حم (1) Ha Miim |
تَنزِيلُ الْكِتَابِ مِنَ اللَّهِ الْعَزِيزِ الْحَكِيمِ (2) Okussa kwe kitabo (Kur’ani) kwava wa Katonda nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
مَا خَلَقْنَا السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَمَا بَيْنَهُمَا إِلَّا بِالْحَقِّ وَأَجَلٍ مُّسَمًّى ۚ وَالَّذِينَ كَفَرُوا عَمَّا أُنذِرُوا مُعْرِضُونَ (3) Tetwatonda eggulu omusanvu ne nsi nebyo ebiri wakati wa byombi wabula mu butuufu (nga bwe kisaana okuba nga ddala Katonda yaabikoze), era nga byakubeerawo okumala ekiseera ekigere, wabula bo abakaafuwala besamba ebyo bye batiisibwa (bye babulirirwa) nabyo |
قُلْ أَرَأَيْتُم مَّا تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُوا مِنَ الْأَرْضِ أَمْ لَهُمْ شِرْكٌ فِي السَّمَاوَاتِ ۖ ائْتُونِي بِكِتَابٍ مِّن قَبْلِ هَٰذَا أَوْ أَثَارَةٍ مِّنْ عِلْمٍ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (4) Bagambe nti mulaba ebyo bye musaba nemuleka Katonda, kale mundage biki bye baatonda ku nsi oba balina omugabo (gw'okutonda) ebyo ebiri mu ggulu omusanvu (bwe kiba bwe kityo) kale mundeetere ekitabo ekyaliwo oluberyeberye lwa kino (Kur’ani), oba ebisigala bya yirimu yonna bwe muba nga mwogera mazima |
وَمَنْ أَضَلُّ مِمَّن يَدْعُو مِن دُونِ اللَّهِ مَن لَّا يَسْتَجِيبُ لَهُ إِلَىٰ يَوْمِ الْقِيَامَةِ وَهُمْ عَن دُعَائِهِمْ غَافِلُونَ (5) Ani mubuze okusinga oyo alekawo Katonda naasaba oyo atasobola kumwanukula okutuusa ku lunaku lw’enkomerero! nga nabo (be basaba) tebalina kye bamanyi ku kusaba kwabwe |
وَإِذَا حُشِرَ النَّاسُ كَانُوا لَهُمْ أَعْدَاءً وَكَانُوا بِعِبَادَتِهِمْ كَافِرِينَ (6) Ng’ate abantu bwe balikunganyizibwa (be baasaba nga) bagenda kuba balabe baabwe era bagenda kwewakana okuba nti ba basinzanga |
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ آيَاتُنَا بَيِّنَاتٍ قَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لِلْحَقِّ لَمَّا جَاءَهُمْ هَٰذَا سِحْرٌ مُّبِينٌ (7) Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu, abo abawakanya amazima bwe gabajjira bagamba nti lino ddogo lyeyolefu |
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۖ قُلْ إِنِ افْتَرَيْتُهُ فَلَا تَمْلِكُونَ لِي مِنَ اللَّهِ شَيْئًا ۖ هُوَ أَعْلَمُ بِمَا تُفِيضُونَ فِيهِ ۖ كَفَىٰ بِهِ شَهِيدًا بَيْنِي وَبَيْنَكُمْ ۖ وَهُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (8) Oba bagamba nti Nabbi Muhammad ye yajigunjaawo (Kur’ani)! bagambe nti bwemba najigunjaawo temulina kintu kye muyinza kumponya ku Katonda, yye yaasinga okumanya bye muwolompokamu. Ye amala okuba nga mujulizi wakati wange nammwe era yye ye musonyiyi omusaasizi ennyo |
قُلْ مَا كُنتُ بِدْعًا مِّنَ الرُّسُلِ وَمَا أَدْرِي مَا يُفْعَلُ بِي وَلَا بِكُمْ ۖ إِنْ أَتَّبِعُ إِلَّا مَا يُوحَىٰ إِلَيَّ وَمَا أَنَا إِلَّا نَذِيرٌ مُّبِينٌ (9) Bagambe nti si nze nsoose mu babaka era simanyi kinankolebwa wadde kye munakolebwa, sirina kyengoberera okugyako obubaka obumpebwa era siri nze okugyako omutiisa ow'olwatu |
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِن كَانَ مِنْ عِندِ اللَّهِ وَكَفَرْتُم بِهِ وَشَهِدَ شَاهِدٌ مِّن بَنِي إِسْرَائِيلَ عَلَىٰ مِثْلِهِ فَآمَنَ وَاسْتَكْبَرْتُمْ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (10) Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kur’ani) eva wa Katonda ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi |
وَقَالَ الَّذِينَ كَفَرُوا لِلَّذِينَ آمَنُوا لَوْ كَانَ خَيْرًا مَّا سَبَقُونَا إِلَيْهِ ۚ وَإِذْ لَمْ يَهْتَدُوا بِهِ فَسَيَقُولُونَ هَٰذَا إِفْكٌ قَدِيمٌ (11) Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammad byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kur’ani kugunja okwedda |
وَمِن قَبْلِهِ كِتَابُ مُوسَىٰ إِمَامًا وَرَحْمَةً ۚ وَهَٰذَا كِتَابٌ مُّصَدِّقٌ لِّسَانًا عَرَبِيًّا لِّيُنذِرَ الَّذِينَ ظَلَمُوا وَبُشْرَىٰ لِلْمُحْسِنِينَ (12) Nga noluberyeberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kur’ani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa |
إِنَّ الَّذِينَ قَالُوا رَبُّنَا اللَّهُ ثُمَّ اسْتَقَامُوا فَلَا خَوْفٌ عَلَيْهِمْ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (13) Mazima abo abagamba nti Mukama omulabirizi waffe ye Katonda, oluvanyuma ne babeera beesimbu (mu ddiini) tebagenda kutuukwako kutya era tebagenda kunakuwala |
أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ خَالِدِينَ فِيهَا جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (14) Abo be ba nannyini jjana, ba kugituulamu obugenderevu nga yempeera olwebyo bye baali bakola |
وَوَصَّيْنَا الْإِنسَانَ بِوَالِدَيْهِ إِحْسَانًا ۖ حَمَلَتْهُ أُمُّهُ كُرْهًا وَوَضَعَتْهُ كُرْهًا ۖ وَحَمْلُهُ وَفِصَالُهُ ثَلَاثُونَ شَهْرًا ۚ حَتَّىٰ إِذَا بَلَغَ أَشُدَّهُ وَبَلَغَ أَرْبَعِينَ سَنَةً قَالَ رَبِّ أَوْزِعْنِي أَنْ أَشْكُرَ نِعْمَتَكَ الَّتِي أَنْعَمْتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَالِدَيَّ وَأَنْ أَعْمَلَ صَالِحًا تَرْضَاهُ وَأَصْلِحْ لِي فِي ذُرِّيَّتِي ۖ إِنِّي تُبْتُ إِلَيْكَ وَإِنِّي مِنَ الْمُسْلِمِينَ (15) Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gyosiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gyoli era mazima nze ndi wa mu basiraamu |
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ نَتَقَبَّلُ عَنْهُمْ أَحْسَنَ مَا عَمِلُوا وَنَتَجَاوَزُ عَن سَيِّئَاتِهِمْ فِي أَصْحَابِ الْجَنَّةِ ۖ وَعْدَ الصِّدْقِ الَّذِي كَانُوا يُوعَدُونَ (16) Abo beebo betukkiriza okuva gye bali ebirungi ebyo bye baakola era netusonyiwa ebisobyo byabwe (era ba mu bantu) ba mu jjana (era eyo) ye ndagaano eyamazima gye baali baalaganyisibwa |
وَالَّذِي قَالَ لِوَالِدَيْهِ أُفٍّ لَّكُمَا أَتَعِدَانِنِي أَنْ أُخْرَجَ وَقَدْ خَلَتِ الْقُرُونُ مِن قَبْلِي وَهُمَا يَسْتَغِيثَانِ اللَّهَ وَيْلَكَ آمِنْ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ فَيَقُولُ مَا هَٰذَا إِلَّا أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ (17) Nooyo yenna agamba bakadde be nti mutwale eri, muntiisatiisa nti nja kuzuukizibwa, so ng’ate emirembe mingi egiyiseewo oluberyeberye lwange (ani yali azuukidde), nga bakadde bombi basaba Katonda abayambe, era nga bamugamba (omwana) nti obula! (kyolina okukola) kkiriza, mazima endagaano ya Katonda ya mazima. Olwo nno yye (omwana) agamba nti ebyo tebiri okugyako okuba enfumo za baakulembera |
أُولَٰئِكَ الَّذِينَ حَقَّ عَلَيْهِمُ الْقَوْلُ فِي أُمَمٍ قَدْ خَلَتْ مِن قَبْلِهِم مِّنَ الْجِنِّ وَالْإِنسِ ۖ إِنَّهُمْ كَانُوا خَاسِرِينَ (18) Abo beebo abaakakatwako ekigambo (ekyokubonerezebwa) mu bibiina ebyayita oluberyeberye lwabwe nga baava mu majinni ne mu bantu mazima bo be bafafaganirwa |
وَلِكُلٍّ دَرَجَاتٌ مِّمَّا عَمِلُوا ۖ وَلِيُوَفِّيَهُمْ أَعْمَالَهُمْ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (19) Era buli omu alina amadaala okusinziira kwebyo bye bakola era ddala (Katonda) agenda kubawa empeera etuukana n'emirimu gyabwe era bo ssi ba kuyisibwa bubi |
وَيَوْمَ يُعْرَضُ الَّذِينَ كَفَرُوا عَلَى النَّارِ أَذْهَبْتُمْ طَيِّبَاتِكُمْ فِي حَيَاتِكُمُ الدُّنْيَا وَاسْتَمْتَعْتُم بِهَا فَالْيَوْمَ تُجْزَوْنَ عَذَابَ الْهُونِ بِمَا كُنتُمْ تَسْتَكْبِرُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ وَبِمَا كُنتُمْ تَفْسُقُونَ (20) Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona |
۞ وَاذْكُرْ أَخَا عَادٍ إِذْ أَنذَرَ قَوْمَهُ بِالْأَحْقَافِ وَقَدْ خَلَتِ النُّذُرُ مِن بَيْنِ يَدَيْهِ وَمِنْ خَلْفِهِ أَلَّا تَعْبُدُوا إِلَّا اللَّهَ إِنِّي أَخَافُ عَلَيْكُمْ عَذَابَ يَوْمٍ عَظِيمٍ (21) Era bajjukize (ggwe Nabbi Muhammad) muganda wa A’di (Hudu) bwe yalabula abantu be abaali mu bifo ebijjuddemu entuunu z'omusenyu (gyoli nti nsozi) era nga okulabula kungi okwayita oluberyeberye lwe n'oluvanyuma lwe, (nga ababaka bonna baali bagamba nti) temusinzanga okugyako Katonda (era) mazima nze ntya okuba nga mutuukwako ebibonerezo by'olunaku oluzito |
قَالُوا أَجِئْتَنَا لِتَأْفِكَنَا عَنْ آلِهَتِنَا فَأْتِنَا بِمَا تَعِدُنَا إِن كُنتَ مِنَ الصَّادِقِينَ (22) Nebagamba nti abaffe otujjidde otuwugule ku ba Katonda baffe! (bwekiba bwe kityo), kale tutuuseeko kyotulagaanyisa bwoba nga oli mu boogera amazima |
قَالَ إِنَّمَا الْعِلْمُ عِندَ اللَّهِ وَأُبَلِّغُكُم مَّا أُرْسِلْتُ بِهِ وَلَٰكِنِّي أَرَاكُمْ قَوْمًا تَجْهَلُونَ (23) Naabagamba nti mazima okumanya (ddi? lwe kiribatuukako) kuli eri Katonda era (nze) mbatusaako ebyo bye natumwa nabyo, naye mazima nze mbalaba nga muli bantu abatamanyi |
فَلَمَّا رَأَوْهُ عَارِضًا مُّسْتَقْبِلَ أَوْدِيَتِهِمْ قَالُوا هَٰذَا عَارِضٌ مُّمْطِرُنَا ۚ بَلْ هُوَ مَا اسْتَعْجَلْتُم بِهِ ۖ رِيحٌ فِيهَا عَذَابٌ أَلِيمٌ (24) Naye bwe baakiraba nga (kire) ekyetimbye (ku ggulu), nga kyolekedde ensenyi zaabwe, baagamba nti ekyo ekire ekyetimbye kigenda kutuwa nkuba, wabula nedda kyo kyekyo kye mubadde musaba kibatuukeko mangu (kyo) mpewo (kikungunta) erimu e bibonerezo e biruma ennyo |
تُدَمِّرُ كُلَّ شَيْءٍ بِأَمْرِ رَبِّهَا فَأَصْبَحُوا لَا يُرَىٰ إِلَّا مَسَاكِنُهُمْ ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي الْقَوْمَ الْمُجْرِمِينَ (25) Ejja kuzikiriza buli kintu kyonna okusinziira ku kiragiro kya Mukama omulabirizi waayo, olwo nno nebatuuka okuba nga tewali kirabwa okugyako amayumba gaabwe, bwetutyo bwe tusasula abantu abonoonyi |
وَلَقَدْ مَكَّنَّاهُمْ فِيمَا إِن مَّكَّنَّاكُمْ فِيهِ وَجَعَلْنَا لَهُمْ سَمْعًا وَأَبْصَارًا وَأَفْئِدَةً فَمَا أَغْنَىٰ عَنْهُمْ سَمْعُهُمْ وَلَا أَبْصَارُهُمْ وَلَا أَفْئِدَتُهُم مِّن شَيْءٍ إِذْ كَانُوا يَجْحَدُونَ بِآيَاتِ اللَّهِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُوا بِهِ يَسْتَهْزِئُونَ (26) Mazima twabawa obusobozi (abantu ba Huudu) kwebyo bye tutaabawa mmwe (abe Makkah) busobozi ku byo, era nga twabawa amatu n'amaaso n'emitima kyokka amatu gaabwe tegaabagasa kintu kyonna wadde amaaso gaabwe wadde emitima gyabwe okuva lwe baali nga bawakanya ebigambo bya Katonda era nebibamalawo ebyo bye bajeejanga |
وَلَقَدْ أَهْلَكْنَا مَا حَوْلَكُم مِّنَ الْقُرَىٰ وَصَرَّفْنَا الْآيَاتِ لَعَلَّهُمْ يَرْجِعُونَ (27) Era mazima twazikiriza ebitundu ebyo ebibeetolodde, era netunyonyola ebigambo oba olyawo nebadda (nebaleka okukaafuwala) |
فَلَوْلَا نَصَرَهُمُ الَّذِينَ اتَّخَذُوا مِن دُونِ اللَّهِ قُرْبَانًا آلِهَةً ۖ بَلْ ضَلُّوا عَنْهُمْ ۚ وَذَٰلِكَ إِفْكُهُمْ وَمَا كَانُوا يَفْتَرُونَ (28) Kale singa baabataasa abo abaaleka Katonda ne beteerawo ebisinzibwa ebirala ebibasembeza ewa Katonda (ssi bwegwali) wabula baabula era (endowooza yaabwe) eyo kwali kutemerera kwa bwe era nga byali ebyo bye bagunjaawo |
وَإِذْ صَرَفْنَا إِلَيْكَ نَفَرًا مِّنَ الْجِنِّ يَسْتَمِعُونَ الْقُرْآنَ فَلَمَّا حَضَرُوهُ قَالُوا أَنصِتُوا ۖ فَلَمَّا قُضِيَ وَلَّوْا إِلَىٰ قَوْمِهِم مُّنذِرِينَ (29) Jjukira (gwe Nabbi) bwe twakuleetera ekibinja kya majinni negaba nga gawuliriza Kur’ani, bwe gaatuuka weyali esomerwa ne gagamba nti muwulirize, bwe yamala okusomwa ne gakyusa okudda eri gannaago nga gagalabula (akabi akali mu kujeemera Katonda) |
قَالُوا يَا قَوْمَنَا إِنَّا سَمِعْنَا كِتَابًا أُنزِلَ مِن بَعْدِ مُوسَىٰ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ يَهْدِي إِلَى الْحَقِّ وَإِلَىٰ طَرِيقٍ مُّسْتَقِيمٍ (30) Negagamba nti abange bannaffe, mazima ffe tuwulidde ekitabo ekyassibwa oluvanyuma lwa Musa nga kikakasa ebyo ebya kikulembera (nga ddala) kirungamya eri amazima n'eri ekkubo eggolokofu |
يَا قَوْمَنَا أَجِيبُوا دَاعِيَ اللَّهِ وَآمِنُوا بِهِ يَغْفِرْ لَكُم مِّن ذُنُوبِكُمْ وَيُجِرْكُم مِّنْ عَذَابٍ أَلِيمٍ (31) Abange bannaffe mwanukule omukowooze wa Katonda, era mumukkirize (Katonda), agya kubasonyiwa ebyonoono bya mmwe era abawonye ebibonerezo ebiruma ennyo |
وَمَن لَّا يُجِبْ دَاعِيَ اللَّهِ فَلَيْسَ بِمُعْجِزٍ فِي الْأَرْضِ وَلَيْسَ لَهُ مِن دُونِهِ أَوْلِيَاءُ ۚ أُولَٰئِكَ فِي ضَلَالٍ مُّبِينٍ (32) Oyo yenna atayanukula mukowooze wa Katonda siwakulemesa Katonda ku nsi, era talina nga oggyeko Katonda bakuumi (basobola kumuwonya) abo, bali mu bubuze obweyolefu |
أَوَلَمْ يَرَوْا أَنَّ اللَّهَ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ وَلَمْ يَعْيَ بِخَلْقِهِنَّ بِقَادِرٍ عَلَىٰ أَن يُحْيِيَ الْمَوْتَىٰ ۚ بَلَىٰ إِنَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (33) Abaffe mazima Katonda, oyo eyatonda eggulu omusanvu ne nsi, era nga teyakoowa olwokubitonda tebalaba nti asoboleraddala okulamusa abafu! Wewaawo (asobolera ddala, anti) mazima yye muyinza ku buli kintu |
وَيَوْمَ يُعْرَضُ الَّذِينَ كَفَرُوا عَلَى النَّارِ أَلَيْسَ هَٰذَا بِالْحَقِّ ۖ قَالُوا بَلَىٰ وَرَبِّنَا ۚ قَالَ فَذُوقُوا الْعَذَابَ بِمَا كُنتُمْ تَكْفُرُونَ (34) Ate olunaku abo abakaafuwala lwe balireetebwa eri omuliro (baligambwa nti) abaffe kino ssi kya mazima!, baligamba nti wewaawo tulayidde Mukama omulabirizi waffe, (Katonda) aligamba nti kale mukombe ku bibonerezo olwebyo bye mwali muwakanya |
فَاصْبِرْ كَمَا صَبَرَ أُولُو الْعَزْمِ مِنَ الرُّسُلِ وَلَا تَسْتَعْجِل لَّهُمْ ۚ كَأَنَّهُمْ يَوْمَ يَرَوْنَ مَا يُوعَدُونَ لَمْ يَلْبَثُوا إِلَّا سَاعَةً مِّن نَّهَارٍ ۚ بَلَاغٌ ۚ فَهَلْ يُهْلَكُ إِلَّا الْقَوْمُ الْفَاسِقُونَ (35) N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi |