عَمَّ يَتَسَاءَلُونَ (1) Beebuuzaganya ku ki |
عَنِ النَّبَإِ الْعَظِيمِ (2) Ku kigambo e kinene |
الَّذِي هُمْ فِيهِ مُخْتَلِفُونَ (3) Ekigambo kye baawukaniramu ddala |
كَلَّا سَيَعْلَمُونَ (4) Ekyo ssi bwekiri, bajja kumanya |
ثُمَّ كَلَّا سَيَعْلَمُونَ (5) Oluvanyuma nedda bajja kumanyira ddala |
أَلَمْ نَجْعَلِ الْأَرْضَ مِهَادًا (6) Abaffe tetwabafuula e nsi e kyaliiro |
وَالْجِبَالَ أَوْتَادًا (7) N’ensozi ne tuzifuula enkondo (eziginyweza obutayuuga) |
وَخَلَقْنَاكُمْ أَزْوَاجًا (8) Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja) |
وَجَعَلْنَا نَوْمَكُمْ سُبَاتًا (9) Ne tufuula okwebaka kwa mmwe nga kiwummulo |
وَجَعَلْنَا اللَّيْلَ لِبَاسًا (10) Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo) |
وَجَعَلْنَا النَّهَارَ مَعَاشًا (11) Ne tufuula emisana omunoonyezebwa eky’okubabeezaawo |
وَبَنَيْنَا فَوْقَكُمْ سَبْعًا شِدَادًا (12) Ne tuzimba waggulu wa mmwe emyaliiro emigumu musanvu |
وَجَعَلْنَا سِرَاجًا وَهَّاجًا (13) Ne tuteekawo ettaala (enjuba) eyaka |
وَأَنزَلْنَا مِنَ الْمُعْصِرَاتِ مَاءً ثَجَّاجًا (14) Ne tussa okuva mu bire by’enkuba amazzi agafukumuka |
لِّنُخْرِجَ بِهِ حَبًّا وَنَبَاتًا (15) Tulyoke tumeze nago empeke n’ebimera (ebirala) |
وَجَنَّاتٍ أَلْفَافًا (16) N’amalimiro amasaakaativu |
إِنَّ يَوْمَ الْفَصْلِ كَانَ مِيقَاتًا (17) Mazima olunaku lw’okulamula lwaweebwa e kiseera e kigere |
يَوْمَ يُنفَخُ فِي الصُّورِ فَتَأْتُونَ أَفْوَاجًا (18) Olwo Lwe lunaku e ngombe lw'erifuuyibwa ne mujja nga muli bibinja |
وَفُتِحَتِ السَّمَاءُ فَكَانَتْ أَبْوَابًا (19) N’eggulu ne liggulwawo ne libeerako e miryango |
وَسُيِّرَتِ الْجِبَالُ فَكَانَتْ سَرَابًا (20) N’ensozi nezikungunsibwa ne ziba nga ezitabangawo |
إِنَّ جَهَنَّمَ كَانَتْ مِرْصَادًا (21) Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze |
لِّلطَّاغِينَ مَآبًا (22) Nga bwe buddo bw’abo abamawaggali eri Katonda |
لَّابِثِينَ فِيهَا أَحْقَابًا (23) Baakugubeeramu byeya na byeya |
لَّا يَذُوقُونَ فِيهَا بَرْدًا وَلَا شَرَابًا (24) Nga bali mu gwo tebagenda kufuna buweerero wadde ak'okunywa akaweweeza |
إِلَّا حَمِيمًا وَغَسَّاقًا (25) Okugyako olweje n’amasira Ag'olusaayisaayi |
جَزَاءً وِفَاقًا (26) Nga y’empeera ebasaanira |
إِنَّهُمْ كَانُوا لَا يَرْجُونَ حِسَابًا (27) Kubanga baali tebasuubira nti walibayo okubalibwa |
وَكَذَّبُوا بِآيَاتِنَا كِذَّابًا (28) Ne balimbisa nnyo ebigambo byaffe |
وَكُلَّ شَيْءٍ أَحْصَيْنَاهُ كِتَابًا (29) So ng’ate buli kintu twakikuuma mu bujjuvu, mu buwandiike |
فَذُوقُوا فَلَن نَّزِيدَكُمْ إِلَّا عَذَابًا (30) Kale mukombe ku kibabu ky'ebikolwa byammwe kubanga tetujja kubongera okugyako ebibonerezo |
إِنَّ لِلْمُتَّقِينَ مَفَازًا (31) Mazima abatya Katonda bajja kufuna okwesiima (okulimu buli kyonna kye baagala) |
حَدَائِقَ وَأَعْنَابًا (32) Amalimiro n’emizabbibu |
وَكَوَاعِبَ أَتْرَابًا (33) N’abawala ab’amabeere amatutu |
وَكَأْسًا دِهَاقًا (34) N’amagiraasi agajjudde eby’okunywa |
لَّا يَسْمَعُونَ فِيهَا لَغْوًا وَلَا كِذَّابًا (35) Nga bali mu yo (e jjana) tebagenda kuwulira bigambo bya butaliimu wadde eby’obulimba |
جَزَاءً مِّن رَّبِّكَ عَطَاءً حِسَابًا (36) Nga y’empeera okuva eri omulezi wo, nga kuweebwa okumatiza |
رَّبِّ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ وَمَا بَيْنَهُمَا الرَّحْمَٰنِ ۖ لَا يَمْلِكُونَ مِنْهُ خِطَابًا (37) Oyo nanyini Ggulu omusanvu n’ensi n’ebiri wakati wa byombi, oweekisa ekingi, tebalyetantala kwogeraganya naye |
يَوْمَ يَقُومُ الرُّوحُ وَالْمَلَائِكَةُ صَفًّا ۖ لَّا يَتَكَلَّمُونَ إِلَّا مَنْ أَذِنَ لَهُ الرَّحْمَٰنُ وَقَالَ صَوَابًا (38) Jiburilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nnyiriri nga bonna tewali ayogera okugyako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu |
ذَٰلِكَ الْيَوْمُ الْحَقُّ ۖ فَمَن شَاءَ اتَّخَذَ إِلَىٰ رَبِّهِ مَآبًا (39) Olwo lwe lunaku olw’amazima. Omuntu ayagala emirembe alwetegekere afune obuddo eri Katonda we |
إِنَّا أَنذَرْنَاكُمْ عَذَابًا قَرِيبًا يَوْمَ يَنظُرُ الْمَرْءُ مَا قَدَّمَتْ يَدَاهُ وَيَقُولُ الْكَافِرُ يَا لَيْتَنِي كُنتُ تُرَابًا (40) Mazima tubatiisizza ebibonerezo ebiri okumpi ennyo. Olunaku omuntu lw’aliraba ebyo emikono gye bye gyakola. Ku lunaku olwo omukaafiiri aligamba: ye nga zinsanze, singa nfuuse ettaka |