الر ۚ تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ الْحَكِيمِ (1) Aliif Laam Raa, e nnyukuta zino twazoogerako ku ntandikwa ya Sura Al Bakara, bino bye bigambo by'ekitabo (Kur’ani) eby'amagezi |
أَكَانَ لِلنَّاسِ عَجَبًا أَنْ أَوْحَيْنَا إِلَىٰ رَجُلٍ مِّنْهُمْ أَنْ أَنذِرِ النَّاسَ وَبَشِّرِ الَّذِينَ آمَنُوا أَنَّ لَهُمْ قَدَمَ صِدْقٍ عِندَ رَبِّهِمْ ۗ قَالَ الْكَافِرُونَ إِنَّ هَٰذَا لَسَاحِرٌ مُّبِينٌ (2) Abaffe kya kwewuunya eri abantu okuba nti twassa obubaka eri omusajja mu bo, (nga tumulagidde) nti tiisa abantu (abatakkiriza) ate owe amawulire ag'essanyu eri abo abakkiriza (obubaka) nti balina e mpeera e nnungi ewa Mukama omulabirizi waabwe (ku lw'emirimu e mirungi gye bakola). Abakaafiiri (Nabbi bwe yamala okubajjira) ne bagamba nti mazima ono mulogo mweyolefu |
إِنَّ رَبَّكُمُ اللَّهُ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ ثُمَّ اسْتَوَىٰ عَلَى الْعَرْشِ ۖ يُدَبِّرُ الْأَمْرَ ۖ مَا مِن شَفِيعٍ إِلَّا مِن بَعْدِ إِذْنِهِ ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ فَاعْبُدُوهُ ۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ (3) Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe ye Katonda oyo eyatonda e ggulu (omusanvu) n'ensi mu nnaku mukaaga bwe yamala naatereera ku Arish nga atambuza buli kimu, tewali agenda kwetantala kuwolereza okugyako nga Katonda amaze okukkiriza. Oyo nno mwe, ye Katonda, omulabirizi wa mmwe. Kale nno mumusinze, abaffe temwebuulirira |
إِلَيْهِ مَرْجِعُكُمْ جَمِيعًا ۖ وَعْدَ اللَّهِ حَقًّا ۚ إِنَّهُ يَبْدَأُ الْخَلْقَ ثُمَّ يُعِيدُهُ لِيَجْزِيَ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ بِالْقِسْطِ ۚ وَالَّذِينَ كَفَرُوا لَهُمْ شَرَابٌ مِّنْ حَمِيمٍ وَعَذَابٌ أَلِيمٌ بِمَا كَانُوا يَكْفُرُونَ (4) Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Katonda, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu ate abo abakaafuwala bagenda kuweebwa e byokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko e bibonerezo e biruma olw'ebyo bye baawakanyanga |
هُوَ الَّذِي جَعَلَ الشَّمْسَ ضِيَاءً وَالْقَمَرَ نُورًا وَقَدَّرَهُ مَنَازِلَ لِتَعْلَمُوا عَدَدَ السِّنِينَ وَالْحِسَابَ ۚ مَا خَلَقَ اللَّهُ ذَٰلِكَ إِلَّا بِالْحَقِّ ۚ يُفَصِّلُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَعْلَمُونَ (5) (Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera e bifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Katonda teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Katonda annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi |
إِنَّ فِي اخْتِلَافِ اللَّيْلِ وَالنَّهَارِ وَمَا خَلَقَ اللَّهُ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَتَّقُونَ (6) Mazima okwawukana kw'ekiro n'emisana n'ebyo Katonda bye yatonda mu ggulu omusanvu n'ensi ddala mulimu obubonero eri abantu abatya Katonda (obubayamba okutegeera e kitiibwa n'obuyinza bwa Katonda) |
إِنَّ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا وَرَضُوا بِالْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَاطْمَأَنُّوا بِهَا وَالَّذِينَ هُمْ عَنْ آيَاتِنَا غَافِلُونَ (7) Mazima abo abatasuubira kutusisinkana era ne basiima okwemalira ku bulamu bw'ensi era ne batebenkera nabwo, era abo abatassa mulaka ku bubonero bwaffe |
أُولَٰئِكَ مَأْوَاهُمُ النَّارُ بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (8) Abo nno obuddo bwa bwe muliro olw'ebyo bye baakolanga |
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ يَهْدِيهِمْ رَبُّهُم بِإِيمَانِهِمْ ۖ تَجْرِي مِن تَحْتِهِمُ الْأَنْهَارُ فِي جَنَّاتِ النَّعِيمِ (9) Mazima abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu, Mukama omulabirizi waabwe abalungamya olw'obukkiriza bwa bwe, gikulukutira e migga wansi waabwe mu jjana ez'ebyengera |
دَعْوَاهُمْ فِيهَا سُبْحَانَكَ اللَّهُمَّ وَتَحِيَّتُهُمْ فِيهَا سَلَامٌ ۚ وَآخِرُ دَعْوَاهُمْ أَنِ الْحَمْدُ لِلَّهِ رَبِّ الْعَالَمِينَ (10) Okusaba kwa bwe nga bali mu yo (baliba batendereza nga bagamba nti) wasukkuluma ayi Mukama Katonda nga ne ssalaamu, kye kiriba e kiramuso kya bwe, nga n'enkomelero y'okusaba kwa bwe baligamba nti amatendo gonna ga Katonda omulabirizi w'ebitonde |
۞ وَلَوْ يُعَجِّلُ اللَّهُ لِلنَّاسِ الشَّرَّ اسْتِعْجَالَهُم بِالْخَيْرِ لَقُضِيَ إِلَيْهِمْ أَجَلُهُمْ ۖ فَنَذَرُ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا فِي طُغْيَانِهِمْ يَعْمَهُونَ (11) Singa Katonda yali atuusa ku bantu akabi nga bwabatuusaako amangu obulungi, yaalibatuusizza kw'ekyo kye yabagerera, olwo nno netuleka abatasuubira kutusisinkana mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta |
وَإِذَا مَسَّ الْإِنسَانَ الضُّرُّ دَعَانَا لِجَنبِهِ أَوْ قَاعِدًا أَوْ قَائِمًا فَلَمَّا كَشَفْنَا عَنْهُ ضُرَّهُ مَرَّ كَأَن لَّمْ يَدْعُنَا إِلَىٰ ضُرٍّ مَّسَّهُ ۚ كَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِلْمُسْرِفِينَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (12) Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola |
وَلَقَدْ أَهْلَكْنَا الْقُرُونَ مِن قَبْلِكُمْ لَمَّا ظَلَمُوا ۙ وَجَاءَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ وَمَا كَانُوا لِيُؤْمِنُوا ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي الْقَوْمَ الْمُجْرِمِينَ (13) Twazikiriza e mirembe mingi oluberyeberye lwa mmwe bwe gyamala okweyisa obubi (ewa Katonda wa bwe), so nga ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu naye nga tebaali baakukkiriza, bulijjo bwe tutyo bwe tusasula abantu aboonoonyi |
ثُمَّ جَعَلْنَاكُمْ خَلَائِفَ فِي الْأَرْضِ مِن بَعْدِهِمْ لِنَنظُرَ كَيْفَ تَعْمَلُونَ (14) Oluvanyuma twabafuula (mmwe) abaddira bali mu bigere oluvanyuma lwa bwe, olwo nno tulabe mmwe mukola mutya |
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ آيَاتُنَا بَيِّنَاتٍ ۙ قَالَ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا ائْتِ بِقُرْآنٍ غَيْرِ هَٰذَا أَوْ بَدِّلْهُ ۚ قُلْ مَا يَكُونُ لِي أَنْ أُبَدِّلَهُ مِن تِلْقَاءِ نَفْسِي ۖ إِنْ أَتَّبِعُ إِلَّا مَا يُوحَىٰ إِلَيَّ ۖ إِنِّي أَخَافُ إِنْ عَصَيْتُ رَبِّي عَذَابَ يَوْمٍ عَظِيمٍ (15) Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa ng’ate ddala binnyonnyofu, abo abatasuubira kutusisinkana bagamba nti leetayo Kur’ani endala etali eno oba eno gikyuseemu, bagambe nti tekiri mu buyinza bwange okugikyusa nga nze nnesalirawo, sirina kyengoberera okugyako ekyo ekimpebwa nga bubaka, mazima nze ntya ebibonerezo by'okulunaku oluzito singa njemera Mukama omulabirizi wange |
قُل لَّوْ شَاءَ اللَّهُ مَا تَلَوْتُهُ عَلَيْكُمْ وَلَا أَدْرَاكُم بِهِ ۖ فَقَدْ لَبِثْتُ فِيكُمْ عُمُرًا مِّن قَبْلِهِ ۚ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (16) Bagambe nti singa Katonda yayagala sandigibasomedde (Kur’ani) era (Katonda) teyandigibamanyisizza, anti mazima nnatuula mu mmwe ebbanga ddene nga tennampebwa abaffe temutegeera |
فَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا أَوْ كَذَّبَ بِآيَاتِهِ ۚ إِنَّهُ لَا يُفْلِحُ الْمُجْرِمُونَ (17) Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera ku Katonda ebigambo eby'obulimba oba naalimbisa ebigambo bye mazima ddala aboonoonyi tebagenda kuwona |
وَيَعْبُدُونَ مِن دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَضُرُّهُمْ وَلَا يَنفَعُهُمْ وَيَقُولُونَ هَٰؤُلَاءِ شُفَعَاؤُنَا عِندَ اللَّهِ ۚ قُلْ أَتُنَبِّئُونَ اللَّهَ بِمَا لَا يَعْلَمُ فِي السَّمَاوَاتِ وَلَا فِي الْأَرْضِ ۚ سُبْحَانَهُ وَتَعَالَىٰ عَمَّا يُشْرِكُونَ (18) Nebatuuka okusinza ebirala ebitali Katonda ebyo ebitayinza kubatuusaako kabi era ebitayinza kubagasa nebagamba nti bano, be bawolereza baffe ewa Katonda, gamba (Ggwe Muhammad nti mu kukola ekyo) mutegeeza Katonda ekyo kyatamanyi mu ggulu (omusanvu) wadde mu nsi, Musukkulumu era yeesambye nnyo kw'ebyo bye bumugattako |
وَمَا كَانَ النَّاسُ إِلَّا أُمَّةً وَاحِدَةً فَاخْتَلَفُوا ۚ وَلَوْلَا كَلِمَةٌ سَبَقَتْ مِن رَّبِّكَ لَقُضِيَ بَيْنَهُمْ فِيمَا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (19) Abantu tebabangako okugyako e kibiina kimu (Wddiinin y'obusiraamu) wabula oluvanyuma baayawukana, naye singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo (okuba nti buli muntu alina waalifiira) ensonga zaabwe zaalimaliddwa (mangu) mw'ebyo bye baawukanamu |
وَيَقُولُونَ لَوْلَا أُنزِلَ عَلَيْهِ آيَةٌ مِّن رَّبِّهِ ۖ فَقُلْ إِنَّمَا الْغَيْبُ لِلَّهِ فَانتَظِرُوا إِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُنتَظِرِينَ (20) Era bagamba nti singa (Muhammad) assibwako eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe kale ggwe gamba nti mazima ebitalabwako biri mu mikono gya Katonda (bwayagala abiwa abantu bwaba tayagadde naatabawa), kale nno mulindirire, mazima nze ndiwamu na mmwe mu balindirira |
وَإِذَا أَذَقْنَا النَّاسَ رَحْمَةً مِّن بَعْدِ ضَرَّاءَ مَسَّتْهُمْ إِذَا لَهُم مَّكْرٌ فِي آيَاتِنَا ۚ قُلِ اللَّهُ أَسْرَعُ مَكْرًا ۚ إِنَّ رُسُلَنَا يَكْتُبُونَ مَا تَمْكُرُونَ (21) Abantu bwe tubakombya ku kusaasira oluvanyuma lw'obuzibu obuba bubatuuseeko ogenda okulaba nga balina enkwe zebakola ku by'amagero byaffe, gamba ggwe (Muhammad) nti Katonda y'asinga obwangu mu kussa mu nkola kyaba asazeewo, mazima ddala bulijjo ababaka baffe bawandiika enkwe zemusala |
هُوَ الَّذِي يُسَيِّرُكُمْ فِي الْبَرِّ وَالْبَحْرِ ۖ حَتَّىٰ إِذَا كُنتُمْ فِي الْفُلْكِ وَجَرَيْنَ بِهِم بِرِيحٍ طَيِّبَةٍ وَفَرِحُوا بِهَا جَاءَتْهَا رِيحٌ عَاصِفٌ وَجَاءَهُمُ الْمَوْجُ مِن كُلِّ مَكَانٍ وَظَنُّوا أَنَّهُمْ أُحِيطَ بِهِمْ ۙ دَعَوُا اللَّهَ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ لَئِنْ أَنجَيْتَنَا مِنْ هَٰذِهِ لَنَكُونَنَّ مِنَ الشَّاكِرِينَ (22) (Katonda) yye yooyo abatambuza ku lukalu ne ku mazzi okutuusa bwe muba nga muli mu lyato (amaato) negatambula n'abantu abagaliko nga gaseeyeeya mu mpewo e nnungi era negabasanyusa ate nno baba balyawo e mpewo erimu kibuyaga neebajjira n'amayengo negabajjira okuva mu mpuyi zonna, nebatuuka n'okulowooza nti obwabwe bukomye, awo nno basaba Katonda ng'okusaba kwonna bakwolekeza ye yekka era nga bagamba nti n'omala otuwonya e kizibu kino tujja kubeerera ddala mubeebaza |
فَلَمَّا أَنجَاهُمْ إِذَا هُمْ يَبْغُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ ۗ يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِنَّمَا بَغْيُكُمْ عَلَىٰ أَنفُسِكُم ۖ مَّتَاعَ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ ثُمَّ إِلَيْنَا مَرْجِعُكُمْ فَنُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (23) Naye ate bwamala okubawonya ogenda okubalaba nga bakola obwonoonefu mu nsi awatali nsonga yonna ntuufu. Abange mmwe abantu mazima obwonoonefu bwa mmwe bufiiriza mmwe, (anti bwo) kweyagala kwa bulamu bwa nsi oluvanyuma gyetuli y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno tubamanyise byonna bye mwakolanga |
إِنَّمَا مَثَلُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا كَمَاءٍ أَنزَلْنَاهُ مِنَ السَّمَاءِ فَاخْتَلَطَ بِهِ نَبَاتُ الْأَرْضِ مِمَّا يَأْكُلُ النَّاسُ وَالْأَنْعَامُ حَتَّىٰ إِذَا أَخَذَتِ الْأَرْضُ زُخْرُفَهَا وَازَّيَّنَتْ وَظَنَّ أَهْلُهَا أَنَّهُمْ قَادِرُونَ عَلَيْهَا أَتَاهَا أَمْرُنَا لَيْلًا أَوْ نَهَارًا فَجَعَلْنَاهَا حَصِيدًا كَأَن لَّمْ تَغْنَ بِالْأَمْسِ ۚ كَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (24) Mazima e kifaananyi ky'obulamu bw'ensi kiringa amazzi getussa okuva waggulu ne gatuuka ku bimera ebiri mu ttaka, mu ebyo abantu bye balya n'ensolo bye zirya, okutuusa ensi bwetandika okulabika obulungi nenyirira abantu abagiriko nebalowooza nti bagisobola, e kiragiro kyaffe nekibajjira ekiro oba e misana netugifuula nga enkungule neeba nga etabadde y'amugaso eggulo bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola obubonero eri abafumiitiriza |
وَاللَّهُ يَدْعُو إِلَىٰ دَارِ السَّلَامِ وَيَهْدِي مَن يَشَاءُ إِلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (25) Ne Katonda akoowoola abantu okujja eri e nyumba ey'emirembe era alungamya oyo gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu |
۞ لِّلَّذِينَ أَحْسَنُوا الْحُسْنَىٰ وَزِيَادَةٌ ۖ وَلَا يَرْهَقُ وُجُوهَهُمْ قَتَرٌ وَلَا ذِلَّةٌ ۚ أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (26) Abo abakola obulungi bagenda kuweebwa obulungi n'ennyongeza. Enfuufu tegenda kubikka byenyi bya bwe wadde okulabikako obunyomoofu, abo nno b'ebantu bo mu jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo |
وَالَّذِينَ كَسَبُوا السَّيِّئَاتِ جَزَاءُ سَيِّئَةٍ بِمِثْلِهَا وَتَرْهَقُهُمْ ذِلَّةٌ ۖ مَّا لَهُم مِّنَ اللَّهِ مِنْ عَاصِمٍ ۖ كَأَنَّمَا أُغْشِيَتْ وُجُوهُهُمْ قِطَعًا مِّنَ اللَّيْلِ مُظْلِمًا ۚ أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ النَّارِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (27) Bo abakola ebibi empeera y'ekibi yenkana ekibi ekikoleddwa era obunyoomu bugenda kubabikka tebagenda kubeera n'abawonya yenna ku Katonda, bo ebyenyi bya bwe bigenda kubeera nga ebibikkiddwa ekitundu ky'ekiro eky'enzikiza abo nno b'ebantu bo mu muliro bo baakutuula mu gwo lubeerera |
وَيَوْمَ نَحْشُرُهُمْ جَمِيعًا ثُمَّ نَقُولُ لِلَّذِينَ أَشْرَكُوا مَكَانَكُمْ أَنتُمْ وَشُرَكَاؤُكُمْ ۚ فَزَيَّلْنَا بَيْنَهُمْ ۖ وَقَالَ شُرَكَاؤُهُم مَّا كُنتُمْ إِيَّانَا تَعْبُدُونَ (28) Era jjukira olunaku lwe tulibakunganya bonna olwo nno netugamba eri abo abaagatta abintu ebirala ku Katonda mubeere mu bifo bya mmwe ne bannammwe (be mwagatta ku Katonda) olwo nno netubaawulamu bebaagatta ku Katonda nebagamba nti mwali temusinza ffe |
فَكَفَىٰ بِاللَّهِ شَهِيدًا بَيْنَنَا وَبَيْنَكُمْ إِن كُنَّا عَنْ عِبَادَتِكُمْ لَغَافِلِينَ (29) Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati waffe na mmwe okukakasa nti tetumanyangako nti mwali mutusinza |
هُنَالِكَ تَبْلُو كُلُّ نَفْسٍ مَّا أَسْلَفَتْ ۚ وَرُدُّوا إِلَى اللَّهِ مَوْلَاهُمُ الْحَقِّ ۖ وَضَلَّ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَفْتَرُونَ (30) Olwo nno buli muntu agenda kulagwa ebyo bye yakola era bazzibwe ewa Katonda mukama waabwe omutuufu olwo nno bye baayiiyanga biryoke bibabuleko |
قُلْ مَن يَرْزُقُكُم مِّنَ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ أَمَّن يَمْلِكُ السَّمْعَ وَالْأَبْصَارَ وَمَن يُخْرِجُ الْحَيَّ مِنَ الْمَيِّتِ وَيُخْرِجُ الْمَيِّتَ مِنَ الْحَيِّ وَمَن يُدَبِّرُ الْأَمْرَ ۚ فَسَيَقُولُونَ اللَّهُ ۚ فَقُلْ أَفَلَا تَتَّقُونَ (31) Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya |
فَذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمُ الْحَقُّ ۖ فَمَاذَا بَعْدَ الْحَقِّ إِلَّا الضَّلَالُ ۖ فَأَنَّىٰ تُصْرَفُونَ (32) Oyo nno mmwe ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe omutuufu. Oluvanyuma lwa mazima gano ate kiki (omuntu) kyalinda! okugyako okubula, kale nno ate muwugulwa mutya (okuva ku Katonda) |
كَذَٰلِكَ حَقَّتْ كَلِمَتُ رَبِّكَ عَلَى الَّذِينَ فَسَقُوا أَنَّهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (33) Bwe kityo e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, bwe kyakakata ku abo abaayonoona ne kiba nti mazima ddala bo tebagenda kukkiriza |
قُلْ هَلْ مِن شُرَكَائِكُم مَّن يَبْدَأُ الْخَلْقَ ثُمَّ يُعِيدُهُ ۚ قُلِ اللَّهُ يَبْدَأُ الْخَلْقَ ثُمَّ يُعِيدُهُ ۖ فَأَنَّىٰ تُؤْفَكُونَ (34) Gamba ggwe (Muhammad) nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okutandikawo ebitonde (bwamala n'abiggyawo) ate n'abizzaawo, gamba nti Katonda atandika ebitonde ate agenda kubizzaawo kale ate muwugulwa mutya |
قُلْ هَلْ مِن شُرَكَائِكُم مَّن يَهْدِي إِلَى الْحَقِّ ۚ قُلِ اللَّهُ يَهْدِي لِلْحَقِّ ۗ أَفَمَن يَهْدِي إِلَى الْحَقِّ أَحَقُّ أَن يُتَّبَعَ أَمَّن لَّا يَهِدِّي إِلَّا أَن يُهْدَىٰ ۖ فَمَا لَكُمْ كَيْفَ تَحْكُمُونَ (35) Bagambe nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okulungamya, gamba nti Katonda alungamya eri obutuufu, yaateekwa okugobererwa oba oyo atalungamya okugyako nga alungamiziddwa mwabaaki ebintu mubisalawo mutya |
وَمَا يَتَّبِعُ أَكْثَرُهُمْ إِلَّا ظَنًّا ۚ إِنَّ الظَّنَّ لَا يُغْنِي مِنَ الْحَقِّ شَيْئًا ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ بِمَا يَفْعَلُونَ (36) Abasinga obungi mu bo tebagoberera okugyako okuteeba, anti mazima okuteeba tekulina kintu kyonna kye kuyamba ku kulaga obutuufu, mazima ddala bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola |
وَمَا كَانَ هَٰذَا الْقُرْآنُ أَن يُفْتَرَىٰ مِن دُونِ اللَّهِ وَلَٰكِن تَصْدِيقَ الَّذِي بَيْنَ يَدَيْهِ وَتَفْصِيلَ الْكِتَابِ لَا رَيْبَ فِيهِ مِن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (37) Kyali tekisoboka kuba nti Kur’ani eno yagunjibwawo nga teyava wa Katonda, wabula yye Katonda yagissa nga ekakasa ebyo ebitabo ebyagikulembera era nga ennyonnyola ebiri mu bitabo ebyo byonna, teriimu kubuusabuusa yava wa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna |
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۖ قُلْ فَأْتُوا بِسُورَةٍ مِّثْلِهِ وَادْعُوا مَنِ اسْتَطَعْتُم مِّن دُونِ اللَّهِ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (38) Oba bagamba nti (Muhammad) yagigunjaawo, gamba nti (bwemba nga nze nnagiyiiya) kale muleete essuula yonna egifaanana muyite bonna bemunaaba musobodde, nga oggyeko Katonda bwe muba nga mwogera mazima |
بَلْ كَذَّبُوا بِمَا لَمْ يُحِيطُوا بِعِلْمِهِ وَلَمَّا يَأْتِهِمْ تَأْوِيلُهُ ۚ كَذَٰلِكَ كَذَّبَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الظَّالِمِينَ (39) Wabula baalimbisa ebyo bye bataamanyira ddala mu bujjuvu, nga n'enzivuunula y'abyo tennabajjira bwe batyo abaabakulembera bwe baalimbisa naye tunula olabe enkomerero y'a beeyisa obubi yali etya |
وَمِنْهُم مَّن يُؤْمِنُ بِهِ وَمِنْهُم مَّن لَّا يُؤْمِنُ بِهِ ۚ وَرَبُّكَ أَعْلَمُ بِالْمُفْسِدِينَ (40) Ate mu bo mulimu abakkiriza (Kur’ani) era nga bwe mulimu abatagikkiriza era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya bikwata ku boonoonyi |
وَإِن كَذَّبُوكَ فَقُل لِّي عَمَلِي وَلَكُمْ عَمَلُكُمْ ۖ أَنتُم بَرِيئُونَ مِمَّا أَعْمَلُ وَأَنَا بَرِيءٌ مِّمَّا تَعْمَلُونَ (41) Naye bwe baba nga bakulimbisizza (ggwe Nabbi Muhammad), bagambe nti nina e mirimu gyenkola (e ddiini yange) na mmwe mulina e mirimu gye mukola (mu ddiini yammwe) muli wala nnyo n'ebyo byenkola era nange ndiwala nnyo n'ebyo bye mukola |
وَمِنْهُم مَّن يَسْتَمِعُونَ إِلَيْكَ ۚ أَفَأَنتَ تُسْمِعُ الصُّمَّ وَلَوْ كَانُوا لَا يَعْقِلُونَ (42) Ate mu bo mulimu abakuwuliriza naye abaffe ggwe osobola okuwuliza ba kiggala newaakubadde nga tebategeera |
وَمِنْهُم مَّن يَنظُرُ إِلَيْكَ ۚ أَفَأَنتَ تَهْدِي الْعُمْيَ وَلَوْ كَانُوا لَا يُبْصِرُونَ (43) Era mu bo mulimu akutunuulira naye abaffe ggwe osobola okulungamya ba muzibe wadde nga tebalaba |
إِنَّ اللَّهَ لَا يَظْلِمُ النَّاسَ شَيْئًا وَلَٰكِنَّ النَّاسَ أَنفُسَهُمْ يَظْلِمُونَ (44) Mazima Katonda tayisa bubi Bantu mu kintu kyonna, naye mazima abantu bo bennyini be beeyisa obubi |
وَيَوْمَ يَحْشُرُهُمْ كَأَن لَّمْ يَلْبَثُوا إِلَّا سَاعَةً مِّنَ النَّهَارِ يَتَعَارَفُونَ بَيْنَهُمْ ۚ قَدْ خَسِرَ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِلِقَاءِ اللَّهِ وَمَا كَانُوا مُهْتَدِينَ (45) N'olunaku (Katonda) lwali bakunganya bagenda kuba nga abataali ku nsi okugyako essaawa emu mu budde bw'emisana nga bamanyigana wakati waabwe. Mazima bafaafaaganirwa abo abalimbisa okusisinkana Katonda era tebabangako balungamu |
وَإِمَّا نُرِيَنَّكَ بَعْضَ الَّذِي نَعِدُهُمْ أَوْ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِلَيْنَا مَرْجِعُهُمْ ثُمَّ اللَّهُ شَهِيدٌ عَلَىٰ مَا يَفْعَلُونَ (46) Naye singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tubalagaanyisa (kuno ku nsi) oba netukutta (nga tobirabye ky'ekimu) n'olwekyo gye tuli y'eri obuddo bwabwe ate Katonda alaba ebyo byonna bye bakola |
وَلِكُلِّ أُمَّةٍ رَّسُولٌ ۖ فَإِذَا جَاءَ رَسُولُهُمْ قُضِيَ بَيْنَهُم بِالْقِسْطِ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (47) Nabuli bantu bonna baafuna omubaka, kale nno bwalijja omubaka waabwe (naabawaako obujulizi ku lunaku lw'enkomerero) wagenda kulamulwa wakati waabwe na bwenkanya era nga tebagenda kuyisibwa bubi |
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا الْوَعْدُ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (48) Era bagamba nti, ebyo ebitulagaanyisibwa biribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima |
قُل لَّا أَمْلِكُ لِنَفْسِي ضَرًّا وَلَا نَفْعًا إِلَّا مَا شَاءَ اللَّهُ ۗ لِكُلِّ أُمَّةٍ أَجَلٌ ۚ إِذَا جَاءَ أَجَلُهُمْ فَلَا يَسْتَأْخِرُونَ سَاعَةً ۖ وَلَا يَسْتَقْدِمُونَ (49) Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) sisobola kwetaasa mu kabenje konna era nga bwe siyinza kwegasa na kintu kyonna okugyako ekyo Katonda kyaba anjagalizza, buli bantu balina ebbanga Katonda lye yabagerera singa ebbanga eryo liba lituuse tebasobola kwongezaayo oba okukulembeza oba wadde essaawa emu |
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِنْ أَتَاكُمْ عَذَابُهُ بَيَاتًا أَوْ نَهَارًا مَّاذَا يَسْتَعْجِلُ مِنْهُ الْمُجْرِمُونَ (50) Bagambe nti, mulaba mutya singa ebibonerezo bya Katonda biba bibajjidde kiro oba misana (ekyo kibagasaaki?) lwaki aboonoonyi basaba ebibonerezo okubajjira amangu |
أَثُمَّ إِذَا مَا وَقَعَ آمَنتُم بِهِ ۚ آلْآنَ وَقَدْ كُنتُم بِهِ تَسْتَعْجِلُونَ (51) Abaffe oluvanyuma lw'okujja kw'ekibonerezo ebyo olwo nga mubikkirize so nga ate mwali musaba byanguyirizibwe (mu ngeri ya kujeeja) |
ثُمَّ قِيلَ لِلَّذِينَ ظَلَمُوا ذُوقُوا عَذَابَ الْخُلْدِ هَلْ تُجْزَوْنَ إِلَّا بِمَا كُنتُمْ تَكْسِبُونَ (52) Oluvanyuma abeeyisa obubi baligambibwa nti mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera, abaffe muyinza okusasulwa okugyako ekyo kye mwapakasa |
۞ وَيَسْتَنبِئُونَكَ أَحَقٌّ هُوَ ۖ قُلْ إِي وَرَبِّي إِنَّهُ لَحَقٌّ ۖ وَمَا أَنتُم بِمُعْجِزِينَ (53) Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) nti abaffe ebibonerezo by'olunaku lw'enkomerero bya mazima! bagambe nti yye ndayira Mukama omulabirizi wange nti mazima byo bya mazima, era mmwe temuli baakulemesa (Katonda) |
وَلَوْ أَنَّ لِكُلِّ نَفْسٍ ظَلَمَتْ مَا فِي الْأَرْضِ لَافْتَدَتْ بِهِ ۗ وَأَسَرُّوا النَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُا الْعَذَابَ ۖ وَقُضِيَ بَيْنَهُم بِالْقِسْطِ ۚ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (54) Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda), bagenda kulyazanyizibwa. Abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya era tebagenda kuyisibwa bubi |
أَلَا إِنَّ لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۗ أَلَا إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (55) Abange, mazima bya Katonda, ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, abange mazima endagaano ya Katonda ya mazima, naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi |
هُوَ يُحْيِي وَيُمِيتُ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (56) Yye Katonda y'awa obulamu era yatta ate gyali gye bagenda okuzzibwa |
يَا أَيُّهَا النَّاسُ قَدْ جَاءَتْكُم مَّوْعِظَةٌ مِّن رَّبِّكُمْ وَشِفَاءٌ لِّمَا فِي الصُّدُورِ وَهُدًى وَرَحْمَةٌ لِّلْمُؤْمِنِينَ (57) Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza |
قُلْ بِفَضْلِ اللَّهِ وَبِرَحْمَتِهِ فَبِذَٰلِكَ فَلْيَفْرَحُوا هُوَ خَيْرٌ مِّمَّا يَجْمَعُونَ (58) Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ku lw'ebigabwa bya Katonda n'okusaasirakwe (okubawa eddiini yo'busiraamu) ku lw'ebyo basaana basanyuke, ebyo nno bye bisinga obulungi mw'ebyo byonna bye mukunganya |
قُلْ أَرَأَيْتُم مَّا أَنزَلَ اللَّهُ لَكُم مِّن رِّزْقٍ فَجَعَلْتُم مِّنْهُ حَرَامًا وَحَلَالًا قُلْ آللَّهُ أَذِنَ لَكُمْ ۖ أَمْ عَلَى اللَّهِ تَفْتَرُونَ (59) Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mumbulire ebyo Katonda bye yabassiza mu bigabwa mmwe nemweteeramu bye muziza nemulondobamu, bagambe nti mazima Katonda yeyabakkiriza (okukola mutyo) oba Katonda gwe mutemerera |
وَمَا ظَنُّ الَّذِينَ يَفْتَرُونَ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۗ إِنَّ اللَّهَ لَذُو فَضْلٍ عَلَى النَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَشْكُرُونَ (60) Era abo abatemerera ku Katonda eby'obulimba balowoozaaki ku biribaawo ku lunaku lw'okuzuukira, mazima Katonda agabira abantu obulungi bungi nnyo naye abasinga obungi mu bo tebeebaza |
وَمَا تَكُونُ فِي شَأْنٍ وَمَا تَتْلُو مِنْهُ مِن قُرْآنٍ وَلَا تَعْمَلُونَ مِنْ عَمَلٍ إِلَّا كُنَّا عَلَيْكُمْ شُهُودًا إِذْ تُفِيضُونَ فِيهِ ۚ وَمَا يَعْزُبُ عَن رَّبِّكَ مِن مِّثْقَالِ ذَرَّةٍ فِي الْأَرْضِ وَلَا فِي السَّمَاءِ وَلَا أَصْغَرَ مِن ذَٰلِكَ وَلَا أَكْبَرَ إِلَّا فِي كِتَابٍ مُّبِينٍ (61) Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugutandikira, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu |
أَلَا إِنَّ أَوْلِيَاءَ اللَّهِ لَا خَوْفٌ عَلَيْهِمْ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (62) Abange mazima emikwano gya Katonda tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala |
الَّذِينَ آمَنُوا وَكَانُوا يَتَّقُونَ (63) (Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda |
لَهُمُ الْبُشْرَىٰ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَفِي الْآخِرَةِ ۚ لَا تَبْدِيلَ لِكَلِمَاتِ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (64) Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'o bw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu |
وَلَا يَحْزُنكَ قَوْلُهُمْ ۘ إِنَّ الْعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعًا ۚ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (65) Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi |
أَلَا إِنَّ لِلَّهِ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَمَن فِي الْأَرْضِ ۗ وَمَا يَتَّبِعُ الَّذِينَ يَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ شُرَكَاءَ ۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا الظَّنَّ وَإِنْ هُمْ إِلَّا يَخْرُصُونَ (66) Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza |
هُوَ الَّذِي جَعَلَ لَكُمُ اللَّيْلَ لِتَسْكُنُوا فِيهِ وَالنَّهَارَ مُبْصِرًا ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَسْمَعُونَ (67) Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira |
قَالُوا اتَّخَذَ اللَّهُ وَلَدًا ۗ سُبْحَانَهُ ۖ هُوَ الْغَنِيُّ ۖ لَهُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۚ إِنْ عِندَكُم مِّن سُلْطَانٍ بِهَٰذَا ۚ أَتَقُولُونَ عَلَى اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (68) Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi |
قُلْ إِنَّ الَّذِينَ يَفْتَرُونَ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ لَا يُفْلِحُونَ (69) Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima |
مَتَاعٌ فِي الدُّنْيَا ثُمَّ إِلَيْنَا مَرْجِعُهُمْ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ الْعَذَابَ الشَّدِيدَ بِمَا كَانُوا يَكْفُرُونَ (70) Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga |
۞ وَاتْلُ عَلَيْهِمْ نَبَأَ نُوحٍ إِذْ قَالَ لِقَوْمِهِ يَا قَوْمِ إِن كَانَ كَبُرَ عَلَيْكُم مَّقَامِي وَتَذْكِيرِي بِآيَاتِ اللَّهِ فَعَلَى اللَّهِ تَوَكَّلْتُ فَأَجْمِعُوا أَمْرَكُمْ وَشُرَكَاءَكُمْ ثُمَّ لَا يَكُنْ أَمْرُكُمْ عَلَيْكُمْ غُمَّةً ثُمَّ اقْضُوا إِلَيَّ وَلَا تُنظِرُونِ (71) Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Katonda bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Katonda, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza |
فَإِن تَوَلَّيْتُمْ فَمَا سَأَلْتُكُم مِّنْ أَجْرٍ ۖ إِنْ أَجْرِيَ إِلَّا عَلَى اللَّهِ ۖ وَأُمِرْتُ أَنْ أَكُونَ مِنَ الْمُسْلِمِينَ (72) Bwemuva ku ekyo (nze byonna byenkola mbibakolera lwa Katonda) sibasabangako kunsasula mpeera, empeera yange teri okugyako ewa mukama Katonda, era nnalagirwa okubeera mu basiraamu |
فَكَذَّبُوهُ فَنَجَّيْنَاهُ وَمَن مَّعَهُ فِي الْفُلْكِ وَجَعَلْنَاهُمْ خَلَائِفَ وَأَغْرَقْنَا الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الْمُنذَرِينَ (73) (Awamu n'ebyo byonna) baamulimbisa netumuwonya n’abo abaali awamu naye mu lyato netubafuula abasigire (ku nsi) era netuzikiriza abo abaalimbisa ebigambo byaffe, tunula (weetegereze) enkomerero y'abo abaalabulwa |
ثُمَّ بَعَثْنَا مِن بَعْدِهِ رُسُلًا إِلَىٰ قَوْمِهِمْ فَجَاءُوهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَمَا كَانُوا لِيُؤْمِنُوا بِمَا كَذَّبُوا بِهِ مِن قَبْلُ ۚ كَذَٰلِكَ نَطْبَعُ عَلَىٰ قُلُوبِ الْمُعْتَدِينَ (74) Oluvanyuma lwe (Nuhu) twatuma ababaka buli omu eri abantube nebabaleetera obujulizi obw'enkukunala naye (bano) tebaali b'a kukkiriza bali bye baalimbisa oluberyeberye, bwe tutyo bulijjo bwe tubikka emitima gy'abo abasukka e nsalo |
ثُمَّ بَعَثْنَا مِن بَعْدِهِم مُّوسَىٰ وَهَارُونَ إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِ بِآيَاتِنَا فَاسْتَكْبَرُوا وَكَانُوا قَوْمًا مُّجْرِمِينَ (75) Oluvanyuma lwa bwe twatuma Musa ne Haruna eri Firawo n'abantube nga tubawadde obubonero bwaffe wabula ne bawaganyala anti bulijjo baali bantu boonoonyi |
فَلَمَّا جَاءَهُمُ الْحَقُّ مِنْ عِندِنَا قَالُوا إِنَّ هَٰذَا لَسِحْرٌ مُّبِينٌ (76) Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu |
قَالَ مُوسَىٰ أَتَقُولُونَ لِلْحَقِّ لَمَّا جَاءَكُمْ ۖ أَسِحْرٌ هَٰذَا وَلَا يُفْلِحُ السَّاحِرُونَ (77) Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero) |
قَالُوا أَجِئْتَنَا لِتَلْفِتَنَا عَمَّا وَجَدْنَا عَلَيْهِ آبَاءَنَا وَتَكُونَ لَكُمَا الْكِبْرِيَاءُ فِي الْأَرْضِ وَمَا نَحْنُ لَكُمَا بِمُؤْمِنِينَ (78) Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza |
وَقَالَ فِرْعَوْنُ ائْتُونِي بِكُلِّ سَاحِرٍ عَلِيمٍ (79) Olwo Firawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu |
فَلَمَّا جَاءَ السَّحَرَةُ قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ أَلْقُوا مَا أَنتُم مُّلْقُونَ (80) Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala |
فَلَمَّا أَلْقَوْا قَالَ مُوسَىٰ مَا جِئْتُم بِهِ السِّحْرُ ۖ إِنَّ اللَّهَ سَيُبْطِلُهُ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يُصْلِحُ عَمَلَ الْمُفْسِدِينَ (81) Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi |
وَيُحِقُّ اللَّهُ الْحَقَّ بِكَلِمَاتِهِ وَلَوْ كَرِهَ الْمُجْرِمُونَ (82) Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde |
فَمَا آمَنَ لِمُوسَىٰ إِلَّا ذُرِّيَّةٌ مِّن قَوْمِهِ عَلَىٰ خَوْفٍ مِّن فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِمْ أَن يَفْتِنَهُمْ ۚ وَإِنَّ فِرْعَوْنَ لَعَالٍ فِي الْأَرْضِ وَإِنَّهُ لَمِنَ الْمُسْرِفِينَ (83) Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Firawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Firawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi |
وَقَالَ مُوسَىٰ يَا قَوْمِ إِن كُنتُمْ آمَنتُم بِاللَّهِ فَعَلَيْهِ تَوَكَّلُوا إِن كُنتُم مُّسْلِمِينَ (84) Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Katonda mwekwase yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda) |
فَقَالُوا عَلَى اللَّهِ تَوَكَّلْنَا رَبَّنَا لَا تَجْعَلْنَا فِتْنَةً لِّلْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (85) (Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Katonda waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula e kikemo eri abo abeeyisa obubi |
وَنَجِّنَا بِرَحْمَتِكَ مِنَ الْقَوْمِ الْكَافِرِينَ (86) Era otuwonye (otutaase) olw'okusaasirakwo ku bantu abaakaafuwala |
وَأَوْحَيْنَا إِلَىٰ مُوسَىٰ وَأَخِيهِ أَن تَبَوَّآ لِقَوْمِكُمَا بِمِصْرَ بُيُوتًا وَاجْعَلُوا بُيُوتَكُمْ قِبْلَةً وَأَقِيمُوا الصَّلَاةَ ۗ وَبَشِّرِ الْمُؤْمِنِينَ (87) Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu ba mmwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo e sswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza |
وَقَالَ مُوسَىٰ رَبَّنَا إِنَّكَ آتَيْتَ فِرْعَوْنَ وَمَلَأَهُ زِينَةً وَأَمْوَالًا فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا رَبَّنَا لِيُضِلُّوا عَن سَبِيلِكَ ۖ رَبَّنَا اطْمِسْ عَلَىٰ أَمْوَالِهِمْ وَاشْدُدْ عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ فَلَا يُؤْمِنُوا حَتَّىٰ يَرَوُا الْعَذَابَ الْأَلِيمَ (88) Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Firawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo e mmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa) |
قَالَ قَدْ أُجِيبَت دَّعْوَتُكُمَا فَاسْتَقِيمَا وَلَا تَتَّبِعَانِّ سَبِيلَ الَّذِينَ لَا يَعْلَمُونَ (89) (Katonda) naagamba nti mazima okusaba kwa mmwe mwembiriri kukkiriziddwa, mubeere beesimbu mwembi era temugoberera mwembi ekkubo ly'abo abatamanyi (abatategeera bukakafu bwa ndagaano za Katonda) |
۞ وَجَاوَزْنَا بِبَنِي إِسْرَائِيلَ الْبَحْرَ فَأَتْبَعَهُمْ فِرْعَوْنُ وَجُنُودُهُ بَغْيًا وَعَدْوًا ۖ حَتَّىٰ إِذَا أَدْرَكَهُ الْغَرَقُ قَالَ آمَنتُ أَنَّهُ لَا إِلَٰهَ إِلَّا الَّذِي آمَنَتْ بِهِ بَنُو إِسْرَائِيلَ وَأَنَا مِنَ الْمُسْلِمِينَ (90) Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Firawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okugyako oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse |
آلْآنَ وَقَدْ عَصَيْتَ قَبْلُ وَكُنتَ مِنَ الْمُفْسِدِينَ (91) (Firawo naagambibwa nti kati olwo okkiriza) so nga wajeema dda n'obeera mu boonoonyi |
فَالْيَوْمَ نُنَجِّيكَ بِبَدَنِكَ لِتَكُونَ لِمَنْ خَلْفَكَ آيَةً ۚ وَإِنَّ كَثِيرًا مِّنَ النَّاسِ عَنْ آيَاتِنَا لَغَافِلُونَ (92) Kale nno olwa leero tujja kukuwonya (kukuuma) omulambogwo (guleme kuvunda) olyoke obeere eky'okulabirako eri abalijja oluvanyumalwo, mazima abantu abasinga obungi tebafaayo (kwegasa na bubonero bwaffe) |
وَلَقَدْ بَوَّأْنَا بَنِي إِسْرَائِيلَ مُبَوَّأَ صِدْقٍ وَرَزَقْنَاهُم مِّنَ الطَّيِّبَاتِ فَمَا اخْتَلَفُوا حَتَّىٰ جَاءَهُمُ الْعِلْمُ ۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقْضِي بَيْنَهُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ فِيمَا كَانُوا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (93) Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu |
فَإِن كُنتَ فِي شَكٍّ مِّمَّا أَنزَلْنَا إِلَيْكَ فَاسْأَلِ الَّذِينَ يَقْرَءُونَ الْكِتَابَ مِن قَبْلِكَ ۚ لَقَدْ جَاءَكَ الْحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الْمُمْتَرِينَ (94) Bwoba nga olimu okubuusabuusa (Ggwe Muhammad) ku ebyo bye twassa gyoli buuza abo abaasoma e kitabo oluberyeberyelwo, ddala amazima gakujjidde okuva ewa Mukama omulabiriziwo kale togeza nga n'obeera mu babuusabuusa |
وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِ اللَّهِ فَتَكُونَ مِنَ الْخَاسِرِينَ (95) Era ddala tobeeranga mu abo abalimbisa e bigambo bya Katonda n'obeera mu bafaafaganirwa |
إِنَّ الَّذِينَ حَقَّتْ عَلَيْهِمْ كَلِمَتُ رَبِّكَ لَا يُؤْمِنُونَ (96) Mazima abo abaakakatako ekigambo kya Mukama omulabiriziwo tebagenda kukkiriza |
وَلَوْ جَاءَتْهُمْ كُلُّ آيَةٍ حَتَّىٰ يَرَوُا الْعَذَابَ الْأَلِيمَ (97) Nebwebanajjirwa buli kabonero okutuusa lwe baliraba e bibonerezo ebiruma |
فَلَوْلَا كَانَتْ قَرْيَةٌ آمَنَتْ فَنَفَعَهَا إِيمَانُهَا إِلَّا قَوْمَ يُونُسَ لَمَّا آمَنُوا كَشَفْنَا عَنْهُمْ عَذَابَ الْخِزْيِ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَمَتَّعْنَاهُمْ إِلَىٰ حِينٍ (98) Tewali bantu ba kitundu bakkiriza obukkiriza bwa bwe nebubagasa okugyako abantu ba Yunusu anti bwe bakkiriza twabaggyako ebibonerezo ebiswaza mu bulamu buno obw'ensi netubeeyagaza okutuusa ku ntuuko zaabwe |
وَلَوْ شَاءَ رَبُّكَ لَآمَنَ مَن فِي الْأَرْضِ كُلُّهُمْ جَمِيعًا ۚ أَفَأَنتَ تُكْرِهُ النَّاسَ حَتَّىٰ يَكُونُوا مُؤْمِنِينَ (99) Singa Mukama omulabiriziwo yayagala abantu abali mu nsi bandikkirizza bonna, kaakati ggwe oyagala kukaka bantu bonna babeere bakkiriza |
وَمَا كَانَ لِنَفْسٍ أَن تُؤْمِنَ إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ وَيَجْعَلُ الرِّجْسَ عَلَى الَّذِينَ لَا يَعْقِلُونَ (100) Tewali muntu ayinza kukikkiriza okugyako ng’akkiriza lwa kwagala kwa Katonda, era Katonda assa ekibi ku abo abatategeera |
قُلِ انظُرُوا مَاذَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ وَمَا تُغْنِي الْآيَاتُ وَالنُّذُرُ عَن قَوْمٍ لَّا يُؤْمِنُونَ (101) Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza |
فَهَلْ يَنتَظِرُونَ إِلَّا مِثْلَ أَيَّامِ الَّذِينَ خَلَوْا مِن قَبْلِهِمْ ۚ قُلْ فَانتَظِرُوا إِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُنتَظِرِينَ (102) Abaffe balina kye balindirira mpozzi ekifaananako ne nnaku zaabo abaabakulembera., bagambe nti: mulindirire nange ndi wamu na mmwe mu balindirira |
ثُمَّ نُنَجِّي رُسُلَنَا وَالَّذِينَ آمَنُوا ۚ كَذَٰلِكَ حَقًّا عَلَيْنَا نُنجِ الْمُؤْمِنِينَ (103) Oluvanyuma ne tuwonya (ne tutaasa) ababaka baffe n'abo abakkiriza bwe tutyo nno bulijjo kikakafu kuffe okutaasa abakkiriza |
قُلْ يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِن كُنتُمْ فِي شَكٍّ مِّن دِينِي فَلَا أَعْبُدُ الَّذِينَ تَعْبُدُونَ مِن دُونِ اللَّهِ وَلَٰكِنْ أَعْبُدُ اللَّهَ الَّذِي يَتَوَفَّاكُمْ ۖ وَأُمِرْتُ أَنْ أَكُونَ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ (104) Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Katonda oyo abatta ,era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza |
وَأَنْ أَقِمْ وَجْهَكَ لِلدِّينِ حَنِيفًا وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الْمُشْرِكِينَ (105) Era tereera mu ddiini ya Katonda n'goli mwesimbu era ddala tobeeranga mu bagatta e bintu e birala ku Katonda |
وَلَا تَدْعُ مِن دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكَ وَلَا يَضُرُّكَ ۖ فَإِن فَعَلْتَ فَإِنَّكَ إِذًا مِّنَ الظَّالِمِينَ (106) Tolekanga Katonda n'osaba e kintu e kirala ekyo ekitakugasa era ekitayinza kukutuusako kabi naye bwonookikola mazima ddala ggwe olwo nno onoobeera mu abo abeeyisa obubi |
وَإِن يَمْسَسْكَ اللَّهُ بِضُرٍّ فَلَا كَاشِفَ لَهُ إِلَّا هُوَ ۖ وَإِن يُرِدْكَ بِخَيْرٍ فَلَا رَادَّ لِفَضْلِهِ ۚ يُصِيبُ بِهِ مَن يَشَاءُ مِنْ عِبَادِهِ ۚ وَهُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (107) Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala |
قُلْ يَا أَيُّهَا النَّاسُ قَدْ جَاءَكُمُ الْحَقُّ مِن رَّبِّكُمْ ۖ فَمَنِ اهْتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهْتَدِي لِنَفْسِهِ ۖ وَمَن ضَلَّ فَإِنَّمَا يَضِلُّ عَلَيْهَا ۖ وَمَا أَنَا عَلَيْكُم بِوَكِيلٍ (108) Bagambe (Ggwe Muhammad) nti; abange mmwe abantu amazima gabajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oyo yenna alungama aba yeelungamidde, ate oyo abula okubulakwe kukosa yye. Nze siri mukuumi ku mmwe |
وَاتَّبِعْ مَا يُوحَىٰ إِلَيْكَ وَاصْبِرْ حَتَّىٰ يَحْكُمَ اللَّهُ ۚ وَهُوَ خَيْرُ الْحَاكِمِينَ (109) Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna |