The Quran in Ganda - Surah Masad translated into Ganda, Surah Al-Masad in Ganda. We provide accurate translation of Surah Masad in Ganda - لوغندا, Verses 5 - Surah Number 111 - Page 603.
تَبَّتْ يَدَا أَبِي لَهَبٍ وَتَبَّ (1) Mu Hadith eri mu kitabo kya Bukhari Nabbi yagenda ku Batwhahu naakuba wuuli abantu bangi bajja nga balowooza nti waliyo ebya maguzi, Nabbi bweyatandika okubabuulira ebikwata ku Katonda, Abu Lahbi naakasuka e mikono nga bwagamba nti kino kyotukunganyirizza era kyotuyitidde? Zikirira. Katonda kwe kumwanukula mu ssura eno naagamba nti: (Gizikirire e mikono gya Abu Lahbi (gyawuuba), era ddala yenna yazikirira |
مَا أَغْنَىٰ عَنْهُ مَالُهُ وَمَا كَسَبَ (2) Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa) |
سَيَصْلَىٰ نَارًا ذَاتَ لَهَبٍ (3) Ajja kwesonseka mu muliro ogubumbujja |
وَامْرَأَتُهُ حَمَّالَةَ الْحَطَبِ (4) Ne mukyalawe omwetissi w’enku (naye bwatyo) |
فِي جِيدِهَا حَبْلٌ مِّن مَّسَدٍ (5) Nga mu nsingoye mulimu omuguwa omulange |