| وَالْمُرْسَلَاتِ عُرْفًا (1) Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana
 | 
| فَالْعَاصِفَاتِ عَصْفًا (2) Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi
 | 
| وَالنَّاشِرَاتِ نَشْرًا (3) Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba)
 | 
| فَالْفَارِقَاتِ فَرْقًا (4) Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba
 | 
| فَالْمُلْقِيَاتِ ذِكْرًا (5) Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza
 | 
| عُذْرًا أَوْ نُذْرًا (6) Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa
 | 
| إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَاقِعٌ (7) Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo
 | 
| فَإِذَا النُّجُومُ طُمِسَتْ (8) Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo)
 | 
| وَإِذَا السَّمَاءُ فُرِجَتْ (9) Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango)
 | 
| وَإِذَا الْجِبَالُ نُسِفَتْ (10) Era ensozi bwezirimerengulwa
 | 
| وَإِذَا الرُّسُلُ أُقِّتَتْ (11) Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu
 | 
| لِأَيِّ يَوْمٍ أُجِّلَتْ (12) (Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi
 | 
| لِيَوْمِ الْفَصْلِ (13) Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde
 | 
| وَمَا أَدْرَاكَ مَا يَوْمُ الْفَصْلِ (14) Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (15) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa
 | 
| أَلَمْ نُهْلِكِ الْأَوَّلِينَ (16) Abaffe tetwazikiriza ababasokawo
 | 
| ثُمَّ نُتْبِعُهُمُ الْآخِرِينَ (17) Netubagoberezaako abalala
 | 
| كَذَٰلِكَ نَفْعَلُ بِالْمُجْرِمِينَ (18) Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (19) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| أَلَمْ نَخْلُقكُّم مِّن مَّاءٍ مَّهِينٍ (20) Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa
 | 
| فَجَعَلْنَاهُ فِي قَرَارٍ مَّكِينٍ (21) Netugateeka mukifo ekigakuuma
 | 
| إِلَىٰ قَدَرٍ مَّعْلُومٍ (22) Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa
 | 
| فَقَدَرْنَا فَنِعْمَ الْقَادِرُونَ (23) Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (24) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| أَلَمْ نَجْعَلِ الْأَرْضَ كِفَاتًا (25) Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya
 | 
| أَحْيَاءً وَأَمْوَاتًا (26) Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo)
 | 
| وَجَعَلْنَا فِيهَا رَوَاسِيَ شَامِخَاتٍ وَأَسْقَيْنَاكُم مَّاءً فُرَاتًا (27) Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (28) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| انطَلِقُوا إِلَىٰ مَا كُنتُم بِهِ تُكَذِّبُونَ (29) Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa
 | 
| انطَلِقُوا إِلَىٰ ظِلٍّ ذِي ثَلَاثِ شُعَبٍ (30) Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu
 | 
| لَّا ظَلِيلٍ وَلَا يُغْنِي مِنَ اللَّهَبِ (31) Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro
 | 
| إِنَّهَا تَرْمِي بِشَرَرٍ كَالْقَصْرِ (32) Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu
 | 
| كَأَنَّهُ جِمَالَتٌ صُفْرٌ (33) Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (34) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| هَٰذَا يَوْمُ لَا يَنطِقُونَ (35) Olwo lunaku lwebatagenda kwogera
 | 
| وَلَا يُؤْذَنُ لَهُمْ فَيَعْتَذِرُونَ (36) Wadde okukkirizibwa okwetonda
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (37) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| هَٰذَا يَوْمُ الْفَصْلِ ۖ جَمَعْنَاكُمْ وَالْأَوَّلِينَ (38) Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera
 | 
| فَإِن كَانَ لَكُمْ كَيْدٌ فَكِيدُونِ (39) Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (40) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي ظِلَالٍ وَعُيُونٍ (41) Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta
 | 
| وَفَوَاكِهَ مِمَّا يَشْتَهُونَ (42) N'ebibala byebaliba bagala
 | 
| كُلُوا وَاشْرَبُوا هَنِيئًا بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (43) Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala
 | 
| إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُحْسِنِينَ (44) Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (45) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| كُلُوا وَتَمَتَّعُوا قَلِيلًا إِنَّكُم مُّجْرِمُونَ (46) (Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero)
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (47) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ارْكَعُوا لَا يَرْكَعُونَ (48) Bwebalagirwa okusaala tebasaala
 | 
| وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (49) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa
 | 
| فَبِأَيِّ حَدِيثٍ بَعْدَهُ يُؤْمِنُونَ (50) Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza
 |