×

Surah Al-Muzzammil in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Muzammil

Translation of the Meanings of Surah Muzammil in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Muzammil translated into Ganda, Surah Al-Muzzammil in Ganda. We provide accurate translation of Surah Muzammil in Ganda - لوغندا, Verses 20 - Surah Number 73 - Page 574.

بسم الله الرحمن الرحيم

يَا أَيُّهَا الْمُزَّمِّلُ (1)
Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka)
قُمِ اللَّيْلَ إِلَّا قَلِيلًا (2)
Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono
نِّصْفَهُ أَوِ انقُصْ مِنْهُ قَلِيلًا (3)
Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono
أَوْ زِدْ عَلَيْهِ وَرَتِّلِ الْقُرْآنَ تَرْتِيلًا (4)
Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese
إِنَّا سَنُلْقِي عَلَيْكَ قَوْلًا ثَقِيلًا (5)
Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito
إِنَّ نَاشِئَةَ اللَّيْلِ هِيَ أَشَدُّ وَطْئًا وَأَقْوَمُ قِيلًا (6)
Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu
إِنَّ لَكَ فِي النَّهَارِ سَبْحًا طَوِيلًا (7)
Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala)
وَاذْكُرِ اسْمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلْ إِلَيْهِ تَبْتِيلًا (8)
Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe
رَّبُّ الْمَشْرِقِ وَالْمَغْرِبِ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَاتَّخِذْهُ وَكِيلًا (9)
Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako
وَاصْبِرْ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَاهْجُرْهُمْ هَجْرًا جَمِيلًا (10)
Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi
وَذَرْنِي وَالْمُكَذِّبِينَ أُولِي النَّعْمَةِ وَمَهِّلْهُمْ قَلِيلًا (11)
Naye ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era balindirize akaseera katono
إِنَّ لَدَيْنَا أَنكَالًا وَجَحِيمًا (12)
Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim
وَطَعَامًا ذَا غُصَّةٍ وَعَذَابًا أَلِيمًا (13)
N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma
يَوْمَ تَرْجُفُ الْأَرْضُ وَالْجِبَالُ وَكَانَتِ الْجِبَالُ كَثِيبًا مَّهِيلًا (14)
Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka
إِنَّا أَرْسَلْنَا إِلَيْكُمْ رَسُولًا شَاهِدًا عَلَيْكُمْ كَمَا أَرْسَلْنَا إِلَىٰ فِرْعَوْنَ رَسُولًا (15)
(Okuwona ebyo mukozese omukisa gwokuba nti) mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Firawo omubaka
فَعَصَىٰ فِرْعَوْنُ الرَّسُولَ فَأَخَذْنَاهُ أَخْذًا وَبِيلًا (16)
Wabula Firawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi
فَكَيْفَ تَتَّقُونَ إِن كَفَرْتُمْ يَوْمًا يَجْعَلُ الْوِلْدَانَ شِيبًا (17)
Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde
السَّمَاءُ مُنفَطِرٌ بِهِ ۚ كَانَ وَعْدُهُ مَفْعُولًا (18)
Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira
إِنَّ هَٰذِهِ تَذْكِرَةٌ ۖ فَمَن شَاءَ اتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِ سَبِيلًا (19)
(Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala muteekwa mutwale Kur'ani nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda we
۞ إِنَّ رَبَّكَ يَعْلَمُ أَنَّكَ تَقُومُ أَدْنَىٰ مِن ثُلُثَيِ اللَّيْلِ وَنِصْفَهُ وَثُلُثَهُ وَطَائِفَةٌ مِّنَ الَّذِينَ مَعَكَ ۚ وَاللَّهُ يُقَدِّرُ اللَّيْلَ وَالنَّهَارَ ۚ عَلِمَ أَن لَّن تُحْصُوهُ فَتَابَ عَلَيْكُمْ ۖ فَاقْرَءُوا مَا تَيَسَّرَ مِنَ الْقُرْآنِ ۚ عَلِمَ أَن سَيَكُونُ مِنكُم مَّرْضَىٰ ۙ وَآخَرُونَ يَضْرِبُونَ فِي الْأَرْضِ يَبْتَغُونَ مِن فَضْلِ اللَّهِ ۙ وَآخَرُونَ يُقَاتِلُونَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ ۖ فَاقْرَءُوا مَا تَيَسَّرَ مِنْهُ ۚ وَأَقِيمُوا الصَّلَاةَ وَآتُوا الزَّكَاةَ وَأَقْرِضُوا اللَّهَ قَرْضًا حَسَنًا ۚ وَمَا تُقَدِّمُوا لِأَنفُسِكُم مِّنْ خَيْرٍ تَجِدُوهُ عِندَ اللَّهِ هُوَ خَيْرًا وَأَعْظَمَ أَجْرًا ۚ وَاسْتَغْفِرُوا اللَّهَ ۖ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (20)
Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas