لَا أُقْسِمُ بِهَٰذَا الْبَلَدِ (1) Ndayira ekibuga kino (Makkah) |
وَأَنتَ حِلٌّ بِهَٰذَا الْبَلَدِ (2) Nga naawe (Muhammad) oli mutuuze mu kibuga kino |
وَوَالِدٍ وَمَا وَلَدَ (3) Era ndayira omuzadde ne baazaala |
لَقَدْ خَلَقْنَا الْإِنسَانَ فِي كَبَدٍ (4) Mazima twakola omuntu nga lubeerera abeera mu kutawaana |
أَيَحْسَبُ أَن لَّن يَقْدِرَ عَلَيْهِ أَحَدٌ (5) Alowooza nti tewali n’omu ayinza ku musobola |
يَقُولُ أَهْلَكْتُ مَالًا لُّبَدًا (6) Ng’agamba nti nsaasanyiza emmaali nyingi nnyo |
أَيَحْسَبُ أَن لَّمْ يَرَهُ أَحَدٌ (7) Alowooza nti tewali n’omu amulaba |
أَلَمْ نَجْعَل لَّهُ عَيْنَيْنِ (8) Tetwamuwa amaaso abiri |
وَلِسَانًا وَشَفَتَيْنِ (9) N’olulimi n’emimwa ebiri |
وَهَدَيْنَاهُ النَّجْدَيْنِ (10) Era ne tumulungamya okumanya amakubo abiri (ery'ekirungi n'ery'ekibi) |
فَلَا اقْتَحَمَ الْعَقَبَةَ (11) Kale singa yabikozesa mu kuvvuunuka obizibu (bw'olunaku lw'enkomerero n'aba nga akozesa bye yafuna naafunamu e nkomerero) |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا الْعَقَبَةُ (12) Abaffe obuzibu obumanyi (n'ekiyinza okubukuyambako) |
فَكُّ رَقَبَةٍ (13) Kuta muddu |
أَوْ إِطْعَامٌ فِي يَوْمٍ ذِي مَسْغَبَةٍ (14) Oba okuliisa mu kiseera eky’enjala |
يَتِيمًا ذَا مَقْرَبَةٍ (15) Mulekwa, owooluganda olw’okumpi |
أَوْ مِسْكِينًا ذَا مَتْرَبَةٍ (16) Oba omwavu lunkupe |
ثُمَّ كَانَ مِنَ الَّذِينَ آمَنُوا وَتَوَاصَوْا بِالصَّبْرِ وَتَوَاصَوْا بِالْمَرْحَمَةِ (17) Ate era n’abeera mu abo abakkiriza. Ng’era balaamiragana obugumiikiriza nga bwe balaamiragana okusaasiragana |
أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْمَيْمَنَةِ (18) Abo nno beebo abokubeera ku mukono ogwa ddyo |
وَالَّذِينَ كَفَرُوا بِآيَاتِنَا هُمْ أَصْحَابُ الْمَشْأَمَةِ (19) Naye abo abawakanya e bigambo byaffe baakubeera ku mukono ogwa kkono |
عَلَيْهِمْ نَارٌ مُّؤْصَدَةٌ (20) Bagenda kubeera mu muliro omusaanikire |