×

Surah Hud in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Hud

Translation of the Meanings of Surah Hud in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Hud translated into Ganda, Surah Hud in Ganda. We provide accurate translation of Surah Hud in Ganda - لوغندا, Verses 123 - Surah Number 11 - Page 221.

بسم الله الرحمن الرحيم

الر ۚ كِتَابٌ أُحْكِمَتْ آيَاتُهُ ثُمَّ فُصِّلَتْ مِن لَّدُنْ حَكِيمٍ خَبِيرٍ (1)
Alif Laam Raa, ekitabo kino e bigambo by'akyo byasengekebwa oluvanyuma nebinnyonnyolwa mu bujjuvu okuva ewa Katonda akola buli kintu ng’asinziira ku nsonga ng’ate amanyi mu bujjuvu buli kintu
أَلَّا تَعْبُدُوا إِلَّا اللَّهَ ۚ إِنَّنِي لَكُم مِّنْهُ نَذِيرٌ وَبَشِيرٌ (2)
Kitegeeza abantu nti temusinzanga kintu kyonna wabula Katonda yekka mazima nze gye muli ndi mutiisa (ku bibonerezo bye) era omusanyusa (olw'emperaye eri abalongoosa)
وَأَنِ اسْتَغْفِرُوا رَبَّكُمْ ثُمَّ تُوبُوا إِلَيْهِ يُمَتِّعْكُم مَّتَاعًا حَسَنًا إِلَىٰ أَجَلٍ مُّسَمًّى وَيُؤْتِ كُلَّ ذِي فَضْلٍ فَضْلَهُ ۖ وَإِن تَوَلَّوْا فَإِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ كَبِيرٍ (3)
(Era kibagamba) nti mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe era mumwenenyeze olwo nno ajja kubeeyagaza olweyagaza olulungi okutuusa ku kiseera ekigere era buli oyo yenna ateekeddwa okufuna obulungi agenda kumuwa obulungibwe, naye bwe muva ku ekyo mazima nze mbatiirira ebibonerezo by'olunaku oluzibu
إِلَى اللَّهِ مَرْجِعُكُمْ ۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (4)
Eri Katonda y'eri obuddo bwa mmwe ate yye nga bulijjo muyinza ku buli kintu
أَلَا إِنَّهُمْ يَثْنُونَ صُدُورَهُمْ لِيَسْتَخْفُوا مِنْهُ ۚ أَلَا حِينَ يَسْتَغْشُونَ ثِيَابَهُمْ يَعْلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعْلِنُونَ ۚ إِنَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (5)
Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Katonda amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba
۞ وَمَا مِن دَابَّةٍ فِي الْأَرْضِ إِلَّا عَلَى اللَّهِ رِزْقُهَا وَيَعْلَمُ مُسْتَقَرَّهَا وَمُسْتَوْدَعَهَا ۚ كُلٌّ فِي كِتَابٍ مُّبِينٍ (6)
Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Katonda, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu
وَهُوَ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ وَكَانَ عَرْشُهُ عَلَى الْمَاءِ لِيَبْلُوَكُمْ أَيُّكُمْ أَحْسَنُ عَمَلًا ۗ وَلَئِن قُلْتَ إِنَّكُم مَّبْعُوثُونَ مِن بَعْدِ الْمَوْتِ لَيَقُولَنَّ الَّذِينَ كَفَرُوا إِنْ هَٰذَا إِلَّا سِحْرٌ مُّبِينٌ (7)
Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammad) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu
وَلَئِنْ أَخَّرْنَا عَنْهُمُ الْعَذَابَ إِلَىٰ أُمَّةٍ مَّعْدُودَةٍ لَّيَقُولُنَّ مَا يَحْبِسُهُ ۗ أَلَا يَوْمَ يَأْتِيهِمْ لَيْسَ مَصْرُوفًا عَنْهُمْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (8)
Singa tulindiriza ku bo ebibonerezo okutuuka ekiseera ekigere bajja kugambira ddala nti ate ki ekibigaana okujja, abange! olunaku lwe biribajjira si bya kubaggyibwako, era biribeetoloola ebyo bye baajeejanga
وَلَئِنْ أَذَقْنَا الْإِنسَانَ مِنَّا رَحْمَةً ثُمَّ نَزَعْنَاهَا مِنْهُ إِنَّهُ لَيَئُوسٌ كَفُورٌ (9)
Omuntu bwe tumukombesa ku kusaasira okuva gye tuli ate oluvanyuma ne tukumuggyako mazima yye akutuka n'okusuubira n'akaafuwala
وَلَئِنْ أَذَقْنَاهُ نَعْمَاءَ بَعْدَ ضَرَّاءَ مَسَّتْهُ لَيَقُولَنَّ ذَهَبَ السَّيِّئَاتُ عَنِّي ۚ إِنَّهُ لَفَرِحٌ فَخُورٌ (10)
Naye ate bwe tumukombesa ku byengera oluvanyuma lw'ebizibu ebiba bimutuuseeko ajja kugambira ddala nti obuzito bunvuddeko, mazima yye aba musanyufu eyeeraga
إِلَّا الَّذِينَ صَبَرُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ أُولَٰئِكَ لَهُم مَّغْفِرَةٌ وَأَجْرٌ كَبِيرٌ (11)
Okugyako abo abagumiikiriza ne bakola emirimu emirongoofu balina ekisonyiwo n'empeera ennene
فَلَعَلَّكَ تَارِكٌ بَعْضَ مَا يُوحَىٰ إِلَيْكَ وَضَائِقٌ بِهِ صَدْرُكَ أَن يَقُولُوا لَوْلَا أُنزِلَ عَلَيْهِ كَنزٌ أَوْ جَاءَ مَعَهُ مَلَكٌ ۚ إِنَّمَا أَنتَ نَذِيرٌ ۚ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ وَكِيلٌ (12)
Olabika nga oli waakuleka ebimu ebissibwa gyoli, era ekyo nga kikunyiga mu kifubakyo olw'okuba nti bagamba nti singa aweebwa eggwanika oba Malayika najja naye. Mazima ggwe oli mutiisa. Ate nga Katonda ye mweyimirize ku buli kintu
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۖ قُلْ فَأْتُوا بِعَشْرِ سُوَرٍ مِّثْلِهِ مُفْتَرَيَاتٍ وَادْعُوا مَنِ اسْتَطَعْتُم مِّن دُونِ اللَّهِ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (13)
Oba bagamba nti (Kur’ani eno Muhammad) yagigunjawo bagambe nti kale muleeteeyo essuula kkumi enjiiye ezifaanana (Kur’ani) era ng'oggyeko Katonda muyite yenna gwe musobodde (abayambeko) bwe muba nga mwogera mazima
فَإِلَّمْ يَسْتَجِيبُوا لَكُمْ فَاعْلَمُوا أَنَّمَا أُنزِلَ بِعِلْمِ اللَّهِ وَأَن لَّا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ فَهَلْ أَنتُم مُّسْلِمُونَ (14)
Bwe bataabaanukule, olwo nno mumanye nti mazima yyo (Kur’ani) yassibwa na kumanya kwa Katonda era tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, abaffe mmwe mwewaddeyo ewa Katonda (ne musiramuka)
مَن كَانَ يُرِيدُ الْحَيَاةَ الدُّنْيَا وَزِينَتَهَا نُوَفِّ إِلَيْهِمْ أَعْمَالَهُمْ فِيهَا وَهُمْ فِيهَا لَا يُبْخَسُونَ (15)
Oyo yenna ayagala obulamu obw'ensi n'ebyokwewunda kwayo tubasasula mu bujjuvu emirimu gya bwe mu yo era nga bo muyo tebaseerwa
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ لَيْسَ لَهُمْ فِي الْآخِرَةِ إِلَّا النَّارُ ۖ وَحَبِطَ مَا صَنَعُوا فِيهَا وَبَاطِلٌ مَّا كَانُوا يَعْمَلُونَ (16)
Abo beebo abatalina ku nkomerero kintu kyonna okugyako omuliro, era byonna bye bakola ku nsi nebitabalibwa, bye baakolanga byalinga byonoonefu
أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةٍ مِّن رَّبِّهِ وَيَتْلُوهُ شَاهِدٌ مِّنْهُ وَمِن قَبْلِهِ كِتَابُ مُوسَىٰ إِمَامًا وَرَحْمَةً ۚ أُولَٰئِكَ يُؤْمِنُونَ بِهِ ۚ وَمَن يَكْفُرْ بِهِ مِنَ الْأَحْزَابِ فَالنَّارُ مَوْعِدُهُ ۚ فَلَا تَكُ فِي مِرْيَةٍ مِّنْهُ ۚ إِنَّهُ الْحَقُّ مِن رَّبِّكَ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَ النَّاسِ لَا يُؤْمِنُونَ (17)
Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza
وَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا ۚ أُولَٰئِكَ يُعْرَضُونَ عَلَىٰ رَبِّهِمْ وَيَقُولُ الْأَشْهَادُ هَٰؤُلَاءِ الَّذِينَ كَذَبُوا عَلَىٰ رَبِّهِمْ ۚ أَلَا لَعْنَةُ اللَّهِ عَلَى الظَّالِمِينَ (18)
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo agunja obulimba ku Katonda! abo bagenda kwanjulwa ewa Mukama omulabirizi waabwe nti abo baawaayiriza Mukama Katonda Omulabirizi waabwe. Abange ekibonerezo kya Katonda kibeere ku beeyisa obubi
الَّذِينَ يَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ اللَّهِ وَيَبْغُونَهَا عِوَجًا وَهُم بِالْآخِرَةِ هُمْ كَافِرُونَ (19)
Abo abaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda ne babaagaliza kukoleramu bikyamu, era nga nabo olunaku lw'enkomerero baluwakanya
أُولَٰئِكَ لَمْ يَكُونُوا مُعْجِزِينَ فِي الْأَرْضِ وَمَا كَانَ لَهُم مِّن دُونِ اللَّهِ مِنْ أَوْلِيَاءَ ۘ يُضَاعَفُ لَهُمُ الْعَذَابُ ۚ مَا كَانُوا يَسْتَطِيعُونَ السَّمْعَ وَمَا كَانُوا يُبْصِرُونَ (20)
Abo tebaali ba kulemera ku nsi, era ng'oggyeko Katonda tebalinaayo ba mukwano balala bayinza kubawonya, ebibonerezo bya bwe bigenda kwongezebwamu anti baali tebasobola kuwulira era nga bwe baali tebalaba
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ خَسِرُوا أَنفُسَهُمْ وَضَلَّ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَفْتَرُونَ (21)
Abo be baafaafaganirwa emyoyo gya bwe ne bibaggwako bye baayiiyanga
لَا جَرَمَ أَنَّهُمْ فِي الْآخِرَةِ هُمُ الْأَخْسَرُونَ (22)
Kikakafu ddala bbo ku lunaku lw'enkomerero be balifaafaganirwa ennyo
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ وَأَخْبَتُوا إِلَىٰ رَبِّهِمْ أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (23)
Mazima abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu ne bamenyekera Mukama omulabirizi waabwe abo be ba nannyini jjana, bo mu yo ba kutuulamu bugenderevu
۞ مَثَلُ الْفَرِيقَيْنِ كَالْأَعْمَىٰ وَالْأَصَمِّ وَالْبَصِيرِ وَالسَّمِيعِ ۚ هَلْ يَسْتَوِيَانِ مَثَلًا ۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ (24)
Ekifaananyi ky'ebibinja ebibiri (ebyogeddwako waggulu) kiringa ekya muzibe ne kiggala n'oyo alaba era nga awulira abaffe balabika nti bafaanana temwebuulirira
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا نُوحًا إِلَىٰ قَوْمِهِ إِنِّي لَكُمْ نَذِيرٌ مُّبِينٌ (25)
Mazima twatuma Nuhu eri abantube (n'abagamba) nti mazima nze ndi mutiisa wa mmwe omweyolefu
أَن لَّا تَعْبُدُوا إِلَّا اللَّهَ ۖ إِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ أَلِيمٍ (26)
(Mbategeeza) nti temusinza kintu kyonna okugyako Katonda mazima nze mbatiiriddeko e bibonerezo by'olunaku olw'okuluma obugigi
فَقَالَ الْمَلَأُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِن قَوْمِهِ مَا نَرَاكَ إِلَّا بَشَرًا مِّثْلَنَا وَمَا نَرَاكَ اتَّبَعَكَ إِلَّا الَّذِينَ هُمْ أَرَاذِلُنَا بَادِيَ الرَّأْيِ وَمَا نَرَىٰ لَكُمْ عَلَيْنَا مِن فَضْلٍ بَلْ نَظُنُّكُمْ كَاذِبِينَ (27)
Abakungu abo abaakaafuwala mu bantube ne bagamba nti tetukulaba ggwe okugyako okuba nti oli muntu nga ffe, era tetulaba abakugoberedde okugyako ab'awansi mu ffe ab'endowooza entono, mwenna tetubalabamu nkizo yonna ku ffe wabula tubalowooza kuba balimba
قَالَ يَا قَوْمِ أَرَأَيْتُمْ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٍ مِّن رَّبِّي وَآتَانِي رَحْمَةً مِّنْ عِندِهِ فَعُمِّيَتْ عَلَيْكُمْ أَنُلْزِمُكُمُوهَا وَأَنتُمْ لَهَا كَارِهُونَ (28)
Nuhu naagamba nti abange bantu bange mulaba mutya singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange era nampa okusaasira okuva gyali naye mmwe ekyo ne mutakiraba, abaffe tusobola okukibawaliriza ng’ate mmwe temukyagala
وَيَا قَوْمِ لَا أَسْأَلُكُمْ عَلَيْهِ مَالًا ۖ إِنْ أَجْرِيَ إِلَّا عَلَى اللَّهِ ۚ وَمَا أَنَا بِطَارِدِ الَّذِينَ آمَنُوا ۚ إِنَّهُم مُّلَاقُو رَبِّهِمْ وَلَٰكِنِّي أَرَاكُمْ قَوْمًا تَجْهَلُونَ (29)
Era abange mmwe abantu bange (kye mbagamba) si kibasabirako sente, empeera yange teri wantu wonna okugyako ewa Katonda (era nnyaniriza abo bonna ababa bangoberedde) era siri nze w'akugoba abo abakkiriza (ne bwe bataba ba bitiibwa) mazima ddala bo baakusisinkana Mukama omulabirizi waabwe naye mazima ddala nze mbabala mmwe nga muli bantu abatamanyi
وَيَا قَوْمِ مَن يَنصُرُنِي مِنَ اللَّهِ إِن طَرَدتُّهُمْ ۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ (30)
Era abange bantu bange ani ayinza okuntaasa ku Katonda bwemba mbagobye, abaffe temujjukira
وَلَا أَقُولُ لَكُمْ عِندِي خَزَائِنُ اللَّهِ وَلَا أَعْلَمُ الْغَيْبَ وَلَا أَقُولُ إِنِّي مَلَكٌ وَلَا أَقُولُ لِلَّذِينَ تَزْدَرِي أَعْيُنُكُمْ لَن يُؤْتِيَهُمُ اللَّهُ خَيْرًا ۖ اللَّهُ أَعْلَمُ بِمَا فِي أَنفُسِهِمْ ۖ إِنِّي إِذًا لَّمِنَ الظَّالِمِينَ (31)
Era siyinza kubagamba (mmwe) nti nina amawanika ga Katonda, era simanyi byekusifu, sigamba nti mazima nze ndi Malayika era sigamba abo amaaso ga mmwe begatawa kitiibwa nti Katonda tagenda kubawa birungi, Katonda y'amanyidde ddala ebyo ebiri mu mitima gya bwe, n'olwekyo mazima nze nemmala nkikola ddala mbeera mu beeyisa obubi
قَالُوا يَا نُوحُ قَدْ جَادَلْتَنَا فَأَكْثَرْتَ جِدَالَنَا فَأْتِنَا بِمَا تَعِدُنَا إِن كُنتَ مِنَ الصَّادِقِينَ (32)
Nebagamba nti owange Nuhu mazima otukaayanyizza n'oyitiriza okutukaayanya, kale tutuuseeko ebyo by'otulagaanyisa bwoba nga oyogera mazima
قَالَ إِنَّمَا يَأْتِيكُم بِهِ اللَّهُ إِن شَاءَ وَمَا أَنتُم بِمُعْجِزِينَ (33)
(Nuhu) naagamba nti mazima Katonda ajja kubibatuusaako bwanaaba ayagadde, ate temuyinza kumulemesa
وَلَا يَنفَعُكُمْ نُصْحِي إِنْ أَرَدتُّ أَنْ أَنصَحَ لَكُمْ إِن كَانَ اللَّهُ يُرِيدُ أَن يُغْوِيَكُمْ ۚ هُوَ رَبُّكُمْ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (34)
Era okubuulirira kwange tekujja kubagasa singa mba njagadde okubabuulirira, ate Katonda n'aba nga ayagadde kubabuza. Yye ye Mukama omulabirizi wa mmwe era gyali gye mulizzibwa
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۖ قُلْ إِنِ افْتَرَيْتُهُ فَعَلَيَّ إِجْرَامِي وَأَنَا بَرِيءٌ مِّمَّا تُجْرِمُونَ (35)
Oba bagamba nti (Muhammad, Kur’ani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona
وَأُوحِيَ إِلَىٰ نُوحٍ أَنَّهُ لَن يُؤْمِنَ مِن قَوْمِكَ إِلَّا مَن قَدْ آمَنَ فَلَا تَبْتَئِسْ بِمَا كَانُوا يَفْعَلُونَ (36)
Nuhu n'aweebwa obubaka nti mazima tebagenda kukkiriza mu bantubo okugyako abo abakkiriza edda n'olwekyo tonakuwala olw'ebyo bye baali bakola
وَاصْنَعِ الْفُلْكَ بِأَعْيُنِنَا وَوَحْيِنَا وَلَا تُخَاطِبْنِي فِي الَّذِينَ ظَلَمُوا ۚ إِنَّهُم مُّغْرَقُونَ (37)
Kale kola eryato nga naffe tukutunuulidde era okole okusinziira ku ndagirira yaffe era toyogera nange ku bikwata ku abo abeeyisa obubi, mazima ddala bo baakufiira mu mazzi
وَيَصْنَعُ الْفُلْكَ وَكُلَّمَا مَرَّ عَلَيْهِ مَلَأٌ مِّن قَوْمِهِ سَخِرُوا مِنْهُ ۚ قَالَ إِن تَسْخَرُوا مِنَّا فَإِنَّا نَسْخَرُ مِنكُمْ كَمَا تَسْخَرُونَ (38)
(Nuhu) n'aba nga akola eryato. Buli lwonna abakungu mu bantube webaamuyitirangako baamusekereranga naagamba nti bwe muba nga mutusekerera naffe tujja kubasekerera nga bwe mutusekerera
فَسَوْفَ تَعْلَمُونَ مَن يَأْتِيهِ عَذَابٌ يُخْزِيهِ وَيَحِلُّ عَلَيْهِ عَذَابٌ مُّقِيمٌ (39)
Lumu mujja kumanya ani gwe binajjira ebibonerezo ebimuswaza era najjirwa ebibonerezo eby'olubeerera
حَتَّىٰ إِذَا جَاءَ أَمْرُنَا وَفَارَ التَّنُّورُ قُلْنَا احْمِلْ فِيهَا مِن كُلٍّ زَوْجَيْنِ اثْنَيْنِ وَأَهْلَكَ إِلَّا مَن سَبَقَ عَلَيْهِ الْقَوْلُ وَمَنْ آمَنَ ۚ وَمَا آمَنَ مَعَهُ إِلَّا قَلِيلٌ (40)
(Baabeera bwe batyo) okutuusa ekiragiro kya ffe lwe kyajja ettanuuru neefukumuka amazzi netugamba (Nuhu) nti pakira mu lyo, ngojja mu buli mutindo gwabiramu bibiri bibiri, ekisajja n'ekikazi, era pakiramu abantu b'o mu maka go okugyako oyo eyakakatako edda ekigambo (ekyokuzikirira) era pakiramu buli yenna eyakkiriza, wabula tewaali bakkiriza baali naye okugyako batono
۞ وَقَالَ ارْكَبُوا فِيهَا بِسْمِ اللَّهِ مَجْرَاهَا وَمُرْسَاهَا ۚ إِنَّ رَبِّي لَغَفُورٌ رَّحِيمٌ (41)
(Nuhu) naagamba nti mulinnye e lyato, okutambula kwa lyo n'okuyimirira kwa lyo byonna bibeewo ku lwe linnya lya Katonda, mazima Mukama omulabirizi wange musonyiyi musaasizi
وَهِيَ تَجْرِي بِهِمْ فِي مَوْجٍ كَالْجِبَالِ وَنَادَىٰ نُوحٌ ابْنَهُ وَكَانَ فِي مَعْزِلٍ يَا بُنَيَّ ارْكَب مَّعَنَا وَلَا تَكُن مَّعَ الْكَافِرِينَ (42)
Nalyo neriseeyeeya nabo, mu mayengo agenkana ensozi, mu kiseera ekyo Nuhu yakowoola Mutabaniwe eyali awo ku mabbali g'elyato naamugamba nti mwana wange linnya ogende naffe tosigala n'abakafiiri (n'ozikirira)
قَالَ سَآوِي إِلَىٰ جَبَلٍ يَعْصِمُنِي مِنَ الْمَاءِ ۚ قَالَ لَا عَاصِمَ الْيَوْمَ مِنْ أَمْرِ اللَّهِ إِلَّا مَن رَّحِمَ ۚ وَحَالَ بَيْنَهُمَا الْمَوْجُ فَكَانَ مِنَ الْمُغْرَقِينَ (43)
(Omwana) naagamba nti njakulinnya olusozi lujja kumponya amazzi. (Nuhu) naagamba nti tewali ayinza kuwonya olwa leero ( muntu n'asimattuka ) ku kiragiro kya Katonda, okugyako Katonda gwanaaba asaasidde. Awo nno amayengo ga yawula wakati waabwe (omwana) naabeera mu baasaanawo
وَقِيلَ يَا أَرْضُ ابْلَعِي مَاءَكِ وَيَا سَمَاءُ أَقْلِعِي وَغِيضَ الْمَاءُ وَقُضِيَ الْأَمْرُ وَاسْتَوَتْ عَلَى الْجُودِيِّ ۖ وَقِيلَ بُعْدًا لِّلْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (44)
(Ng'ebitonde bimaze okuzikirira) waalangirirwa nti owange ttaka mira amazzi naawe ggulu lekera awo okutonnyesa enkuba era amazzi gaakalira ensonga neekoma awo eryato neritereera ku lusozi oluyitibwa Juudi era newalangirirwa nti okwesamba okusaasira kwa Katonda kubeere ku bantu abeeyisa obubi
وَنَادَىٰ نُوحٌ رَّبَّهُ فَقَالَ رَبِّ إِنَّ ابْنِي مِنْ أَهْلِي وَإِنَّ وَعْدَكَ الْحَقُّ وَأَنتَ أَحْكَمُ الْحَاكِمِينَ (45)
Nuhu n'akoowoola Mukama omulabiriziwe naagamba nti Mukama omulabirizi wange mazima Mutabani wange y'omu ku bo mu maka gange era mazima endagaano yo ya mazima era ggwe osinga abalala bonna okugoba e nsonga
قَالَ يَا نُوحُ إِنَّهُ لَيْسَ مِنْ أَهْلِكَ ۖ إِنَّهُ عَمَلٌ غَيْرُ صَالِحٍ ۖ فَلَا تَسْأَلْنِ مَا لَيْسَ لَكَ بِهِ عِلْمٌ ۖ إِنِّي أَعِظُكَ أَن تَكُونَ مِنَ الْجَاهِلِينَ (46)
(Katonda) naagamba nti owange Nuhu mazima yye si wa mu bantubo mazima yye yakola ekikolwa ekitali kirungi, n'olwekyo tonsaba ekyo kyotalinaako kumanya, mazima nze nkubuulirira oleme kubeera mu batategeera
قَالَ رَبِّ إِنِّي أَعُوذُ بِكَ أَنْ أَسْأَلَكَ مَا لَيْسَ لِي بِهِ عِلْمٌ ۖ وَإِلَّا تَغْفِرْ لِي وَتَرْحَمْنِي أَكُن مِّنَ الْخَاسِرِينَ (47)
(Nuhu) naagamba nti nkusaba obukuumibwo nneme kuba nga nkusaba ekyo kye sirinaako kumanya era bwotonsonyiwe n'onsaasira nja kubeera mu bafaafaaganiddwa
قِيلَ يَا نُوحُ اهْبِطْ بِسَلَامٍ مِّنَّا وَبَرَكَاتٍ عَلَيْكَ وَعَلَىٰ أُمَمٍ مِّمَّن مَّعَكَ ۚ وَأُمَمٌ سَنُمَتِّعُهُمْ ثُمَّ يَمَسُّهُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٌ (48)
Newalangirirwa nti owange Nuhu kka (ove mu lyato), ebiva gye tuli, gibe mirembe na mikisa ku ggwe, ne ku bibiina bya bantu ebiri naawe ne ku bibiina bya bantu betujja okweyagaza mu nsi, oluvanyuma ebibonerezo ebiruma ennyo bibatuukeko okuva gye tuli
تِلْكَ مِنْ أَنبَاءِ الْغَيْبِ نُوحِيهَا إِلَيْكَ ۖ مَا كُنتَ تَعْلَمُهَا أَنتَ وَلَا قَوْمُكَ مِن قَبْلِ هَٰذَا ۖ فَاصْبِرْ ۖ إِنَّ الْعَاقِبَةَ لِلْمُتَّقِينَ (49)
Ebyo bye bimu ku bintu ebyekusifu tubikutumira ggwe (Muhammad) tobimanyangako ggwe wadde abantubo oluberyeberye lwa kino, n'olwekyo gumiikiriza, mazima enkomerero (e nnungi) y’abatya Katonda
وَإِلَىٰ عَادٍ أَخَاهُمْ هُودًا ۚ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ إِنْ أَنتُمْ إِلَّا مُفْتَرُونَ (50)
Era ab'ekika kya A’di twabatumira muganda waabwe Hudu naagamba nti abange abantu bange musinze Katonda, ngoggyeko yye tewali kirala kyonna kisinzibwa, temuli mmwe okugyako abagunja obugunja bye musinza
يَا قَوْمِ لَا أَسْأَلُكُمْ عَلَيْهِ أَجْرًا ۖ إِنْ أَجْرِيَ إِلَّا عَلَى الَّذِي فَطَرَنِي ۚ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (51)
Abange bantu bange, si basaba mpeera ku kino, empeera yange teri okugyako ku oyo eyantonda, abaffe temutegeera
وَيَا قَوْمِ اسْتَغْفِرُوا رَبَّكُمْ ثُمَّ تُوبُوا إِلَيْهِ يُرْسِلِ السَّمَاءَ عَلَيْكُم مِّدْرَارًا وَيَزِدْكُمْ قُوَّةً إِلَىٰ قُوَّتِكُمْ وَلَا تَتَوَلَّوْا مُجْرِمِينَ (52)
Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi
قَالُوا يَا هُودُ مَا جِئْتَنَا بِبَيِّنَةٍ وَمَا نَحْنُ بِتَارِكِي آلِهَتِنَا عَن قَوْلِكَ وَمَا نَحْنُ لَكَ بِمُؤْمِنِينَ (53)
Nebagamba nti owange ggwe Hudu totuleetedde bujulizi bweyolefu (ku ebyo byogamba) ate era naffe tetuyinza kuleka ba katonda baffe olw'okuba ogambye, era ffe tetugenda kukukkiriza
إِن نَّقُولُ إِلَّا اعْتَرَاكَ بَعْضُ آلِهَتِنَا بِسُوءٍ ۗ قَالَ إِنِّي أُشْهِدُ اللَّهَ وَاشْهَدُوا أَنِّي بَرِيءٌ مِّمَّا تُشْرِكُونَ (54)
(Okusinziira ku ebyo by'oyogera) tetulina kye tugamba okugyako nti abamu ku ba katonda baffe be bakuliko mu ngeri eyo embi. (Hudu) naagamba nti era mazima nze njuliza Katonda na mmwe mujulire nti ddala nze ndi wala n'ebyo bye mugatta ku Katonda
مِن دُونِهِ ۖ فَكِيدُونِي جَمِيعًا ثُمَّ لَا تُنظِرُونِ (55)
Nemulekawo Katonda, kale munsalire enkwe mwenna ate temunnindiriza
إِنِّي تَوَكَّلْتُ عَلَى اللَّهِ رَبِّي وَرَبِّكُم ۚ مَّا مِن دَابَّةٍ إِلَّا هُوَ آخِذٌ بِنَاصِيَتِهَا ۚ إِنَّ رَبِّي عَلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (56)
Mazima nze neekwasizza Mukama Katonda omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okugyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama omulabirizi wange ali ku kkubo ggolokofu
فَإِن تَوَلَّوْا فَقَدْ أَبْلَغْتُكُم مَّا أُرْسِلْتُ بِهِ إِلَيْكُمْ ۚ وَيَسْتَخْلِفُ رَبِّي قَوْمًا غَيْرَكُمْ وَلَا تَضُرُّونَهُ شَيْئًا ۚ إِنَّ رَبِّي عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ حَفِيظٌ (57)
Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka)
وَلَمَّا جَاءَ أَمْرُنَا نَجَّيْنَا هُودًا وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ بِرَحْمَةٍ مِّنَّا وَنَجَّيْنَاهُم مِّنْ عَذَابٍ غَلِيظٍ (58)
Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja ku lw'okusaasira kwa ffe, twawonya Hudu n'abo abakkiriza abaali naye ne tubawonya ebibonerezo ebizito
وَتِلْكَ عَادٌ ۖ جَحَدُوا بِآيَاتِ رَبِّهِمْ وَعَصَوْا رُسُلَهُ وَاتَّبَعُوا أَمْرَ كُلِّ جَبَّارٍ عَنِيدٍ (59)
Abantu abo ab'ekibiina kya A’di baawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe ne bajeemera ababakabe ne bagoberera ekigambo kya buli eyeekuza awalaaza empaka
وَأُتْبِعُوا فِي هَٰذِهِ الدُّنْيَا لَعْنَةً وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ ۗ أَلَا إِنَّ عَادًا كَفَرُوا رَبَّهُمْ ۗ أَلَا بُعْدًا لِّعَادٍ قَوْمِ هُودٍ (60)
Mu nsi muno nebagoberezebwako ekikolimo, mu ngeri yeemu ne ku lunaku lw'enkomerero, abange mazima ab'ekika kya A’di baajeemera Mukama omulabirizi waabwe abange okubula okwewala ennyo kutuuke ku b'ekika kya A’di abantu ba Hudu
۞ وَإِلَىٰ ثَمُودَ أَخَاهُمْ صَالِحًا ۚ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ هُوَ أَنشَأَكُم مِّنَ الْأَرْضِ وَاسْتَعْمَرَكُمْ فِيهَا فَاسْتَغْفِرُوهُ ثُمَّ تُوبُوا إِلَيْهِ ۚ إِنَّ رَبِّي قَرِيبٌ مُّجِيبٌ (61)
Bo ab'ekika kya Thamud twabatumira Muganda waabwe Swaleh, naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaayo kintu kyonna kigwanidde kusinzibwa okugyako yye, yye yeeyabatandikawo ng’abaggya mu nsi, ate naabakwasa obuyinza okugikulaakulanya, kale mumwegayirire, era mwenenye, mudde gyali mazima Mukama omulabirizi wange ali kumpi ayanukula (abamusaba)
قَالُوا يَا صَالِحُ قَدْ كُنتَ فِينَا مَرْجُوًّا قَبْلَ هَٰذَا ۖ أَتَنْهَانَا أَن نَّعْبُدَ مَا يَعْبُدُ آبَاؤُنَا وَإِنَّنَا لَفِي شَكٍّ مِّمَّا تَدْعُونَا إِلَيْهِ مُرِيبٍ (62)
Nebagamba nti owange Swaleh, mazima obadde mu ffe, nga tukulinamu essuubi, nga kino tekinnabaawo. Otugaana okusinza ebyo bakadde baffe bye basinza era mazima ffe tulina okubuusabuusa okujjudde okutankana ku ekyo ky'otuyita okujja gye kiri
قَالَ يَا قَوْمِ أَرَأَيْتُمْ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٍ مِّن رَّبِّي وَآتَانِي مِنْهُ رَحْمَةً فَمَن يَنصُرُنِي مِنَ اللَّهِ إِنْ عَصَيْتُهُ ۖ فَمَا تَزِيدُونَنِي غَيْرَ تَخْسِيرٍ (63)
Naagamba nti abange bantu bange, mukiraba nti singa mba ndi ku bunnyonnyofu obuva ewa Mukama omulabirizi wange, era nenfuna okusaasira okuva gyali, kale ani anantaasa ku Katonda bwe mmugyemera (singa nkolera ku bya mmwe), temulina kye munnyogera okugyako okufiirwa
وَيَا قَوْمِ هَٰذِهِ نَاقَةُ اللَّهِ لَكُمْ آيَةً فَذَرُوهَا تَأْكُلْ فِي أَرْضِ اللَّهِ وَلَا تَمَسُّوهَا بِسُوءٍ فَيَأْخُذَكُمْ عَذَابٌ قَرِيبٌ (64)
Abange bantu bange eno engamiya evudde wa Katonda nga kabonero gye muli (okukakasa obwa Nabbi bwange), n'olwekyo mugireke erye ebiri mu nsi ya Katonda, temugezaako ne mugituusaako akabi konna nekibaviirako okutuukibwako ebibonerezo ebya mangu
فَعَقَرُوهَا فَقَالَ تَمَتَّعُوا فِي دَارِكُمْ ثَلَاثَةَ أَيَّامٍ ۖ ذَٰلِكَ وَعْدٌ غَيْرُ مَكْذُوبٍ (65)
(Nebamuwakanya era) nebagifumita olwo nno ye (Swaleh) kwe kubagamba, mweggalire mu mayumba gammwe okumala ennaku ssatu (zokka), eyo ndagaano etalimbisibwa
فَلَمَّا جَاءَ أَمْرُنَا نَجَّيْنَا صَالِحًا وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ بِرَحْمَةٍ مِّنَّا وَمِنْ خِزْيِ يَوْمِئِذٍ ۗ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ الْقَوِيُّ الْعَزِيزُ (66)
Ekiragiro kya ffe bwe kyamala okujja, twawonya Swaleh n'abo abakkiriza abaali naye olw'okusaasira okuva gye tuli era netubawonya ne mu buswavu obw'olunaku olwo, anti mazima Mukama omulabiriziwo ye wa maanyi nantakubwa ku mukono
وَأَخَذَ الَّذِينَ ظَلَمُوا الصَّيْحَةُ فَأَصْبَحُوا فِي دِيَارِهِمْ جَاثِمِينَ (67)
Abo nno abeeyisa obubi ne batuukibwako olubwatuka (olw'amanyi) olwo nno nebakeesa nga mirambo egigangalamye mu mayumba gaabwe
كَأَن لَّمْ يَغْنَوْا فِيهَا ۗ أَلَا إِنَّ ثَمُودَ كَفَرُوا رَبَّهُمْ ۗ أَلَا بُعْدًا لِّثَمُودَ (68)
(Engeri gye baazikirizibwamu) baali nga abatawangalirangako mu go, abange mazima abantu b'ekika kya Thamud baawakanya Mukama omulabirizi omulezi waabwe, abange abantu ba Thamud babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda
وَلَقَدْ جَاءَتْ رُسُلُنَا إِبْرَاهِيمَ بِالْبُشْرَىٰ قَالُوا سَلَامًا ۖ قَالَ سَلَامٌ ۖ فَمَا لَبِثَ أَن جَاءَ بِعِجْلٍ حَنِيذٍ (69)
Mazima ababaka baffe (Ba Malayika) bajja eri Ibrahim n'amawulire ag'essanyu, nti (Yye ne Mukyalawe bajja kuzaala omwana Ishaka) ne bamugamba nti mirembe naye naabagamba (ng’abaddamu) nti mirembe, waayitawo akaseera katono naabaleetera ennyana enjokye
فَلَمَّا رَأَىٰ أَيْدِيَهُمْ لَا تَصِلُ إِلَيْهِ نَكِرَهُمْ وَأَوْجَسَ مِنْهُمْ خِيفَةً ۚ قَالُوا لَا تَخَفْ إِنَّا أُرْسِلْنَا إِلَىٰ قَوْمِ لُوطٍ (70)
(Ibrahim) bwe yalaba emikono gya bwe nga tegituuka ku nnyama naabekengera, (Ba Malayika) bo kwe kumugamba nti totutya, mazima ffe tuli ba Malayika tutumiddwa eri abantu ba Luutu (okubazikiriza)
وَامْرَأَتُهُ قَائِمَةٌ فَضَحِكَتْ فَبَشَّرْنَاهَا بِإِسْحَاقَ وَمِن وَرَاءِ إِسْحَاقَ يَعْقُوبَ (71)
Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu)
قَالَتْ يَا وَيْلَتَىٰ أَأَلِدُ وَأَنَا عَجُوزٌ وَهَٰذَا بَعْلِي شَيْخًا ۖ إِنَّ هَٰذَا لَشَيْءٌ عَجِيبٌ (72)
(Omukyala Sarah bwe yamala okufuna amawulire g’okuzaala Ishaka) naagamba (nga bwe yewuunya) nti: gano nga mawano nze (Sarah) ngenda kuzaala omwana nga ndi mukadde bwe nti nga n'ono baze kinvinvi, mazima kino kintu ekye wuunyisa nnyo
قَالُوا أَتَعْجَبِينَ مِنْ أَمْرِ اللَّهِ ۖ رَحْمَتُ اللَّهِ وَبَرَكَاتُهُ عَلَيْكُمْ أَهْلَ الْبَيْتِ ۚ إِنَّهُ حَمِيدٌ مَّجِيدٌ (73)
(Ba Malayika) ne bagamba nti: butya bwe weewuunya ekiragiro kya Katonda! okusaasira kwa Katonda n'emikisagye bibeere ku mmwe abantu benju (ya Ibrahim). Mazima Katonda atenderezebwa nnyo wa kitiibwa nnyo
فَلَمَّا ذَهَبَ عَنْ إِبْرَاهِيمَ الرَّوْعُ وَجَاءَتْهُ الْبُشْرَىٰ يُجَادِلُنَا فِي قَوْمِ لُوطٍ (74)
Ensisi bwe yamala okuggwa ku Ibrahim, ng’amaze n'okufuna amawulire ag'essanyu, yagenda mu maaso nga atukaayanya (nga awolereza) abantu ba luutu
إِنَّ إِبْرَاهِيمَ لَحَلِيمٌ أَوَّاهٌ مُّنِيبٌ (75)
Mazima Ibrahim yali wa kisa nnyo ate nga asaba nnyo Katondawe era nga amwenenyeza ku buli nsonga
يَا إِبْرَاهِيمُ أَعْرِضْ عَنْ هَٰذَا ۖ إِنَّهُ قَدْ جَاءَ أَمْرُ رَبِّكَ ۖ وَإِنَّهُمْ آتِيهِمْ عَذَابٌ غَيْرُ مَرْدُودٍ (76)
(Ba Malayika nebamugamba nti) owange Ibrahim ebyo biveeko mazima kimaze okutuuka ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo era mazima bo bagenda kujjirwa ebibonerezo ebitali bya kuzzibwayo
وَلَمَّا جَاءَتْ رُسُلُنَا لُوطًا سِيءَ بِهِمْ وَضَاقَ بِهِمْ ذَرْعًا وَقَالَ هَٰذَا يَوْمٌ عَصِيبٌ (77)
Ababaka baffe bwe bajja ewa Luutu, tebaamusanyusa naawulira bubi (olw'okuba yali tasobola kubakuuma) era naagamba nti luno lunaku luzibu
وَجَاءَهُ قَوْمُهُ يُهْرَعُونَ إِلَيْهِ وَمِن قَبْلُ كَانُوا يَعْمَلُونَ السَّيِّئَاتِ ۚ قَالَ يَا قَوْمِ هَٰؤُلَاءِ بَنَاتِي هُنَّ أَطْهَرُ لَكُمْ ۖ فَاتَّقُوا اللَّهَ وَلَا تُخْزُونِ فِي ضَيْفِي ۖ أَلَيْسَ مِنكُمْ رَجُلٌ رَّشِيدٌ (78)
Abantube nebajja gyali nga banguwa naye nga okusooka baali bakola ebibi (Luutu) naagamba nti abange bantu bange bawala bange baabo be balungi gye muli, mutye Katonda temunswaza eri abagenyi bange, abaffe mu mmwe temuli musajja mulungamu
قَالُوا لَقَدْ عَلِمْتَ مَا لَنَا فِي بَنَاتِكَ مِنْ حَقٍّ وَإِنَّكَ لَتَعْلَمُ مَا نُرِيدُ (79)
Nebagamba mazima okimanyi nti bawalabo tetubalinaako bwetaavu, era mazima ddala ggwe omanyi kye twagala
قَالَ لَوْ أَنَّ لِي بِكُمْ قُوَّةً أَوْ آوِي إِلَىٰ رُكْنٍ شَدِيدٍ (80)
(Luutu) naagamba nti (neegomba) singa mbadde nina amaanyi ku mmwe, oba empagi engumu gyensobola okwesigamako, (abantu abasobola okuntaasa)
قَالُوا يَا لُوطُ إِنَّا رُسُلُ رَبِّكَ لَن يَصِلُوا إِلَيْكَ ۖ فَأَسْرِ بِأَهْلِكَ بِقِطْعٍ مِّنَ اللَّيْلِ وَلَا يَلْتَفِتْ مِنكُمْ أَحَدٌ إِلَّا امْرَأَتَكَ ۖ إِنَّهُ مُصِيبُهَا مَا أَصَابَهُمْ ۚ إِنَّ مَوْعِدَهُمُ الصُّبْحُ ۚ أَلَيْسَ الصُّبْحُ بِقَرِيبٍ (81)
(Ba Malayika) nebagamba nti owange Luutu ffe tuli babaka ba Mukama omulabiriziwo (abo) tebajja kukutuukako, tambula n'abantubo mu kitundu ky'ekiro, era takyuka omu ku mmwe (naatunula emabega, genda n'abantubo) okugyako Mukyalawo, anti mazima kiri nti ajja kutuukwako ebinaatuuka ku bali. Mazima ekiseera ekibalagaanyisiddwa bwe budde bw'oku makya, obudde bw'oku makya tebuli kumpi
فَلَمَّا جَاءَ أَمْرُنَا جَعَلْنَا عَالِيَهَا سَافِلَهَا وَأَمْطَرْنَا عَلَيْهَا حِجَارَةً مِّن سِجِّيلٍ مَّنضُودٍ (82)
(Ekitundu mwe baali babeera), ekiragiro kyaffe bwe kyajja, waggulu wa kyo wetwazza wansi era netukiwandagazaako amayinja amakole mu bbumba ejjokye nga gajjira kumukumu
مُّسَوَّمَةً عِندَ رَبِّكَ ۖ وَمَا هِيَ مِنَ الظَّالِمِينَ بِبَعِيدٍ (83)
(Amayinja ago) nga malambe okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ekibonerezo ng'ekyo tekiri wala ku buli abo bonna abeeyisa obubi
۞ وَإِلَىٰ مَدْيَنَ أَخَاهُمْ شُعَيْبًا ۚ قَالَ يَا قَوْمِ اعْبُدُوا اللَّهَ مَا لَكُم مِّنْ إِلَٰهٍ غَيْرُهُ ۖ وَلَا تَنقُصُوا الْمِكْيَالَ وَالْمِيزَانَ ۚ إِنِّي أَرَاكُم بِخَيْرٍ وَإِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ مُّحِيطٍ (84)
Ate abe Madiyana twabatumira Muganda waabwe Swaibu naagamba nti abange bantu bange musinze Katonda temulinaawo kirala kyonna kye mulina kusinza ekitali yye, temukendeezanga ebipimo ne minzani, mazima nze mbalaba nga musigala muli bulungi (bwe muba temukendeezezza mu bipimo ne minzani). Era mazima nze mbatiiriddeko ebibonerezo by'olunaku olugenda okwetooloola buli kimu
وَيَا قَوْمِ أَوْفُوا الْمِكْيَالَ وَالْمِيزَانَ بِالْقِسْطِ ۖ وَلَا تَبْخَسُوا النَّاسَ أَشْيَاءَهُمْ وَلَا تَعْثَوْا فِي الْأَرْضِ مُفْسِدِينَ (85)
Era abange bantu bange mutuukirize ebipimo ne minzani mu bwesimbu temukumpanyanga abantu ebintu bya bwe, era temukolanga ebibi mu nsi nga mugenderera okwonoona
بَقِيَّتُ اللَّهِ خَيْرٌ لَّكُمْ إِن كُنتُم مُّؤْمِنِينَ ۚ وَمَا أَنَا عَلَيْكُم بِحَفِيظٍ (86)
Ebilekeddwa Katonda (nga oggyeko byayogedde wa ggulu ebitaliimu kukumpanya bantu) bye birungi gye muli bwe muba nga muli bakkiriza. Era nze siri kalondoozi ku mmwe
قَالُوا يَا شُعَيْبُ أَصَلَاتُكَ تَأْمُرُكَ أَن نَّتْرُكَ مَا يَعْبُدُ آبَاؤُنَا أَوْ أَن نَّفْعَلَ فِي أَمْوَالِنَا مَا نَشَاءُ ۖ إِنَّكَ لَأَنتَ الْحَلِيمُ الرَّشِيدُ (87)
Nebagamba nti owange Swaibu okusaalakwo kwe kukulagira okuba nga tuleka bakadde baffe bye basinza, oba tukkirizibwa okukola mu mmaali yaffe bye twagala, anti ggwe oli alumirwa ow'amagezi
قَالَ يَا قَوْمِ أَرَأَيْتُمْ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٍ مِّن رَّبِّي وَرَزَقَنِي مِنْهُ رِزْقًا حَسَنًا ۚ وَمَا أُرِيدُ أَنْ أُخَالِفَكُمْ إِلَىٰ مَا أَنْهَاكُمْ عَنْهُ ۚ إِنْ أُرِيدُ إِلَّا الْإِصْلَاحَ مَا اسْتَطَعْتُ ۚ وَمَا تَوْفِيقِي إِلَّا بِاللَّهِ ۚ عَلَيْهِ تَوَكَّلْتُ وَإِلَيْهِ أُنِيبُ (88)
Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda
وَيَا قَوْمِ لَا يَجْرِمَنَّكُمْ شِقَاقِي أَن يُصِيبَكُم مِّثْلُ مَا أَصَابَ قَوْمَ نُوحٍ أَوْ قَوْمَ هُودٍ أَوْ قَوْمَ صَالِحٍ ۚ وَمَا قَوْمُ لُوطٍ مِّنكُم بِبَعِيدٍ (89)
Era abange bantu bange okwawukana kwange na mmwe tekubatwaririza nemutuukwako ebyo ebyatuuka ku bantu ba Nuhu oba abantu ba Hudu oba abantu ba Swaleh era abantu ba Luutu tebali wala na mmwe
وَاسْتَغْفِرُوا رَبَّكُمْ ثُمَّ تُوبُوا إِلَيْهِ ۚ إِنَّ رَبِّي رَحِيمٌ وَدُودٌ (90)
Era musabe Mukama omulabirizi wa mmwe ekisonyiwo olwo nno mwenenye okudda gyali mazima Mukama omulabirizi wange musaasizi mwagazi nnyo (wa bitondebye)
قَالُوا يَا شُعَيْبُ مَا نَفْقَهُ كَثِيرًا مِّمَّا تَقُولُ وَإِنَّا لَنَرَاكَ فِينَا ضَعِيفًا ۖ وَلَوْلَا رَهْطُكَ لَرَجَمْنَاكَ ۖ وَمَا أَنتَ عَلَيْنَا بِعَزِيزٍ (91)
Nebagamba nti owange Swaibu bingi mu by'ogamba tetubitegeera ate era tukulaba ng'oli munafu muffe singa si kika kyo twandikukubye amayinja era ggwe tolina kitiibwa kyonna gye tuli
قَالَ يَا قَوْمِ أَرَهْطِي أَعَزُّ عَلَيْكُم مِّنَ اللَّهِ وَاتَّخَذْتُمُوهُ وَرَاءَكُمْ ظِهْرِيًّا ۖ إِنَّ رَبِّي بِمَا تَعْمَلُونَ مُحِيطٌ (92)
Naagamba nti abange bantu bange ekika kyange kye ky'ekitiibwa gye muli okusinga Katonda ne mutuuka okumussa emabega wa mmwe nga mumukubye amabega mazima Mukama omulabirizi wange yeetoolodde byonna bye mukola
وَيَا قَوْمِ اعْمَلُوا عَلَىٰ مَكَانَتِكُمْ إِنِّي عَامِلٌ ۖ سَوْفَ تَعْلَمُونَ مَن يَأْتِيهِ عَذَابٌ يُخْزِيهِ وَمَنْ هُوَ كَاذِبٌ ۖ وَارْتَقِبُوا إِنِّي مَعَكُمْ رَقِيبٌ (93)
Era abange bantu bange mukolere ku nkola ya mmwe nange kankole, ddala mujja kumanya ani, anajjirwa ebibonerezo ebimuswaza, era ani mulimba, naye era mulindirire mazima nze nindirira awamu na mmwe
وَلَمَّا جَاءَ أَمْرُنَا نَجَّيْنَا شُعَيْبًا وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ بِرَحْمَةٍ مِّنَّا وَأَخَذَتِ الَّذِينَ ظَلَمُوا الصَّيْحَةُ فَأَصْبَحُوا فِي دِيَارِهِمْ جَاثِمِينَ (94)
Ekiragiro kyaffe bwe kyamala okujja, ku lw'okusaasira kwaffe, twawonya Swaibu n'abo abakkiriza naye. Abo abeeyisa obubi nebatuukwako okubwatuka nebakeesa enkya nga mirambo egigangalamye mu mayumba ga bwe
كَأَن لَّمْ يَغْنَوْا فِيهَا ۗ أَلَا بُعْدًا لِّمَدْيَنَ كَمَا بَعِدَتْ ثَمُودُ (95)
Nebaba nga abatagabeerangamu, abange abantu be Madiyana babeere wala nnyo n'okusaasira kwa Katonda nga abantu ba Thamud bwe beesamba okusaasira kwa Katonda
وَلَقَدْ أَرْسَلْنَا مُوسَىٰ بِآيَاتِنَا وَسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (96)
Mazima twatuma Musa n'ebyamagero byaffe n'obujulizi obw'olwatu
إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِ فَاتَّبَعُوا أَمْرَ فِرْعَوْنَ ۖ وَمَا أَمْرُ فِرْعَوْنَ بِرَشِيدٍ (97)
Agende ewa firawo n'eri abakungube, bo abakungu baagoberera ekigambo kya Firawo, naye nga ekigambo kya Firawo si kirungamu
يَقْدُمُ قَوْمَهُ يَوْمَ الْقِيَامَةِ فَأَوْرَدَهُمُ النَّارَ ۖ وَبِئْسَ الْوِرْدُ الْمَوْرُودُ (98)
(Firawo) alikulembera abantube ku lunaku lw'enkomerero naabayingiza omuliro. Buyingiro bubi bwe baliyingira
وَأُتْبِعُوا فِي هَٰذِهِ لَعْنَةً وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ ۚ بِئْسَ الرِّفْدُ الْمَرْفُودُ (99)
Ate nebagoberezebwa ekikolimo kuno ku nsi ne ku lunaku lw'enkomerero, ennyongeza mbi ne kye bongerako nakyo kibi
ذَٰلِكَ مِنْ أَنبَاءِ الْقُرَىٰ نَقُصُّهُ عَلَيْكَ ۖ مِنْهَا قَائِمٌ وَحَصِيدٌ (100)
Ebyo bye bimu ku bigambo ebikwata ku bitundu bye twazikiriza, tubikutegeeza ggwe (Muhammad), mu byo mulimu ebikyaliwo nga n'ebirala byasaanawo
وَمَا ظَلَمْنَاهُمْ وَلَٰكِن ظَلَمُوا أَنفُسَهُمْ ۖ فَمَا أَغْنَتْ عَنْهُمْ آلِهَتُهُمُ الَّتِي يَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ مِن شَيْءٍ لَّمَّا جَاءَ أَمْرُ رَبِّكَ ۖ وَمَا زَادُوهُمْ غَيْرَ تَتْبِيبٍ (101)
(Okubatuusaako ebyo) tetwabayisa bubi wabula beeyisa bokka obubi, ba Katonda baabwe abo be basaba ne bava ku Katonda omu tebaabagasa kintu kyonna, ekiragiro kya Mukama omulabiriziwo bwe kyajja, era tebaabongera okugyako okufaafaganirwa
وَكَذَٰلِكَ أَخْذُ رَبِّكَ إِذَا أَخَذَ الْقُرَىٰ وَهِيَ ظَالِمَةٌ ۚ إِنَّ أَخْذَهُ أَلِيمٌ شَدِيدٌ (102)
Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu
إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَةً لِّمَنْ خَافَ عَذَابَ الْآخِرَةِ ۚ ذَٰلِكَ يَوْمٌ مَّجْمُوعٌ لَّهُ النَّاسُ وَذَٰلِكَ يَوْمٌ مَّشْهُودٌ (103)
Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako
وَمَا نُؤَخِّرُهُ إِلَّا لِأَجَلٍ مَّعْدُودٍ (104)
Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere
يَوْمَ يَأْتِ لَا تَكَلَّمُ نَفْسٌ إِلَّا بِإِذْنِهِ ۚ فَمِنْهُمْ شَقِيٌّ وَسَعِيدٌ (105)
Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu
فَأَمَّا الَّذِينَ شَقُوا فَفِي النَّارِ لَهُمْ فِيهَا زَفِيرٌ وَشَهِيقٌ (106)
Bo abo abaajeema baakuyingira muliro baliba balina mu gwo okusinda n'okukema
خَالِدِينَ فِيهَا مَا دَامَتِ السَّمَاوَاتُ وَالْأَرْضُ إِلَّا مَا شَاءَ رَبُّكَ ۚ إِنَّ رَبَّكَ فَعَّالٌ لِّمَا يُرِيدُ (107)
Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde
۞ وَأَمَّا الَّذِينَ سُعِدُوا فَفِي الْجَنَّةِ خَالِدِينَ فِيهَا مَا دَامَتِ السَّمَاوَاتُ وَالْأَرْضُ إِلَّا مَا شَاءَ رَبُّكَ ۖ عَطَاءً غَيْرَ مَجْذُوذٍ (108)
Bo abo abaweebwa obulongoofu baakuyingira e jjana nga baakugibeeramu ebbanga eggulu omusanvu ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ebbanga Mukama omulabiriziwo lyaliba ayagadde nga okwo kuweebwa okutalibaako kutaataaganyizibwa
فَلَا تَكُ فِي مِرْيَةٍ مِّمَّا يَعْبُدُ هَٰؤُلَاءِ ۚ مَا يَعْبُدُونَ إِلَّا كَمَا يَعْبُدُ آبَاؤُهُم مِّن قَبْلُ ۚ وَإِنَّا لَمُوَفُّوهُمْ نَصِيبَهُمْ غَيْرَ مَنقُوصٍ (109)
Tobaamu kubuusabuusa mu ebyo bye basinza tebasinza okugyako nga ba Jjajaabwe bwe baasinzanga oluberyeberye,era mazima ffe tujja kubatuukiririza omugabo gwa bwe awatali kukendezaako
وَلَقَدْ آتَيْنَا مُوسَى الْكِتَابَ فَاخْتُلِفَ فِيهِ ۚ وَلَوْلَا كَلِمَةٌ سَبَقَتْ مِن رَّبِّكَ لَقُضِيَ بَيْنَهُمْ ۚ وَإِنَّهُمْ لَفِي شَكٍّ مِّنْهُ مُرِيبٍ (110)
Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyava ewa Mukama omulabiriziwo ekyakulembera, eggoye lyandisaliddwawo (nebazikirira) era mazima bo bali mu kubuusabuusa era nga batankana (ku nsonga ya Kur’ani)
وَإِنَّ كُلًّا لَّمَّا لَيُوَفِّيَنَّهُمْ رَبُّكَ أَعْمَالَهُمْ ۚ إِنَّهُ بِمَا يَعْمَلُونَ خَبِيرٌ (111)
Na mazima ddala bonna Mukama omulabiriziwo agenda kubasasula emirimu gya bwe mu bujjuvu, mazima yye amanyidde ddala bye bakola
فَاسْتَقِمْ كَمَا أُمِرْتَ وَمَن تَابَ مَعَكَ وَلَا تَطْغَوْا ۚ إِنَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ بَصِيرٌ (112)
Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba
وَلَا تَرْكَنُوا إِلَى الَّذِينَ ظَلَمُوا فَتَمَسَّكُمُ النَّارُ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ اللَّهِ مِنْ أَوْلِيَاءَ ثُمَّ لَا تُنصَرُونَ (113)
Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa
وَأَقِمِ الصَّلَاةَ طَرَفَيِ النَّهَارِ وَزُلَفًا مِّنَ اللَّيْلِ ۚ إِنَّ الْحَسَنَاتِ يُذْهِبْنَ السَّيِّئَاتِ ۚ ذَٰلِكَ ذِكْرَىٰ لِلذَّاكِرِينَ (114)
Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira
وَاصْبِرْ فَإِنَّ اللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجْرَ الْمُحْسِنِينَ (115)
Era gumiikiriza, bulijjo Katonda tayinza butasasula mpeera ya bakozi ba bulungi
فَلَوْلَا كَانَ مِنَ الْقُرُونِ مِن قَبْلِكُمْ أُولُو بَقِيَّةٍ يَنْهَوْنَ عَنِ الْفَسَادِ فِي الْأَرْضِ إِلَّا قَلِيلًا مِّمَّنْ أَنجَيْنَا مِنْهُمْ ۗ وَاتَّبَعَ الَّذِينَ ظَلَمُوا مَا أُتْرِفُوا فِيهِ وَكَانُوا مُجْرِمِينَ (116)
Singa waaliyo mu mirembe egyabakulembera abantu abalina kye baasigazaawo (mu ddiini) nga bagaana obwonoonefu mu nsi, (tebaaliyo) okugyako batono nnyo mu abo be twawonya mu bo. Wabula bo abeeyisa obubi ne batwalibwa ebirungi bye baaweebwa mu nsi nebaba aboonoonyi
وَمَا كَانَ رَبُّكَ لِيُهْلِكَ الْقُرَىٰ بِظُلْمٍ وَأَهْلُهَا مُصْلِحُونَ (117)
Mukama omulabiriziwo tabangako wa kuzikiriza ebitundu mu bulyazaamaanyi nga ate abantu baabyo bakozi ba bulungi
وَلَوْ شَاءَ رَبُّكَ لَجَعَلَ النَّاسَ أُمَّةً وَاحِدَةً ۖ وَلَا يَزَالُونَ مُخْتَلِفِينَ (118)
Singa Mukama omulabiriziwo yayagala, abantu bonna yandibafudde ekibiina kimu, naye tebagenda kuva ku kwawukana
إِلَّا مَن رَّحِمَ رَبُّكَ ۚ وَلِذَٰلِكَ خَلَقَهُمْ ۗ وَتَمَّتْ كَلِمَةُ رَبِّكَ لَأَمْلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنَ الْجِنَّةِ وَالنَّاسِ أَجْمَعِينَ (119)
Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu
وَكُلًّا نَّقُصُّ عَلَيْكَ مِنْ أَنبَاءِ الرُّسُلِ مَا نُثَبِّتُ بِهِ فُؤَادَكَ ۚ وَجَاءَكَ فِي هَٰذِهِ الْحَقُّ وَمَوْعِظَةٌ وَذِكْرَىٰ لِلْمُؤْمِنِينَ (120)
Era tukutegeeza buli kimu ekikwata ku babaka, ekyo kyetunyweza nakyo omutima gwo, era mu kino ojjiddwa amazima n'okubuulirira, era nga kya kujjukiza eri abakkiriza
وَقُل لِّلَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ اعْمَلُوا عَلَىٰ مَكَانَتِكُمْ إِنَّا عَامِلُونَ (121)
Era gamba abo abakkiriza nti mukolere ku nkola ya mmwe naffe katukole
وَانتَظِرُوا إِنَّا مُنتَظِرُونَ (122)
Era mulindirire naffe tulindiridde
وَلِلَّهِ غَيْبُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَإِلَيْهِ يُرْجَعُ الْأَمْرُ كُلُّهُ فَاعْبُدْهُ وَتَوَكَّلْ عَلَيْهِ ۚ وَمَا رَبُّكَ بِغَافِلٍ عَمَّا تَعْمَلُونَ (123)
Kandi kuri Allah ni iby'ibintu bitagaragara by'ijuru n'isi kandi kuri we azasubizwa icyo kibazo, byose, bityo rero musenge kandi umwishingikirize. Kandi Umwami wawe ntabwo azi ibyo ukora
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas