×

Surah At-Tur in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Tur

Translation of the Meanings of Surah Tur in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Tur translated into Ganda, Surah At-Tur in Ganda. We provide accurate translation of Surah Tur in Ganda - لوغندا, Verses 49 - Surah Number 52 - Page 523.

بسم الله الرحمن الرحيم

وَالطُّورِ (1)
Ndayidde olusozi (Sinaa)
وَكِتَابٍ مَّسْطُورٍ (2)
Ndayidde ekitabo ekiwandiike
فِي رَقٍّ مَّنشُورٍ (3)
Mu mpapula ennyanjuluze
وَالْبَيْتِ الْمَعْمُورِ (4)
Era ndayidde e nyumba etaggwako basinza (ba Malayika bagyetoloola olubeerera)
وَالسَّقْفِ الْمَرْفُوعِ (5)
Era ndayidde akasolya (k'eggulu) akasitufu
وَالْبَحْرِ الْمَسْجُورِ (6)
Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi
إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ لَوَاقِعٌ (7)
Ddala ebibonerezo bya Mukama omulabirizi wo bya kutuukirira
مَّا لَهُ مِن دَافِعٍ (8)
Tewali kigenda kubiremesa
يَوْمَ تَمُورُ السَّمَاءُ مَوْرًا (9)
Ku lunaku eggulu lwe liri yuguuma oluyuguuma
وَتَسِيرُ الْجِبَالُ سَيْرًا (10)
Ensozi nezitambula butambuzi
فَوَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (11)
N’olwekyo okubonabona ku lunaku olwo kuliba ku balimbisa
الَّذِينَ هُمْ فِي خَوْضٍ يَلْعَبُونَ (12)
Abo bo ababeera mu byolusaago nga bazannya
يَوْمَ يُدَعُّونَ إِلَىٰ نَارِ جَهَنَّمَ دَعًّا (13)
Ku lunaku lwe bali sindikirizibwa olusindikirizibwa, okuyingira omuliro Jahannama
هَٰذِهِ النَّارُ الَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ (14)
Baligambibwa nti guno gwe muliro ogwo gwe mwali mulimbisa
أَفَسِحْرٌ هَٰذَا أَمْ أَنتُمْ لَا تُبْصِرُونَ (15)
Abaffe lino ddogo oba mmwe temulaba
اصْلَوْهَا فَاصْبِرُوا أَوْ لَا تَصْبِرُوا سَوَاءٌ عَلَيْكُمْ ۖ إِنَّمَا تُجْزَوْنَ مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (16)
Mugwesogge, wabula ka mugumikirize oba temugumikiriza byonna kyekimu gye muli mazima ddala musasulwa ebyo bye mwali mukola
إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي جَنَّاتٍ وَنَعِيمٍ (17)
Mazima abatya Katonda baliba mu jjana n'ebyengera
فَاكِهِينَ بِمَا آتَاهُمْ رَبُّهُمْ وَوَقَاهُمْ رَبُّهُمْ عَذَابَ الْجَحِيمِ (18)
Nga beyagala olwebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa, era Mukama omulabirizi waabwe nabawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu
كُلُوا وَاشْرَبُوا هَنِيئًا بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (19)
(Abeeyisa obulungi baligambibwa nti) mulye era munywe, nga muyozayozebwa olwebyo bye mwakola
مُتَّكِئِينَ عَلَىٰ سُرُرٍ مَّصْفُوفَةٍ ۖ وَزَوَّجْنَاهُم بِحُورٍ عِينٍ (20)
Baliba besigamye ku bitanda nga bisimbiddwa ennyiriri era tugenda ku bagatta na bakyala abo mu jjana
وَالَّذِينَ آمَنُوا وَاتَّبَعَتْهُمْ ذُرِّيَّتُهُم بِإِيمَانٍ أَلْحَقْنَا بِهِمْ ذُرِّيَّتَهُمْ وَمَا أَلَتْنَاهُم مِّنْ عَمَلِهِم مِّن شَيْءٍ ۚ كُلُّ امْرِئٍ بِمَا كَسَبَ رَهِينٌ (21)
Abo abakkiriza, era ezzadde lyabwe neribagoberera mu bukkiriza, twakkiriza ezzadde lyabwe okubagoberera (baleme kufuna kiwubaalo obutaba nabo) era tetulikendeeza ku mirimu gyabwe kintu kyonna, era nga buli muntu (yye) gwe musingo gwebyo bye yakola
وَأَمْدَدْنَاهُم بِفَاكِهَةٍ وَلَحْمٍ مِّمَّا يَشْتَهُونَ (22)
Era (nga ogyeko ebyogeddwa waggulu) tulibongeza ebibala n'ennyama ebyo bye baliyagala
يَتَنَازَعُونَ فِيهَا كَأْسًا لَّا لَغْوٌ فِيهَا وَلَا تَأْثِيمٌ (23)
(Nga bali mu jjana) baliyayaanira amagiraasi ge byo kunywa, naye nga ssi kujikubiramu lwogoolo wadde ebigambo ebikyafu
۞ وَيَطُوفُ عَلَيْهِمْ غِلْمَانٌ لَّهُمْ كَأَنَّهُمْ لُؤْلُؤٌ مَّكْنُونٌ (24)
Era abalenzi abaliba balabika nga l'ulu akuumwa ennyo baliba babetoololamu nga babaweereza
وَأَقْبَلَ بَعْضُهُمْ عَلَىٰ بَعْضٍ يَتَسَاءَلُونَ (25)
Era (abaliba mu jjana) abamu balyolekera bannabwe nga bewunaganya
قَالُوا إِنَّا كُنَّا قَبْلُ فِي أَهْلِنَا مُشْفِقِينَ (26)
Nga bagamba nti mazima ffe mukusooka twabanga mu bantu baffe nga tutya (ebibonerezo bya Katonda)
فَمَنَّ اللَّهُ عَلَيْنَا وَوَقَانَا عَذَابَ السَّمُومِ (27)
Katonda natugonnomolako ekyengera, naatuwonya ebibonerezo byo muliro samuumu
إِنَّا كُنَّا مِن قَبْلُ نَدْعُوهُ ۖ إِنَّهُ هُوَ الْبَرُّ الرَّحِيمُ (28)
(Anti) mazima ffe okusooka twamusabanga (twamusinzanga), mazima yye yaayisa obulungi, omusaasizi ennyo
فَذَكِّرْ فَمَا أَنتَ بِنِعْمَتِ رَبِّكَ بِكَاهِنٍ وَلَا مَجْنُونٍ (29)
Kale nno buulirira (ggwe Muhammad) anti ggwe olwe kyengera kya Mukama omulabirizi wo, toli mulaguzi wadde mulalu (nga abamu bwe babijweteka)
أَمْ يَقُولُونَ شَاعِرٌ نَّتَرَبَّصُ بِهِ رَيْبَ الْمَنُونِ (30)
Oba bagamba nti (Muhammad) mutontomi gwetulekedde okukwata kwa walumbe
قُلْ تَرَبَّصُوا فَإِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُتَرَبِّصِينَ (31)
Bagambe nti mulindirire, anti mazima nze ndi wamu na mmwe mu balindirira
أَمْ تَأْمُرُهُمْ أَحْلَامُهُم بِهَٰذَا ۚ أَمْ هُمْ قَوْمٌ طَاغُونَ (32)
Abaffe amagezi gaabwe ge gabalagira kino oba bo bantu abaabula
أَمْ يَقُولُونَ تَقَوَّلَهُ ۚ بَل لَّا يُؤْمِنُونَ (33)
Oba bagamba nti (Muhammad) yajegunjirawo (Kur’ani ssi bwekiri) wabula tebakkiriza
فَلْيَأْتُوا بِحَدِيثٍ مِّثْلِهِ إِن كَانُوا صَادِقِينَ (34)
(Bwekiba nga yajigunjaawo) kale baleete ebigambo ebigifaanana bwebaba nga boogera mazima
أَمْ خُلِقُوا مِنْ غَيْرِ شَيْءٍ أَمْ هُمُ الْخَالِقُونَ (35)
Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali)
أَمْ خَلَقُوا السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ ۚ بَل لَّا يُوقِنُونَ (36)
Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza
أَمْ عِندَهُمْ خَزَائِنُ رَبِّكَ أَمْ هُمُ الْمُصَيْطِرُونَ (37)
Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu)
أَمْ لَهُمْ سُلَّمٌ يَسْتَمِعُونَ فِيهِ ۖ فَلْيَأْتِ مُسْتَمِعُهُم بِسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (38)
Oba balina amadaala nga gebakozesa okuwuliriza ebifa waggulu (bwekiba bwekityo) kale abawuliriza baabwe baleete obujulizi obweyolefu
أَمْ لَهُ الْبَنَاتُ وَلَكُمُ الْبَنُونَ (39)
Oba (Katonda) alina abaana ba buwala ate nga mmwe mulina abo bulenzi
أَمْ تَسْأَلُهُمْ أَجْرًا فَهُم مِّن مَّغْرَمٍ مُّثْقَلُونَ (40)
Oba obasaba musaala olwo nno bo nebaba nga bakaluubirirwa kusasula
أَمْ عِندَهُمُ الْغَيْبُ فَهُمْ يَكْتُبُونَ (41)
Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika (ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza)
أَمْ يُرِيدُونَ كَيْدًا ۖ فَالَّذِينَ كَفَرُوا هُمُ الْمَكِيدُونَ (42)
Oba baagala kukola nkwe (bakulemese) wabula abo abakaafuwala be bakosebwa enkwe (ezo)
أَمْ لَهُمْ إِلَٰهٌ غَيْرُ اللَّهِ ۚ سُبْحَانَ اللَّهِ عَمَّا يُشْرِكُونَ (43)
Oba balina ekisinzibwa ekitali Katonda (nga kye kibayinula), Katonda musukkulumu kwebyo bye bamugattako
وَإِن يَرَوْا كِسْفًا مِّنَ السَّمَاءِ سَاقِطًا يَقُولُوا سَحَابٌ مَّرْكُومٌ (44)
Olw'obutakkiriza bwabwe ne bwe balaba ekibajjo nga kigwa okuva waggulu (kibazikirize) bandigambye nti bire ebyetuumye
فَذَرْهُمْ حَتَّىٰ يُلَاقُوا يَوْمَهُمُ الَّذِي فِيهِ يُصْعَقُونَ (45)
Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa
يَوْمَ لَا يُغْنِي عَنْهُمْ كَيْدُهُمْ شَيْئًا وَلَا هُمْ يُنصَرُونَ (46)
Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa
وَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُوا عَذَابًا دُونَ ذَٰلِكَ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (47)
Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi
وَاصْبِرْ لِحُكْمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعْيُنِنَا ۖ وَسَبِّحْ بِحَمْدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ (48)
Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala)
وَمِنَ اللَّيْلِ فَسَبِّحْهُ وَإِدْبَارَ النُّجُومِ (49)
Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas