إِذَا السَّمَاءُ انشَقَّتْ (1) Eggulu bwe liryeyasaamu |
وَأَذِنَتْ لِرَبِّهَا وَحُقَّتْ (2) Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde |
وَإِذَا الْأَرْضُ مُدَّتْ (3) Ensi bw'eriseeteezebwa |
وَأَلْقَتْ مَا فِيهَا وَتَخَلَّتْ (4) N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere |
وَأَذِنَتْ لِرَبِّهَا وَحُقَّتْ (5) N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde |
يَا أَيُّهَا الْإِنسَانُ إِنَّكَ كَادِحٌ إِلَىٰ رَبِّكَ كَدْحًا فَمُلَاقِيهِ (6) Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana |
فَأَمَّا مَنْ أُوتِيَ كِتَابَهُ بِيَمِينِهِ (7) Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo |
فَسَوْفَ يُحَاسَبُ حِسَابًا يَسِيرًا (8) Agenda kubalwa olubala olwangu |
وَيَنقَلِبُ إِلَىٰ أَهْلِهِ مَسْرُورًا (9) Era adde eri banne nga musanyufu |
وَأَمَّا مَنْ أُوتِيَ كِتَابَهُ وَرَاءَ ظَهْرِهِ (10) Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe |
فَسَوْفَ يَدْعُو ثُبُورًا (11) Agenda kukuba e biwoobe |
وَيَصْلَىٰ سَعِيرًا (12) Yeesogge omuliro Sa-iira |
إِنَّهُ كَانَ فِي أَهْلِهِ مَسْرُورًا (13) Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda) |
إِنَّهُ ظَنَّ أَن لَّن يَحُورَ (14) Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira |
بَلَىٰ إِنَّ رَبَّهُ كَانَ بِهِ بَصِيرًا (15) So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba |
فَلَا أُقْسِمُ بِالشَّفَقِ (16) Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa) |
وَاللَّيْلِ وَمَا وَسَقَ (17) Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya |
وَالْقَمَرِ إِذَا اتَّسَقَ (18) Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde |
لَتَرْكَبُنَّ طَبَقًا عَن طَبَقٍ (19) Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala) |
فَمَا لَهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (20) Naye lwaki tebakkiriza |
وَإِذَا قُرِئَ عَلَيْهِمُ الْقُرْآنُ لَا يَسْجُدُونَ ۩ (21) Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama |
بَلِ الَّذِينَ كَفَرُوا يُكَذِّبُونَ (22) Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani) |
وَاللَّهُ أَعْلَمُ بِمَا يُوعُونَ (23) So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe) |
فَبَشِّرْهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (24) Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma |
إِلَّا الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُمْ أَجْرٌ غَيْرُ مَمْنُونٍ (25) Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo |