يَا أَيُّهَا الْمُزَّمِّلُ (1) Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka) |
قُمِ اللَّيْلَ إِلَّا قَلِيلًا (2) Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono |
نِّصْفَهُ أَوِ انقُصْ مِنْهُ قَلِيلًا (3) Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono |
أَوْ زِدْ عَلَيْهِ وَرَتِّلِ الْقُرْآنَ تَرْتِيلًا (4) Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese |
إِنَّا سَنُلْقِي عَلَيْكَ قَوْلًا ثَقِيلًا (5) Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito |
إِنَّ نَاشِئَةَ اللَّيْلِ هِيَ أَشَدُّ وَطْئًا وَأَقْوَمُ قِيلًا (6) Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu |
إِنَّ لَكَ فِي النَّهَارِ سَبْحًا طَوِيلًا (7) Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala) |
وَاذْكُرِ اسْمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلْ إِلَيْهِ تَبْتِيلًا (8) Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe |
رَّبُّ الْمَشْرِقِ وَالْمَغْرِبِ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَاتَّخِذْهُ وَكِيلًا (9) Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako |
وَاصْبِرْ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَاهْجُرْهُمْ هَجْرًا جَمِيلًا (10) Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi |
وَذَرْنِي وَالْمُكَذِّبِينَ أُولِي النَّعْمَةِ وَمَهِّلْهُمْ قَلِيلًا (11) Naye ndekera abalimbisa, abagagga fugge, era balindirize akaseera katono |
إِنَّ لَدَيْنَا أَنكَالًا وَجَحِيمًا (12) Mazima tulina empingu n'omuliro Jahiim |
وَطَعَامًا ذَا غُصَّةٍ وَعَذَابًا أَلِيمًا (13) N'ebyokulya ebitamirika n'ebibonerezo ebiruma |
يَوْمَ تَرْجُفُ الْأَرْضُ وَالْجِبَالُ وَكَانَتِ الْجِبَالُ كَثِيبًا مَّهِيلًا (14) Ebiribaawo ku lunaku e nsi n'ensozi lw'ebirikankana e nsozi ne zifuuka entuumo z'omusenyu ogufuumuka |
إِنَّا أَرْسَلْنَا إِلَيْكُمْ رَسُولًا شَاهِدًا عَلَيْكُمْ كَمَا أَرْسَلْنَا إِلَىٰ فِرْعَوْنَ رَسُولًا (15) (Okuwona ebyo mukozese omukisa gwokuba nti) mazima ffe twabatumira omubaka nga yajja okubawaako obujulizi okufaananako nga bwe twatumira Firawo omubaka |
فَعَصَىٰ فِرْعَوْنُ الرَّسُولَ فَأَخَذْنَاهُ أَخْذًا وَبِيلًا (16) Wabula Firawo yajeemera omubaka, kyetwava tumukwata olukwata olwamanyi |
فَكَيْفَ تَتَّقُونَ إِن كَفَرْتُمْ يَوْمًا يَجْعَلُ الْوِلْدَانَ شِيبًا (17) Kakati bwe mujeema muliwona mutya olunaku olulifuula abaana abato abakadde |
السَّمَاءُ مُنفَطِرٌ بِهِ ۚ كَانَ وَعْدُهُ مَفْعُولًا (18) Ate nga eggulu ligenda kuyulikamu olwebiribaawo ku lunaku olwo, nga ate Katonda kyalagaanyisa kiteekwa okutuukirira |
إِنَّ هَٰذِهِ تَذْكِرَةٌ ۖ فَمَن شَاءَ اتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِ سَبِيلًا (19) (Bwekiba nga bwekityo bwekiri), mazima ddala muteekwa mutwale Kur'ani nga kyakwebuulirira. N'olwekyo ayagala okuwona ateekeddwa okukwata ekkubo erimuzza eri Katonda we |
۞ إِنَّ رَبَّكَ يَعْلَمُ أَنَّكَ تَقُومُ أَدْنَىٰ مِن ثُلُثَيِ اللَّيْلِ وَنِصْفَهُ وَثُلُثَهُ وَطَائِفَةٌ مِّنَ الَّذِينَ مَعَكَ ۚ وَاللَّهُ يُقَدِّرُ اللَّيْلَ وَالنَّهَارَ ۚ عَلِمَ أَن لَّن تُحْصُوهُ فَتَابَ عَلَيْكُمْ ۖ فَاقْرَءُوا مَا تَيَسَّرَ مِنَ الْقُرْآنِ ۚ عَلِمَ أَن سَيَكُونُ مِنكُم مَّرْضَىٰ ۙ وَآخَرُونَ يَضْرِبُونَ فِي الْأَرْضِ يَبْتَغُونَ مِن فَضْلِ اللَّهِ ۙ وَآخَرُونَ يُقَاتِلُونَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ ۖ فَاقْرَءُوا مَا تَيَسَّرَ مِنْهُ ۚ وَأَقِيمُوا الصَّلَاةَ وَآتُوا الزَّكَاةَ وَأَقْرِضُوا اللَّهَ قَرْضًا حَسَنًا ۚ وَمَا تُقَدِّمُوا لِأَنفُسِكُم مِّنْ خَيْرٍ تَجِدُوهُ عِندَ اللَّهِ هُوَ خَيْرًا وَأَعْظَمَ أَجْرًا ۚ وَاسْتَغْفِرُوا اللَّهَ ۖ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (20) Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa |