×

Surah At-Talaq in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Talaq

Translation of the Meanings of Surah Talaq in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Talaq translated into Ganda, Surah At-Talaq in Ganda. We provide accurate translation of Surah Talaq in Ganda - لوغندا, Verses 12 - Surah Number 65 - Page 558.

بسم الله الرحمن الرحيم

يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ إِذَا طَلَّقْتُمُ النِّسَاءَ فَطَلِّقُوهُنَّ لِعِدَّتِهِنَّ وَأَحْصُوا الْعِدَّةَ ۖ وَاتَّقُوا اللَّهَ رَبَّكُمْ ۖ لَا تُخْرِجُوهُنَّ مِن بُيُوتِهِنَّ وَلَا يَخْرُجْنَ إِلَّا أَن يَأْتِينَ بِفَاحِشَةٍ مُّبَيِّنَةٍ ۚ وَتِلْكَ حُدُودُ اللَّهِ ۚ وَمَن يَتَعَدَّ حُدُودَ اللَّهِ فَقَدْ ظَلَمَ نَفْسَهُ ۚ لَا تَدْرِي لَعَلَّ اللَّهَ يُحْدِثُ بَعْدَ ذَٰلِكَ أَمْرًا (1)
Owange ggwe Nabbi, bwe muba nga muta abakyala, mubate nga bali ku mbeera eyobutukuvu (Nga tebali mu Haidh), mubalenga n'obwegendereza ebbanga lya Idda (Idda kye kiseera omukyala ateereddwa kyamala nga tannaba ku kkirizibwa kuddamu kufumbirwa). Era mutye Katonda omulezi wa mmwe, temwetantalanga okubaggya mu mayumba gaabwe (mwe babadde bawangaalira nga bali mu bufumbo bwa bwe), so nga nabo tebavanga mu mayumba ago okugyako nga bakoze ebikolobero eby'olwatu. Ezo z'ensalo z'amateeka ga Katonda. Oyo yenna abuuka ensalo z'amateeka ga Katonda, aba y'eryazaamanyizza, tomanya oba olyawo Katonda naaleetawo embeera endala oluvanyuma lw'ekyo
فَإِذَا بَلَغْنَ أَجَلَهُنَّ فَأَمْسِكُوهُنَّ بِمَعْرُوفٍ أَوْ فَارِقُوهُنَّ بِمَعْرُوفٍ وَأَشْهِدُوا ذَوَيْ عَدْلٍ مِّنكُمْ وَأَقِيمُوا الشَّهَادَةَ لِلَّهِ ۚ ذَٰلِكُمْ يُوعَظُ بِهِ مَن كَانَ يُؤْمِنُ بِاللَّهِ وَالْيَوْمِ الْآخِرِ ۚ وَمَن يَتَّقِ اللَّهَ يَجْعَل لَّهُ مَخْرَجًا (2)
Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu
وَيَرْزُقْهُ مِنْ حَيْثُ لَا يَحْتَسِبُ ۚ وَمَن يَتَوَكَّلْ عَلَى اللَّهِ فَهُوَ حَسْبُهُ ۚ إِنَّ اللَّهَ بَالِغُ أَمْرِهِ ۚ قَدْ جَعَلَ اللَّهُ لِكُلِّ شَيْءٍ قَدْرًا (3)
Era naamugabirira mu ngeri gyatasuubira, era oyo yenna eyeesiga Katonda, Katonda amumala, anti Katonda ekigambokye kye kyenkomeredde, mazima Katonda yategeka ekigero kya buli kintu
وَاللَّائِي يَئِسْنَ مِنَ الْمَحِيضِ مِن نِّسَائِكُمْ إِنِ ارْتَبْتُمْ فَعِدَّتُهُنَّ ثَلَاثَةُ أَشْهُرٍ وَاللَّائِي لَمْ يَحِضْنَ ۚ وَأُولَاتُ الْأَحْمَالِ أَجَلُهُنَّ أَن يَضَعْنَ حَمْلَهُنَّ ۚ وَمَن يَتَّقِ اللَّهَ يَجْعَل لَّهُ مِنْ أَمْرِهِ يُسْرًا (4)
Abo bonna mu bakyala ba mmwe abatakyagenda mu nsonga za Heidh, bw emutankananga ebbanga lya Idda yaabwe, balindenga emyezi esatu. Wabula abo abatanayingira mu nsonga za Haidh Idda yaabwe emyezi esatu. Naye abo abali embuto ebbanga lyabwe kumala kuzaala. Oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu mu buli kintu
ذَٰلِكَ أَمْرُ اللَّهِ أَنزَلَهُ إِلَيْكُمْ ۚ وَمَن يَتَّقِ اللَّهَ يُكَفِّرْ عَنْهُ سَيِّئَاتِهِ وَيُعْظِمْ لَهُ أَجْرًا (5)
Ekyo kiragiro kya Katonda kye yassa gye muli, oyo yenna atya Katonda amusangulako e bibibye ate naamwongeza e mpeera
أَسْكِنُوهُنَّ مِنْ حَيْثُ سَكَنتُم مِّن وُجْدِكُمْ وَلَا تُضَارُّوهُنَّ لِتُضَيِّقُوا عَلَيْهِنَّ ۚ وَإِن كُنَّ أُولَاتِ حَمْلٍ فَأَنفِقُوا عَلَيْهِنَّ حَتَّىٰ يَضَعْنَ حَمْلَهُنَّ ۚ فَإِنْ أَرْضَعْنَ لَكُمْ فَآتُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ ۖ وَأْتَمِرُوا بَيْنَكُم بِمَعْرُوفٍ ۖ وَإِن تَعَاسَرْتُمْ فَسَتُرْضِعُ لَهُ أُخْرَىٰ (6)
(Abakyala abaweereddwa ttalaka) mu basuzenga mu mayumba mwe musula okusinziira ku busobozi bwa mmwe, temubatulugunyanga, nga ekigendererwa kubanyigiriza (balemererwe), naye bwe babanga bali mbuto mubalabirirenga okutuusa lwe bazaala. Ate (bwe babanga bazadde) nebabayonseza abaana, mubasasulenga. Era mukkiriziganye mu ngeri e nnungi, naye bwe mubanga mulemaganye olwo nno munoonye omulala anaayonsa
لِيُنفِقْ ذُو سَعَةٍ مِّن سَعَتِهِ ۖ وَمَن قُدِرَ عَلَيْهِ رِزْقُهُ فَلْيُنفِقْ مِمَّا آتَاهُ اللَّهُ ۚ لَا يُكَلِّفُ اللَّهُ نَفْسًا إِلَّا مَا آتَاهَا ۚ سَيَجْعَلُ اللَّهُ بَعْدَ عُسْرٍ يُسْرًا (7)
Omusajja alina okulabirira omukyala okusinziira ku busobozibwe, nooyo Katonda gwe yawa ebyenfuna ebinafu naye alabirira omukyala okusinziira nga Katonda bwe yamuwa, Katonda tawaliriza muntu yenna okusukka kwe byo bye yamuwa. Katonda ajja kuteekawo obwangu oluvanyuma lwo buzito
وَكَأَيِّن مِّن قَرْيَةٍ عَتَتْ عَنْ أَمْرِ رَبِّهَا وَرُسُلِهِ فَحَاسَبْنَاهَا حِسَابًا شَدِيدًا وَعَذَّبْنَاهَا عَذَابًا نُّكْرًا (8)
Ebitundu bimeka nga abantu baayo bajeemera Katonda omulezi waabwe n'ababaka beyabatumiranga, ne tubibala olubala oluyitirivu era ne tubibonereza olubonereza olukambwe
فَذَاقَتْ وَبَالَ أَمْرِهَا وَكَانَ عَاقِبَةُ أَمْرِهَا خُسْرًا (9)
(Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa
أَعَدَّ اللَّهُ لَهُمْ عَذَابًا شَدِيدًا ۖ فَاتَّقُوا اللَّهَ يَا أُولِي الْأَلْبَابِ الَّذِينَ آمَنُوا ۚ قَدْ أَنزَلَ اللَّهُ إِلَيْكُمْ ذِكْرًا (10)
Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, kale nno mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agategeera, abange mmwe abakkiriza. Anti Katonda yassa gye muli obubaka obujjukiza (Kur'ani)
رَّسُولًا يَتْلُو عَلَيْكُمْ آيَاتِ اللَّهِ مُبَيِّنَاتٍ لِّيُخْرِجَ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ مِنَ الظُّلُمَاتِ إِلَى النُّورِ ۚ وَمَن يُؤْمِن بِاللَّهِ وَيَعْمَلْ صَالِحًا يُدْخِلْهُ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ خَالِدِينَ فِيهَا أَبَدًا ۖ قَدْ أَحْسَنَ اللَّهُ لَهُ رِزْقًا (11)
Omubaka nga abasomera ebigambo bya Katonda ebinnyonnyola, nga ekigendererwa kwe kugya mu bizikiza abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi n'abazza mu kitangaala. Oyo yenna akkiriza Katonda n'akola e mirimu e mirungi, Katonda agenda kumuyingiza mu jjana, nga e migga gikulukutira muzo, baakubeera muzo olubeerera. (Omuntu ow'engeri eyo) Katonda yamutebenkereza enfuna (mu bulamu obwo luvannyuma)
اللَّهُ الَّذِي خَلَقَ سَبْعَ سَمَاوَاتٍ وَمِنَ الْأَرْضِ مِثْلَهُنَّ يَتَنَزَّلُ الْأَمْرُ بَيْنَهُنَّ لِتَعْلَمُوا أَنَّ اللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ وَأَنَّ اللَّهَ قَدْ أَحَاطَ بِكُلِّ شَيْءٍ عِلْمًا (12)
Katonda yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naazitonda omuwendo gwe gumu, obubaka bwa Katonda bukka wakati we ggulu n'ensi mulyoke mumanye nti, mazima Katonda musobozi ku buli kintu, era mazima Katonda mumanyi wa buli kintu
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas