قَدْ سَمِعَ اللَّهُ قَوْلَ الَّتِي تُجَادِلُكَ فِي زَوْجِهَا وَتَشْتَكِي إِلَى اللَّهِ وَاللَّهُ يَسْمَعُ تَحَاوُرَكُمَا ۚ إِنَّ اللَّهَ سَمِيعٌ بَصِيرٌ (1) Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba |
الَّذِينَ يُظَاهِرُونَ مِنكُم مِّن نِّسَائِهِم مَّا هُنَّ أُمَّهَاتِهِمْ ۖ إِنْ أُمَّهَاتُهُمْ إِلَّا اللَّائِي وَلَدْنَهُمْ ۚ وَإِنَّهُمْ لَيَقُولُونَ مُنكَرًا مِّنَ الْقَوْلِ وَزُورًا ۚ وَإِنَّ اللَّهَ لَعَفُوٌّ غَفُورٌ (2) Abo bonna mu mmwe abagamba bakyala baabwe nti emigongo gyabwe giringa egya ba nnyabwe (abo be bakigamba) tebabangako ba maama baabwe. Ba maama baabwe beebo ababazaala. (mu kwogera batyo) mazima bbo boogera ekigambo ekibi. Mu kiseera kye kimu nga kigunje. Wabula mazima ddala Katonda alekera era asonyiwa |
وَالَّذِينَ يُظَاهِرُونَ مِن نِّسَائِهِمْ ثُمَّ يَعُودُونَ لِمَا قَالُوا فَتَحْرِيرُ رَقَبَةٍ مِّن قَبْلِ أَن يَتَمَاسَّا ۚ ذَٰلِكُمْ تُوعَظُونَ بِهِ ۚ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ خَبِيرٌ (3) Abo bonna abazira bakazi baabwe olw'okulayira nti kubo balinga bannyaabwe ate oluvanyuma nebaddayo eri ekyo kye baali balayiridde (oyo akikola) ateekwa okuta omuddu nga tannaba kuddayo kulabagana namukyalawe. Ekyo nno kyemuteekwa okukola, anti Katonda amanyi nnyo byonna byemukola |
فَمَن لَّمْ يَجِدْ فَصِيَامُ شَهْرَيْنِ مُتَتَابِعَيْنِ مِن قَبْلِ أَن يَتَمَاسَّا ۖ فَمَن لَّمْ يَسْتَطِعْ فَإِطْعَامُ سِتِّينَ مِسْكِينًا ۚ ذَٰلِكَ لِتُؤْمِنُوا بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ ۚ وَتِلْكَ حُدُودُ اللَّهِ ۗ وَلِلْكَافِرِينَ عَذَابٌ أَلِيمٌ (4) Oyo aba tasobodde kuta muddu nga tannalabagana na mukyalawe ateekwa okusiiba emyezi ebiri nga gigoberegana, wabula oyo aba tasobodde ateekwa okuliisa ba masikiini nkaaga. Ekyo kibafuule abakkiriza Katonda n'omubakawe, ago mateeka g'aKatonda era bulijjo abawakanya amateeka g'a Katonda bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebiruma |
إِنَّ الَّذِينَ يُحَادُّونَ اللَّهَ وَرَسُولَهُ كُبِتُوا كَمَا كُبِتَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۚ وَقَدْ أَنزَلْنَا آيَاتٍ بَيِّنَاتٍ ۚ وَلِلْكَافِرِينَ عَذَابٌ مُّهِينٌ (5) Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe baswavu nga abaabasooka bwe baaswazibwa, ate nga twassa amateeka agannyonnyola (Haraamu ne Halaal) naye abo abagawakanya bajja kutuukibwako ebibonerezo ebigenda okubanyoomesa |
يَوْمَ يَبْعَثُهُمُ اللَّهُ جَمِيعًا فَيُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوا ۚ أَحْصَاهُ اللَّهُ وَنَسُوهُ ۚ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ شَهِيدٌ (6) Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna n'ababuulira ebyo byebaakola, Katonda yabikunganya n'abikomekkereza. So ng'ate bbo baabyerabira. Bulijjo Katonda mujulizi ku buli kintu |
أَلَمْ تَرَ أَنَّ اللَّهَ يَعْلَمُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۖ مَا يَكُونُ مِن نَّجْوَىٰ ثَلَاثَةٍ إِلَّا هُوَ رَابِعُهُمْ وَلَا خَمْسَةٍ إِلَّا هُوَ سَادِسُهُمْ وَلَا أَدْنَىٰ مِن ذَٰلِكَ وَلَا أَكْثَرَ إِلَّا هُوَ مَعَهُمْ أَيْنَ مَا كَانُوا ۖ ثُمَّ يُنَبِّئُهُم بِمَا عَمِلُوا يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۚ إِنَّ اللَّهَ بِكُلِّ شَيْءٍ عَلِيمٌ (7) Abaffe tomanyi nti mazima Katonda amanyi ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, nga tewali kafubo konna kakabe k'abasatu okugyako nga yye waakuna, wadde ak'abataano okugyako nga yye w'amukaaga wadde abatono abatenkana basatu oba abali waggulu w'omukaaga okugyako Katonda aba nabo awo wonna webali, oluvanyuma Katonda ku lunaku lw’enkomerero agenda kubategeeza ebyo byonna byebaali bakola. Anti Katonda amanyi buli kintu kyonna |
أَلَمْ تَرَ إِلَى الَّذِينَ نُهُوا عَنِ النَّجْوَىٰ ثُمَّ يَعُودُونَ لِمَا نُهُوا عَنْهُ وَيَتَنَاجَوْنَ بِالْإِثْمِ وَالْعُدْوَانِ وَمَعْصِيَتِ الرَّسُولِ وَإِذَا جَاءُوكَ حَيَّوْكَ بِمَا لَمْ يُحَيِّكَ بِهِ اللَّهُ وَيَقُولُونَ فِي أَنفُسِهِمْ لَوْلَا يُعَذِّبُنَا اللَّهُ بِمَا نَقُولُ ۚ حَسْبُهُمْ جَهَنَّمُ يَصْلَوْنَهَا ۖ فَبِئْسَ الْمَصِيرُ (8) Abaffe tolaba abo abagaanibwa okukola obufubo (obwenkwe) oluvanyuma ne baddamu ekyo kyenyini ekyabagaanibwa, nga bogeraganya wakati waabwe mu nkukutu olw'okukola ebikyamu n'obulabe n'okujeemera omubaka. Era nga bwe baba bazze gyoli bakulamusa n'ekiramuso ekitali ekyo Katonda kyeyakutekerawo, nga bwe bagamba mu mitima gyaabwe nti lwaki Katonda tatubonereza olwebyo byetwogera. Omuliro Jahannama gwebagenda okuyingira gubamala. Nayo nno nkomerero mbi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا تَنَاجَيْتُمْ فَلَا تَتَنَاجَوْا بِالْإِثْمِ وَالْعُدْوَانِ وَمَعْصِيَتِ الرَّسُولِ وَتَنَاجَوْا بِالْبِرِّ وَالتَّقْوَىٰ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ الَّذِي إِلَيْهِ تُحْشَرُونَ (9) Abange mmwe abakkiriza bwe mubanga muteesa mu kyama temuteesanga okukola ekibi kyonna oba obulabe oba okujeemera omubaka. Muteesenga byakukola bulungi nakutya Katonda. Era mutye Katonda anti gyali gyemugenda okukunganyirizibwa |
إِنَّمَا النَّجْوَىٰ مِنَ الشَّيْطَانِ لِيَحْزُنَ الَّذِينَ آمَنُوا وَلَيْسَ بِضَارِّهِمْ شَيْئًا إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ وَعَلَى اللَّهِ فَلْيَتَوَكَّلِ الْمُؤْمِنُونَ (10) Mazima okuteeseganya mu kyama mu ngeri embi n'okukola obulabe kikolwa kya Sitaane (nga nekigendererwa kye) kunyiiza bakkiriza. Ekyo tekiyinza kubaleetera kabi konna, okugyako nga Katonda akkirizza era abakkiriza bateekwa kwesiga Katonda yekka |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا قِيلَ لَكُمْ تَفَسَّحُوا فِي الْمَجَالِسِ فَافْسَحُوا يَفْسَحِ اللَّهُ لَكُمْ ۖ وَإِذَا قِيلَ انشُزُوا فَانشُزُوا يَرْفَعِ اللَّهُ الَّذِينَ آمَنُوا مِنكُمْ وَالَّذِينَ أُوتُوا الْعِلْمَ دَرَجَاتٍ ۚ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ خَبِيرٌ (11) Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugambiddwa nti mwefunze mu ntuula (ne banammwe bafune ebifo) mukikole. Katonda ajja ku basobozesa okugaziwa, ate bwe muba mugambiddwa okusituka (okuva mu kifo olwensonga yonna) musituke, anti Katonda asitula amadaala mu mmwe abakkiriza n'abo abaweebwa okumanya. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo webyo byonna byemukola |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا نَاجَيْتُمُ الرَّسُولَ فَقَدِّمُوا بَيْنَ يَدَيْ نَجْوَاكُمْ صَدَقَةً ۚ ذَٰلِكَ خَيْرٌ لَّكُمْ وَأَطْهَرُ ۚ فَإِن لَّمْ تَجِدُوا فَإِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (12) Abange mmwe abakkiriza bwemwagalanga okwogera n'omubaka musookenga ku saddaka, nga temunayogera naye. Ekyo kye kirungi gye muli era kyekisinga era kibatukuliza ddala. Naye bwe muba temulina kyemusadaka mazima Katonda musonyiyi waakisa |
أَأَشْفَقْتُمْ أَن تُقَدِّمُوا بَيْنَ يَدَيْ نَجْوَاكُمْ صَدَقَاتٍ ۚ فَإِذْ لَمْ تَفْعَلُوا وَتَابَ اللَّهُ عَلَيْكُمْ فَأَقِيمُوا الصَّلَاةَ وَآتُوا الزَّكَاةَ وَأَطِيعُوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ ۚ وَاللَّهُ خَبِيرٌ بِمَا تَعْمَلُونَ (13) Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Katonda n'omubakawe. Mazima Katonda amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola |
۞ أَلَمْ تَرَ إِلَى الَّذِينَ تَوَلَّوْا قَوْمًا غَضِبَ اللَّهُ عَلَيْهِم مَّا هُم مِّنكُمْ وَلَا مِنْهُمْ وَيَحْلِفُونَ عَلَى الْكَذِبِ وَهُمْ يَعْلَمُونَ (14) Abaffe tewamanya abo abakwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira, abantu abo mu butuufu si ba mu mmwe wadde si ba mu bali (Bebakwanagana nabo) nebatuuka n'okulayira ku bulimba nga ate ddala bamanyi (ekituufu) |
أَعَدَّ اللَّهُ لَهُمْ عَذَابًا شَدِيدًا ۖ إِنَّهُمْ سَاءَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (15) Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, anti mazima byonna byebaakolanga bibi |
اتَّخَذُوا أَيْمَانَهُمْ جُنَّةً فَصَدُّوا عَن سَبِيلِ اللَّهِ فَلَهُمْ عَذَابٌ مُّهِينٌ (16) (Okulayira kwabwe nti basiramu) baakifuula ekyokuwona, olwo nno nebaziyiza abantu okukola emirimu gya Katonda, bagenda kutuukibwako ebibonerezo ebinyomesa |
لَّن تُغْنِيَ عَنْهُمْ أَمْوَالُهُمْ وَلَا أَوْلَادُهُم مِّنَ اللَّهِ شَيْئًا ۚ أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ النَّارِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (17) Emaali yaabwe n'abaana baabwe tebigenda kubagasa naakamu mumaaso g'a Katonda. Abo be bantu bo mumuliro ab'okugubeeramu obugenderevu |
يَوْمَ يَبْعَثُهُمُ اللَّهُ جَمِيعًا فَيَحْلِفُونَ لَهُ كَمَا يَحْلِفُونَ لَكُمْ ۖ وَيَحْسَبُونَ أَنَّهُمْ عَلَىٰ شَيْءٍ ۚ أَلَا إِنَّهُمْ هُمُ الْكَاذِبُونَ (18) Olunaku Katonda lwalibazuukiza bonna nebamulayirira nga bwebaabalayirira mmwe ku nsi nga balowooza nti kyebakoze kyakubagasa. Abange, abo nno beebalimba bennyini |
اسْتَحْوَذَ عَلَيْهِمُ الشَّيْطَانُ فَأَنسَاهُمْ ذِكْرَ اللَّهِ ۚ أُولَٰئِكَ حِزْبُ الشَّيْطَانِ ۚ أَلَا إِنَّ حِزْبَ الشَّيْطَانِ هُمُ الْخَاسِرُونَ (19) Sitaane yabeefunza okutuusa lweyabeerabiza okwogera ku Katonda. Abo nno be bagoberezi ba Sitaane. Mukimanye nti mazima ab'ekibiina kya Sitaane be b'okufafaganirwa |
إِنَّ الَّذِينَ يُحَادُّونَ اللَّهَ وَرَسُولَهُ أُولَٰئِكَ فِي الْأَذَلِّينَ (20) Mazima abo abawakanya Katonda n'omubakawe ba mu bantu abanyoomebwa |
كَتَبَ اللَّهُ لَأَغْلِبَنَّ أَنَا وَرُسُلِي ۚ إِنَّ اللَّهَ قَوِيٌّ عَزِيزٌ (21) (Katonda) yakakasa dda nti nze Katonda n'ababaka bange tuli baakuwangula anti Katonda wamaanyi. Nnantakubwa ku mukono |
لَّا تَجِدُ قَوْمًا يُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ يُوَادُّونَ مَنْ حَادَّ اللَّهَ وَرَسُولَهُ وَلَوْ كَانُوا آبَاءَهُمْ أَوْ أَبْنَاءَهُمْ أَوْ إِخْوَانَهُمْ أَوْ عَشِيرَتَهُمْ ۚ أُولَٰئِكَ كَتَبَ فِي قُلُوبِهِمُ الْإِيمَانَ وَأَيَّدَهُم بِرُوحٍ مِّنْهُ ۖ وَيُدْخِلُهُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا ۚ رَضِيَ اللَّهُ عَنْهُمْ وَرَضُوا عَنْهُ ۚ أُولَٰئِكَ حِزْبُ اللَّهِ ۚ أَلَا إِنَّ حِزْبَ اللَّهِ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (22) Tewali bantu bonna abakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero baalibadde batiitiibya abo abawakanya Katonda n'omubakawe, kababe ba kitaabwe, oba baana baabwe, oba baganda baabwe, oba nga baaluganda lwabwe olwokumpi. Abo nno (abatakola ekyo) Katonda yatebenkeza obukkiriza mu mitima gyabwe, naabawagira naamanyi agava gyali era nga agenda kubayingiza e jjana egikulukutira wansi waazo emigga, nga bakubeera mu zo olubeerera. Katonda yabasiima nga nabo bwebaamusiima. Kisaana kimanyike nti mazima abo b'ebantu ba Katonda abokwesiimira ddala |