القرآن باللغة لوغندا - سورة الزلزلة مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Zalzalah in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة الزلزلة باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 8 - رقم السورة 99 - الصفحة 599.
إِذَا زُلْزِلَتِ الْأَرْضُ زِلْزَالَهَا (1) E nsi bweriba eyuguumizziddwa oluyuguuma lwayo |
وَأَخْرَجَتِ الْأَرْضُ أَثْقَالَهَا (2) E nsi n'efulumya (nga ewandula) ebyo byonna ebigirimu |
وَقَالَ الْإِنسَانُ مَا لَهَا (3) Omuntu aligamba nga yeebuuza nti! ebadde ki |
يَوْمَئِذٍ تُحَدِّثُ أَخْبَارَهَا (4) Ku lunaku olwo egenda kuttottola ebigambo byonna ebikwata ku ebyo ebyakolerwanga ku yo |
بِأَنَّ رَبَّكَ أَوْحَىٰ لَهَا (5) Nti mazima Katonda y'aliba agiragidde okwogera ebyo |
يَوْمَئِذٍ يَصْدُرُ النَّاسُ أَشْتَاتًا لِّيُرَوْا أَعْمَالَهُمْ (6) Abantu ku lunaku olwo baliva mu kabbuli zaabwe nga bali mu bibinja babe nga balagibwa e mirimu gyabwe |
فَمَن يَعْمَلْ مِثْقَالَ ذَرَّةٍ خَيْرًا يَرَهُ (7) Omuntu eyakola omulimu omulungi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba |
وَمَن يَعْمَلْ مِثْقَالَ ذَرَّةٍ شَرًّا يَرَهُ (8) N'omuntu eyakola omulimu omubi gwonna kagube mutono gutya agenda kugulaba |