| إِذَا وَقَعَتِ الْوَاقِعَةُ (1) Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka
 | 
| لَيْسَ لِوَقْعَتِهَا كَاذِبَةٌ (2) Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa
 | 
| خَافِضَةٌ رَّافِعَةٌ (3) Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi)
 | 
| إِذَا رُجَّتِ الْأَرْضُ رَجًّا (4) Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana
 | 
| وَبُسَّتِ الْجِبَالُ بَسًّا (5) N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa
 | 
| فَكَانَتْ هَبَاءً مُّنبَثًّا (6) Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka
 | 
| وَكُنتُمْ أَزْوَاجًا ثَلَاثَةً (7) Era mmwe nemuba emitendera esatu
 | 
| فَأَصْحَابُ الْمَيْمَنَةِ مَا أَصْحَابُ الْمَيْمَنَةِ (8) Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza
 | 
| وَأَصْحَابُ الْمَشْأَمَةِ مَا أَصْحَابُ الْمَشْأَمَةِ (9) Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza
 | 
| وَالسَّابِقُونَ السَّابِقُونَ (10) Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu
 | 
| أُولَٰئِكَ الْمُقَرَّبُونَ (11) Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda)
 | 
| فِي جَنَّاتِ النَّعِيمِ (12) Nga bali mu jjana ez'ebyengera
 | 
| ثُلَّةٌ مِّنَ الْأَوَّلِينَ (13) Bangi mu bibiina ebyasooka
 | 
| وَقَلِيلٌ مِّنَ الْآخِرِينَ (14) Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad)
 | 
| عَلَىٰ سُرُرٍ مَّوْضُونَةٍ (15) (Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo
 | 
| مُّتَّكِئِينَ عَلَيْهَا مُتَقَابِلِينَ (16) Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya)
 | 
| يَطُوفُ عَلَيْهِمْ وِلْدَانٌ مُّخَلَّدُونَ (17) Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu
 | 
| بِأَكْوَابٍ وَأَبَارِيقَ وَكَأْسٍ مِّن مَّعِينٍ (18) Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo
 | 
| لَّا يُصَدَّعُونَ عَنْهَا وَلَا يُنزِفُونَ (19) Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira
 | 
| وَفَاكِهَةٍ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ (20) N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo
 | 
| وَلَحْمِ طَيْرٍ مِّمَّا يَشْتَهُونَ (21) Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala
 | 
| وَحُورٌ عِينٌ (22) N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana
 | 
| كَأَمْثَالِ اللُّؤْلُؤِ الْمَكْنُونِ (23) Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri
 | 
| جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (24) (Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi)
 | 
| لَا يَسْمَعُونَ فِيهَا لَغْوًا وَلَا تَأْثِيمًا (25) Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza
 | 
| إِلَّا قِيلًا سَلَامًا سَلَامًا (26) Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe
 | 
| وَأَصْحَابُ الْيَمِينِ مَا أَصْحَابُ الْيَمِينِ (27) Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya
 | 
| فِي سِدْرٍ مَّخْضُودٍ (28) Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa
 | 
| وَطَلْحٍ مَّنضُودٍ (29) N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye
 | 
| وَظِلٍّ مَّمْدُودٍ (30) N'ebisikirize ebigazi
 | 
| وَمَاءٍ مَّسْكُوبٍ (31) N'amazzi agakulukuta awatali kusalako
 | 
| وَفَاكِهَةٍ كَثِيرَةٍ (32) N'ebibala ebingi
 | 
| لَّا مَقْطُوعَةٍ وَلَا مَمْنُوعَةٍ (33) Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo
 | 
| وَفُرُشٍ مَّرْفُوعَةٍ (34) N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu
 | 
| إِنَّا أَنشَأْنَاهُنَّ إِنشَاءً (35) Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda
 | 
| فَجَعَلْنَاهُنَّ أَبْكَارًا (36) Olwo nno twabatonda nga mbeerera
 | 
| عُرُبًا أَتْرَابًا (37) Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa
 | 
| لِّأَصْحَابِ الْيَمِينِ (38) Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo
 | 
| ثُلَّةٌ مِّنَ الْأَوَّلِينَ (39) Bangi mu bibiina ebyasooka
 | 
| وَثُلَّةٌ مِّنَ الْآخِرِينَ (40) Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad)
 | 
| وَأَصْحَابُ الشِّمَالِ مَا أَصْحَابُ الشِّمَالِ (41) Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya
 | 
| فِي سَمُومٍ وَحَمِيمٍ (42) Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze
 | 
| وَظِلٍّ مِّن يَحْمُومٍ (43) Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya
 | 
| لَّا بَارِدٍ وَلَا كَرِيمٍ (44) Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa
 | 
| إِنَّهُمْ كَانُوا قَبْلَ ذَٰلِكَ مُتْرَفِينَ (45) Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya
 | 
| وَكَانُوا يُصِرُّونَ عَلَى الْحِنثِ الْعَظِيمِ (46) Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira)
 | 
| وَكَانُوا يَقُولُونَ أَئِذَا مِتْنَا وَكُنَّا تُرَابًا وَعِظَامًا أَإِنَّا لَمَبْعُوثُونَ (47) Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa
 | 
| أَوَآبَاؤُنَا الْأَوَّلُونَ (48) Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)
 | 
| قُلْ إِنَّ الْأَوَّلِينَ وَالْآخِرِينَ (49) Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma
 | 
| لَمَجْمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَاتِ يَوْمٍ مَّعْلُومٍ (50) Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa
 | 
| ثُمَّ إِنَّكُمْ أَيُّهَا الضَّالُّونَ الْمُكَذِّبُونَ (51) Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa
 | 
| لَآكِلُونَ مِن شَجَرٍ مِّن زَقُّومٍ (52) Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu
 | 
| فَمَالِئُونَ مِنْهَا الْبُطُونَ (53) Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe)
 | 
| فَشَارِبُونَ عَلَيْهِ مِنَ الْحَمِيمِ (54) Olwo nno munywereko amazzi ageeseze
 | 
| فَشَارِبُونَ شُرْبَ الْهِيمِ (55) Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta
 | 
| هَٰذَا نُزُلُهُمْ يَوْمَ الدِّينِ (56) Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula
 | 
| نَحْنُ خَلَقْنَاكُمْ فَلَوْلَا تُصَدِّقُونَ (57) Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo)
 | 
| أَفَرَأَيْتُم مَّا تُمْنُونَ (58) Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana
 | 
| أَأَنتُمْ تَخْلُقُونَهُ أَمْ نَحْنُ الْخَالِقُونَ (59) Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi
 | 
| نَحْنُ قَدَّرْنَا بَيْنَكُمُ الْمَوْتَ وَمَا نَحْنُ بِمَسْبُوقِينَ (60) Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa
 | 
| عَلَىٰ أَن نُّبَدِّلَ أَمْثَالَكُمْ وَنُنشِئَكُمْ فِي مَا لَا تَعْلَمُونَ (61) Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi
 | 
| وَلَقَدْ عَلِمْتُمُ النَّشْأَةَ الْأُولَىٰ فَلَوْلَا تَذَكَّرُونَ (62) Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira
 | 
| أَفَرَأَيْتُم مَّا تَحْرُثُونَ (63) Abaffe mulaba ebyo bye mulima
 | 
| أَأَنتُمْ تَزْرَعُونَهُ أَمْ نَحْنُ الزَّارِعُونَ (64) Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza
 | 
| لَوْ نَشَاءُ لَجَعَلْنَاهُ حُطَامًا فَظَلْتُمْ تَفَكَّهُونَ (65) Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya
 | 
| إِنَّا لَمُغْرَمُونَ (66) (Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa
 | 
| بَلْ نَحْنُ مَحْرُومُونَ (67) (Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa
 | 
| أَفَرَأَيْتُمُ الْمَاءَ الَّذِي تَشْرَبُونَ (68) Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa
 | 
| أَأَنتُمْ أَنزَلْتُمُوهُ مِنَ الْمُزْنِ أَمْ نَحْنُ الْمُنزِلُونَ (69) Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa
 | 
| لَوْ نَشَاءُ جَعَلْنَاهُ أُجَاجًا فَلَوْلَا تَشْكُرُونَ (70) Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi)
 | 
| أَفَرَأَيْتُمُ النَّارَ الَّتِي تُورُونَ (71) Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma
 | 
| أَأَنتُمْ أَنشَأْتُمْ شَجَرَتَهَا أَمْ نَحْنُ الْمُنشِئُونَ (72) Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika
 | 
| نَحْنُ جَعَلْنَاهَا تَذْكِرَةً وَمَتَاعًا لِّلْمُقْوِينَ (73) Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro)
 | 
| فَسَبِّحْ بِاسْمِ رَبِّكَ الْعَظِيمِ (74) Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa
 | 
| ۞ فَلَا أُقْسِمُ بِمَوَاقِعِ النُّجُومِ (75) Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye
 | 
| وَإِنَّهُ لَقَسَمٌ لَّوْ تَعْلَمُونَ عَظِيمٌ (76) Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi
 | 
| إِنَّهُ لَقُرْآنٌ كَرِيمٌ (77) Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa
 | 
| فِي كِتَابٍ مَّكْنُونٍ (78) Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu)
 | 
| لَّا يَمَسُّهُ إِلَّا الْمُطَهَّرُونَ (79) Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza)
 | 
| تَنزِيلٌ مِّن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (80) Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde
 | 
| أَفَبِهَٰذَا الْحَدِيثِ أَنتُم مُّدْهِنُونَ (81) Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira
 | 
| وَتَجْعَلُونَ رِزْقَكُمْ أَنَّكُمْ تُكَذِّبُونَ (82) Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe
 | 
| فَلَوْلَا إِذَا بَلَغَتِ الْحُلْقُومَ (83) Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa)
 | 
| وَأَنتُمْ حِينَئِذٍ تَنظُرُونَ (84) Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula
 | 
| وَنَحْنُ أَقْرَبُ إِلَيْهِ مِنكُمْ وَلَٰكِن لَّا تُبْصِرُونَ (85) Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba
 | 
| فَلَوْلَا إِن كُنتُمْ غَيْرَ مَدِينِينَ (86) Kale singa mwali temufugibwa (Katonda)
 | 
| تَرْجِعُونَهَا إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (87) Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima
 | 
| فَأَمَّا إِن كَانَ مِنَ الْمُقَرَّبِينَ (88) Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda)
 | 
| فَرَوْحٌ وَرَيْحَانٌ وَجَنَّتُ نَعِيمٍ (89) Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera
 | 
| وَأَمَّا إِن كَانَ مِنْ أَصْحَابِ الْيَمِينِ (90) Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo
 | 
| فَسَلَامٌ لَّكَ مِنْ أَصْحَابِ الْيَمِينِ (91) (Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo
 | 
| وَأَمَّا إِن كَانَ مِنَ الْمُكَذِّبِينَ الضَّالِّينَ (92) Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze
 | 
| فَنُزُلٌ مِّنْ حَمِيمٍ (93) (Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi
 | 
| وَتَصْلِيَةُ جَحِيمٍ (94) Nakwesogga muliro Jahiimu
 | 
| إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ الْيَقِينِ (95) Mazima ebyo ge mazima agannamaddala
 | 
| فَسَبِّحْ بِاسْمِ رَبِّكَ الْعَظِيمِ (96) Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa
 |