×

Surah At-Tahreem in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Tahrim

Translation of the Meanings of Surah Tahrim in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Tahrim translated into Ganda, Surah At-Tahreem in Ganda. We provide accurate translation of Surah Tahrim in Ganda - لوغندا, Verses 12 - Surah Number 66 - Page 560.

بسم الله الرحمن الرحيم

يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ لِمَ تُحَرِّمُ مَا أَحَلَّ اللَّهُ لَكَ ۖ تَبْتَغِي مَرْضَاتَ أَزْوَاجِكَ ۚ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (1)
Owange ggwe Nabbi lwaki oziza ebyo Katonda bye yakukkiriza, nga onoonya okusiimisa bakyalabo. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira
قَدْ فَرَضَ اللَّهُ لَكُمْ تَحِلَّةَ أَيْمَانِكُمْ ۚ وَاللَّهُ مَوْلَاكُمْ ۖ وَهُوَ الْعَلِيمُ الْحَكِيمُ (2)
Katonda yabateerawo engeri gye muva mu birayiro byemuba mukoze, anti bulijjo aba nammwe, ate nga yye muyitirivu wa kumanya, buli kyakola akikola lwa nsonga
وَإِذْ أَسَرَّ النَّبِيُّ إِلَىٰ بَعْضِ أَزْوَاجِهِ حَدِيثًا فَلَمَّا نَبَّأَتْ بِهِ وَأَظْهَرَهُ اللَّهُ عَلَيْهِ عَرَّفَ بَعْضَهُ وَأَعْرَضَ عَن بَعْضٍ ۖ فَلَمَّا نَبَّأَهَا بِهِ قَالَتْ مَنْ أَنبَأَكَ هَٰذَا ۖ قَالَ نَبَّأَنِيَ الْعَلِيمُ الْخَبِيرُ (3)
Era jjukira Nabbi bwe yabuulira omu ku bakyalabe (Hafuswa) ekyama, omukyala oyo bwe yamala okwogera ekyama ekyo, ate Katonda n'akitegeeza Nabbi. Nabbi n'amubuulirako ebimu ebirala n'abireka. Nabbi olwa kibuulira omukyala oyo (omukyala n'amubuuza) nti ani yakikugambye (Nabbi n'amuddamu nti) eyakintegeezezza ye muyitirivu w'okumanya omukenkufu (Katonda)
إِن تَتُوبَا إِلَى اللَّهِ فَقَدْ صَغَتْ قُلُوبُكُمَا ۖ وَإِن تَظَاهَرَا عَلَيْهِ فَإِنَّ اللَّهَ هُوَ مَوْلَاهُ وَجِبْرِيلُ وَصَالِحُ الْمُؤْمِنِينَ ۖ وَالْمَلَائِكَةُ بَعْدَ ذَٰلِكَ ظَهِيرٌ (4)
Singa munaaba mwenenyezza mwembiriri (Hafuswa ne Aisha) ewa Katonda (kye kirungi gye muli), anti emitima gya mmwe gyawaganyadde. Naye bwe munamwekalakaasizaako, (mumanye nti) mazima Katonda ali ku luddalwe, ne Jiburilu, n'abakkiriza abalongoofu, ne ba Malayika bonna oluvanyuma lw'ekyo ba kumuyambako
عَسَىٰ رَبُّهُ إِن طَلَّقَكُنَّ أَن يُبْدِلَهُ أَزْوَاجًا خَيْرًا مِّنكُنَّ مُسْلِمَاتٍ مُّؤْمِنَاتٍ قَانِتَاتٍ تَائِبَاتٍ عَابِدَاتٍ سَائِحَاتٍ ثَيِّبَاتٍ وَأَبْكَارًا (5)
Singa anaba abatadde, Katonda omuleziwe, ajja kumuwaanyisizaamu abakyala abalala abasinga ku mmwe, nga basiramu nnyo, bakkirizza, nga bagonvu nnyo, nga beenenya era nga basinza nnyo Katonda, abatambulira mu kumutya, kababe nga baafumbirwako oba nga tebafumbirwangako
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا قُوا أَنفُسَكُمْ وَأَهْلِيكُمْ نَارًا وَقُودُهَا النَّاسُ وَالْحِجَارَةُ عَلَيْهَا مَلَائِكَةٌ غِلَاظٌ شِدَادٌ لَّا يَعْصُونَ اللَّهَ مَا أَمَرَهُمْ وَيَفْعَلُونَ مَا يُؤْمَرُونَ (6)
Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Katonda mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ كَفَرُوا لَا تَعْتَذِرُوا الْيَوْمَ ۖ إِنَّمَا تُجْزَوْنَ مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (7)
(Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baligambibwa nti) Abange mmwe abakafiiri temwetonda olwaleero, mazima mugenda kusasulwa ebyo bye mwakola
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا تُوبُوا إِلَى اللَّهِ تَوْبَةً نَّصُوحًا عَسَىٰ رَبُّكُمْ أَن يُكَفِّرَ عَنكُمْ سَيِّئَاتِكُمْ وَيُدْخِلَكُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ يَوْمَ لَا يُخْزِي اللَّهُ النَّبِيَّ وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ ۖ نُورُهُمْ يَسْعَىٰ بَيْنَ أَيْدِيهِمْ وَبِأَيْمَانِهِمْ يَقُولُونَ رَبَّنَا أَتْمِمْ لَنَا نُورَنَا وَاغْفِرْ لَنَا ۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (8)
Abange mmwe abakkiriza mwenenyeze Katonda olwenenya olwa namaddala. Omulezi wa mmwe Katonda kikakafu ajja ku basangulako ebyonoono bya mmwe era abayingize e jjana ezikulukutirwamu e migga. Olunaku Katonda lwataliweebuula Nabbi na bakkiriza abali naye. E kitangaala kyabwe nga kibeetoolodde mu maaso ne ku ddyo waabwe, nga bagamba nti ayi omulezi waffe tulekerewo e kitangaala kyaffe era otusonyiwe (ebyonoono byaffe) anti mazima ggwe oli musobozi ku buli kintu
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ جَاهِدِ الْكُفَّارَ وَالْمُنَافِقِينَ وَاغْلُظْ عَلَيْهِمْ ۚ وَمَأْوَاهُمْ جَهَنَّمُ ۖ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ (9)
Owange ggwe Nabbi funvubira mu kulwanyisa abakafiiri n'abannanfusi era obazitoowereze. Obuddo bwabwe muliro Jahannama, ate obuddo obwo bubi nnyo
ضَرَبَ اللَّهُ مَثَلًا لِّلَّذِينَ كَفَرُوا امْرَأَتَ نُوحٍ وَامْرَأَتَ لُوطٍ ۖ كَانَتَا تَحْتَ عَبْدَيْنِ مِنْ عِبَادِنَا صَالِحَيْنِ فَخَانَتَاهُمَا فَلَمْ يُغْنِيَا عَنْهُمَا مِنَ اللَّهِ شَيْئًا وَقِيلَ ادْخُلَا النَّارَ مَعَ الدَّاخِلِينَ (10)
Katonda yakubira abakafiiri ekifananyi kya muka Nuhu ne muka Luutu. Baali bakyala b'a baddu ababiri mu baddu baffe abalongoofu, naye nno ne babakumpanya (n'obutakkiriza Katonda). Nabbi Nuhu ne Luutu tebaalina kye baagasa bakyala baabwe ewa Katonda. Ne bagambwa (Abakyala bombi) nti muyingire omuliro awamu naabo abaguyingira
وَضَرَبَ اللَّهُ مَثَلًا لِّلَّذِينَ آمَنُوا امْرَأَتَ فِرْعَوْنَ إِذْ قَالَتْ رَبِّ ابْنِ لِي عِندَكَ بَيْتًا فِي الْجَنَّةِ وَنَجِّنِي مِن فِرْعَوْنَ وَعَمَلِهِ وَنَجِّنِي مِنَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (11)
Era Katonda yakubira abakkiriza e kifaananyi kya muka Firawo mu kiseera weyasabira (Katonda) nti: Ayi omulezi wange nzimbirayo e nyumba gyoli mu jjana era omponye Firawo n'ebikolwabye, omponye n'abantu abeeyisa obubi
وَمَرْيَمَ ابْنَتَ عِمْرَانَ الَّتِي أَحْصَنَتْ فَرْجَهَا فَنَفَخْنَا فِيهِ مِن رُّوحِنَا وَصَدَّقَتْ بِكَلِمَاتِ رَبِّهَا وَكُتُبِهِ وَكَانَتْ مِنَ الْقَانِتِينَ (12)
Era Katonda yakuba e kifananyi kya Mariyamu muwala wa Imran oyo eyeekuuma kale netufuuwa mu ye omwoyo ogwava gye tuli era Mariam nakkiriza ebigambo bya Katondawe n'ebitabobye, n'abeera nga ali mu basinza Katonda abagonvu
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas