| لَا أُقْسِمُ بِهَٰذَا الْبَلَدِ (1) Ndayira ekibuga kino (Makkah)
 | 
| وَأَنتَ حِلٌّ بِهَٰذَا الْبَلَدِ (2) Nga naawe (Muhammad) oli mutuuze mu kibuga kino
 | 
| وَوَالِدٍ وَمَا وَلَدَ (3) Era ndayira omuzadde ne baazaala
 | 
| لَقَدْ خَلَقْنَا الْإِنسَانَ فِي كَبَدٍ (4) Mazima twakola omuntu nga lubeerera abeera mu kutawaana
 | 
| أَيَحْسَبُ أَن لَّن يَقْدِرَ عَلَيْهِ أَحَدٌ (5) Alowooza nti tewali n’omu ayinza ku musobola
 | 
| يَقُولُ أَهْلَكْتُ مَالًا لُّبَدًا (6) Ng’agamba nti nsaasanyiza emmaali nyingi nnyo
 | 
| أَيَحْسَبُ أَن لَّمْ يَرَهُ أَحَدٌ (7) Alowooza nti tewali n’omu amulaba
 | 
| أَلَمْ نَجْعَل لَّهُ عَيْنَيْنِ (8) Tetwamuwa amaaso abiri
 | 
| وَلِسَانًا وَشَفَتَيْنِ (9) N’olulimi n’emimwa ebiri
 | 
| وَهَدَيْنَاهُ النَّجْدَيْنِ (10) Era ne tumulungamya okumanya amakubo abiri (ery'ekirungi n'ery'ekibi)
 | 
| فَلَا اقْتَحَمَ الْعَقَبَةَ (11) Kale singa yabikozesa mu kuvvuunuka obizibu (bw'olunaku lw'enkomerero n'aba nga akozesa bye yafuna naafunamu e nkomerero)
 | 
| وَمَا أَدْرَاكَ مَا الْعَقَبَةُ (12) Abaffe obuzibu obumanyi (n'ekiyinza okubukuyambako)
 | 
| فَكُّ رَقَبَةٍ (13) Kuta muddu
 | 
| أَوْ إِطْعَامٌ فِي يَوْمٍ ذِي مَسْغَبَةٍ (14) Oba okuliisa mu kiseera eky’enjala
 | 
| يَتِيمًا ذَا مَقْرَبَةٍ (15) Mulekwa, owooluganda olw’okumpi
 | 
| أَوْ مِسْكِينًا ذَا مَتْرَبَةٍ (16) Oba omwavu lunkupe
 | 
| ثُمَّ كَانَ مِنَ الَّذِينَ آمَنُوا وَتَوَاصَوْا بِالصَّبْرِ وَتَوَاصَوْا بِالْمَرْحَمَةِ (17) Ate era n’abeera mu abo abakkiriza. Ng’era balaamiragana obugumiikiriza nga bwe balaamiragana okusaasiragana
 | 
| أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْمَيْمَنَةِ (18) Abo nno beebo abokubeera ku mukono ogwa ddyo
 | 
| وَالَّذِينَ كَفَرُوا بِآيَاتِنَا هُمْ أَصْحَابُ الْمَشْأَمَةِ (19) Naye abo abawakanya e bigambo byaffe baakubeera ku mukono ogwa kkono
 | 
| عَلَيْهِمْ نَارٌ مُّؤْصَدَةٌ (20) Bagenda kubeera mu muliro omusaanikire
 |