The Quran in Ganda - Surah Duha translated into Ganda, Surah Ad-Dhuha in Ganda. We provide accurate translation of Surah Duha in Ganda - لوغندا, Verses 11 - Surah Number 93 - Page 596.
وَالضُّحَىٰ (1) Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi |
وَاللَّيْلِ إِذَا سَجَىٰ (2) Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte |
مَا وَدَّعَكَ رَبُّكَ وَمَا قَلَىٰ (3) Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga |
وَلَلْآخِرَةُ خَيْرٌ لَّكَ مِنَ الْأُولَىٰ (4) Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa |
وَلَسَوْفَ يُعْطِيكَ رَبُّكَ فَتَرْضَىٰ (5) Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime |
أَلَمْ يَجِدْكَ يَتِيمًا فَآوَىٰ (6) Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira |
وَوَجَدَكَ ضَالًّا فَهَدَىٰ (7) Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya |
وَوَجَدَكَ عَائِلًا فَأَغْنَىٰ (8) Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza |
فَأَمَّا الْيَتِيمَ فَلَا تَقْهَرْ (9) Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga |
وَأَمَّا السَّائِلَ فَلَا تَنْهَرْ (10) N’omuntu asaba tomuboggoleranga |
وَأَمَّا بِنِعْمَةِ رَبِّكَ فَحَدِّثْ (11) Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako |