×

Surah Fatir in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Fatir

Translation of the Meanings of Surah Fatir in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Fatir translated into Ganda, Surah Fatir in Ganda. We provide accurate translation of Surah Fatir in Ganda - لوغندا, Verses 45 - Surah Number 35 - Page 434.

بسم الله الرحمن الرحيم

الْحَمْدُ لِلَّهِ فَاطِرِ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ جَاعِلِ الْمَلَائِكَةِ رُسُلًا أُولِي أَجْنِحَةٍ مَّثْنَىٰ وَثُلَاثَ وَرُبَاعَ ۚ يَزِيدُ فِي الْخَلْقِ مَا يَشَاءُ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (1)
Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu
مَّا يَفْتَحِ اللَّهُ لِلنَّاسِ مِن رَّحْمَةٍ فَلَا مُمْسِكَ لَهَا ۖ وَمَا يُمْسِكْ فَلَا مُرْسِلَ لَهُ مِن بَعْدِهِ ۚ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (2)
Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga
يَا أَيُّهَا النَّاسُ اذْكُرُوا نِعْمَتَ اللَّهِ عَلَيْكُمْ ۚ هَلْ مِنْ خَالِقٍ غَيْرُ اللَّهِ يَرْزُقُكُم مِّنَ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ ۚ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ فَأَنَّىٰ تُؤْفَكُونَ (3)
Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدْ كُذِّبَتْ رُسُلٌ مِّن قَبْلِكَ ۚ وَإِلَى اللَّهِ تُرْجَعُ الْأُمُورُ (4)
Bwe bakulimbisa mazima ababaka baalimbisibwa oluberyeberyelwo, era nga bulijjo ewa Katonda ensonga zonna gyezizzibwa
يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ ۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ الْحَيَاةُ الدُّنْيَا ۖ وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِاللَّهِ الْغَرُورُ (5)
Abange mmwe abantu mazima endagaano ya Katonda ya mazima, obulamu bwensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibajjanga ku Katonda
إِنَّ الشَّيْطَانَ لَكُمْ عَدُوٌّ فَاتَّخِذُوهُ عَدُوًّا ۚ إِنَّمَا يَدْعُو حِزْبَهُ لِيَكُونُوا مِنْ أَصْحَابِ السَّعِيرِ (6)
Mazima Sitane mulabe wa mmwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiinakye balyoke babeere mu bantu bo mu muliro Sa-iri
الَّذِينَ كَفَرُوا لَهُمْ عَذَابٌ شَدِيدٌ ۖ وَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُم مَّغْفِرَةٌ وَأَجْرٌ كَبِيرٌ (7)
Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu
أَفَمَن زُيِّنَ لَهُ سُوءُ عَمَلِهِ فَرَآهُ حَسَنًا ۖ فَإِنَّ اللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَاءُ وَيَهْدِي مَن يَشَاءُ ۖ فَلَا تَذْهَبْ نَفْسُكَ عَلَيْهِمْ حَسَرَاتٍ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ بِمَا يَصْنَعُونَ (8)
Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola
وَاللَّهُ الَّذِي أَرْسَلَ الرِّيَاحَ فَتُثِيرُ سَحَابًا فَسُقْنَاهُ إِلَىٰ بَلَدٍ مَّيِّتٍ فَأَحْيَيْنَا بِهِ الْأَرْضَ بَعْدَ مَوْتِهَا ۚ كَذَٰلِكَ النُّشُورُ (9)
Katonda yooyo asindika empewo nezitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) netunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno netuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba)
مَن كَانَ يُرِيدُ الْعِزَّةَ فَلِلَّهِ الْعِزَّةُ جَمِيعًا ۚ إِلَيْهِ يَصْعَدُ الْكَلِمُ الطَّيِّبُ وَالْعَمَلُ الصَّالِحُ يَرْفَعُهُ ۚ وَالَّذِينَ يَمْكُرُونَ السَّيِّئَاتِ لَهُمْ عَذَابٌ شَدِيدٌ ۖ وَمَكْرُ أُولَٰئِكَ هُوَ يَبُورُ (10)
Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka
وَاللَّهُ خَلَقَكُم مِّن تُرَابٍ ثُمَّ مِن نُّطْفَةٍ ثُمَّ جَعَلَكُمْ أَزْوَاجًا ۚ وَمَا تَحْمِلُ مِنْ أُنثَىٰ وَلَا تَضَعُ إِلَّا بِعِلْمِهِ ۚ وَمَا يُعَمَّرُ مِن مُّعَمَّرٍ وَلَا يُنقَصُ مِنْ عُمُرِهِ إِلَّا فِي كِتَابٍ ۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى اللَّهِ يَسِيرٌ (11)
Era Katonda yabakola (mmwe) nga abajja mu ttaka oluvanyuma abajja mu mazzi agazaala oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda
وَمَا يَسْتَوِي الْبَحْرَانِ هَٰذَا عَذْبٌ فُرَاتٌ سَائِغٌ شَرَابُهُ وَهَٰذَا مِلْحٌ أُجَاجٌ ۖ وَمِن كُلٍّ تَأْكُلُونَ لَحْمًا طَرِيًّا وَتَسْتَخْرِجُونَ حِلْيَةً تَلْبَسُونَهَا ۖ وَتَرَى الْفُلْكَ فِيهِ مَوَاخِرَ لِتَبْتَغُوا مِن فَضْلِهِ وَلَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (12)
Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza
يُولِجُ اللَّيْلَ فِي النَّهَارِ وَيُولِجُ النَّهَارَ فِي اللَّيْلِ وَسَخَّرَ الشَّمْسَ وَالْقَمَرَ كُلٌّ يَجْرِي لِأَجَلٍ مُّسَمًّى ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ لَهُ الْمُلْكُ ۚ وَالَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِهِ مَا يَمْلِكُونَ مِن قِطْمِيرٍ (13)
Ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere oyo nno ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe nannyini buyinza bwonna ate abo bemusaba abatali yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke
إِن تَدْعُوهُمْ لَا يَسْمَعُوا دُعَاءَكُمْ وَلَوْ سَمِعُوا مَا اسْتَجَابُوا لَكُمْ ۖ وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ يَكْفُرُونَ بِشِرْكِكُمْ ۚ وَلَا يُنَبِّئُكَ مِثْلُ خَبِيرٍ (14)
Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwa mmwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga oyo amanyi ekintu nemunda waakyo
۞ يَا أَيُّهَا النَّاسُ أَنتُمُ الْفُقَرَاءُ إِلَى اللَّهِ ۖ وَاللَّهُ هُوَ الْغَنِيُّ الْحَمِيدُ (15)
Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Katonda ate yye Katonda y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo
إِن يَشَأْ يُذْهِبْكُمْ وَيَأْتِ بِخَلْقٍ جَدِيدٍ (16)
(N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubajjawo naaleeta ebitonde ebipya
وَمَا ذَٰلِكَ عَلَى اللَّهِ بِعَزِيزٍ (17)
Era ekyo ku Katonda si kinene
وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٌ وِزْرَ أُخْرَىٰ ۚ وَإِن تَدْعُ مُثْقَلَةٌ إِلَىٰ حِمْلِهَا لَا يُحْمَلْ مِنْهُ شَيْءٌ وَلَوْ كَانَ ذَا قُرْبَىٰ ۗ إِنَّمَا تُنذِرُ الَّذِينَ يَخْشَوْنَ رَبَّهُم بِالْغَيْبِ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ ۚ وَمَن تَزَكَّىٰ فَإِنَّمَا يَتَزَكَّىٰ لِنَفْسِهِ ۚ وَإِلَى اللَّهِ الْمَصِيرُ (18)
Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo
وَمَا يَسْتَوِي الْأَعْمَىٰ وَالْبَصِيرُ (19)
Era muzibe n'alaba tebenkana
وَلَا الظُّلُمَاتُ وَلَا النُّورُ (20)
Wadde ebizikiza n'ekitangaala
وَلَا الظِّلُّ وَلَا الْحَرُورُ (21)
Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana
وَمَا يَسْتَوِي الْأَحْيَاءُ وَلَا الْأَمْوَاتُ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُسْمِعُ مَن يَشَاءُ ۖ وَمَا أَنتَ بِمُسْمِعٍ مَّن فِي الْقُبُورِ (22)
Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli
إِنْ أَنتَ إِلَّا نَذِيرٌ (23)
Ggwe toli okugyako okuba omutiisa
إِنَّا أَرْسَلْنَاكَ بِالْحَقِّ بَشِيرًا وَنَذِيرًا ۚ وَإِن مِّنْ أُمَّةٍ إِلَّا خَلَا فِيهَا نَذِيرٌ (24)
Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu bonna okugyako nga omutiisa yabatuukamu
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدْ كَذَّبَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ جَاءَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ وَبِالزُّبُرِ وَبِالْكِتَابِ الْمُنِيرِ (25)
Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza
ثُمَّ أَخَذْتُ الَّذِينَ كَفَرُوا ۖ فَكَيْفَ كَانَ نَكِيرِ (26)
Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya
أَلَمْ تَرَ أَنَّ اللَّهَ أَنزَلَ مِنَ السَّمَاءِ مَاءً فَأَخْرَجْنَا بِهِ ثَمَرَاتٍ مُّخْتَلِفًا أَلْوَانُهَا ۚ وَمِنَ الْجِبَالِ جُدَدٌ بِيضٌ وَحُمْرٌ مُّخْتَلِفٌ أَلْوَانُهَا وَغَرَابِيبُ سُودٌ (27)
Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi
وَمِنَ النَّاسِ وَالدَّوَابِّ وَالْأَنْعَامِ مُخْتَلِفٌ أَلْوَانُهُ كَذَٰلِكَ ۗ إِنَّمَا يَخْشَى اللَّهَ مِنْ عِبَادِهِ الْعُلَمَاءُ ۗ إِنَّ اللَّهَ عَزِيزٌ غَفُورٌ (28)
Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo
إِنَّ الَّذِينَ يَتْلُونَ كِتَابَ اللَّهِ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ وَأَنفَقُوا مِمَّا رَزَقْنَاهُمْ سِرًّا وَعَلَانِيَةً يَرْجُونَ تِجَارَةً لَّن تَبُورَ (29)
Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba
لِيُوَفِّيَهُمْ أُجُورَهُمْ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضْلِهِ ۚ إِنَّهُ غَفُورٌ شَكُورٌ (30)
Ate alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungibye anti mazima yye, musonyiyi nnyo omwebaza
وَالَّذِي أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ مِنَ الْكِتَابِ هُوَ الْحَقُّ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ بِعِبَادِهِ لَخَبِيرٌ بَصِيرٌ (31)
N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo
ثُمَّ أَوْرَثْنَا الْكِتَابَ الَّذِينَ اصْطَفَيْنَا مِنْ عِبَادِنَا ۖ فَمِنْهُمْ ظَالِمٌ لِّنَفْسِهِ وَمِنْهُم مُّقْتَصِدٌ وَمِنْهُمْ سَابِقٌ بِالْخَيْرَاتِ بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَضْلُ الْكَبِيرُ (32)
Oluvanyuma twasikiza ekitabo abo be twalondoba mu baddu baffe olwo nno nemuba mu bo eyeeyisa obubi yennyini nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Katonda obwo nno bwe bulungi obusuffu
جَنَّاتُ عَدْنٍ يَدْخُلُونَهَا يُحَلَّوْنَ فِيهَا مِنْ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٍ وَلُؤْلُؤًا ۖ وَلِبَاسُهُمْ فِيهَا حَرِيرٌ (33)
(Nga) z'ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne Luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya Sirik
وَقَالُوا الْحَمْدُ لِلَّهِ الَّذِي أَذْهَبَ عَنَّا الْحَزَنَ ۖ إِنَّ رَبَّنَا لَغَفُورٌ شَكُورٌ (34)
Era ne bagamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama omulabirizi waffe musonyiyi nnyo era yeebaza
الَّذِي أَحَلَّنَا دَارَ الْمُقَامَةِ مِن فَضْلِهِ لَا يَمَسُّنَا فِيهَا نَصَبٌ وَلَا يَمَسُّنَا فِيهَا لُغُوبٌ (35)
Oyo atutadde mu nyumba ey'olubeerera nga kugaba kwe ennaku ssi yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukwako kukoowa
وَالَّذِينَ كَفَرُوا لَهُمْ نَارُ جَهَنَّمَ لَا يُقْضَىٰ عَلَيْهِمْ فَيَمُوتُوا وَلَا يُخَفَّفُ عَنْهُم مِّنْ عَذَابِهَا ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي كُلَّ كَفُورٍ (36)
Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima
وَهُمْ يَصْطَرِخُونَ فِيهَا رَبَّنَا أَخْرِجْنَا نَعْمَلْ صَالِحًا غَيْرَ الَّذِي كُنَّا نَعْمَلُ ۚ أَوَلَمْ نُعَمِّرْكُم مَّا يَتَذَكَّرُ فِيهِ مَن تَذَكَّرَ وَجَاءَكُمُ النَّذِيرُ ۖ فَذُوقُوا فَمَا لِلظَّالِمِينَ مِن نَّصِيرٍ (37)
Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna
إِنَّ اللَّهَ عَالِمُ غَيْبِ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ إِنَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (38)
Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi mazima ddala yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba
هُوَ الَّذِي جَعَلَكُمْ خَلَائِفَ فِي الْأَرْضِ ۚ فَمَن كَفَرَ فَعَلَيْهِ كُفْرُهُ ۖ وَلَا يَزِيدُ الْكَافِرِينَ كُفْرُهُمْ عِندَ رَبِّهِمْ إِلَّا مَقْتًا ۖ وَلَا يَزِيدُ الْكَافِرِينَ كُفْرُهُمْ إِلَّا خَسَارًا (39)
Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo akaafuwala obukaafiiri bwe bukosa yye, era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okukyayibwa era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera okugyako okufaafaaganirwa
قُلْ أَرَأَيْتُمْ شُرَكَاءَكُمُ الَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُوا مِنَ الْأَرْضِ أَمْ لَهُمْ شِرْكٌ فِي السَّمَاوَاتِ أَمْ آتَيْنَاهُمْ كِتَابًا فَهُمْ عَلَىٰ بَيِّنَتٍ مِّنْهُ ۚ بَلْ إِن يَعِدُ الظَّالِمُونَ بَعْضُهُم بَعْضًا إِلَّا غُرُورًا (40)
Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okugyako ebigayaaza
۞ إِنَّ اللَّهَ يُمْسِكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ أَن تَزُولَا ۚ وَلَئِن زَالَتَا إِنْ أَمْسَكَهُمَا مِنْ أَحَدٍ مِّن بَعْدِهِ ۚ إِنَّهُ كَانَ حَلِيمًا غَفُورًا (41)
Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe anti mazima yye wa kisa musonyiyi nnyo
وَأَقْسَمُوا بِاللَّهِ جَهْدَ أَيْمَانِهِمْ لَئِن جَاءَهُمْ نَذِيرٌ لَّيَكُونُنَّ أَهْدَىٰ مِنْ إِحْدَى الْأُمَمِ ۖ فَلَمَّا جَاءَهُمْ نَذِيرٌ مَّا زَادَهُمْ إِلَّا نُفُورًا (42)
(Abakaafiiri be Makkah) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulungamu okusinga (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammad) bwe yabajjira tekyabongera okugyako okwesamba (omubaka)
اسْتِكْبَارًا فِي الْأَرْضِ وَمَكْرَ السَّيِّئِ ۚ وَلَا يَحِيقُ الْمَكْرُ السَّيِّئُ إِلَّا بِأَهْلِهِ ۚ فَهَلْ يَنظُرُونَ إِلَّا سُنَّتَ الْأَوَّلِينَ ۚ فَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ اللَّهِ تَبْدِيلًا ۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ اللَّهِ تَحْوِيلًا (43)
(Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa
أَوَلَمْ يَسِيرُوا فِي الْأَرْضِ فَيَنظُرُوا كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ وَكَانُوا أَشَدَّ مِنْهُمْ قُوَّةً ۚ وَمَا كَانَ اللَّهُ لِيُعْجِزَهُ مِن شَيْءٍ فِي السَّمَاوَاتِ وَلَا فِي الْأَرْضِ ۚ إِنَّهُ كَانَ عَلِيمًا قَدِيرًا (44)
Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza
وَلَوْ يُؤَاخِذُ اللَّهُ النَّاسَ بِمَا كَسَبُوا مَا تَرَكَ عَلَىٰ ظَهْرِهَا مِن دَابَّةٍ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمْ إِلَىٰ أَجَلٍ مُّسَمًّى ۖ فَإِذَا جَاءَ أَجَلُهُمْ فَإِنَّ اللَّهَ كَانَ بِعِبَادِهِ بَصِيرًا (45)
Singa Katonda yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko za bwe bwe zituuka (buli muntu nazzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Katonda bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddube
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas