يس (1) Yaasin |
وَالْقُرْآنِ الْحَكِيمِ (2) Ndayidde Kur’ani (eno) ejjudde ebigambo eby'amagezi |
إِنَّكَ لَمِنَ الْمُرْسَلِينَ (3) Mazima ggwe (Muhammad) oli wa mu babaka |
عَلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (4) (Nga oli) ku kkubo eggolokofu |
تَنزِيلَ الْعَزِيزِ الرَّحِيمِ (5) (Kur’ani eno) yassibwa nantakubwa ku mukono omusaasizi |
لِتُنذِرَ قَوْمًا مَّا أُنذِرَ آبَاؤُهُمْ فَهُمْ غَافِلُونَ (6) Obe nga otiisa abantu bakadde baabwe abataatiisibwa olwo nno nebaba abeesuulirayo ogwa naggamba (ku bikwata ku Katonda) |
لَقَدْ حَقَّ الْقَوْلُ عَلَىٰ أَكْثَرِهِمْ فَهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (7) Mazima kikakase ekigambo (eky'okubonerezebwa) ku basinga obungi mu bo nebaba nga tebagenda kukkiriza |
إِنَّا جَعَلْنَا فِي أَعْنَاقِهِمْ أَغْلَالًا فَهِيَ إِلَى الْأَذْقَانِ فَهُم مُّقْمَحُونَ (8) Mazima ffe twassa mu nsingo zaabwe enkoligo nga nazo zituukira ddala ku bulevu, olwo nno nebaba nga balalambadde |
وَجَعَلْنَا مِن بَيْنِ أَيْدِيهِمْ سَدًّا وَمِنْ خَلْفِهِمْ سَدًّا فَأَغْشَيْنَاهُمْ فَهُمْ لَا يُبْصِرُونَ (9) Netussa mu maaso gaabwe ekiziyiza netussa n'ekiziyiza (ekirala) emabega waabwe, olwo nno netubabikka nga bo tebayinza kulaba |
وَسَوَاءٌ عَلَيْهِمْ أَأَنذَرْتَهُمْ أَمْ لَمْ تُنذِرْهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (10) Era kyekimu ku bo obatiisizza oba tobatiisizza si baakukkiriza |
إِنَّمَا تُنذِرُ مَنِ اتَّبَعَ الذِّكْرَ وَخَشِيَ الرَّحْمَٰنَ بِالْغَيْبِ ۖ فَبَشِّرْهُ بِمَغْفِرَةٍ وَأَجْرٍ كَرِيمٍ (11) Mazima otiisa oyo agoberera okubuulirira era n'atya (Katonda) omusaasizi ennyo awamu n'okuba nga talabika kale nno musanyuse n'amawulire g’ekisonyiwo n'empeera eyeesiimisa |
إِنَّا نَحْنُ نُحْيِي الْمَوْتَىٰ وَنَكْتُبُ مَا قَدَّمُوا وَآثَارَهُمْ ۚ وَكُلَّ شَيْءٍ أَحْصَيْنَاهُ فِي إِمَامٍ مُّبِينٍ (12) Mazima ffe tuliramusa abafu era tuwandiika ebyo bye baakulembeza ne bye baagoberezaako nga na buli kintu twakikomeka mu kitabo e kikulu e kigenda okulaga buli kimu |
وَاضْرِبْ لَهُم مَّثَلًا أَصْحَابَ الْقَرْيَةِ إِذْ جَاءَهَا الْمُرْسَلُونَ (13) Bakubire ekifaanayi ky'abantu bo mu kitundu ekimu bwe bajjirwa ababaka |
إِذْ أَرْسَلْنَا إِلَيْهِمُ اثْنَيْنِ فَكَذَّبُوهُمَا فَعَزَّزْنَا بِثَالِثٍ فَقَالُوا إِنَّا إِلَيْكُم مُّرْسَلُونَ (14) Mu kiseera bwe twatumira gye bali ababaka babiri ne babalimbisa, olwo nno netubongera amaanyi n’owokusatu (bonsatule) nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa gye muli |
قَالُوا مَا أَنتُمْ إِلَّا بَشَرٌ مِّثْلُنَا وَمَا أَنزَلَ الرَّحْمَٰنُ مِن شَيْءٍ إِنْ أَنتُمْ إِلَّا تَكْذِبُونَ (15) (Abo mu kitundu ekyo) ne bagamba nti: mmwe temuli okugyako (okuba) bantu bannaffe era Katonda omusaasizi ennyo tassanga kintu kyonna temuli mmwe okugyako okuba nga mulimba (bulimbi) |
قَالُوا رَبُّنَا يَعْلَمُ إِنَّا إِلَيْكُمْ لَمُرْسَلُونَ (16) (Ababaka) nebagamba nti Mukama omulabirizi waffe omanyi nti mazima ddala ffe tutumiddwa gye muli |
وَمَا عَلَيْنَا إِلَّا الْبَلَاغُ الْمُبِينُ (17) Era tetuvunaanyizibwa okugyako okutuusa obubaka mu bunnyonnyofu |
قَالُوا إِنَّا تَطَيَّرْنَا بِكُمْ ۖ لَئِن لَّمْ تَنتَهُوا لَنَرْجُمَنَّكُمْ وَلَيَمَسَّنَّكُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٌ (18) (Abo mu kitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwa mmwe, bwe muteekomeko tujja kubakasukira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gye tuli |
قَالُوا طَائِرُكُم مَّعَكُمْ ۚ أَئِن ذُكِّرْتُم ۚ بَلْ أَنتُمْ قَوْمٌ مُّسْرِفُونَ (19) (Ababaka) ne bagamba nti okutya kwa mmwe okutuukibwako obuzibu mwe mukyereetedde (bwe mugaanye okuwuliriza obubaka bwe muleeteddwa) wabula mmwe muli bantu abayitirivu mu kwonoona |
وَجَاءَ مِنْ أَقْصَى الْمَدِينَةِ رَجُلٌ يَسْعَىٰ قَالَ يَا قَوْمِ اتَّبِعُوا الْمُرْسَلِينَ (20) olwo nno omusajja najja nga ava ku nkomerero y’ekibuga nga ayanguwa naagamba nti: abange bantu bange mugoberere ababaka |
اتَّبِعُوا مَن لَّا يَسْأَلُكُمْ أَجْرًا وَهُم مُّهْتَدُونَ (21) Mugoberere abo abatabasaba mpeera ate nga bo balungamu |
وَمَا لِيَ لَا أَعْبُدُ الَّذِي فَطَرَنِي وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (22) Nina ki okuba nti sisinza oyo eyantonda, ate nga gyali gye mulizzibwa |
أَأَتَّخِذُ مِن دُونِهِ آلِهَةً إِن يُرِدْنِ الرَّحْمَٰنُ بِضُرٍّ لَّا تُغْنِ عَنِّي شَفَاعَتُهُمْ شَيْئًا وَلَا يُنقِذُونِ (23) Ndeke Katonda neeteerewo ebisinzibwa ebirala, so nga singa Katonda omusaasizi ennyo anjagaliza akabi okuwolereza kwabyo tekwandingasizza kintu kyonna era tebiyinza kunziruukirira |
إِنِّي إِذًا لَّفِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (24) (Singa nkikola) mazima nze olwo njakuba mu bubuze obweyolefu |
إِنِّي آمَنتُ بِرَبِّكُمْ فَاسْمَعُونِ (25) Mazima nze nzikiriza Mukama omulabirizi wa mmwe kale mumpulirize |
قِيلَ ادْخُلِ الْجَنَّةَ ۖ قَالَ يَا لَيْتَ قَوْمِي يَعْلَمُونَ (26) Naagambibwa (nga amaze okufa) nti yingira e jjana, naagamba nti kale singa abantu bange bamanyi |
بِمَا غَفَرَ لِي رَبِّي وَجَعَلَنِي مِنَ الْمُكْرَمِينَ (27) Ekyo Mukama omulabirizi wange kyansonyiyidde era nanteeka mwabo abagabulwa (olwaleero) |
۞ وَمَا أَنزَلْنَا عَلَىٰ قَوْمِهِ مِن بَعْدِهِ مِن جُندٍ مِّنَ السَّمَاءِ وَمَا كُنَّا مُنزِلِينَ (28) Era tetwassa ku bantu be oluvanyuma lwe ggye lyonna liva mu gggulu (olw'okubazikiriza) era tetwali baakulissa |
إِن كَانَتْ إِلَّا صَيْحَةً وَاحِدَةً فَإِذَا هُمْ خَامِدُونَ (29) (Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okugyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu |
يَا حَسْرَةً عَلَى الْعِبَادِ ۚ مَا يَأْتِيهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (30) Kya nnaku nnyo, ku baddu (abantu) tewali mubaka abajjira okugyako bamujeeja |
أَلَمْ يَرَوْا كَمْ أَهْلَكْنَا قَبْلَهُم مِّنَ الْقُرُونِ أَنَّهُمْ إِلَيْهِمْ لَا يَرْجِعُونَ (31) Abaffe tebalaba nti emirembe emeka gyetwazikiriza oluberyeberye lwabwe, nga mazima ddala bo tebagenda kudda gye bali |
وَإِن كُلٌّ لَّمَّا جَمِيعٌ لَّدَيْنَا مُحْضَرُونَ (32) Tewali nagumu ku gyonna (emirembe) okugyako nga bonna ba kuleetebwa mu maaso gaffe |
وَآيَةٌ لَّهُمُ الْأَرْضُ الْمَيْتَةُ أَحْيَيْنَاهَا وَأَخْرَجْنَا مِنْهَا حَبًّا فَمِنْهُ يَأْكُلُونَ (33) Ensi efudde (ekaze) kabonero gye bali, tugiwa obulamu (tutonnyesa nkuba) era netumeza mu yo empeke, okwo nno kwe balya |
وَجَعَلْنَا فِيهَا جَنَّاتٍ مِّن نَّخِيلٍ وَأَعْنَابٍ وَفَجَّرْنَا فِيهَا مِنَ الْعُيُونِ (34) Netuteeka mu yo amalimiro ag’entende n'e Mizabibu era netufukula mu yo ensulo |
لِيَأْكُلُوا مِن ثَمَرِهِ وَمَا عَمِلَتْهُ أَيْدِيهِمْ ۖ أَفَلَا يَشْكُرُونَ (35) Babe nga balya ku bibala byayo ne Ku ebyo emikono gyabwe bye gikola, abaffe tebeebaza |
سُبْحَانَ الَّذِي خَلَقَ الْأَزْوَاجَ كُلَّهَا مِمَّا تُنبِتُ الْأَرْضُ وَمِنْ أَنفُسِهِمْ وَمِمَّا لَا يَعْلَمُونَ (36) Musukkulumu oyo eyatonda ebimera mu nsi ne mubo bennyini (abantu) ne bye batamanyi, nga byonna biba ekisajja n'ekikazi |
وَآيَةٌ لَّهُمُ اللَّيْلُ نَسْلَخُ مِنْهُ النَّهَارَ فَإِذَا هُم مُّظْلِمُونَ (37) Era ekiro kabonero gye bali anti tukijjako obudde obw'emisana ogenda okulaba nga bali mu nzikiza |
وَالشَّمْسُ تَجْرِي لِمُسْتَقَرٍّ لَّهَا ۚ ذَٰلِكَ تَقْدِيرُ الْعَزِيزِ الْعَلِيمِ (38) Ne njuba etambulira ku biragiro ebyagiweebwa, okwo kwe kugera kwa (Katonda) nantakubwa ku mukono amanyi ennyo |
وَالْقَمَرَ قَدَّرْنَاهُ مَنَازِلَ حَتَّىٰ عَادَ كَالْعُرْجُونِ الْقَدِيمِ (39) Nga n'omwezi (kabonero gye bali), twagugerera ebifo (mwe gutambulira) okutuusa lwe guddayo neguba nga ekikolokomba ekikadde |
لَا الشَّمْسُ يَنبَغِي لَهَا أَن تُدْرِكَ الْقَمَرَ وَلَا اللَّيْلُ سَابِقُ النَّهَارِ ۚ وَكُلٌّ فِي فَلَكٍ يَسْبَحُونَ (40) Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga |
وَآيَةٌ لَّهُمْ أَنَّا حَمَلْنَا ذُرِّيَّتَهُمْ فِي الْفُلْكِ الْمَشْحُونِ (41) Era kabonero gye bali (abantu), mazima ffe twatambuliza bannaabwe mu maato agakubyeko |
وَخَلَقْنَا لَهُم مِّن مِّثْلِهِ مَا يَرْكَبُونَ (42) Era tubatondera agalinga go gebasaabaliramu |
وَإِن نَّشَأْ نُغْرِقْهُمْ فَلَا صَرِيخَ لَهُمْ وَلَا هُمْ يُنقَذُونَ (43) Singa twagadde tuyinza okubazikiriza ne batasobola kwekubira nduulu, era nga tebayinza kuddukirirwa |
إِلَّا رَحْمَةً مِّنَّا وَمَتَاعًا إِلَىٰ حِينٍ (44) (Tewali kibaawo) okugyako okusaasira okuva gye tuli ne ku lw'okubeeyagaza okumala ekiseera ekigere |
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ اتَّقُوا مَا بَيْنَ أَيْدِيكُمْ وَمَا خَلْفَكُمْ لَعَلَّكُمْ تُرْحَمُونَ (45) Bwe baba bagambiddwa nti mutye ebyo ebiri mu maaso ga mmwe n'ebyo ebiri emabega wa mmwe, olwo nno mube nga musaasirwa (beesuulirayo gwa naggamba) |
وَمَا تَأْتِيهِم مِّنْ آيَةٍ مِّنْ آيَاتِ رَبِّهِمْ إِلَّا كَانُوا عَنْهَا مُعْرِضِينَ (46) Anti tewali kabonero mu bubonero bwa Mukama omulabirizi waabwe kaabajjira okugyako nga baakaawukanako |
وَإِذَا قِيلَ لَهُمْ أَنفِقُوا مِمَّا رَزَقَكُمُ اللَّهُ قَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لِلَّذِينَ آمَنُوا أَنُطْعِمُ مَن لَّوْ يَشَاءُ اللَّهُ أَطْعَمَهُ إِنْ أَنتُمْ إِلَّا فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (47) Era bwe baba bagambiddwa nti mugabe ku ebyo Katonda bye yabawa abo abaakaafuwala bagamba abo abakkiriza nti abaffe tuliise oyo singa Katonda yayagala yaali muliisizza, temuli mmwe okugyako okuba mu bubuze obw'olwatu |
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا الْوَعْدُ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (48) Era bagamba nti endagaano eyo eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima |
مَا يَنظُرُونَ إِلَّا صَيْحَةً وَاحِدَةً تَأْخُذُهُمْ وَهُمْ يَخِصِّمُونَ (49) Tebalinda okugyako olubwatuka lumu olulibakwata nga nabo bali mu kukaayana |
فَلَا يَسْتَطِيعُونَ تَوْصِيَةً وَلَا إِلَىٰ أَهْلِهِمْ يَرْجِعُونَ (50) Olwo nno tebagenda kulaama wadde okudda eri abantu baabwe (eka) |
وَنُفِخَ فِي الصُّورِ فَإِذَا هُم مِّنَ الْأَجْدَاثِ إِلَىٰ رَبِّهِمْ يَنسِلُونَ (51) Olwo engombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga bagenda eri Mukama omulabirizi waabwe nga baanguwa byansusso |
قَالُوا يَا وَيْلَنَا مَن بَعَثَنَا مِن مَّرْقَدِنَا ۜ ۗ هَٰذَا مَا وَعَدَ الرَّحْمَٰنُ وَصَدَقَ الْمُرْسَلُونَ (52) Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okutujja gye tubadde twebase (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima |
إِن كَانَتْ إِلَّا صَيْحَةً وَاحِدَةً فَإِذَا هُمْ جَمِيعٌ لَّدَيْنَا مُحْضَرُونَ (53) (Okubazuukiza) tekugenda kuba okugyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa |
فَالْيَوْمَ لَا تُظْلَمُ نَفْسٌ شَيْئًا وَلَا تُجْزَوْنَ إِلَّا مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (54) Olwa leero tewali muntu agenda kuyisibwa bubi mu kintu kyonna era temugenda kusasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola |
إِنَّ أَصْحَابَ الْجَنَّةِ الْيَوْمَ فِي شُغُلٍ فَاكِهُونَ (55) Mazima abantu b'omu jjana ku lunaku olwo balibeera mu kwetala olw'amasanyu gebalibeeramu |
هُمْ وَأَزْوَاجُهُمْ فِي ظِلَالٍ عَلَى الْأَرَائِكِ مُتَّكِئُونَ (56) Bo n'abo be baafumbiriganwa nabo bagenda kubeera mu bisiikirize nga beesigamye ebitanda ebiwunde |
لَهُمْ فِيهَا فَاكِهَةٌ وَلَهُم مَّا يَدَّعُونَ (57) Balina mu yo buli kika kya bibala era bagenda kufuna buli kye baliba basabye |
سَلَامٌ قَوْلًا مِّن رَّبٍّ رَّحِيمٍ (58) (Bagenda kufuna ekyengera ekisinga ebyo) nakyo salaamu nga kigambo ekiriva ewa Mukama omulabirizi waabwe ow'ekisa ekingi |
وَامْتَازُوا الْيَوْمَ أَيُّهَا الْمُجْرِمُونَ (59) Naye bo aboonoonyi bagenda kugambibwa nti: abange mmwe aboonoonyi olwa leero mweyawule (ku bakkiriza) |
۞ أَلَمْ أَعْهَدْ إِلَيْكُمْ يَا بَنِي آدَمَ أَن لَّا تَعْبُدُوا الشَّيْطَانَ ۖ إِنَّهُ لَكُمْ عَدُوٌّ مُّبِينٌ (60) Abange mmwe ezadde lya Adam abaffe ssaabakozesa endagaano nti: temusinzanga Sitane olw'okuba yye mulabe wa mmwe omweyolefu |
وَأَنِ اعْبُدُونِي ۚ هَٰذَا صِرَاطٌ مُّسْتَقِيمٌ (61) Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo lye kkubo ettuufu |
وَلَقَدْ أَضَلَّ مِنكُمْ جِبِلًّا كَثِيرًا ۖ أَفَلَمْ تَكُونُوا تَعْقِلُونَ (62) Mazima (sitane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera |
هَٰذِهِ جَهَنَّمُ الَّتِي كُنتُمْ تُوعَدُونَ (63) Guno nno gwe muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi) |
اصْلَوْهَا الْيَوْمَ بِمَا كُنتُمْ تَكْفُرُونَ (64) Muguyingire olwa leero olw'ebyo bye mwalinga muwakanya |
الْيَوْمَ نَخْتِمُ عَلَىٰ أَفْوَاهِهِمْ وَتُكَلِّمُنَا أَيْدِيهِمْ وَتَشْهَدُ أَرْجُلُهُم بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (65) Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola |
وَلَوْ نَشَاءُ لَطَمَسْنَا عَلَىٰ أَعْيُنِهِمْ فَاسْتَبَقُوا الصِّرَاطَ فَأَنَّىٰ يُبْصِرُونَ (66) Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno nebaba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya |
وَلَوْ نَشَاءُ لَمَسَخْنَاهُمْ عَلَىٰ مَكَانَتِهِمْ فَمَا اسْتَطَاعُوا مُضِيًّا وَلَا يَرْجِعُونَ (67) Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde |
وَمَن نُّعَمِّرْهُ نُنَكِّسْهُ فِي الْخَلْقِ ۖ أَفَلَا يَعْقِلُونَ (68) Oyo yenna gwe tuba tuwangaazizza tumuzzaayo n'aba munafu mu butonde, abaffe tebategeera |
وَمَا عَلَّمْنَاهُ الشِّعْرَ وَمَا يَنبَغِي لَهُ ۚ إِنْ هُوَ إِلَّا ذِكْرٌ وَقُرْآنٌ مُّبِينٌ (69) (Nabbi Muhammad) tetumuyigirizanga kutontoma era tekimugwanira, bye yajja nabyo tebiri okugyako nga bya kujjukiza era nga Kur’ani ennyonnyola |
لِّيُنذِرَ مَن كَانَ حَيًّا وَيَحِقَّ الْقَوْلُ عَلَى الْكَافِرِينَ (70) (Nabbi Muhmmad) alyoke atiise oyo yenna omulamu era ekigambo (eky'ebibonerezo) kikakate ku bakaafiiri |
أَوَلَمْ يَرَوْا أَنَّا خَلَقْنَا لَهُم مِّمَّا عَمِلَتْ أَيْدِينَا أَنْعَامًا فَهُمْ لَهَا مَالِكُونَ (71) Abaffe tebalaba nti mu bye twabatondera ebyakolebwa e mikono gyaffe z'ensolo bo zebafuga |
وَذَلَّلْنَاهَا لَهُمْ فَمِنْهَا رَكُوبُهُمْ وَمِنْهَا يَأْكُلُونَ (72) Era twabibagondeza, mulimu bye beebagala era nga mulimu bye balya |
وَلَهُمْ فِيهَا مَنَافِعُ وَمَشَارِبُ ۖ أَفَلَا يَشْكُرُونَ (73) Era mu byo balina emigaso (emirala) n'eby'okunywa abaffe tebeebaza |
وَاتَّخَذُوا مِن دُونِ اللَّهِ آلِهَةً لَّعَلَّهُمْ يُنصَرُونَ (74) Ate abakaafiiri baleka Katonda ne beeteerawo ebisinzibwa ebirala mbu babe nga bataasibwa |
لَا يَسْتَطِيعُونَ نَصْرَهُمْ وَهُمْ لَهُمْ جُندٌ مُّحْضَرُونَ (75) So nga tebasobola kubataasa awamu n'okuba nti bo nabyo baliba kibinja ekirireetebwa mu muliro |
فَلَا يَحْزُنكَ قَوْلُهُمْ ۘ إِنَّا نَعْلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعْلِنُونَ (76) Kale nno tebikunyiiza ebigambo bya bwe mazima ffe tumanyi ebyo bye bakweka ne bye bakola mu lwatu |
أَوَلَمْ يَرَ الْإِنسَانُ أَنَّا خَلَقْنَاهُ مِن نُّطْفَةٍ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٌ مُّبِينٌ (77) Abaffe omuntu talaba nti mazima ffe twamutonda nga tumujja mu mazzi agazaala, ogenda okulaba nga ye muyitirivu wa kukaayana okw'olwatu |
وَضَرَبَ لَنَا مَثَلًا وَنَسِيَ خَلْقَهُ ۖ قَالَ مَن يُحْيِي الْعِظَامَ وَهِيَ رَمِيمٌ (78) Naatukubira ekifaananyi neyeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu |
قُلْ يُحْيِيهَا الَّذِي أَنشَأَهَا أَوَّلَ مَرَّةٍ ۖ وَهُوَ بِكُلِّ خَلْقٍ عَلِيمٌ (79) Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde |
الَّذِي جَعَلَ لَكُم مِّنَ الشَّجَرِ الْأَخْضَرِ نَارًا فَإِذَا أَنتُم مِّنْهُ تُوقِدُونَ (80) Oyo eyabateerawo omuliro okuva mu muti omubisi okugenda okulaba nga mmwe mukuma omuliro okuva mu gwo (omuti) |
أَوَلَيْسَ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ بِقَادِرٍ عَلَىٰ أَن يَخْلُقَ مِثْلَهُم ۚ بَلَىٰ وَهُوَ الْخَلَّاقُ الْعَلِيمُ (81) Abaffe oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biringa byo, weewaawo (asobolera ddala) era ddala yye ye mutonzi omumanyi ennyo |
إِنَّمَا أَمْرُهُ إِذَا أَرَادَ شَيْئًا أَن يَقُولَ لَهُ كُن فَيَكُونُ (82) Mazima ekiragirokye bwaba ayagadde ekintu (kibeewo) agamba bugambi nti bba ne kiba |
فَسُبْحَانَ الَّذِي بِيَدِهِ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيْءٍ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (83) N’olwekyo musukkulumu nnyo oyo mu mikono gye mwokka mwemuli obufuzi bwa buli kintu ate nga gyali yokka gye mulizzibwa |