The Quran in Ganda - Surah Fatiha translated into Ganda, Surah Al-Fatihah in Ganda. We provide accurate translation of Surah Fatiha in Ganda - لوغندا, Verses 7 - Surah Number 1 - Page 1.
بِسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ (1) Ku lw’erinnya lya Katonda omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo |
الْحَمْدُ لِلَّهِ رَبِّ الْعَالَمِينَ (2) Amatendo gonna ga Katonda Omulezi w’ebitonde byonna |
الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ (3) Omusaasizi oweekisa ekingi, omusaasizi oweekisa ekyenjawulo |
مَالِكِ يَوْمِ الدِّينِ (4) Nannyini buyinza yekka ku lunaku lw'okusasula (olunaku lw'enkomerero) |
إِيَّاكَ نَعْبُدُ وَإِيَّاكَ نَسْتَعِينُ (5) Gwe wekka gwe tusinza era ggwe wekka gwetusaba okutubeera |
اهْدِنَا الصِّرَاطَ الْمُسْتَقِيمَ (6) Tulungamye mu kkubo eggolokofu |
صِرَاطَ الَّذِينَ أَنْعَمْتَ عَلَيْهِمْ غَيْرِ الْمَغْضُوبِ عَلَيْهِمْ وَلَا الضَّالِّينَ (7) Ekkubo ly’abo bewagabira ebyengera, abatali abo bewasunguwalira era abatali abo abaabula |