إِذَا وَقَعَتِ الْوَاقِعَةُ (1) Ekiseera ekitaliimu kubuusabuusa bwe kirituuka |
لَيْسَ لِوَقْعَتِهَا كَاذِبَةٌ (2) Okutuuka kwakyo tekuliimu kubuusabuusa |
خَافِضَةٌ رَّافِعَةٌ (3) Kirikakkanya (abeeyisa obubi era) kirisitula (abeeyisa obulungi) |
إِذَا رُجَّتِ الْأَرْضُ رَجًّا (4) Ensi bwe rikankanyizibwa olukankana |
وَبُسَّتِ الْجِبَالُ بَسًّا (5) N'ensozi nezimerengulwa olumerengulwa |
فَكَانَتْ هَبَاءً مُّنبَثًّا (6) Olwo nno nezifuuka enfuufu efumuuka |
وَكُنتُمْ أَزْوَاجًا ثَلَاثَةً (7) Era mmwe nemuba emitendera esatu |
فَأَصْحَابُ الْمَيْمَنَةِ مَا أَصْحَابُ الْمَيْمَنَةِ (8) Olwo nno newabaawo ogwa ba nannyini mukono ogwa ddyo, yye omanyi okubeera ku mukono ogwaddyo kye kitegeeza |
وَأَصْحَابُ الْمَشْأَمَةِ مَا أَصْحَابُ الْمَشْأَمَةِ (9) Era newabaawo n’ogwa ba nannyini mukono ogwa kkono, yye omanyi okubeera ku mukono ogwa kkono kye kitegeeza |
وَالسَّابِقُونَ السَّابِقُونَ (10) Newabaawo n’ogwabo abaakulembera, abalikulembera mu buli kimu |
أُولَٰئِكَ الْمُقَرَّبُونَ (11) Abo be bo kusembezebwa (ewa Katonda) |
فِي جَنَّاتِ النَّعِيمِ (12) Nga bali mu jjana ez'ebyengera |
ثُلَّةٌ مِّنَ الْأَوَّلِينَ (13) Bangi mu bibiina ebyasooka |
وَقَلِيلٌ مِّنَ الْآخِرِينَ (14) Nabatono mu kibiina kya bantu abenkomerero (abekibiina kya Nabbi Muhammad) |
عَلَىٰ سُرُرٍ مَّوْضُونَةٍ (15) (Balibeera) ku bitanda ebyakolebwa mu zzaabu n'amayinja amalala agomuwendo |
مُّتَّكِئِينَ عَلَيْهَا مُتَقَابِلِينَ (16) Baliba bagalamidde ku byo nga boolekaganye (nga banyumya) |
يَطُوفُ عَلَيْهِمْ وِلْدَانٌ مُّخَلَّدُونَ (17) Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu |
بِأَكْوَابٍ وَأَبَارِيقَ وَكَأْسٍ مِّن مَّعِينٍ (18) Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo |
لَّا يُصَدَّعُونَ عَنْهَا وَلَا يُنزِفُونَ (19) Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira |
وَفَاكِهَةٍ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ (20) N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo |
وَلَحْمِ طَيْرٍ مِّمَّا يَشْتَهُونَ (21) Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala |
وَحُورٌ عِينٌ (22) N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana |
كَأَمْثَالِ اللُّؤْلُؤِ الْمَكْنُونِ (23) Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri |
جَزَاءً بِمَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (24) (Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi) |
لَا يَسْمَعُونَ فِيهَا لَغْوًا وَلَا تَأْثِيمًا (25) Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza |
إِلَّا قِيلًا سَلَامًا سَلَامًا (26) Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe |
وَأَصْحَابُ الْيَمِينِ مَا أَصْحَابُ الْيَمِينِ (27) Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya |
فِي سِدْرٍ مَّخْضُودٍ (28) Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa |
وَطَلْحٍ مَّنضُودٍ (29) N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye |
وَظِلٍّ مَّمْدُودٍ (30) N'ebisikirize ebigazi |
وَمَاءٍ مَّسْكُوبٍ (31) N'amazzi agakulukuta awatali kusalako |
وَفَاكِهَةٍ كَثِيرَةٍ (32) N'ebibala ebingi |
لَّا مَقْطُوعَةٍ وَلَا مَمْنُوعَةٍ (33) Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo |
وَفُرُشٍ مَّرْفُوعَةٍ (34) N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu |
إِنَّا أَنشَأْنَاهُنَّ إِنشَاءً (35) Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda |
فَجَعَلْنَاهُنَّ أَبْكَارًا (36) Olwo nno twabatonda nga mbeerera |
عُرُبًا أَتْرَابًا (37) Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa |
لِّأَصْحَابِ الْيَمِينِ (38) Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo |
ثُلَّةٌ مِّنَ الْأَوَّلِينَ (39) Bangi mu bibiina ebyasooka |
وَثُلَّةٌ مِّنَ الْآخِرِينَ (40) Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad) |
وَأَصْحَابُ الشِّمَالِ مَا أَصْحَابُ الشِّمَالِ (41) Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya |
فِي سَمُومٍ وَحَمِيمٍ (42) Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze |
وَظِلٍّ مِّن يَحْمُومٍ (43) Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya |
لَّا بَارِدٍ وَلَا كَرِيمٍ (44) Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa |
إِنَّهُمْ كَانُوا قَبْلَ ذَٰلِكَ مُتْرَفِينَ (45) Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya |
وَكَانُوا يُصِرُّونَ عَلَى الْحِنثِ الْعَظِيمِ (46) Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira) |
وَكَانُوا يَقُولُونَ أَئِذَا مِتْنَا وَكُنَّا تُرَابًا وَعِظَامًا أَإِنَّا لَمَبْعُوثُونَ (47) Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa |
أَوَآبَاؤُنَا الْأَوَّلُونَ (48) Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo) |
قُلْ إِنَّ الْأَوَّلِينَ وَالْآخِرِينَ (49) Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma |
لَمَجْمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَاتِ يَوْمٍ مَّعْلُومٍ (50) Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa |
ثُمَّ إِنَّكُمْ أَيُّهَا الضَّالُّونَ الْمُكَذِّبُونَ (51) Oluvanyuma mazima mmwe, abange mmwe ababuze abalimbisa |
لَآكِلُونَ مِن شَجَرٍ مِّن زَقُّومٍ (52) Ddala mugenda kulya ku muti gwa zakkumu |
فَمَالِئُونَ مِنْهَا الْبُطُونَ (53) Nulijjuza nagwo embuto (gujjuze embuto zammwe) |
فَشَارِبُونَ عَلَيْهِ مِنَ الْحَمِيمِ (54) Olwo nno munywereko amazzi ageeseze |
فَشَارِبُونَ شُرْبَ الْهِيمِ (55) Mugenda kunywa ng'ennywa ye ngamiya erina ennyonta |
هَٰذَا نُزُلُهُمْ يَوْمَ الدِّينِ (56) Obwo bwe buliba obugenyi bwabwe ku lunaku lwo kusasula |
نَحْنُ خَلَقْنَاكُمْ فَلَوْلَا تُصَدِّقُونَ (57) Ffe twabatonda, kale singa mukkiriza (okusinziira kwekyo) |
أَفَرَأَيْتُم مَّا تُمْنُونَ (58) Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana |
أَأَنتُمْ تَخْلُقُونَهُ أَمْ نَحْنُ الْخَالِقُونَ (59) Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi |
نَحْنُ قَدَّرْنَا بَيْنَكُمُ الْمَوْتَ وَمَا نَحْنُ بِمَسْبُوقِينَ (60) Ffe twagera netussa wakati wa mmwe okufa, (netubakakasaako okufa) era tetuli ffe ba kulemesebwa |
عَلَىٰ أَن نُّبَدِّلَ أَمْثَالَكُمْ وَنُنشِئَكُمْ فِي مَا لَا تَعْلَمُونَ (61) Okuba nga tuwaanyisa abalinga mmwe (mu mmwe) olwo nno mmwe, netubakolamu ebirala bye mutamanyi |
وَلَقَدْ عَلِمْتُمُ النَّشْأَةَ الْأُولَىٰ فَلَوْلَا تَذَكَّرُونَ (62) Ate nga ddala mwamanya entandikwa eyasooka (engeri Katonda gye yabatondamu) kale singa mwebulirira |
أَفَرَأَيْتُم مَّا تَحْرُثُونَ (63) Abaffe mulaba ebyo bye mulima |
أَأَنتُمْ تَزْرَعُونَهُ أَمْ نَحْنُ الزَّارِعُونَ (64) Abaffe mmwe mubimeza oba ffe tumeza |
لَوْ نَشَاءُ لَجَعَلْنَاهُ حُطَامًا فَظَلْتُمْ تَفَكَّهُونَ (65) Singa twagadde tusobola okubifuula ebikaze nemusigala nga mwewunaganya |
إِنَّا لَمُغْرَمُونَ (66) (Nga mugamba nti) mazima ffe tetufunye ate nga tubanjibwa |
بَلْ نَحْنُ مَحْرُومُونَ (67) (Si kye kyokka) wabula ffe tummiddwa |
أَفَرَأَيْتُمُ الْمَاءَ الَّذِي تَشْرَبُونَ (68) Abaffe mulaba amazzi ago gemunywa |
أَأَنتُمْ أَنزَلْتُمُوهُ مِنَ الْمُزْنِ أَمْ نَحْنُ الْمُنزِلُونَ (69) Mwe mugassa okuva mu bire oba ffe tugassa |
لَوْ نَشَاءُ جَعَلْنَاهُ أُجَاجًا فَلَوْلَا تَشْكُرُونَ (70) Singa twagadde twaligafudde olukalabule kale singa mwebaza (Katonda olwo kugafuula amalungi) |
أَفَرَأَيْتُمُ النَّارَ الَّتِي تُورُونَ (71) Abaffe mulaba omuliro ogwo gwe mukuma |
أَأَنتُمْ أَنشَأْتُمْ شَجَرَتَهَا أَمْ نَحْنُ الْمُنشِئُونَ (72) Abaffe mmwe mwatandikawo omuti gwagwo, oba ffe twagutandika |
نَحْنُ جَعَلْنَاهَا تَذْكِرَةً وَمَتَاعًا لِّلْمُقْوِينَ (73) Ffe twagufuula kya kujjukiza, era nga gwa mugaso eri abatambuze (abataba na byoto bibakumira muliro) |
فَسَبِّحْ بِاسْمِ رَبِّكَ الْعَظِيمِ (74) Kale tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa |
۞ فَلَا أُقْسِمُ بِمَوَاقِعِ النُّجُومِ (75) Tewali kingaana kulayira bifo bya munyeenye |
وَإِنَّهُ لَقَسَمٌ لَّوْ تَعْلَمُونَ عَظِيمٌ (76) Era mazima kwo ddala kulayira kunene singa mubadde mumanyi |
إِنَّهُ لَقُرْآنٌ كَرِيمٌ (77) Okuba nti ddala yo Kur’ani yakitiibwa |
فِي كِتَابٍ مَّكْنُونٍ (78) Eri mu kitabo ekikuumibwa obutiribiri (ku Lawuhu al mahfudhu) |
لَّا يَمَسُّهُ إِلَّا الْمُطَهَّرُونَ (79) Takikwatako okugyako abaatukuzibwa (ba malayika abatalina bukyafu bwa mibiri oba obwe nzikiriza) |
تَنزِيلٌ مِّن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (80) Essibwa okuva ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde |
أَفَبِهَٰذَا الْحَدِيثِ أَنتُم مُّدْهِنُونَ (81) Abaffe ebigambo bino (ebya Kur’ani) mmwe bye mugayaalirira |
وَتَجْعَلُونَ رِزْقَكُمْ أَنَّكُمْ تُكَذِّبُونَ (82) Okugirimbisa mmwe ne mukifuula okuba nga ye Riziki yammwe |
فَلَوْلَا إِذَا بَلَغَتِ الْحُلْقُومَ (83) Singa omwoyo wegutuukira mu ddokooli (musala amagezi nemugutaasa) |
وَأَنتُمْ حِينَئِذٍ تَنظُرُونَ (84) Ate nga mmwe mu kiseera ekyo mubaawo nga mutunula |
وَنَحْنُ أَقْرَبُ إِلَيْهِ مِنكُمْ وَلَٰكِن لَّا تُبْصِرُونَ (85) Era ffe tuba okumpi naye okusinga mmwe, naye temulaba |
فَلَوْلَا إِن كُنتُمْ غَيْرَ مَدِينِينَ (86) Kale singa mwali temufugibwa (Katonda) |
تَرْجِعُونَهَا إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (87) Muyinza okugamba nti mwandiguzizzaamu mu mubiri, bwe muba mwogera mazima |
فَأَمَّا إِن كَانَ مِنَ الْمُقَرَّبِينَ (88) Naye (omufu) bwaba mu bo kumpi (ne Katonda) |
فَرَوْحٌ وَرَيْحَانٌ وَجَنَّتُ نَعِيمٍ (89) Aliba mu kwesiima na mirembe na jjana eye byengera |
وَأَمَّا إِن كَانَ مِنْ أَصْحَابِ الْيَمِينِ (90) Ate bwaba mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo |
فَسَلَامٌ لَّكَ مِنْ أَصْحَابِ الْيَمِينِ (91) (Aliyozebwayozebwa nti) emirembe gibeere ku ggwe, olwokuba oli mu bantu bo ku mukono ogwa ddyo |
وَأَمَّا إِن كَانَ مِنَ الْمُكَذِّبِينَ الضَّالِّينَ (92) Wabula bwabeera nga ali mu balimbisa ababuze |
فَنُزُلٌ مِّنْ حَمِيمٍ (93) (Oyo nno) obugenyi (bwe) bwalwegye lwa mazzi |
وَتَصْلِيَةُ جَحِيمٍ (94) Nakwesogga muliro Jahiimu |
إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ حَقُّ الْيَقِينِ (95) Mazima ebyo ge mazima agannamaddala |
فَسَبِّحْ بِاسْمِ رَبِّكَ الْعَظِيمِ (96) Kale nno tendereza erinnya lya Mukama omulabirizi wo owekitiibwa |