The Quran in Ganda - Surah Zalzalah translated into Ganda, Surah Az-Zalzalah in Ganda. We provide accurate translation of Surah Zalzalah in Ganda - لوغندا, Verses 8 - Surah Number 99 - Page 599.

| إِذَا زُلْزِلَتِ الْأَرْضُ زِلْزَالَهَا (1) E nsi bweriba eyuguumizziddwa oluyuguuma lwayo |
| وَأَخْرَجَتِ الْأَرْضُ أَثْقَالَهَا (2) E nsi n'efulumya (nga ewandula) ebyo byonna ebigirimu |
| وَقَالَ الْإِنسَانُ مَا لَهَا (3) Omuntu aligamba nga yeebuuza nti! ebadde ki |
| يَوْمَئِذٍ تُحَدِّثُ أَخْبَارَهَا (4) Ku lunaku olwo egenda kuttottola ebigambo byonna ebikwata ku ebyo ebyakolerwanga ku yo |
| بِأَنَّ رَبَّكَ أَوْحَىٰ لَهَا (5) Nti mazima Katonda y'aliba agiragidde okwogera ebyo |
| يَوْمَئِذٍ يَصْدُرُ النَّاسُ أَشْتَاتًا لِّيُرَوْا أَعْمَالَهُمْ (6) Abantu ku lunaku olwo baliva mu kabbuli zaabwe nga bali mu bibinja babe nga balagibwa e mirimu gyabwe |
| فَمَن يَعْمَلْ مِثْقَالَ ذَرَّةٍ خَيْرًا يَرَهُ (7) Omuntu eyakola omulimu omulungi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba |
| وَمَن يَعْمَلْ مِثْقَالَ ذَرَّةٍ شَرًّا يَرَهُ (8) N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba |