×

Surah Al-Ahqaaf in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Ahqaf

Translation of the Meanings of Surah Ahqaf in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Ahqaf translated into Ganda, Surah Al-Ahqaaf in Ganda. We provide accurate translation of Surah Ahqaf in Ganda - لوغندا, Verses 35 - Surah Number 46 - Page 502.

بسم الله الرحمن الرحيم

حم (1)
Ha Miim
تَنزِيلُ الْكِتَابِ مِنَ اللَّهِ الْعَزِيزِ الْحَكِيمِ (2)
Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kwava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga
مَا خَلَقْنَا السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا إِلَّا بِالْحَقِّ وَأَجَلٍ مُّسَمًّى ۚ وَالَّذِينَ كَفَرُوا عَمَّا أُنذِرُوا مُعْرِضُونَ (3)
Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo
قُلْ أَرَأَيْتُم مَّا تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُوا مِنَ الْأَرْضِ أَمْ لَهُمْ شِرْكٌ فِي السَّمَاوَاتِ ۖ ائْتُونِي بِكِتَابٍ مِّن قَبْلِ هَٰذَا أَوْ أَثَارَةٍ مِّنْ عِلْمٍ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (4)
Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Katonda, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima
وَمَنْ أَضَلُّ مِمَّن يَدْعُو مِن دُونِ اللَّهِ مَن لَّا يَسْتَجِيبُ لَهُ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ وَهُمْ عَن دُعَائِهِمْ غَافِلُونَ (5)
Ani mubuze okusinga oyo alekawo Katonda naasaba oyo atasobola kumwanukula okutuusa ku lunaku lw’enkomerero! nga nabo (be basaba) tebalina kye bamanyi ku kusaba kwabwe
وَإِذَا حُشِرَ النَّاسُ كَانُوا لَهُمْ أَعْدَاءً وَكَانُوا بِعِبَادَتِهِمْ كَافِرِينَ (6)
Ng’ate abantu bwe balikunganyizibwa (be baasaba nga) bagenda kuba balabe baabwe era bagenda kwewakana okuba nti ba basinzanga
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ آيَاتُنَا بَيِّنَاتٍ قَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لِلْحَقِّ لَمَّا جَاءَهُمْ هَٰذَا سِحْرٌ مُّبِينٌ (7)
Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu, abo abawakanya amazima bwe gabajjira bagamba nti lino ddogo lyeyolefu
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۖ قُلْ إِنِ افْتَرَيْتُهُ فَلَا تَمْلِكُونَ لِي مِنَ اللَّهِ شَيْئًا ۖ هُوَ أَعْلَمُ بِمَا تُفِيضُونَ فِيهِ ۖ كَفَىٰ بِهِ شَهِيدًا بَيْنِي وَبَيْنَكُمْ ۖ وَهُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (8)
Oba bagamba nti Nabbi Muhammad ye yajigunjaawo (Kur’ani)! bagambe nti bwemba najigunjaawo temulina kintu kye muyinza kumponya ku Katonda, yye yaasinga okumanya bye muwolompokamu. Ye amala okuba nga mujulizi wakati wange nammwe era yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo
قُلْ مَا كُنتُ بِدْعًا مِّنَ الرُّسُلِ وَمَا أَدْرِي مَا يُفْعَلُ بِي وَلَا بِكُمْ ۖ إِنْ أَتَّبِعُ إِلَّا مَا يُوحَىٰ إِلَيَّ وَمَا أَنَا إِلَّا نَذِيرٌ مُّبِينٌ (9)
Bagambe nti si nze nsoose mu babaka era simanyi kinankolebwa wadde kye munakolebwa, sirina kyengoberera okugyako obubaka obumpebwa era siri nze okugyako omutiisa ow'olwatu
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِن كَانَ مِنْ عِندِ اللَّهِ وَكَفَرْتُم بِهِ وَشَهِدَ شَاهِدٌ مِّن بَنِي إِسْرَائِيلَ عَلَىٰ مِثْلِهِ فَآمَنَ وَاسْتَكْبَرْتُمْ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (10)
Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kur’ani) eva wa Katonda ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi
وَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لِلَّذِينَ آمَنُوا لَوْ كَانَ خَيْرًا مَّا سَبَقُونَا إِلَيْهِ ۚ وَإِذْ لَمْ يَهْتَدُوا بِهِ فَسَيَقُولُونَ هَٰذَا إِفْكٌ قَدِيمٌ (11)
Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammad byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kur’ani kugunja okwedda
وَمِن قَبْلِهِ كِتَابُ مُوسَىٰ إِمَامًا وَرَحْمَةً ۚ وَهَٰذَا كِتَابٌ مُّصَدِّقٌ لِّسَانًا عَرَبِيًّا لِّيُنذِرَ الَّذِينَ ظَلَمُوا وَبُشْرَىٰ لِلْمُحْسِنِينَ (12)
Nga noluberyeberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kur’ani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa
إِنَّ الَّذِينَ قَالُوا رَبُّنَا اللَّهُ ثُمَّ اسْتَقَامُوا فَلَا خَوْفٌ عَلَيْهِمْ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (13)
Mazima abo abagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Katonda, oluvanyuma ne babeera beesimbu (mu ddiini) tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala
أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ خَالِدِينَ فِيهَا جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (14)
Abo be ba nannyini jjana, ba kugituulamu obugenderevu nga yempeera olwebyo bye baali bakola
وَوَصَّيْنَا الْإِنسَانَ بِوَالِدَيْهِ إِحْسَانًا ۖ حَمَلَتْهُ أُمُّهُ كُرْهًا وَوَضَعَتْهُ كُرْهًا ۖ وَحَمْلُهُ وَفِصَالُهُ ثَلَاثُونَ شَهْرًا ۚ حَتَّىٰ إِذَا بَلَغَ أَشُدَّهُ وَبَلَغَ أَرْبَعِينَ سَنَةً قَالَ رَبِّ أَوْزِعْنِي أَنْ أَشْكُرَ نِعْمَتَكَ الَّتِي أَنْعَمْتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَالِدَيَّ وَأَنْ أَعْمَلَ صَالِحًا تَرْضَاهُ وَأَصْلِحْ لِي فِي ذُرِّيَّتِي ۖ إِنِّي تُبْتُ إِلَيْكَ وَإِنِّي مِنَ الْمُسْلِمِينَ (15)
Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gyosiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gyoli era mazima nze ndi wa mu basiraamu
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ نَتَقَبَّلُ عَنْهُمْ أَحْسَنَ مَا عَمِلُوا وَنَتَجَاوَزُ عَن سَيِّئَاتِهِمْ فِي أَصْحَابِ الْجَنَّةِ ۖ وَعْدَ الصِّدْقِ الَّذِي كَانُوا يُوعَدُونَ (16)
Abo beebo betukkiriza okuva gye bali ebirungi ebyo bye baakola era netusonyiwa ebisobyo byabwe (era ba mu bantu) ba mu jjana (era eyo) ye ndagaano eyamazima gye baali baalaganyisibwa
وَالَّذِي قَالَ لِوَالِدَيْهِ أُفٍّ لَّكُمَا أَتَعِدَانِنِي أَنْ أُخْرَجَ وَقَدْ خَلَتِ الْقُرُونُ مِن قَبْلِي وَهُمَا يَسْتَغِيثَانِ اللَّهَ وَيْلَكَ آمِنْ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ فَيَقُولُ مَا هَٰذَا إِلَّا أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ (17)
Nooyo yenna agamba bakadde be nti mutwale eri, muntiisatiisa nti nja kuzuukizibwa, so ng’ate emirembe mingi egiyiseewo oluberyeberye lwange (ani yali azuukidde), nga bakadde bombi basaba Katonda abayambe, era nga bamugamba (omwana) nti obula! (kyolina okukola) kkiriza, mazima endagaano ya Katonda ya mazima. Olwo nno yye (omwana) agamba nti ebyo tebiri okugyako okuba enfumo za baakulembera
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ حَقَّ عَلَيْهِمُ الْقَوْلُ فِي أُمَمٍ قَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِهِم مِّنَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ ۖ إِنَّهُمْ كَانُوا خَاسِرِينَ (18)
Abo beebo abaakakatwako ekigambo (ekyokubonerezebwa) mu bibiina ebyayita oluberyeberye lwabwe nga baava mu majinni ne mu bantu mazima bo be bafafaganirwa
وَلِكُلٍّ دَرَجَاتٌ مِّمَّا عَمِلُوا ۖ وَلِيُوَفِّيَهُمْ أَعْمَالَهُمْ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (19)
Era buli omu alina amadaala okusinziira kwebyo bye bakola era ddala (Katonda) agenda kubawa empeera etuukana n'emirimu gyabwe era bo ssi ba kuyisibwa bubi
وَيَوْمَ يُعْرَضُ الَّذِينَ كَفَرُوا عَلَى النَّارِ أَذْهَبْتُمْ طَيِّبَاتِكُمْ فِي حَيَاتِكُمُ الدُّنْيَا وَاسْتَمْتَعْتُم بِهَا فَالْيَوْمَ تُجْزَوْنَ عَذَابَ الْهُونِ بِمَا كُنتُمْ تَسْتَكْبِرُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَبِمَا كُنتُمْ تَفْسُقُونَ (20)
Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona
۞ وَاذْكُرْ أَخَا عَادٍ إِذْ أَنذَرَ قَوْمَهُ بِالْأَحْقَافِ وَقَدْ خَلَتِ النُّذُرُ مِن بَيْنِ يَدَيْهِ وَمِنْ خَلْفِهِ أَلَّا تَعْبُدُوا إِلَّا اللَّهَ إِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ عَظِيمٍ (21)
Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammad) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita oluberyeberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Katonda (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito
قَالُوا أَجِئْتَنَا لِتَأْفِكَنَا عَنْ آلِهَتِنَا فَأْتِنَا بِمَا تَعِدُنَا إِن كُنتَ مِنَ الصَّادِقِينَ (22)
Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku ba Katonda baffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bwoba nga oli mu boogera amazima
قَالَ إِنَّمَا الْعِلْمُ عِندَ اللَّهِ وَأُبَلِّغُكُم مَّا أُرْسِلْتُ بِهِ وَلَٰكِنِّي أَرَاكُمْ قَوْمًا تَجْهَلُونَ (23)
Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi
فَلَمَّا رَأَوْهُ عَارِضًا مُّسْتَقْبِلَ أَوْدِيَتِهِمْ قَالُوا هَٰذَا عَارِضٌ مُّمْطِرُنَا ۚ بَلْ هُوَ مَا اسْتَعْجَلْتُم بِهِ ۖ رِيحٌ فِيهَا عَذَابٌ أَلِيمٌ (24)
Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo
تُدَمِّرُ كُلَّ شَيْءٍ بِأَمْرِ رَبِّهَا فَأَصْبَحُوا لَا يُرَىٰ إِلَّا مَسَاكِنُهُمْ ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي الْقَوْمَ الْمُجْرِمِينَ (25)
Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi
وَلَقَدْ مَكَّنَّاهُمْ فِيمَا إِن مَّكَّنَّاكُمْ فِيهِ وَجَعَلْنَا لَهُمْ سَمْعًا وَأَبْصَارًا وَأَفْئِدَةً فَمَا أَغْنَىٰ عَنْهُمْ سَمْعُهُمْ وَلَا أَبْصَارُهُمْ وَلَا أَفْئِدَتُهُم مِّن شَيْءٍ إِذْ كَانُوا يَجْحَدُونَ بِآيَاتِ اللَّهِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (26)
Mazima twabawa obusobozi (abantu ba Huudu) kwebyo bye tutaabawa mmwe (abe Makkah) busobozi ku byo, era nga twabawa amatu n'amaaso n'emitima kyokka amatu gaabwe tegaabagasa kintu kyonna wadde amaaso gaabwe wadde emitima gyabwe okuva lwe baali nga bawakanya ebigambo bya Katonda era nebibamalawo ebyo bye bajeejanga
وَلَقَدْ أَهْلَكْنَا مَا حَوْلَكُم مِّنَ الْقُرَىٰ وَصَرَّفْنَا الْآيَاتِ لَعَلَّهُمْ يَرْجِعُونَ (27)
Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala)
فَلَوْلَا نَصَرَهُمُ الَّذِينَ اتَّخَذُوا مِن دُونِ اللَّهِ قُرْبَانًا آلِهَةً ۖ بَلْ ضَلُّوا عَنْهُمْ ۚ وَذَٰلِكَ إِفْكُهُمْ وَمَا كَانُوا يَفْتَرُونَ (28)
Kale singa baabataasa abo abaaleka Katonda ne beteerawo ebisinzibwa ebirala ebibasembeza ewa Katonda (ssi bwegwali) wabula baabula era (endowooza yaabwe) eyo kwali kutemerera kwa bwe era nga byali ebyo bye bagunjaawo
وَإِذْ صَرَفْنَا إِلَيْكَ نَفَرًا مِّنَ الْجِنِّ يَسْتَمِعُونَ الْقُرْآنَ فَلَمَّا حَضَرُوهُ قَالُوا أَنصِتُوا ۖ فَلَمَّا قُضِيَ وَلَّوْا إِلَىٰ قَوْمِهِم مُّنذِرِينَ (29)
Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Katonda)
قَالُوا يَا قَوْمَنَا إِنَّا سَمِعْنَا كِتَابًا أُنزِلَ مِن بَعْدِ مُوسَىٰ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ يَهْدِي إِلَى الْحَقِّ وَإِلَىٰ طَرِيقٍ مُّسْتَقِيمٍ (30)
Negagamba nti abange bannaffe, mazima ffe tuwulidde ekitabo ekyassibwa oluvanyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo ebya kikulembera (nga ddala) kirungamya eri amazima n'eri ekkubo eggolokofu
يَا قَوْمَنَا أَجِيبُوا دَاعِيَ اللَّهِ وَآمِنُوا بِهِ يَغْفِرْ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمْ وَيُجِرْكُم مِّنْ عَذَابٍ أَلِيمٍ (31)
Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Katonda, era mumukkirize (Katonda), agya kubasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abawonye ebibonerezo ebiruma ennyo
وَمَن لَّا يُجِبْ دَاعِيَ اللَّهِ فَلَيْسَ بِمُعْجِزٍ فِي الْأَرْضِ وَلَيْسَ لَهُ مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءُ ۚ أُولَٰئِكَ فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (32)
Oyo yenna atayanukula mukowooze wa Katonda siwakulemesa Katonda ku nsi, era talina nga oggyeko Katonda bakuumi (basobola kumuwonya) abo, bali mu bubuze obweyolefu
أَوَلَمْ يَرَوْا أَنَّ اللَّهَ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَلَمْ يَعْيَ بِخَلْقِهِنَّ بِقَادِرٍ عَلَىٰ أَن يُحْيِيَ الْمَوْتَىٰ ۚ بَلَىٰ إِنَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (33)
Abaffe mazima Katonda, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu
وَيَوْمَ يُعْرَضُ الَّذِينَ كَفَرُوا عَلَى النَّارِ أَلَيْسَ هَٰذَا بِالْحَقِّ ۖ قَالُوا بَلَىٰ وَرَبِّنَا ۚ قَالَ فَذُوقُوا الْعَذَابَ بِمَا كُنتُمْ تَكْفُرُونَ (34)
Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya
فَاصْبِرْ كَمَا صَبَرَ أُولُو الْعَزْمِ مِنَ الرُّسُلِ وَلَا تَسْتَعْجِل لَّهُمْ ۚ كَأَنَّهُمْ يَوْمَ يَرَوْنَ مَا يُوعَدُونَ لَمْ يَلْبَثُوا إِلَّا سَاعَةً مِّن نَّهَارٍ ۚ بَلَاغٌ ۚ فَهَلْ يُهْلَكُ إِلَّا الْقَوْمُ الْفَاسِقُونَ (35)
N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas