The Quran in Ganda - Surah Tin translated into Ganda, Surah At-Tin in Ganda. We provide accurate translation of Surah Tin in Ganda - لوغندا, Verses 8 - Surah Number 95 - Page 597.

| بِّسْمِ اللَّهِ الرَّحْمَٰنِ الرَّحِيمِ وَالتِّينِ وَالزَّيْتُونِ (1) Ndayira ekibala ekiyitibwa Tiin n’ekibala ekiyitibwa Zaitun |
| وَطُورِ سِينِينَ (2) Era ndayira olusozi lw’e Sinai |
| وَهَٰذَا الْبَلَدِ الْأَمِينِ (3) Nakino e kibuga (Makkah) eky’emirembe |
| لَقَدْ خَلَقْنَا الْإِنسَانَ فِي أَحْسَنِ تَقْوِيمٍ (4) Mazima twakola omuntu mu kifaananyi e kisinga okuba ekirungi |
| ثُمَّ رَدَدْنَاهُ أَسْفَلَ سَافِلِينَ (5) Ate oluvanyuma tumuzzaayo wansi mu ddaala erisembayo |
| إِلَّا الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ فَلَهُمْ أَجْرٌ غَيْرُ مَمْنُونٍ (6) Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi, bagenda kufuna e mpeera etalina kkomo |
| فَمَا يُكَذِّبُكَ بَعْدُ بِالدِّينِ (7) Bwekiba bw'ekityo (ate gwe omuntu) olimbisa otya olunaku lw'enkomerero |
| أَلَيْسَ اللَّهُ بِأَحْكَمِ الْحَاكِمِينَ (8) Tolaba nti Katonda ye Mulamuzi asinga okuba omwenkanya era owamazima |