×

Surah An-Najm in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Najm

Translation of the Meanings of Surah Najm in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Najm translated into Ganda, Surah An-Najm in Ganda. We provide accurate translation of Surah Najm in Ganda - لوغندا, Verses 62 - Surah Number 53 - Page 526.

بسم الله الرحمن الرحيم

وَالنَّجْمِ إِذَا هَوَىٰ (1)
Ndayidde emunyeenye bweba nga egudde
مَا ضَلَّ صَاحِبُكُمْ وَمَا غَوَىٰ (2)
Munammwe (Muhammad) tabulanga kuva ku bulungamu era tayonoonanga
وَمَا يَنطِقُ عَنِ الْهَوَىٰ (3)
Era tayogera nga asinziira ku kwagala (kwe)
إِنْ هُوَ إِلَّا وَحْيٌ يُوحَىٰ (4)
Tebiri byo (byayogera) okugyako okuba nti bubaka obuwereezebwa (gyali nga buva ewa Katonda)
عَلَّمَهُ شَدِيدُ الْقُوَىٰ (5)
Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu)
ذُو مِرَّةٍ فَاسْتَوَىٰ (6)
Nannyini busobozi eyeyoleka
وَهُوَ بِالْأُفُقِ الْأَعْلَىٰ (7)
Bweyali mu bifo ebisinga okuba ebya waggulu mu bwengula
ثُمَّ دَنَا فَتَدَلَّىٰ (8)
Oluvanyuma (Jiburilu) yasembera olwo nebaba kumpi (ne Nabbi)
فَكَانَ قَابَ قَوْسَيْنِ أَوْ أَدْنَىٰ (9)
Olwo nno (okusembera) nekuba nga okusemberagana kw'ensonda za kasale ebbiri oba kumpi okusingako awo
فَأَوْحَىٰ إِلَىٰ عَبْدِهِ مَا أَوْحَىٰ (10)
Olwo nno (Katonda) naatumira omuddu we ekyo kye yamutumira nga akozesa Jiburilu
مَا كَذَبَ الْفُؤَادُ مَا رَأَىٰ (11)
Emmeme (ya Nabbi Muhammad) teyalimba kwebyo bye yalaba
أَفَتُمَارُونَهُ عَلَىٰ مَا يَرَىٰ (12)
Abaffe mumuwakanya kwekyo kyalaba
وَلَقَدْ رَآهُ نَزْلَةً أُخْرَىٰ (13)
Ate nga mazima yamulaba omulundi omulala
عِندَ سِدْرَةِ الْمُنتَهَىٰ (14)
Mu kifo awali awali (omuti) Sidirat munitaha awakuumwa
عِندَهَا جَنَّةُ الْمَأْوَىٰ (15)
Weguli awo wewali e jjana ewummulirwamu (bo Malayika mwe bawummulira)
إِذْ يَغْشَى السِّدْرَةَ مَا يَغْشَىٰ (16)
Mu kiseera omuti Asidira bwe gwabikkibwa ekya gubikka
مَا زَاغَ الْبَصَرُ وَمَا طَغَىٰ (17)
Amaaso (ga Nabbi) tegawuguka wadde okusukka ekyo (kye yali ateekwa okulaba)
لَقَدْ رَأَىٰ مِنْ آيَاتِ رَبِّهِ الْكُبْرَىٰ (18)
Mazima yalaba mu bya magero ebya Mukama omulabirizi we ebinene
أَفَرَأَيْتُمُ اللَّاتَ وَالْعُزَّىٰ (19)
Abaffe mulaba Latta ne Uzza
وَمَنَاةَ الثَّالِثَةَ الْأُخْرَىٰ (20)
Ne Mannaata ekibumbe ekirala ekyokusatu (bibumbe byali bisinzibwa nga Nabbi tannatumwa)
أَلَكُمُ الذَّكَرُ وَلَهُ الْأُنثَىٰ (21)
Abaffe mmwe muzaala abalenzi yye nazaala bawala! (mwe bemutayagala newakubadde abalenzi na bawala ku Katonda kyekimu)
تِلْكَ إِذًا قِسْمَةٌ ضِيزَىٰ (22)
Bwekiba bwekityo eyo ngabanya ejjudde kyekubiira
إِنْ هِيَ إِلَّا أَسْمَاءٌ سَمَّيْتُمُوهَا أَنتُمْ وَآبَاؤُكُم مَّا أَنزَلَ اللَّهُ بِهَا مِن سُلْطَانٍ ۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا الظَّنَّ وَمَا تَهْوَى الْأَنفُسُ ۖ وَلَقَدْ جَاءَهُم مِّن رَّبِّهِمُ الْهُدَىٰ (23)
(Bye musinza) tebirina kyebiri okugyako okuba amannya gemwetuumira mmwe ne bakadde ba mmwe, Katonda tabissangako bujulizi bwonna (era ababisinza) tebalina kye bagoberera okugyako okuteebereza nokugoberera ebyo emyoyo gyabwe bye jaagala, so nga ate obulungamu bwabajjira nga buva ewa Mukama omulabirizi waabwe
أَمْ لِلْإِنسَانِ مَا تَمَنَّىٰ (24)
Oba kiri nti omuntu asobola okufuna ekyo kye yeegomba (atuuke okwesalirawo okusinza ebibumbe ate naaba nga tavunaanwa)
فَلِلَّهِ الْآخِرَةُ وَالْأُولَىٰ (25)
Wabula nno enkomerero ne ntandikwa bya Katonda yekka (n’olwekyo yekka yaasalawo)
۞ وَكَم مِّن مَّلَكٍ فِي السَّمَاوَاتِ لَا تُغْنِي شَفَاعَتُهُمْ شَيْئًا إِلَّا مِن بَعْدِ أَن يَأْذَنَ اللَّهُ لِمَن يَشَاءُ وَيَرْضَىٰ (26)
Era ba Malayika bameka abali mu ggulu omusanvu nga okuwolereza kwabwe tekugenda kugasa kintu kyonna okugyako oluvanyuma lwa Katonda okukkiriza gwaliba ayagadde era nasiima
إِنَّ الَّذِينَ لَا يُؤْمِنُونَ بِالْآخِرَةِ لَيُسَمُّونَ الْمَلَائِكَةَ تَسْمِيَةَ الْأُنثَىٰ (27)
Mazima abo abatakkiriza nkomerero be bayita ba Malayika amannya ag’ekikazi
وَمَا لَهُم بِهِ مِنْ عِلْمٍ ۖ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا الظَّنَّ ۖ وَإِنَّ الظَّنَّ لَا يُغْنِي مِنَ الْحَقِّ شَيْئًا (28)
Era nga tebakirinaako kumanya kwonna, tebagoberera okugyako okuteebereza ate nga ddala okuteebereza tekulina kye kugasa awali amazima
فَأَعْرِضْ عَن مَّن تَوَلَّىٰ عَن ذِكْرِنَا وَلَمْ يُرِدْ إِلَّا الْحَيَاةَ الدُّنْيَا (29)
N’olwekyo va kwoyo ayawukana nokubulirira kwaffe, naatayagala okugyako obulamu bw'ensi
ذَٰلِكَ مَبْلَغُهُم مِّنَ الْعِلْمِ ۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعْلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِ وَهُوَ أَعْلَمُ بِمَنِ اهْتَدَىٰ (30)
Ekyo kye kikomo kyabwe mu kumanya mazima Mukama omulabirizi wo yaasinga okumanya oyo abula naava ku kkubo lye era yaasinga okumanya oyo alungama
وَلِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ لِيَجْزِيَ الَّذِينَ أَسَاءُوا بِمَا عَمِلُوا وَيَجْزِيَ الَّذِينَ أَحْسَنُوا بِالْحُسْنَى (31)
Bya Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi (era yye ye nannyini mateeka kwe bikolera) olwo nno alisasula abo abayonoona olwebyo bye bakola era nga alisasula obulungi abo abalongoosa
الَّذِينَ يَجْتَنِبُونَ كَبَائِرَ الْإِثْمِ وَالْفَوَاحِشَ إِلَّا اللَّمَمَ ۚ إِنَّ رَبَّكَ وَاسِعُ الْمَغْفِرَةِ ۚ هُوَ أَعْلَمُ بِكُمْ إِذْ أَنشَأَكُم مِّنَ الْأَرْضِ وَإِذْ أَنتُمْ أَجِنَّةٌ فِي بُطُونِ أُمَّهَاتِكُمْ ۖ فَلَا تُزَكُّوا أَنفُسَكُمْ ۖ هُوَ أَعْلَمُ بِمَنِ اتَّقَىٰ (32)
Abo abeesamba ebyonoono ebinene ne byo buwemu okugyako ebitonotono, (anti) mazima Mukama omulabirizi wo mugazi wa kusonyiwa ye yaasinga okumanya ebikwata ku mmwe, okuva lwe yabatandikawo nga abagya mu ttaka ne mu kiseera we mwaberera mu mbuto za ba Maama ba mmwe, n’olwekyo temwetukuza anti yye yaasinga okumanya ani asinga okumutya
أَفَرَأَيْتَ الَّذِي تَوَلَّىٰ (33)
Abaffe olabye oyo akyuka (naava ku mazima)
وَأَعْطَىٰ قَلِيلًا وَأَكْدَىٰ (34)
Era nawaayo katono bwamala ate nammira ddala
أَعِندَهُ عِلْمُ الْغَيْبِ فَهُوَ يَرَىٰ (35)
Abaffe (ekimukozesa ekyo) lwakuba nti alina okumanya ebyekusifu, olwo nno naaba nga abiraba
أَمْ لَمْ يُنَبَّأْ بِمَا فِي صُحُفِ مُوسَىٰ (36)
Oba tabuulirwanga ebyo ebiri mu bitabo bya Musa
وَإِبْرَاهِيمَ الَّذِي وَفَّىٰ (37)
Ne Ibrahim oyo eyatuukiriza (bwe yalaganyisa Katonda)
أَلَّا تَزِرُ وَازِرَةٌ وِزْرَ أُخْرَىٰ (38)
(Ebyo ebigamba nti) tewali mwoyo gulyetikka kibi kya mulala
وَأَن لَّيْسَ لِلْإِنسَانِ إِلَّا مَا سَعَىٰ (39)
Era nti omunu tagenda kufuna okugyako ekyo kye yakolerera
وَأَنَّ سَعْيَهُ سَوْفَ يُرَىٰ (40)
Era nti mazima okukola kwe kya ddaaki kulirabwa
ثُمَّ يُجْزَاهُ الْجَزَاءَ الْأَوْفَىٰ (41)
Oluvanyuma alikusasulwamu empeera esinga okuba enzijuvu
وَأَنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ الْمُنتَهَىٰ (42)
Era nti mazima ewa Mukama omulabirizi wo yeeri enkomerero (ya buli kimu)
وَأَنَّهُ هُوَ أَضْحَكَ وَأَبْكَىٰ (43)
Era nti mazima yye yaasesa era yaakaabya
وَأَنَّهُ هُوَ أَمَاتَ وَأَحْيَا (44)
Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu
وَأَنَّهُ خَلَقَ الزَّوْجَيْنِ الذَّكَرَ وَالْأُنثَىٰ (45)
Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi
مِن نُّطْفَةٍ إِذَا تُمْنَىٰ (46)
Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu)
وَأَنَّ عَلَيْهِ النَّشْأَةَ الْأُخْرَىٰ (47)
Era nti mazima kuli ku ye yekka okusibusa okulala (okuzuukiza)
وَأَنَّهُ هُوَ أَغْنَىٰ وَأَقْنَىٰ (48)
Era nti mazima yye ya gaggawaza era naayavuwaza
وَأَنَّهُ هُوَ رَبُّ الشِّعْرَىٰ (49)
Era nti mazima yye ye Mukama omulabirizi we munyeenye eyitibwa Shiiraa (abakafiiri gye basinzanga)
وَأَنَّهُ أَهْلَكَ عَادًا الْأُولَىٰ (50)
Era nti mazima yye yazikiriza abe kibiina kya A'adi abasooka
وَثَمُودَ فَمَا أَبْقَىٰ (51)
Na be kibiina kya Thamud era nga teyalekawo (wadde omu)
وَقَوْمَ نُوحٍ مِّن قَبْلُ ۖ إِنَّهُمْ كَانُوا هُمْ أَظْلَمَ وَأَطْغَىٰ (52)
Na bantu ba Nuhu mu kusooka anti mazima bo be baali basinga okweyisa obubi n'okubula
وَالْمُؤْتَفِكَةَ أَهْوَىٰ (53)
Era ye yae yazikiriza abantu ba be kitundu ekyavuunikibwa (Sodoma ne gomora)
فَغَشَّاهَا مَا غَشَّىٰ (54)
Olwo nno ne kikibuutikira ekya kibuutikira
فَبِأَيِّ آلَاءِ رَبِّكَ تَتَمَارَىٰ (55)
Kale olwo kiriwa ku byengera bya Mukama omulabiri wo kyobuusabuusa
هَٰذَا نَذِيرٌ مِّنَ النُّذُرِ الْأُولَىٰ (56)
Ono (omubaka Muhammad) mutiisa ali mu luse lwa batiisa abaakulembera
أَزِفَتِ الْآزِفَةُ (57)
Enkomerero esembedde
لَيْسَ لَهَا مِن دُونِ اللَّهِ كَاشِفَةٌ (58)
Tewali ayinza kugizzaayo bweriba ezze mpozzi Katonda
أَفَمِنْ هَٰذَا الْحَدِيثِ تَعْجَبُونَ (59)
Abaffe ebigambo bino bye mujereegerera
وَتَضْحَكُونَ وَلَا تَبْكُونَ (60)
Nemuba nga museka nemutakaaba
وَأَنتُمْ سَامِدُونَ (61)
Nga nammwe muzannya buzannyi
فَاسْجُدُوا لِلَّهِ وَاعْبُدُوا ۩ (62)
Kale muvunname ku lwa Katonda era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu)
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas