×

Surah Al-Hashr in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Al Hashr

Translation of the Meanings of Surah Al Hashr in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Al Hashr translated into Ganda, Surah Al-Hashr in Ganda. We provide accurate translation of Surah Al Hashr in Ganda - لوغندا, Verses 24 - Surah Number 59 - Page 545.

بسم الله الرحمن الرحيم

سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۖ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (1)
Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitendereza Katonda nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mu ssa lyakyo
هُوَ الَّذِي أَخْرَجَ الَّذِينَ كَفَرُوا مِنْ أَهْلِ الْكِتَابِ مِن دِيَارِهِمْ لِأَوَّلِ الْحَشْرِ ۚ مَا ظَنَنتُمْ أَن يَخْرُجُوا ۖ وَظَنُّوا أَنَّهُم مَّانِعَتُهُمْ حُصُونُهُم مِّنَ اللَّهِ فَأَتَاهُمُ اللَّهُ مِنْ حَيْثُ لَمْ يَحْتَسِبُوا ۖ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ الرُّعْبَ ۚ يُخْرِبُونَ بُيُوتَهُم بِأَيْدِيهِمْ وَأَيْدِي الْمُؤْمِنِينَ فَاعْتَبِرُوا يَا أُولِي الْأَبْصَارِ (2)
Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga
وَلَوْلَا أَن كَتَبَ اللَّهُ عَلَيْهِمُ الْجَلَاءَ لَعَذَّبَهُمْ فِي الدُّنْيَا ۖ وَلَهُمْ فِي الْآخِرَةِ عَذَابُ النَّارِ (3)
Singa tekyali nti Katonda yabasalirawo ku bawangangusa yaalibadde ababonereza kuno ku nsi, ate nga ne ku nkomerero abategekedde ebibonerezo byomuliro
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ شَاقُّوا اللَّهَ وَرَسُولَهُ ۖ وَمَن يُشَاقِّ اللَّهَ فَإِنَّ اللَّهَ شَدِيدُ الْعِقَابِ (4)
Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza
مَا قَطَعْتُم مِّن لِّينَةٍ أَوْ تَرَكْتُمُوهَا قَائِمَةً عَلَىٰ أُصُولِهَا فَبِإِذْنِ اللَّهِ وَلِيُخْزِيَ الْفَاسِقِينَ (5)
Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi
وَمَا أَفَاءَ اللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِ مِنْهُمْ فَمَا أَوْجَفْتُمْ عَلَيْهِ مِنْ خَيْلٍ وَلَا رِكَابٍ وَلَٰكِنَّ اللَّهَ يُسَلِّطُ رُسُلَهُ عَلَىٰ مَن يَشَاءُ ۚ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (6)
Eyo emmaali Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza abalabe. (ba Banu Nadhiri) temwebagala nfaransi wadde engamiya okugenda gyebali. Wabula Katonda asobozesa ababakabe okuwangula oyo yenna gwaba ayagadde okuwangulwa, mazima Katonda asobola buli kintu kyonna
مَّا أَفَاءَ اللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِ مِنْ أَهْلِ الْقُرَىٰ فَلِلَّهِ وَلِلرَّسُولِ وَلِذِي الْقُرْبَىٰ وَالْيَتَامَىٰ وَالْمَسَاكِينِ وَابْنِ السَّبِيلِ كَيْ لَا يَكُونَ دُولَةً بَيْنَ الْأَغْنِيَاءِ مِنكُمْ ۚ وَمَا آتَاكُمُ الرَّسُولُ فَخُذُوهُ وَمَا نَهَاكُمْ عَنْهُ فَانتَهُوا ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۖ إِنَّ اللَّهَ شَدِيدُ الْعِقَابِ (7)
Emmaali eyo yonna Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza okuva mu byalo (bya ba Banu Nadhiri ng'olutalo luggweredde mu kutegeeragana) eba y'a Katonda, n'omubakawe, n'aboluganda lwa Nabbi olwokumpi, ne ba mulekwa, ne ba masikiini, n'abatambuze naabo abafunye ebizibu mu ngendo zaabwe. Emmaali eyo ereme kuba nga abeegasa nayo bagagga bokka mu mmwe. Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza
لِلْفُقَرَاءِ الْمُهَاجِرِينَ الَّذِينَ أُخْرِجُوا مِن دِيَارِهِمْ وَأَمْوَالِهِمْ يَبْتَغُونَ فَضْلًا مِّنَ اللَّهِ وَرِضْوَانًا وَيَنصُرُونَ اللَّهَ وَرَسُولَهُ ۚ أُولَٰئِكَ هُمُ الصَّادِقُونَ (8)
Na bwe kityo abaavu abaasenguka okuva e (Makkah) ne bagobwa mu mayumba gaabwe ne balesebwa e mmaali yaabwe nga banoonya obulungi n'okusiima kwa Katonda era nga baali bataasa ddiini y'a Katonda n'omubakawe (balinako omugabo). Abo nno b'ebakkiriza abamazima
وَالَّذِينَ تَبَوَّءُوا الدَّارَ وَالْإِيمَانَ مِن قَبْلِهِمْ يُحِبُّونَ مَنْ هَاجَرَ إِلَيْهِمْ وَلَا يَجِدُونَ فِي صُدُورِهِمْ حَاجَةً مِّمَّا أُوتُوا وَيُؤْثِرُونَ عَلَىٰ أَنفُسِهِمْ وَلَوْ كَانَ بِهِمْ خَصَاصَةٌ ۚ وَمَن يُوقَ شُحَّ نَفْسِهِ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الْمُفْلِحُونَ (9)
Abatuuze b'e Madinah abaasooka okukkiriza obusiramu (ba Answar) baagala abo abaasengukira gyebali (ba Muhajiruuna), era tebalina nsaalwa yonna kwebyo ebyaweebwa bannabwe (ba Muhajiruna) era nga beeresa newakubadde nga balina obwetaavu bo bennyini. Omuntu awona omulugube, abo nno b'ebokwesiimira ddala
وَالَّذِينَ جَاءُوا مِن بَعْدِهِمْ يَقُولُونَ رَبَّنَا اغْفِرْ لَنَا وَلِإِخْوَانِنَا الَّذِينَ سَبَقُونَا بِالْإِيمَانِ وَلَا تَجْعَلْ فِي قُلُوبِنَا غِلًّا لِّلَّذِينَ آمَنُوا رَبَّنَا إِنَّكَ رَءُوفٌ رَّحِيمٌ (10)
Naabo abajja oluvanyuma lwabwe babasabira nga bagamba nti ayi Katonda tusonyiwe ne baganda baffe abaatukulembera mu bukkiriza, era tossa mu mitima gyaffe nsaalwa yonna eri abo abakkiriza. Ayi Katonda waffe gwe musaasizi oweekisa ekingi
۞ أَلَمْ تَرَ إِلَى الَّذِينَ نَافَقُوا يَقُولُونَ لِإِخْوَانِهِمُ الَّذِينَ كَفَرُوا مِنْ أَهْلِ الْكِتَابِ لَئِنْ أُخْرِجْتُمْ لَنَخْرُجَنَّ مَعَكُمْ وَلَا نُطِيعُ فِيكُمْ أَحَدًا أَبَدًا وَإِن قُوتِلْتُمْ لَنَنصُرَنَّكُمْ وَاللَّهُ يَشْهَدُ إِنَّهُمْ لَكَاذِبُونَ (11)
Abaffe tolaba (ggwe Nabbi Muhammad) abananfunsi abagamba bannabwe abaakafuwala mu bayudaaya nti singa munaaba mugobeddwa naffe tujja kugenda nammwe. Era tetulikkiriza kigambo kyamuntu yenna ku bikwata ku mmwe. Era bwemulirwanyisibwa tugenda kubataasa. Ne Katonda akakasa nti mazima ddala baali balimba
لَئِنْ أُخْرِجُوا لَا يَخْرُجُونَ مَعَهُمْ وَلَئِن قُوتِلُوا لَا يَنصُرُونَهُمْ وَلَئِن نَّصَرُوهُمْ لَيُوَلُّنَّ الْأَدْبَارَ ثُمَّ لَا يُنصَرُونَ (12)
Wabula singa (abayudaaya) bagobwa, abananfunsi tebagenda nabo. Ate ne bwebaba balwanyisiddwa tebabataasa. So nga ne bwebaba bagezezzaako okubataasa babaddukako, n'oluvanyuma nebatafuna kutaasibwa kwonna
لَأَنتُمْ أَشَدُّ رَهْبَةً فِي صُدُورِهِم مِّنَ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ قَوْمٌ لَّا يَفْقَهُونَ (13)
(Abakkiriza), mwe mutiibwa mu mitima gyabwe okusinga bwe batya Katonda. Ekyo nno lwakuba nti bbo kibiina ky'abantu abatategeera
لَا يُقَاتِلُونَكُمْ جَمِيعًا إِلَّا فِي قُرًى مُّحَصَّنَةٍ أَوْ مِن وَرَاءِ جُدُرٍ ۚ بَأْسُهُم بَيْنَهُمْ شَدِيدٌ ۚ تَحْسَبُهُمْ جَمِيعًا وَقُلُوبُهُمْ شَتَّىٰ ۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمْ قَوْمٌ لَّا يَعْقِلُونَ (14)
(Abayudaaya n'abananfunsi) tebayinza kubalwanyisa nga bali wamu okugyako nga bali mu byalo ebiriko ebigo, oba nga bali mabega w'abisenge. Obulabe wakati waabwe bokka buyitirivu obalowooza okuba nti bali wamu, so nga emitima gyaabwe myawukamu. Ekyo nno lwakuba nti bo kibiina kyabantu abatategeera
كَمَثَلِ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ قَرِيبًا ۖ ذَاقُوا وَبَالَ أَمْرِهِمْ وَلَهُمْ عَذَابٌ أَلِيمٌ (15)
(Ba Banu Nadhiri) bafaanana naabo abaabakulembera e mabegako katono (Abakafiiri be Makkah abaawangulwa obubi ennyo ku lutalo lwe Badri) baaloza ku bukaawu bwe bikolwa byabwe (ku nsi) ate nga balinayo ebibonerezo ebiruma ennyo (ku nkomerero)
كَمَثَلِ الشَّيْطَانِ إِذْ قَالَ لِلْإِنسَانِ اكْفُرْ فَلَمَّا كَفَرَ قَالَ إِنِّي بَرِيءٌ مِّنكَ إِنِّي أَخَافُ اللَّهَ رَبَّ الْعَالَمِينَ (16)
(Abananfunsi mu kusendasenda abayudaaya) balinga Sitaane bwe gamba omuntu nti kaafuwala. Wabula bwakaafuwala Sitaane emugamba nti nze siri naawe, mazima nze ntya Katonda omulezi w'ebitonde
فَكَانَ عَاقِبَتَهُمَا أَنَّهُمَا فِي النَّارِ خَالِدَيْنِ فِيهَا ۚ وَذَٰلِكَ جَزَاءُ الظَّالِمِينَ (17)
Enkomerero y'a bombi neeba nga ddala baakubeera mu muliro olubeerera, eyo nno y'empeera y'a beeyisa obubi
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا اتَّقُوا اللَّهَ وَلْتَنظُرْ نَفْسٌ مَّا قَدَّمَتْ لِغَدٍ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ ۚ إِنَّ اللَّهَ خَبِيرٌ بِمَا تَعْمَلُونَ (18)
Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda, era omuntu atunule mu byategekedde olunaku lw'enkya. Bulijjo muteekwa okutya Katonda, anti mazima Katonda amanyidde ddala buli kye mukola
وَلَا تَكُونُوا كَالَّذِينَ نَسُوا اللَّهَ فَأَنسَاهُمْ أَنفُسَهُمْ ۚ أُولَٰئِكَ هُمُ الْفَاسِقُونَ (19)
Temubeera nga abo abaava ku Katonda, ekyavaako okuba nga Katonda abeerabiza bye baali bateekwa okwekolera, abo nno be bonoonyi
لَا يَسْتَوِي أَصْحَابُ النَّارِ وَأَصْحَابُ الْجَنَّةِ ۚ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ هُمُ الْفَائِزُونَ (20)
Abantu bo mu muliro tebenkana na bantu ba mu jjana, abo abaliyingira e jjana be bokwesiima
لَوْ أَنزَلْنَا هَٰذَا الْقُرْآنَ عَلَىٰ جَبَلٍ لَّرَأَيْتَهُ خَاشِعًا مُّتَصَدِّعًا مِّنْ خَشْيَةِ اللَّهِ ۚ وَتِلْكَ الْأَمْثَالُ نَضْرِبُهَا لِلنَّاسِ لَعَلَّهُمْ يَتَفَكَّرُونَ (21)
Singa twassa Kur'ani eno ku nsozi wandizirabye nga zigonze, era nga zimerenguse olw'okutya Katonda. Ebifaananyi ng'ebyo tubikubira abantu bibasoboseze okufumitiriza (bategeere Katonda)
هُوَ اللَّهُ الَّذِي لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ عَالِمُ الْغَيْبِ وَالشَّهَادَةِ ۖ هُوَ الرَّحْمَٰنُ الرَّحِيمُ (22)
Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako ye yekka, amanyi ebitalabwa n'ebirabwa. Yye yemusaasizi, oweekisa ekibuna kuno ku nsi, aliba n'ekisa ekyenjawulo ku lunaku lw'enkomerero
هُوَ اللَّهُ الَّذِي لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ الْمَلِكُ الْقُدُّوسُ السَّلَامُ الْمُؤْمِنُ الْمُهَيْمِنُ الْعَزِيزُ الْجَبَّارُ الْمُتَكَبِّرُ ۚ سُبْحَانَ اللَّهِ عَمَّا يُشْرِكُونَ (23)
Yye Katonda, yooyo tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, omufuzi wa buli kintu, atuukiridde mu buli kimu, kiwamirembe, akakasa obukkiriza bwa baddube, kalondoozi wa buli kintu, nantakubwa ku mukono, kkirimaanyi, kabwejungira. Katonda wanjawulo nnyo kwe byo bye bamugattako
هُوَ اللَّهُ الْخَالِقُ الْبَارِئُ الْمُصَوِّرُ ۖ لَهُ الْأَسْمَاءُ الْحُسْنَىٰ ۚ يُسَبِّحُ لَهُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۖ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (24)
Yye Katonda, yooyo omutonzi, eyatandikawo ebitonde mu kubitonda nga talina kyalabirako, eyafaananya buli kintu nga bwa kyagala, alina amannya amalungi, buli ekiri mu ggulu n'ensi kimutendereza. Era yye Katonda, ye nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas