The Quran in Ganda - Surah Sharh translated into Ganda, Surah Ash-Sharh in Ganda. We provide accurate translation of Surah Sharh in Ganda - لوغندا, Verses 8 - Surah Number 94 - Page 596.
أَلَمْ نَشْرَحْ لَكَ صَدْرَكَ (1) Tetwakwanjululiza ekifubakyo (eri obwa Nabbi n’okumanya ebigambo eby’amagezi) |
وَوَضَعْنَا عَنكَ وِزْرَكَ (2) Ne tukuwewulira obuzito obwakuliko |
الَّذِي أَنقَضَ ظَهْرَكَ (3) Obuzito obwo obwalibadde bukubendula omugongo |
وَرَفَعْنَا لَكَ ذِكْرَكَ (4) Era ne tukuwa okwogerwako |
فَإِنَّ مَعَ الْعُسْرِ يُسْرًا (5) (Kisaana kitegerekeke nti) mazima ddala buli awabeera obuzibu, wabaawo obwangu |
إِنَّ مَعَ الْعُسْرِ يُسْرًا (6) Mazima ddala buli awabeera obuzibu wabaawo obwangu |
فَإِذَا فَرَغْتَ فَانصَبْ (7) Bwoba nga omaze okukola emirimu (egikuyimirizaawo ku nsi) olwo nno yimirira (osinze Katondawo) |
وَإِلَىٰ رَبِّكَ فَارْغَب (8) Era eri Omuleziwo Katonda, gy’oba oteeka e ssuubilyo lyonna |