فَهُمْ يُوزَعُونَ (19)
Ate olunaku abalabe ba Katonda lwe balikunganyizibwa nga batwalibwa eri omuliro awo nno nga bateereddwa mu bibinja
حَتَّىٰ إِذَا مَا جَاءُوهَا شَهِدَ عَلَيْهِمْ سَمْعُهُمْ وَأَبْصَارُهُمْ وَجُلُودُهُم بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (20)
Bwe baligutuukako, amatu gaabwe n’amaaso gaabwe n’amaliba gaabwe, biribawaako obujulizi kwebyo bye baakolanga
وَقَالُوا لِجُلُودِهِمْ لِمَ شَهِدتُّمْ عَلَيْنَا ۖ قَالُوا أَنطَقَنَا اللَّهُ الَّذِي أَنطَقَ كُلَّ شَيْءٍ وَهُوَ خَلَقَكُمْ أَوَّلَ مَرَّةٍ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (21)
Baligamba amaliba gaabwe (ate mmwe) lwaki mutuwaddeko obujulizi? galigamba nti Katonda atwatuzza oyo ayatuza buli kintu, era yye ye yabatonda omulundi ogwasooka era nga gyali gye mulizzibwa
وَمَا كُنتُمْ تَسْتَتِرُونَ أَن يَشْهَدَ عَلَيْكُمْ سَمْعُكُمْ وَلَا أَبْصَارُكُمْ وَلَا جُلُودُكُمْ وَلَٰكِن ظَنَنتُمْ أَنَّ اللَّهَ لَا يَعْلَمُ كَثِيرًا مِّمَّا تَعْمَلُونَ (22)
Era (bwemwali ku nsi) temwekwekako olw'okutya amatu ga mmwe wadde amaliba ga mmwe okubawaako obujulizi, wabula mwalowooza nti mazima Katonda tamanyi bingi mwebyo bye mukola
وَذَٰلِكُمْ ظَنُّكُمُ الَّذِي ظَنَنتُم بِرَبِّكُمْ أَرْدَاكُمْ فَأَصْبَحْتُم مِّنَ الْخَاسِرِينَ (23)
Okwo nno okulowooza kwa mmwe, okwo kwe mwalowooza ku Mukama omulabirizi wa mmwe, kwe kwa battattana olwo nno nemufuuka abo mu bafafaganirwa
فَإِن يَصْبِرُوا فَالنَّارُ مَثْوًى لَّهُمْ ۖ وَإِن يَسْتَعْتِبُوا فَمَا هُم مِّنَ الْمُعْتَبِينَ (24)
Ne bwe banagumikiriza, omuliro bwe butuulo bwabwe, era ne bwebanasaba okubaddiramu (mbu bazzibwe ku nsi bakole ebirungi) ssi bakuddirwamu
۞ وَقَيَّضْنَا لَهُمْ قُرَنَاءَ فَزَيَّنُوا لَهُم مَّا بَيْنَ أَيْدِيهِمْ وَمَا خَلْفَهُمْ وَحَقَّ عَلَيْهِمُ الْقَوْلُ فِي أُمَمٍ قَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِهِم مِّنَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ ۖ إِنَّهُمْ كَانُوا خَاسِرِينَ (25)
Twabateerawo ba nnaabwe (abababuza) olwo nno ne babalabisiza bulungi (ebibi) ebiri mu maaso gaabwe ne mabega waabwe, ekigambo (ekyokubonerezebwa) nekibakakatako, ne bayingira mu bibiina (ebibi) ebya Majinni n’abantu ebya kulembera, mazima bo baali abafaafaganirwa
وَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لَا تَسْمَعُوا لِهَٰذَا الْقُرْآنِ وَالْغَوْا فِيهِ لَعَلَّكُمْ تَغْلِبُونَ (26)
Abo abaakafuwala nebagamba nti temuwuliriza Kur’ani eno wabula mujizannyiremu oba olyawo ne muwangula
فَلَنُذِيقَنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا عَذَابًا شَدِيدًا وَلَنَجْزِيَنَّهُمْ أَسْوَأَ الَّذِي كَانُوا يَعْمَلُونَ (27)
Ddala tugenda kukombya abo abaakafuwala ku bibonerezo ebikakali era tugenda kubasasulira ddala obubi bwebyo bye baalinga bakola
ذَٰلِكَ جَزَاءُ أَعْدَاءِ اللَّهِ النَّارُ ۖ لَهُمْ فِيهَا دَارُ الْخُلْدِ ۖ جَزَاءً بِمَا كَانُوا بِآيَاتِنَا يَجْحَدُونَ (28)
Ogwo omuliro yempeera ya balabe ba Katonda, balina mu gwo obutuulo obw'olubeerera nga eyo yempeera (gye balifuna) olwokubanga baawakanya ebigambo byaffe
وَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا رَبَّنَا أَرِنَا اللَّذَيْنِ أَضَلَّانَا مِنَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ نَجْعَلْهُمَا تَحْتَ أَقْدَامِنَا لِيَكُونَا مِنَ الْأَسْفَلِينَ (29)
Abo abaakafuwala baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulage mu Majinni n’abantu abo abaatubuza tubasse wakati w'ebigere byaffe balyoke babe mu ba wansi (ddala)
إِنَّ الَّذِينَ قَالُوا رَبُّنَا اللَّهُ ثُمَّ اسْتَقَامُوا تَتَنَزَّلُ عَلَيْهِمُ الْمَلَائِكَةُ أَلَّا تَخَافُوا وَلَا تَحْزَنُوا وَأَبْشِرُوا بِالْجَنَّةِ الَّتِي كُنتُمْ تُوعَدُونَ (30)
Mazima abo abagamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi waffe oluvanyuma ne babeera beesimbu, ba Malayika bakka (nga bajja) gyebali (nga babagamba nti) temutya era temweraliikirira era musanyuke olw’ejjana eyo gye mwalinga mulagaanyisibwa
نَحْنُ أَوْلِيَاؤُكُمْ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَفِي الْآخِرَةِ ۖ وَلَكُمْ فِيهَا مَا تَشْتَهِي أَنفُسُكُمْ وَلَكُمْ فِيهَا مَا تَدَّعُونَ (31)
Ffe (Ba Malayika) ffe banna mmwe mu bulamu obwensi ne mu bulamu obw'enkomerero, era mulina okufuna nga muli mu yo, ebyo emyooyo gya mmwe bye gyagala era nga bwe mulina okufuna ebyo bye musaba
نُزُلًا مِّنْ غَفُورٍ رَّحِيمٍ (32)
(Ebyo) nga bugenyi obuva ewa (Katonda) omusonyiyi ennyo omusaasizi
وَمَنْ أَحْسَنُ قَوْلًا مِّمَّن دَعَا إِلَى اللَّهِ وَعَمِلَ صَالِحًا وَقَالَ إِنَّنِي مِنَ الْمُسْلِمِينَ (33)
Ani ow'ebigambo ebirungi okusinga oyo akowoola (abantu) okudda eri Katonda era naakola emirimu emirongoofu era naagamba nti mazima nze ndi mu beewa ewa Katonda
وَلَا تَسْتَوِي الْحَسَنَةُ وَلَا السَّيِّئَةُ ۚ ادْفَعْ بِالَّتِي هِيَ أَحْسَنُ فَإِذَا الَّذِي بَيْنَكَ وَبَيْنَهُ عَدَاوَةٌ كَأَنَّهُ وَلِيٌّ حَمِيمٌ (34)
Era ekirungi n'ekibi tebyenkana, ggyawo (ekibi) ng’okozesa ekyo ekisinga obulungi, onogenda okulaba nga oyo awabadde wakatiiwo naye obulabe nga ddala yye ye womukwano ffa nfe
وَمَا يُلَقَّاهَا إِلَّا الَّذِينَ صَبَرُوا وَمَا يُلَقَّاهَا إِلَّا ذُو حَظٍّ عَظِيمٍ (35)
Era (ekyo) tebayinza ku kiweebwa okugyako abo abagumikiriza era tayinza kukiweebwa okugyako ow'omukisa ogwamaanyi
وَإِمَّا يَنزَغَنَّكَ مِنَ الشَّيْطَانِ نَزْغٌ فَاسْتَعِذْ بِاللَّهِ ۖ إِنَّهُ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (36)
Wabula singa wabaawo ekikulabankanya nga kiva mu Sitane, oteekwa okusaba obukuumi ewa Katonda, mazima yye yaawulira ennyo, omumanyi
وَمِنْ آيَاتِهِ اللَّيْلُ وَالنَّهَارُ وَالشَّمْسُ وَالْقَمَرُ ۚ لَا تَسْجُدُوا لِلشَّمْسِ وَلَا لِلْقَمَرِ وَاسْجُدُوا لِلَّهِ الَّذِي خَلَقَهُنَّ إِن كُنتُمْ إِيَّاهُ تَعْبُدُونَ (37)
Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Katonda oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza
فَإِنِ اسْتَكْبَرُوا فَالَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ يُسَبِّحُونَ لَهُ بِاللَّيْلِ وَالنَّهَارِ وَهُمْ لَا يَسْأَمُونَ ۩ (38)
Naye bwe baneekuza (ssi kikulu) anti abo abali ewa Mukama omulabirizi wo bamutendereza ekiro n’emisana era nga bo tebakoowa
وَمِنْ آيَاتِهِ أَنَّكَ تَرَى الْأَرْضَ خَاشِعَةً فَإِذَا أَنزَلْنَا عَلَيْهَا الْمَاءَ اهْتَزَّتْ وَرَبَتْ ۚ إِنَّ الَّذِي أَحْيَاهَا لَمُحْيِي الْمَوْتَىٰ ۚ إِنَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (39)
Era mu bubonero bwe (kwe kuba nti) mazima ggwe olaba ensi nga nkalu ketugitonnyesaako amazzi yenyeenya (nefuuka yakiragala) era neyongera okumeza ebimera. Mazima oyo agizzaamu obulamu (neeba ngimu) ddala wa kuzuukiza abafu mazima yye muyinza wa buli kintu kyonna
إِنَّ الَّذِينَ يُلْحِدُونَ فِي آيَاتِنَا لَا يَخْفَوْنَ عَلَيْنَا ۗ أَفَمَن يُلْقَىٰ فِي النَّارِ خَيْرٌ أَم مَّن يَأْتِي آمِنًا يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۚ اعْمَلُوا مَا شِئْتُمْ ۖ إِنَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ بَصِيرٌ (40)
Mazima abo abawalaaza empaka mu bigambo byaffe tebatwekwese, abaffe oyo alisuulwa mu muliro yaasinga obulungi oba oyo alijja ku lunaku lw’enkomerero ng’ali mirembe, (kale) mukole bye mwagala mazima yye (Katonda) alabira ddala ebyo bye mukola
إِنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا بِالذِّكْرِ لَمَّا جَاءَهُمْ ۖ وَإِنَّهُ لَكِتَابٌ عَزِيزٌ (41)
Mazima abo abawakanya okubuulirira (Kur’ani) bwe kwa bajjira (kalibajjutuka) era mazima yo (Kur’ani) kitabo kya kitiibwa
لَّا يَأْتِيهِ الْبَاطِلُ مِن بَيْنِ يَدَيْهِ وَلَا مِنْ خَلْفِهِ ۖ تَنزِيلٌ مِّنْ حَكِيمٍ حَمِيدٍ (42)
Obutali butuufu tebuyinza kujijjira kuva mu maaso gaayo, wadde mabega waayo, essibwa nga eva wa Mugoba nsonga atenderezebwa ennyo (Katonda)
مَّا يُقَالُ لَكَ إِلَّا مَا قَدْ قِيلَ لِلرُّسُلِ مِن قَبْلِكَ ۚ إِنَّ رَبَّكَ لَذُو مَغْفِرَةٍ وَذُو عِقَابٍ أَلِيمٍ (43)
Ggwe (Muhammad) tewali bikugambwa okugyako nga bya gambwa dda ababaka abakukulembera. Mazima Mukama omulabiriziwo ye nannyini kusonyiwa era ye nannyini bibonerezo ebiruma
وَلَوْ جَعَلْنَاهُ قُرْآنًا أَعْجَمِيًّا لَّقَالُوا لَوْلَا فُصِّلَتْ آيَاتُهُ ۖ أَأَعْجَمِيٌّ وَعَرَبِيٌّ ۗ قُلْ هُوَ لِلَّذِينَ آمَنُوا هُدًى وَشِفَاءٌ ۖ وَالَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ فِي آذَانِهِمْ وَقْرٌ وَهُوَ عَلَيْهِمْ عَمًى ۚ أُولَٰئِكَ يُنَادَوْنَ مِن مَّكَانٍ بَعِيدٍ (44)
Singa twafuula Kur’ani eno nga ya lulimi olutali luwarabu (abawarabu) ddala baligambye nti singa ebigambo byayo byannyonnyolwa (netuba nga tubitegeera, kati ate) eri mu lumimi olutali luwarabu ate nga ekkira ku muwarabu, bagambe nti yyo ku bakkiriza kya kulungama era kya kuwonya, ate abo abatakkiriza amatu gaabwe galimu envumbo, olwo nno yo ku bo buzibe bwa maaso, abo bakowoolwa okuva mu kifo ekyewala (n'olwekyo ssi bangu ba kuwuliza)
وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْكِتَابَ فَاخْتُلِفَ فِيهِ ۗ وَلَوْلَا كَلِمَةٌ سَبَقَتْ مِن رَّبِّكَ لَقُضِيَ بَيْنَهُمْ ۚ وَإِنَّهُمْ لَفِي شَكٍّ مِّنْهُ مُرِيبٍ (45)
Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa ssi kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo walisaliddwawo wakati waabwe mubwangu, era mazima nabo (abatakukkiriza ggwe Nabbi Muhammad) bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana mu yo (Kur’ani)
مَّنْ عَمِلَ صَالِحًا فَلِنَفْسِهِ ۖ وَمَنْ أَسَاءَ فَعَلَيْهَا ۗ وَمَا رَبُّكَ بِظَلَّامٍ لِّلْعَبِيدِ (46)
Oyo akola omulimu omulongoofu akolera mwoyo gwe, ate oyo ayonoona akabi kakyo kadda ku gwo, ate nga Mukama omulabirizi wo si mulyazamanyi wa baddu (be)
۞ إِلَيْهِ يُرَدُّ عِلْمُ السَّاعَةِ ۚ وَمَا تَخْرُجُ مِن ثَمَرَاتٍ مِّنْ أَكْمَامِهَا وَمَا تَحْمِلُ مِنْ أُنثَىٰ وَلَا تَضَعُ إِلَّا بِعِلْمِهِ ۚ وَيَوْمَ يُنَادِيهِمْ أَيْنَ شُرَكَائِي قَالُوا آذَنَّاكَ مَا مِنَّا مِن شَهِيدٍ (47)
Gyali okumanya olunaku lw'enkomerero gye kuzzibwa, ebibala tebiva mu bikuta byabyo, era ekikazi tekifuna lubuto wadde okuzaala wabula ku lwakumanya kwe, n’olunaku (Katonda) lwalibakowoola (ng'a babuuza) nti baliwa abo bemwangattako? baligamba nti tukutegeeza nti tewali nomu mu ffe ayinza kuba mujulizi (kw'ekyo ekyokuba nti olina ebikugattibwako)
وَضَلَّ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَدْعُونَ مِن قَبْلُ ۖ وَظَنُّوا مَا لَهُم مِّن مَّحِيصٍ (48)
Era biribabulako ebyo bye baasinzanga oluberyeberye, era bagenda kukakasa nti tebalina buddukiro
لَّا يَسْأَمُ الْإِنسَانُ مِن دُعَاءِ الْخَيْرِ وَإِن مَّسَّهُ الشَّرُّ فَيَئُوسٌ قَنُوطٌ (49)
Omuntu takoowa kusaba (okufuna) obulungi naye akabi bwe kamutuukako aggwamu essuubi naakutuka n'okusuubira
وَلَئِنْ أَذَقْنَاهُ رَحْمَةً مِّنَّا مِن بَعْدِ ضَرَّاءَ مَسَّتْهُ لَيَقُولَنَّ هَٰذَا لِي وَمَا أَظُنُّ السَّاعَةَ قَائِمَةً وَلَئِن رُّجِعْتُ إِلَىٰ رَبِّي إِنَّ لِي عِندَهُ لَلْحُسْنَىٰ ۚ فَلَنُنَبِّئَنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا بِمَا عَمِلُوا وَلَنُذِيقَنَّهُم مِّنْ عَذَابٍ غَلِيظٍ (50)
Naye bwetumukombya ku kusaasira okuva gye tuli oluvanyuma lwakabi akaba kamutuseeko, ddala agamba nti kino nkifunye lwa kukola kwange era ssirowooza nti olunaku lw'enkomerero lulibaawo (naye) ne bwendizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange, mazima nze ndiba nina okufuna ebirungi waali, kale nno ddala tugenda kutegeeza abo abakafuwala, ebyo bye baakola era ddala tugenda kubakombesa ku bibonerezo ebizito ennyo
وَإِذَا أَنْعَمْنَا عَلَى الْإِنسَانِ أَعْرَضَ وَنَأَىٰ بِجَانِبِهِ وَإِذَا مَسَّهُ الشَّرُّ فَذُو دُعَاءٍ عَرِيضٍ (51)
Bwetugabira omuntu ebyengera awuguka (naava ku ddiini) nadda ku bbali (nga takyayagala kubeera na bantu balala) olwokwekuza naye akabi bwe kamutuukako (olwo adda eri Katonda) era n'aba nga asaba okusaba okutakoma
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِن كَانَ مِنْ عِندِ اللَّهِ ثُمَّ كَفَرْتُم بِهِ مَنْ أَضَلُّ مِمَّنْ هُوَ فِي شِقَاقٍ بَعِيدٍ (52)
Bagambe nti mukiraba nti singa ddala (Kur’ani) yava wa Katonda oluvanyuma nemugiwakanya, ani mubuze asinga oyo ali mu kuwakana okuli ewala (n’amazima)
سَنُرِيهِمْ آيَاتِنَا فِي الْآفَاقِ وَفِي أَنفُسِهِمْ حَتَّىٰ يَتَبَيَّنَ لَهُمْ أَنَّهُ الْحَقُّ ۗ أَوَلَمْ يَكْفِ بِرَبِّكَ أَنَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ شَهِيدٌ (53)
Tujja kubalaga obubonero bwaffe mu bwengula ne mu bo bennyini okutuusiza ddala amazima lweganabeeyoleka nti ddala yyo (Kur'ani) ge mazima, abaffe tekimala okuba nga Mukama omulabirizi wo nga ddala yye abaawo (nga kikolebwa)
أَلَا إِنَّهُمْ فِي مِرْيَةٍ مِّن لِّقَاءِ رَبِّهِمْ ۗ أَلَا إِنَّهُ بِكُلِّ شَيْءٍ مُّحِيطٌ (54)
Abange mazima bo bali mu kubuusabuusa okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe, abange (mukimanye nti) mazima yye yetoolodde (mu kumanya kwe) buli kintu
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas