| وَالسَّمَاءِ ذَاتِ الْبُرُوجِ (1) Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi)
 | 
| وَالْيَوْمِ الْمَوْعُودِ (2) Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)
 | 
| وَشَاهِدٍ وَمَشْهُودٍ (3) Era ndayira oyo aliwa obujulizi n’oyo gwe balibuwaako (ku lunaku lw’enkomerero)
 | 
| قُتِلَ أَصْحَابُ الْأُخْدُودِ (4) Katonda yagoba mu kusaasirakwe abo abaasima agannya
 | 
| النَّارِ ذَاتِ الْوَقُودِ (5) Gebaakumamu omuliro ogubumbujja
 | 
| إِذْ هُمْ عَلَيْهَا قُعُودٌ (6) Bwe baatuula awo ku mabbali waagwo
 | 
| وَهُمْ عَلَىٰ مَا يَفْعَلُونَ بِالْمُؤْمِنِينَ شُهُودٌ (7) Nga bo (bennyini) balaba buli kyonna kyebakola ku bakkiriza
 | 
| وَمَا نَقَمُوا مِنْهُمْ إِلَّا أَن يُؤْمِنُوا بِاللَّهِ الْعَزِيزِ الْحَمِيدِ (8) Tebaalina kye baali babavunaana okugyako okukkiriza Katonda oweekitiibwa atenderezebwa
 | 
| الَّذِي لَهُ مُلْكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ وَاللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ شَهِيدٌ (9) Oyo, obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi bwonna bubwe. Era Katonda alaba buli kintu
 | 
| إِنَّ الَّذِينَ فَتَنُوا الْمُؤْمِنِينَ وَالْمُؤْمِنَاتِ ثُمَّ لَمْ يَتُوبُوا فَلَهُمْ عَذَابُ جَهَنَّمَ وَلَهُمْ عَذَابُ الْحَرِيقِ (10) Mazima abo abaawalagganya abakkiriza abasajja n’abakkiriza abakazi ate ne bateenenya, bakutuukibwako e bibonerezo by’omuliro Jahannama era balina e bibonerezo by’omuliro ogwokya ennyo
 | 
| إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُمْ جَنَّاتٌ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْكَبِيرُ (11) Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi bajja kufuna e jjana nga mukulukutira muyo emigga. Okwo nno kwe kwesiima okwannamaddala
 | 
| إِنَّ بَطْشَ رَبِّكَ لَشَدِيدٌ (12) Mazima okukwata kwa Mukamaawo kwamaanyi nnyo
 | 
| إِنَّهُ هُوَ يُبْدِئُ وَيُعِيدُ (13) Kubanga yye ye mutandisi wa buli kintu era yewookubizzaawo
 | 
| وَهُوَ الْغَفُورُ الْوَدُودُ (14) Era musonyiyi nnyo, era abaagala nnyo
 | 
| ذُو الْعَرْشِ الْمَجِيدُ (15) Yye ye nannyini Arishi, Oweekitiibwa
 | 
| فَعَّالٌ لِّمَا يُرِيدُ (16) Akola buli ky’aba ayagadde
 | 
| هَلْ أَتَاكَ حَدِيثُ الْجُنُودِ (17) Wali owulidde ku byafaayo by’amagye
 | 
| فِرْعَوْنَ وَثَمُودَ (18) Aga Firawo n’abantu ba Thamuud
 | 
| بَلِ الَّذِينَ كَفَرُوا فِي تَكْذِيبٍ (19) Wabula abo abatakkiriza bali mu kulimbisa
 | 
| وَاللَّهُ مِن وَرَائِهِم مُّحِيطٌ (20) So nga Katonda abeetoolodde
 | 
| بَلْ هُوَ قُرْآنٌ مَّجِيدٌ (21) Wabula yo Kur'ani (eyassibwa ku Nabbi Muhammad) ya kitiibwa
 | 
| فِي لَوْحٍ مَّحْفُوظٍ (22) Eri mu ggwandiikiro erikuumwa obutiribiri
 |