×

سورة يونس باللغة لوغندا

ترجمات القرآنباللغة لوغندا ⬅ سورة يونس

ترجمة معاني سورة يونس باللغة لوغندا - Ganda

القرآن باللغة لوغندا - سورة يونس مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Yunus in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة يونس باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 109 - رقم السورة 10 - الصفحة 208.

بسم الله الرحمن الرحيم

الر ۚ تِلْكَ آيَاتُ الْكِتَابِ الْحَكِيمِ (1)
Aliif Laam Raa, e nnyukuta zino twazoogerako ku ntandikwa ya Sura Al Bakara, bino bye bigambo by'ekitabo (Kur’ani) eby'amagezi
أَكَانَ لِلنَّاسِ عَجَبًا أَنْ أَوْحَيْنَا إِلَىٰ رَجُلٍ مِّنْهُمْ أَنْ أَنذِرِ النَّاسَ وَبَشِّرِ الَّذِينَ آمَنُوا أَنَّ لَهُمْ قَدَمَ صِدْقٍ عِندَ رَبِّهِمْ ۗ قَالَ الْكَافِرُونَ إِنَّ هَٰذَا لَسَاحِرٌ مُّبِينٌ (2)
Abaffe kya kwewuunya eri abantu okuba nti twassa obubaka eri omusajja mu bo, (nga tumulagidde) nti tiisa abantu (abatakkiriza) ate owe amawulire ag'essanyu eri abo abakkiriza (obubaka) nti balina e mpeera e nnungi ewa Mukama omulabirizi waabwe (ku lw'emirimu e mirungi gye bakola). Abakaafiiri (Nabbi bwe yamala okubajjira) ne bagamba nti mazima ono mulogo mweyolefu
إِنَّ رَبَّكُمُ اللَّهُ الَّذِي خَلَقَ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٍ ثُمَّ اسْتَوَىٰ عَلَى الْعَرْشِ ۖ يُدَبِّرُ الْأَمْرَ ۖ مَا مِن شَفِيعٍ إِلَّا مِن بَعْدِ إِذْنِهِ ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ فَاعْبُدُوهُ ۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ (3)
Mazima Mukama omulabirizi wa mmwe ye Katonda oyo eyatonda e ggulu (omusanvu) n'ensi mu nnaku mukaaga bwe yamala naatereera ku Arish nga atambuza buli kimu, tewali agenda kwetantala kuwolereza okugyako nga Katonda amaze okukkiriza. Oyo nno mwe, ye Katonda, omulabirizi wa mmwe. Kale nno mumusinze, abaffe temwebuulirira
إِلَيْهِ مَرْجِعُكُمْ جَمِيعًا ۖ وَعْدَ اللَّهِ حَقًّا ۚ إِنَّهُ يَبْدَأُ الْخَلْقَ ثُمَّ يُعِيدُهُ لِيَجْزِيَ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ بِالْقِسْطِ ۚ وَالَّذِينَ كَفَرُوا لَهُمْ شَرَابٌ مِّنْ حَمِيمٍ وَعَذَابٌ أَلِيمٌ بِمَا كَانُوا يَكْفُرُونَ (4)
Gyali y'eri obuddo bwa mmwe mwenna eyo nga ndagaano e nkakafu eyabassibwako Katonda, anti mazima yye, y’atandika e bitonde ate oluvanyuma y'agenda okubizzaawo, abe nga asasula mu bwenkanya abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu ate abo abakaafuwala bagenda kuweebwa e byokunywa nga by'amazzi ag'olweje, era bassibweko e bibonerezo e biruma olw'ebyo bye baawakanyanga
هُوَ الَّذِي جَعَلَ الشَّمْسَ ضِيَاءً وَالْقَمَرَ نُورًا وَقَدَّرَهُ مَنَازِلَ لِتَعْلَمُوا عَدَدَ السِّنِينَ وَالْحِسَابَ ۚ مَا خَلَقَ اللَّهُ ذَٰلِكَ إِلَّا بِالْحَقِّ ۚ يُفَصِّلُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَعْلَمُونَ (5)
(Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera e bifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Katonda teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Katonda annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi
إِنَّ فِي اخْتِلَافِ اللَّيْلِ وَالنَّهَارِ وَمَا خَلَقَ اللَّهُ فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَتَّقُونَ (6)
Mazima okwawukana kw'ekiro n'emisana n'ebyo Katonda bye yatonda mu ggulu omusanvu n'ensi ddala mulimu obubonero eri abantu abatya Katonda (obubayamba okutegeera e kitiibwa n'obuyinza bwa Katonda)
إِنَّ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا وَرَضُوا بِالْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَاطْمَأَنُّوا بِهَا وَالَّذِينَ هُمْ عَنْ آيَاتِنَا غَافِلُونَ (7)
Mazima abo abatasuubira kutusisinkana era ne basiima okwemalira ku bulamu bw'ensi era ne batebenkera nabwo, era abo abatassa mulaka ku bubonero bwaffe
أُولَٰئِكَ مَأْوَاهُمُ النَّارُ بِمَا كَانُوا يَكْسِبُونَ (8)
Abo nno obuddo bwa bwe muliro olw'ebyo bye baakolanga
إِنَّ الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ يَهْدِيهِمْ رَبُّهُم بِإِيمَانِهِمْ ۖ تَجْرِي مِن تَحْتِهِمُ الْأَنْهَارُ فِي جَنَّاتِ النَّعِيمِ (9)
Mazima abo abakkiriza nebakola e mirimu e mirongoofu, Mukama omulabirizi waabwe abalungamya olw'obukkiriza bwa bwe, gikulukutira e migga wansi waabwe mu jjana ez'ebyengera
دَعْوَاهُمْ فِيهَا سُبْحَانَكَ اللَّهُمَّ وَتَحِيَّتُهُمْ فِيهَا سَلَامٌ ۚ وَآخِرُ دَعْوَاهُمْ أَنِ الْحَمْدُ لِلَّهِ رَبِّ الْعَالَمِينَ (10)
Okusaba kwa bwe nga bali mu yo (baliba batendereza nga bagamba nti) wasukkuluma ayi Mukama Katonda nga ne ssalaamu, kye kiriba e kiramuso kya bwe, nga n'enkomelero y'okusaba kwa bwe baligamba nti amatendo gonna ga Katonda omulabirizi w'ebitonde
۞ وَلَوْ يُعَجِّلُ اللَّهُ لِلنَّاسِ الشَّرَّ اسْتِعْجَالَهُم بِالْخَيْرِ لَقُضِيَ إِلَيْهِمْ أَجَلُهُمْ ۖ فَنَذَرُ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا فِي طُغْيَانِهِمْ يَعْمَهُونَ (11)
Singa Katonda yali atuusa ku bantu akabi nga bwabatuusaako amangu obulungi, yaalibatuusizza kw'ekyo kye yabagerera, olwo nno netuleka abatasuubira kutusisinkana mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta
وَإِذَا مَسَّ الْإِنسَانَ الضُّرُّ دَعَانَا لِجَنبِهِ أَوْ قَاعِدًا أَوْ قَائِمًا فَلَمَّا كَشَفْنَا عَنْهُ ضُرَّهُ مَرَّ كَأَن لَّمْ يَدْعُنَا إِلَىٰ ضُرٍّ مَّسَّهُ ۚ كَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِلْمُسْرِفِينَ مَا كَانُوا يَعْمَلُونَ (12)
Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola
وَلَقَدْ أَهْلَكْنَا الْقُرُونَ مِن قَبْلِكُمْ لَمَّا ظَلَمُوا ۙ وَجَاءَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ وَمَا كَانُوا لِيُؤْمِنُوا ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي الْقَوْمَ الْمُجْرِمِينَ (13)
Twazikiriza e mirembe mingi oluberyeberye lwa mmwe bwe gyamala okweyisa obubi (ewa Katonda wa bwe), so nga ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu naye nga tebaali baakukkiriza, bulijjo bwe tutyo bwe tusasula abantu aboonoonyi
ثُمَّ جَعَلْنَاكُمْ خَلَائِفَ فِي الْأَرْضِ مِن بَعْدِهِمْ لِنَنظُرَ كَيْفَ تَعْمَلُونَ (14)
Oluvanyuma twabafuula (mmwe) abaddira bali mu bigere oluvanyuma lwa bwe, olwo nno tulabe mmwe mukola mutya
وَإِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِمْ آيَاتُنَا بَيِّنَاتٍ ۙ قَالَ الَّذِينَ لَا يَرْجُونَ لِقَاءَنَا ائْتِ بِقُرْآنٍ غَيْرِ هَٰذَا أَوْ بَدِّلْهُ ۚ قُلْ مَا يَكُونُ لِي أَنْ أُبَدِّلَهُ مِن تِلْقَاءِ نَفْسِي ۖ إِنْ أَتَّبِعُ إِلَّا مَا يُوحَىٰ إِلَيَّ ۖ إِنِّي أَخَافُ إِنْ عَصَيْتُ رَبِّي عَذَابَ يَوْمٍ عَظِيمٍ (15)
Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa ng’ate ddala binnyonnyofu, abo abatasuubira kutusisinkana bagamba nti leetayo Kur’ani endala etali eno oba eno gikyuseemu, bagambe nti tekiri mu buyinza bwange okugikyusa nga nze nnesalirawo, sirina kyengoberera okugyako ekyo ekimpebwa nga bubaka, mazima nze ntya ebibonerezo by'okulunaku oluzito singa njemera Mukama omulabirizi wange
قُل لَّوْ شَاءَ اللَّهُ مَا تَلَوْتُهُ عَلَيْكُمْ وَلَا أَدْرَاكُم بِهِ ۖ فَقَدْ لَبِثْتُ فِيكُمْ عُمُرًا مِّن قَبْلِهِ ۚ أَفَلَا تَعْقِلُونَ (16)
Bagambe nti singa Katonda yayagala sandigibasomedde (Kur’ani) era (Katonda) teyandigibamanyisizza, anti mazima nnatuula mu mmwe ebbanga ddene nga tennampebwa abaffe temutegeera
فَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ كَذِبًا أَوْ كَذَّبَ بِآيَاتِهِ ۚ إِنَّهُ لَا يُفْلِحُ الْمُجْرِمُونَ (17)
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera ku Katonda ebigambo eby'obulimba oba naalimbisa ebigambo bye mazima ddala aboonoonyi tebagenda kuwona
وَيَعْبُدُونَ مِن دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَضُرُّهُمْ وَلَا يَنفَعُهُمْ وَيَقُولُونَ هَٰؤُلَاءِ شُفَعَاؤُنَا عِندَ اللَّهِ ۚ قُلْ أَتُنَبِّئُونَ اللَّهَ بِمَا لَا يَعْلَمُ فِي السَّمَاوَاتِ وَلَا فِي الْأَرْضِ ۚ سُبْحَانَهُ وَتَعَالَىٰ عَمَّا يُشْرِكُونَ (18)
Nebatuuka okusinza ebirala ebitali Katonda ebyo ebitayinza kubatuusaako kabi era ebitayinza kubagasa nebagamba nti bano, be bawolereza baffe ewa Katonda, gamba (Ggwe Muhammad nti mu kukola ekyo) mutegeeza Katonda ekyo kyatamanyi mu ggulu (omusanvu) wadde mu nsi, Musukkulumu era yeesambye nnyo kw'ebyo bye bumugattako
وَمَا كَانَ النَّاسُ إِلَّا أُمَّةً وَاحِدَةً فَاخْتَلَفُوا ۚ وَلَوْلَا كَلِمَةٌ سَبَقَتْ مِن رَّبِّكَ لَقُضِيَ بَيْنَهُمْ فِيمَا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (19)
Abantu tebabangako okugyako e kibiina kimu (Wddiinin y'obusiraamu) wabula oluvanyuma baayawukana, naye singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabiriziwo (okuba nti buli muntu alina waalifiira) ensonga zaabwe zaalimaliddwa (mangu) mw'ebyo bye baawukanamu
وَيَقُولُونَ لَوْلَا أُنزِلَ عَلَيْهِ آيَةٌ مِّن رَّبِّهِ ۖ فَقُلْ إِنَّمَا الْغَيْبُ لِلَّهِ فَانتَظِرُوا إِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُنتَظِرِينَ (20)
Era bagamba nti singa (Muhammad) assibwako eky'amagero okuva ewa Mukama omulabiriziwe kale ggwe gamba nti mazima ebitalabwako biri mu mikono gya Katonda (bwayagala abiwa abantu bwaba tayagadde naatabawa), kale nno mulindirire, mazima nze ndiwamu na mmwe mu balindirira
وَإِذَا أَذَقْنَا النَّاسَ رَحْمَةً مِّن بَعْدِ ضَرَّاءَ مَسَّتْهُمْ إِذَا لَهُم مَّكْرٌ فِي آيَاتِنَا ۚ قُلِ اللَّهُ أَسْرَعُ مَكْرًا ۚ إِنَّ رُسُلَنَا يَكْتُبُونَ مَا تَمْكُرُونَ (21)
Abantu bwe tubakombya ku kusaasira oluvanyuma lw'obuzibu obuba bubatuuseeko ogenda okulaba nga balina enkwe zebakola ku by'amagero byaffe, gamba ggwe (Muhammad) nti Katonda y'asinga obwangu mu kussa mu nkola kyaba asazeewo, mazima ddala bulijjo ababaka baffe bawandiika enkwe zemusala
هُوَ الَّذِي يُسَيِّرُكُمْ فِي الْبَرِّ وَالْبَحْرِ ۖ حَتَّىٰ إِذَا كُنتُمْ فِي الْفُلْكِ وَجَرَيْنَ بِهِم بِرِيحٍ طَيِّبَةٍ وَفَرِحُوا بِهَا جَاءَتْهَا رِيحٌ عَاصِفٌ وَجَاءَهُمُ الْمَوْجُ مِن كُلِّ مَكَانٍ وَظَنُّوا أَنَّهُمْ أُحِيطَ بِهِمْ ۙ دَعَوُا اللَّهَ مُخْلِصِينَ لَهُ الدِّينَ لَئِنْ أَنجَيْتَنَا مِنْ هَٰذِهِ لَنَكُونَنَّ مِنَ الشَّاكِرِينَ (22)
(Katonda) yye yooyo abatambuza ku lukalu ne ku mazzi okutuusa bwe muba nga muli mu lyato (amaato) negatambula n'abantu abagaliko nga gaseeyeeya mu mpewo e nnungi era negabasanyusa ate nno baba balyawo e mpewo erimu kibuyaga neebajjira n'amayengo negabajjira okuva mu mpuyi zonna, nebatuuka n'okulowooza nti obwabwe bukomye, awo nno basaba Katonda ng'okusaba kwonna bakwolekeza ye yekka era nga bagamba nti n'omala otuwonya e kizibu kino tujja kubeerera ddala mubeebaza
فَلَمَّا أَنجَاهُمْ إِذَا هُمْ يَبْغُونَ فِي الْأَرْضِ بِغَيْرِ الْحَقِّ ۗ يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِنَّمَا بَغْيُكُمْ عَلَىٰ أَنفُسِكُم ۖ مَّتَاعَ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا ۖ ثُمَّ إِلَيْنَا مَرْجِعُكُمْ فَنُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (23)
Naye ate bwamala okubawonya ogenda okubalaba nga bakola obwonoonefu mu nsi awatali nsonga yonna ntuufu. Abange mmwe abantu mazima obwonoonefu bwa mmwe bufiiriza mmwe, (anti bwo) kweyagala kwa bulamu bwa nsi oluvanyuma gyetuli y'eri obuddo bwa mmwe olwo nno tubamanyise byonna bye mwakolanga
إِنَّمَا مَثَلُ الْحَيَاةِ الدُّنْيَا كَمَاءٍ أَنزَلْنَاهُ مِنَ السَّمَاءِ فَاخْتَلَطَ بِهِ نَبَاتُ الْأَرْضِ مِمَّا يَأْكُلُ النَّاسُ وَالْأَنْعَامُ حَتَّىٰ إِذَا أَخَذَتِ الْأَرْضُ زُخْرُفَهَا وَازَّيَّنَتْ وَظَنَّ أَهْلُهَا أَنَّهُمْ قَادِرُونَ عَلَيْهَا أَتَاهَا أَمْرُنَا لَيْلًا أَوْ نَهَارًا فَجَعَلْنَاهَا حَصِيدًا كَأَن لَّمْ تَغْنَ بِالْأَمْسِ ۚ كَذَٰلِكَ نُفَصِّلُ الْآيَاتِ لِقَوْمٍ يَتَفَكَّرُونَ (24)
Mazima e kifaananyi ky'obulamu bw'ensi kiringa amazzi getussa okuva waggulu ne gatuuka ku bimera ebiri mu ttaka, mu ebyo abantu bye balya n'ensolo bye zirya, okutuusa ensi bwetandika okulabika obulungi nenyirira abantu abagiriko nebalowooza nti bagisobola, e kiragiro kyaffe nekibajjira ekiro oba e misana netugifuula nga enkungule neeba nga etabadde y'amugaso eggulo bwe tutyo nno bwe tunnyonnyola obubonero eri abafumiitiriza
وَاللَّهُ يَدْعُو إِلَىٰ دَارِ السَّلَامِ وَيَهْدِي مَن يَشَاءُ إِلَىٰ صِرَاطٍ مُّسْتَقِيمٍ (25)
Ne Katonda akoowoola abantu okujja eri e nyumba ey'emirembe era alungamya oyo gwaba ayagadde eri ekkubo eggolokofu
۞ لِّلَّذِينَ أَحْسَنُوا الْحُسْنَىٰ وَزِيَادَةٌ ۖ وَلَا يَرْهَقُ وُجُوهَهُمْ قَتَرٌ وَلَا ذِلَّةٌ ۚ أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ الْجَنَّةِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (26)
Abo abakola obulungi bagenda kuweebwa obulungi n'ennyongeza. Enfuufu tegenda kubikka byenyi bya bwe wadde okulabikako obunyomoofu, abo nno b'ebantu bo mu jjana bo baakutuula bugenderevu mu yo
وَالَّذِينَ كَسَبُوا السَّيِّئَاتِ جَزَاءُ سَيِّئَةٍ بِمِثْلِهَا وَتَرْهَقُهُمْ ذِلَّةٌ ۖ مَّا لَهُم مِّنَ اللَّهِ مِنْ عَاصِمٍ ۖ كَأَنَّمَا أُغْشِيَتْ وُجُوهُهُمْ قِطَعًا مِّنَ اللَّيْلِ مُظْلِمًا ۚ أُولَٰئِكَ أَصْحَابُ النَّارِ ۖ هُمْ فِيهَا خَالِدُونَ (27)
Bo abakola ebibi empeera y'ekibi yenkana ekibi ekikoleddwa era obunyoomu bugenda kubabikka tebagenda kubeera n'abawonya yenna ku Katonda, bo ebyenyi bya bwe bigenda kubeera nga ebibikkiddwa ekitundu ky'ekiro eky'enzikiza abo nno b'ebantu bo mu muliro bo baakutuula mu gwo lubeerera
وَيَوْمَ نَحْشُرُهُمْ جَمِيعًا ثُمَّ نَقُولُ لِلَّذِينَ أَشْرَكُوا مَكَانَكُمْ أَنتُمْ وَشُرَكَاؤُكُمْ ۚ فَزَيَّلْنَا بَيْنَهُمْ ۖ وَقَالَ شُرَكَاؤُهُم مَّا كُنتُمْ إِيَّانَا تَعْبُدُونَ (28)
Era jjukira olunaku lwe tulibakunganya bonna olwo nno netugamba eri abo abaagatta abintu ebirala ku Katonda mubeere mu bifo bya mmwe ne bannammwe (be mwagatta ku Katonda) olwo nno netubaawulamu bebaagatta ku Katonda nebagamba nti mwali temusinza ffe
فَكَفَىٰ بِاللَّهِ شَهِيدًا بَيْنَنَا وَبَيْنَكُمْ إِن كُنَّا عَنْ عِبَادَتِكُمْ لَغَافِلِينَ (29)
Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati waffe na mmwe okukakasa nti tetumanyangako nti mwali mutusinza
هُنَالِكَ تَبْلُو كُلُّ نَفْسٍ مَّا أَسْلَفَتْ ۚ وَرُدُّوا إِلَى اللَّهِ مَوْلَاهُمُ الْحَقِّ ۖ وَضَلَّ عَنْهُم مَّا كَانُوا يَفْتَرُونَ (30)
Olwo nno buli muntu agenda kulagwa ebyo bye yakola era bazzibwe ewa Katonda mukama waabwe omutuufu olwo nno bye baayiiyanga biryoke bibabuleko
قُلْ مَن يَرْزُقُكُم مِّنَ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ أَمَّن يَمْلِكُ السَّمْعَ وَالْأَبْصَارَ وَمَن يُخْرِجُ الْحَيَّ مِنَ الْمَيِّتِ وَيُخْرِجُ الْمَيِّتَ مِنَ الْحَيِّ وَمَن يُدَبِّرُ الْأَمْرَ ۚ فَسَيَقُولُونَ اللَّهُ ۚ فَقُلْ أَفَلَا تَتَّقُونَ (31)
Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya
فَذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمُ الْحَقُّ ۖ فَمَاذَا بَعْدَ الْحَقِّ إِلَّا الضَّلَالُ ۖ فَأَنَّىٰ تُصْرَفُونَ (32)
Oyo nno mmwe ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe omutuufu. Oluvanyuma lwa mazima gano ate kiki (omuntu) kyalinda! okugyako okubula, kale nno ate muwugulwa mutya (okuva ku Katonda)
كَذَٰلِكَ حَقَّتْ كَلِمَتُ رَبِّكَ عَلَى الَّذِينَ فَسَقُوا أَنَّهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (33)
Bwe kityo e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, bwe kyakakata ku abo abaayonoona ne kiba nti mazima ddala bo tebagenda kukkiriza
قُلْ هَلْ مِن شُرَكَائِكُم مَّن يَبْدَأُ الْخَلْقَ ثُمَّ يُعِيدُهُ ۚ قُلِ اللَّهُ يَبْدَأُ الْخَلْقَ ثُمَّ يُعِيدُهُ ۖ فَأَنَّىٰ تُؤْفَكُونَ (34)
Gamba ggwe (Muhammad) nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okutandikawo ebitonde (bwamala n'abiggyawo) ate n'abizzaawo, gamba nti Katonda atandika ebitonde ate agenda kubizzaawo kale ate muwugulwa mutya
قُلْ هَلْ مِن شُرَكَائِكُم مَّن يَهْدِي إِلَى الْحَقِّ ۚ قُلِ اللَّهُ يَهْدِي لِلْحَقِّ ۗ أَفَمَن يَهْدِي إِلَى الْحَقِّ أَحَقُّ أَن يُتَّبَعَ أَمَّن لَّا يَهِدِّي إِلَّا أَن يُهْدَىٰ ۖ فَمَا لَكُمْ كَيْفَ تَحْكُمُونَ (35)
Bagambe nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okulungamya, gamba nti Katonda alungamya eri obutuufu, yaateekwa okugobererwa oba oyo atalungamya okugyako nga alungamiziddwa mwabaaki ebintu mubisalawo mutya
وَمَا يَتَّبِعُ أَكْثَرُهُمْ إِلَّا ظَنًّا ۚ إِنَّ الظَّنَّ لَا يُغْنِي مِنَ الْحَقِّ شَيْئًا ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ بِمَا يَفْعَلُونَ (36)
Abasinga obungi mu bo tebagoberera okugyako okuteeba, anti mazima okuteeba tekulina kintu kyonna kye kuyamba ku kulaga obutuufu, mazima ddala bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola
وَمَا كَانَ هَٰذَا الْقُرْآنُ أَن يُفْتَرَىٰ مِن دُونِ اللَّهِ وَلَٰكِن تَصْدِيقَ الَّذِي بَيْنَ يَدَيْهِ وَتَفْصِيلَ الْكِتَابِ لَا رَيْبَ فِيهِ مِن رَّبِّ الْعَالَمِينَ (37)
Kyali tekisoboka kuba nti Kur’ani eno yagunjibwawo nga teyava wa Katonda, wabula yye Katonda yagissa nga ekakasa ebyo ebitabo ebyagikulembera era nga ennyonnyola ebiri mu bitabo ebyo byonna, teriimu kubuusabuusa yava wa Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna
أَمْ يَقُولُونَ افْتَرَاهُ ۖ قُلْ فَأْتُوا بِسُورَةٍ مِّثْلِهِ وَادْعُوا مَنِ اسْتَطَعْتُم مِّن دُونِ اللَّهِ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (38)
Oba bagamba nti (Muhammad) yagigunjaawo, gamba nti (bwemba nga nze nnagiyiiya) kale muleete essuula yonna egifaanana muyite bonna bemunaaba musobodde, nga oggyeko Katonda bwe muba nga mwogera mazima
بَلْ كَذَّبُوا بِمَا لَمْ يُحِيطُوا بِعِلْمِهِ وَلَمَّا يَأْتِهِمْ تَأْوِيلُهُ ۚ كَذَٰلِكَ كَذَّبَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الظَّالِمِينَ (39)
Wabula baalimbisa ebyo bye bataamanyira ddala mu bujjuvu, nga n'enzivuunula y'abyo tennabajjira bwe batyo abaabakulembera bwe baalimbisa naye tunula olabe enkomerero y'a beeyisa obubi yali etya
وَمِنْهُم مَّن يُؤْمِنُ بِهِ وَمِنْهُم مَّن لَّا يُؤْمِنُ بِهِ ۚ وَرَبُّكَ أَعْلَمُ بِالْمُفْسِدِينَ (40)
Ate mu bo mulimu abakkiriza (Kur’ani) era nga bwe mulimu abatagikkiriza era Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya bikwata ku boonoonyi
وَإِن كَذَّبُوكَ فَقُل لِّي عَمَلِي وَلَكُمْ عَمَلُكُمْ ۖ أَنتُم بَرِيئُونَ مِمَّا أَعْمَلُ وَأَنَا بَرِيءٌ مِّمَّا تَعْمَلُونَ (41)
Naye bwe baba nga bakulimbisizza (ggwe Nabbi Muhammad), bagambe nti nina e mirimu gyenkola (e ddiini yange) na mmwe mulina e mirimu gye mukola (mu ddiini yammwe) muli wala nnyo n'ebyo byenkola era nange ndiwala nnyo n'ebyo bye mukola
وَمِنْهُم مَّن يَسْتَمِعُونَ إِلَيْكَ ۚ أَفَأَنتَ تُسْمِعُ الصُّمَّ وَلَوْ كَانُوا لَا يَعْقِلُونَ (42)
Ate mu bo mulimu abakuwuliriza naye abaffe ggwe osobola okuwuliza ba kiggala newaakubadde nga tebategeera
وَمِنْهُم مَّن يَنظُرُ إِلَيْكَ ۚ أَفَأَنتَ تَهْدِي الْعُمْيَ وَلَوْ كَانُوا لَا يُبْصِرُونَ (43)
Era mu bo mulimu akutunuulira naye abaffe ggwe osobola okulungamya ba muzibe wadde nga tebalaba
إِنَّ اللَّهَ لَا يَظْلِمُ النَّاسَ شَيْئًا وَلَٰكِنَّ النَّاسَ أَنفُسَهُمْ يَظْلِمُونَ (44)
Mazima Katonda tayisa bubi Bantu mu kintu kyonna, naye mazima abantu bo bennyini be beeyisa obubi
وَيَوْمَ يَحْشُرُهُمْ كَأَن لَّمْ يَلْبَثُوا إِلَّا سَاعَةً مِّنَ النَّهَارِ يَتَعَارَفُونَ بَيْنَهُمْ ۚ قَدْ خَسِرَ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِلِقَاءِ اللَّهِ وَمَا كَانُوا مُهْتَدِينَ (45)
N'olunaku (Katonda) lwali bakunganya bagenda kuba nga abataali ku nsi okugyako essaawa emu mu budde bw'emisana nga bamanyigana wakati waabwe. Mazima bafaafaaganirwa abo abalimbisa okusisinkana Katonda era tebabangako balungamu
وَإِمَّا نُرِيَنَّكَ بَعْضَ الَّذِي نَعِدُهُمْ أَوْ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِلَيْنَا مَرْجِعُهُمْ ثُمَّ اللَّهُ شَهِيدٌ عَلَىٰ مَا يَفْعَلُونَ (46)
Naye singa tukulaga ebimu ku ebyo bye tubalagaanyisa (kuno ku nsi) oba netukutta (nga tobirabye ky'ekimu) n'olwekyo gye tuli y'eri obuddo bwabwe ate Katonda alaba ebyo byonna bye bakola
وَلِكُلِّ أُمَّةٍ رَّسُولٌ ۖ فَإِذَا جَاءَ رَسُولُهُمْ قُضِيَ بَيْنَهُم بِالْقِسْطِ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (47)
Nabuli bantu bonna baafuna omubaka, kale nno bwalijja omubaka waabwe (naabawaako obujulizi ku lunaku lw'enkomerero) wagenda kulamulwa wakati waabwe na bwenkanya era nga tebagenda kuyisibwa bubi
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا الْوَعْدُ إِن كُنتُمْ صَادِقِينَ (48)
Era bagamba nti, ebyo ebitulagaanyisibwa biribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima
قُل لَّا أَمْلِكُ لِنَفْسِي ضَرًّا وَلَا نَفْعًا إِلَّا مَا شَاءَ اللَّهُ ۗ لِكُلِّ أُمَّةٍ أَجَلٌ ۚ إِذَا جَاءَ أَجَلُهُمْ فَلَا يَسْتَأْخِرُونَ سَاعَةً ۖ وَلَا يَسْتَقْدِمُونَ (49)
Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) sisobola kwetaasa mu kabenje konna era nga bwe siyinza kwegasa na kintu kyonna okugyako ekyo Katonda kyaba anjagalizza, buli bantu balina ebbanga Katonda lye yabagerera singa ebbanga eryo liba lituuse tebasobola kwongezaayo oba okukulembeza oba wadde essaawa emu
قُلْ أَرَأَيْتُمْ إِنْ أَتَاكُمْ عَذَابُهُ بَيَاتًا أَوْ نَهَارًا مَّاذَا يَسْتَعْجِلُ مِنْهُ الْمُجْرِمُونَ (50)
Bagambe nti, mulaba mutya singa ebibonerezo bya Katonda biba bibajjidde kiro oba misana (ekyo kibagasaaki?) lwaki aboonoonyi basaba ebibonerezo okubajjira amangu
أَثُمَّ إِذَا مَا وَقَعَ آمَنتُم بِهِ ۚ آلْآنَ وَقَدْ كُنتُم بِهِ تَسْتَعْجِلُونَ (51)
Abaffe oluvanyuma lw'okujja kw'ekibonerezo ebyo olwo nga mubikkirize so nga ate mwali musaba byanguyirizibwe (mu ngeri ya kujeeja)
ثُمَّ قِيلَ لِلَّذِينَ ظَلَمُوا ذُوقُوا عَذَابَ الْخُلْدِ هَلْ تُجْزَوْنَ إِلَّا بِمَا كُنتُمْ تَكْسِبُونَ (52)
Oluvanyuma abeeyisa obubi baligambibwa nti mukombe ku bibonerezo eby'olubeerera, abaffe muyinza okusasulwa okugyako ekyo kye mwapakasa
۞ وَيَسْتَنبِئُونَكَ أَحَقٌّ هُوَ ۖ قُلْ إِي وَرَبِّي إِنَّهُ لَحَقٌّ ۖ وَمَا أَنتُم بِمُعْجِزِينَ (53)
Bakubuuza ggwe (Nabbi Muhammad) nti abaffe ebibonerezo by'olunaku lw'enkomerero bya mazima! bagambe nti yye ndayira Mukama omulabirizi wange nti mazima byo bya mazima, era mmwe temuli baakulemesa (Katonda)
وَلَوْ أَنَّ لِكُلِّ نَفْسٍ ظَلَمَتْ مَا فِي الْأَرْضِ لَافْتَدَتْ بِهِ ۗ وَأَسَرُّوا النَّدَامَةَ لَمَّا رَأَوُا الْعَذَابَ ۖ وَقُضِيَ بَيْنَهُم بِالْقِسْطِ ۚ وَهُمْ لَا يُظْلَمُونَ (54)
Singa buli mwoyo (omuntu) gwonna ogweyisa obubi gulina ebyo byonna ebiri mu nsi gwalibifudde ennunuzi (okuwona ebibonerezo bya Katonda), bagenda kulyazanyizibwa. Abeeyisa obubi bwe baliraba ebibonerezo bagenda kwegeyaamu nga bejjusa, era bagenda kulamulwa mu bwenkanya era tebagenda kuyisibwa bubi
أَلَا إِنَّ لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۗ أَلَا إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (55)
Abange, mazima bya Katonda, ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi, abange mazima endagaano ya Katonda ya mazima, naye mazima abantu abasinga obungi tebamanyi
هُوَ يُحْيِي وَيُمِيتُ وَإِلَيْهِ تُرْجَعُونَ (56)
Yye Katonda y'awa obulamu era yatta ate gyali gye bagenda okuzzibwa
يَا أَيُّهَا النَّاسُ قَدْ جَاءَتْكُم مَّوْعِظَةٌ مِّن رَّبِّكُمْ وَشِفَاءٌ لِّمَا فِي الصُّدُورِ وَهُدًى وَرَحْمَةٌ لِّلْمُؤْمِنِينَ (57)
Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza
قُلْ بِفَضْلِ اللَّهِ وَبِرَحْمَتِهِ فَبِذَٰلِكَ فَلْيَفْرَحُوا هُوَ خَيْرٌ مِّمَّا يَجْمَعُونَ (58)
Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti ku lw'ebigabwa bya Katonda n'okusaasirakwe (okubawa eddiini yo'busiraamu) ku lw'ebyo basaana basanyuke, ebyo nno bye bisinga obulungi mw'ebyo byonna bye mukunganya
قُلْ أَرَأَيْتُم مَّا أَنزَلَ اللَّهُ لَكُم مِّن رِّزْقٍ فَجَعَلْتُم مِّنْهُ حَرَامًا وَحَلَالًا قُلْ آللَّهُ أَذِنَ لَكُمْ ۖ أَمْ عَلَى اللَّهِ تَفْتَرُونَ (59)
Bagambe (Ggwe Nabbi Muhammad) nti mumbulire ebyo Katonda bye yabassiza mu bigabwa mmwe nemweteeramu bye muziza nemulondobamu, bagambe nti mazima Katonda yeyabakkiriza (okukola mutyo) oba Katonda gwe mutemerera
وَمَا ظَنُّ الَّذِينَ يَفْتَرُونَ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ يَوْمَ الْقِيَامَةِ ۗ إِنَّ اللَّهَ لَذُو فَضْلٍ عَلَى النَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَشْكُرُونَ (60)
Era abo abatemerera ku Katonda eby'obulimba balowoozaaki ku biribaawo ku lunaku lw'okuzuukira, mazima Katonda agabira abantu obulungi bungi nnyo naye abasinga obungi mu bo tebeebaza
وَمَا تَكُونُ فِي شَأْنٍ وَمَا تَتْلُو مِنْهُ مِن قُرْآنٍ وَلَا تَعْمَلُونَ مِنْ عَمَلٍ إِلَّا كُنَّا عَلَيْكُمْ شُهُودًا إِذْ تُفِيضُونَ فِيهِ ۚ وَمَا يَعْزُبُ عَن رَّبِّكَ مِن مِّثْقَالِ ذَرَّةٍ فِي الْأَرْضِ وَلَا فِي السَّمَاءِ وَلَا أَصْغَرَ مِن ذَٰلِكَ وَلَا أَكْبَرَ إِلَّا فِي كِتَابٍ مُّبِينٍ (61)
Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugutandikira, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu
أَلَا إِنَّ أَوْلِيَاءَ اللَّهِ لَا خَوْفٌ عَلَيْهِمْ وَلَا هُمْ يَحْزَنُونَ (62)
Abange mazima emikwano gya Katonda tebalibaako kutya era be batagenda kunakuwala
الَّذِينَ آمَنُوا وَكَانُوا يَتَّقُونَ (63)
(Mikwano gya Katonda) beebo abakkiriza nebaba nga batya Katonda
لَهُمُ الْبُشْرَىٰ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَفِي الْآخِرَةِ ۚ لَا تَبْدِيلَ لِكَلِمَاتِ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (64)
Balina okusanyusibwa mu bulamu obw'ensi n'o bw'enkomerero, (ekyo nga ndagaano ebaweereddwa Katonda, ate nga) ebigambo bya Katonda tebikyusibwa, ekyo nno kwe kwesiima okusuffu
وَلَا يَحْزُنكَ قَوْلُهُمْ ۘ إِنَّ الْعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعًا ۚ هُوَ السَّمِيعُ الْعَلِيمُ (65)
Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi
أَلَا إِنَّ لِلَّهِ مَن فِي السَّمَاوَاتِ وَمَن فِي الْأَرْضِ ۗ وَمَا يَتَّبِعُ الَّذِينَ يَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ شُرَكَاءَ ۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا الظَّنَّ وَإِنْ هُمْ إِلَّا يَخْرُصُونَ (66)
Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza
هُوَ الَّذِي جَعَلَ لَكُمُ اللَّيْلَ لِتَسْكُنُوا فِيهِ وَالنَّهَارَ مُبْصِرًا ۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَآيَاتٍ لِّقَوْمٍ يَسْمَعُونَ (67)
Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira
قَالُوا اتَّخَذَ اللَّهُ وَلَدًا ۗ سُبْحَانَهُ ۖ هُوَ الْغَنِيُّ ۖ لَهُ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۚ إِنْ عِندَكُم مِّن سُلْطَانٍ بِهَٰذَا ۚ أَتَقُولُونَ عَلَى اللَّهِ مَا لَا تَعْلَمُونَ (68)
Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi
قُلْ إِنَّ الَّذِينَ يَفْتَرُونَ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ لَا يُفْلِحُونَ (69)
Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima
مَتَاعٌ فِي الدُّنْيَا ثُمَّ إِلَيْنَا مَرْجِعُهُمْ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ الْعَذَابَ الشَّدِيدَ بِمَا كَانُوا يَكْفُرُونَ (70)
Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga
۞ وَاتْلُ عَلَيْهِمْ نَبَأَ نُوحٍ إِذْ قَالَ لِقَوْمِهِ يَا قَوْمِ إِن كَانَ كَبُرَ عَلَيْكُم مَّقَامِي وَتَذْكِيرِي بِآيَاتِ اللَّهِ فَعَلَى اللَّهِ تَوَكَّلْتُ فَأَجْمِعُوا أَمْرَكُمْ وَشُرَكَاءَكُمْ ثُمَّ لَا يَكُنْ أَمْرُكُمْ عَلَيْكُمْ غُمَّةً ثُمَّ اقْضُوا إِلَيَّ وَلَا تُنظِرُونِ (71)
Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Katonda bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Katonda, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza
فَإِن تَوَلَّيْتُمْ فَمَا سَأَلْتُكُم مِّنْ أَجْرٍ ۖ إِنْ أَجْرِيَ إِلَّا عَلَى اللَّهِ ۖ وَأُمِرْتُ أَنْ أَكُونَ مِنَ الْمُسْلِمِينَ (72)
Bwemuva ku ekyo (nze byonna byenkola mbibakolera lwa Katonda) sibasabangako kunsasula mpeera, empeera yange teri okugyako ewa mukama Katonda, era nnalagirwa okubeera mu basiraamu
فَكَذَّبُوهُ فَنَجَّيْنَاهُ وَمَن مَّعَهُ فِي الْفُلْكِ وَجَعَلْنَاهُمْ خَلَائِفَ وَأَغْرَقْنَا الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِنَا ۖ فَانظُرْ كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الْمُنذَرِينَ (73)
(Awamu n'ebyo byonna) baamulimbisa netumuwonya n’abo abaali awamu naye mu lyato netubafuula abasigire (ku nsi) era netuzikiriza abo abaalimbisa ebigambo byaffe, tunula (weetegereze) enkomerero y'abo abaalabulwa
ثُمَّ بَعَثْنَا مِن بَعْدِهِ رُسُلًا إِلَىٰ قَوْمِهِمْ فَجَاءُوهُم بِالْبَيِّنَاتِ فَمَا كَانُوا لِيُؤْمِنُوا بِمَا كَذَّبُوا بِهِ مِن قَبْلُ ۚ كَذَٰلِكَ نَطْبَعُ عَلَىٰ قُلُوبِ الْمُعْتَدِينَ (74)
Oluvanyuma lwe (Nuhu) twatuma ababaka buli omu eri abantube nebabaleetera obujulizi obw'enkukunala naye (bano) tebaali b'a kukkiriza bali bye baalimbisa oluberyeberye, bwe tutyo bulijjo bwe tubikka emitima gy'abo abasukka e nsalo
ثُمَّ بَعَثْنَا مِن بَعْدِهِم مُّوسَىٰ وَهَارُونَ إِلَىٰ فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِ بِآيَاتِنَا فَاسْتَكْبَرُوا وَكَانُوا قَوْمًا مُّجْرِمِينَ (75)
Oluvanyuma lwa bwe twatuma Musa ne Haruna eri Firawo n'abantube nga tubawadde obubonero bwaffe wabula ne bawaganyala anti bulijjo baali bantu boonoonyi
فَلَمَّا جَاءَهُمُ الْحَقُّ مِنْ عِندِنَا قَالُوا إِنَّ هَٰذَا لَسِحْرٌ مُّبِينٌ (76)
Olwo nno amazima bwe gaabajjira okuva gye tuli ne bagamba nti mazima kino ddogo eryeyolefu
قَالَ مُوسَىٰ أَتَقُولُونَ لِلْحَقِّ لَمَّا جَاءَكُمْ ۖ أَسِحْرٌ هَٰذَا وَلَا يُفْلِحُ السَّاحِرُونَ (77)
Musa naabagamba (nga bwe yeewunya) nti mugamba mutya ku mazima agabajjidde okuva ewa Katonda nti lino ddogo, so nga abalogo tebagenda kuwangula (kuno ku nsi ne ku nkomerero)
قَالُوا أَجِئْتَنَا لِتَلْفِتَنَا عَمَّا وَجَدْنَا عَلَيْهِ آبَاءَنَا وَتَكُونَ لَكُمَا الْكِبْرِيَاءُ فِي الْأَرْضِ وَمَا نَحْنُ لَكُمَا بِمُؤْمِنِينَ (78)
Nebagamba nti otujjidde olyoke otuwugule okutujja ku ebyo bye twasangako bakadde baffe. Obuyinza n'ekitiibwa byonna mu nsi (Ya Misiri) bibeere bya mmwe (ggwe ne Haruna) naye ffe mmwe mwembi tetujja kubakkiriza
وَقَالَ فِرْعَوْنُ ائْتُونِي بِكُلِّ سَاحِرٍ عَلِيمٍ (79)
Olwo Firawo naagamba nti mundeetere buli mulogo omukenkufu
فَلَمَّا جَاءَ السَّحَرَةُ قَالَ لَهُم مُّوسَىٰ أَلْقُوا مَا أَنتُم مُّلْقُونَ (80)
Kale nno abalogo bwe baamala okujja, Musa kwe kubagamba nti mwanje buli kye mwagala
فَلَمَّا أَلْقَوْا قَالَ مُوسَىٰ مَا جِئْتُم بِهِ السِّحْرُ ۖ إِنَّ اللَّهَ سَيُبْطِلُهُ ۖ إِنَّ اللَّهَ لَا يُصْلِحُ عَمَلَ الْمُفْسِدِينَ (81)
Bwe baamala okwanja (ebyabwe) Musa kwe kubagamba nti ebyo bye muleese lye ddogo anti mazima Katonda ajja kulaga obutaliimu bwa lyo anti mazima Katonda talongoosa mulimu gwa boonoonyi
وَيُحِقُّ اللَّهُ الْحَقَّ بِكَلِمَاتِهِ وَلَوْ كَرِهَ الْمُجْرِمُونَ (82)
Era Katonda ajja kunyweza obutuufu bw'ebyo bye mbajjidde nabyo n'ebigambobye (ebiragirobye) newaakubadde nga aboonoonyi tebandikyagadde
فَمَا آمَنَ لِمُوسَىٰ إِلَّا ذُرِّيَّةٌ مِّن قَوْمِهِ عَلَىٰ خَوْفٍ مِّن فِرْعَوْنَ وَمَلَئِهِمْ أَن يَفْتِنَهُمْ ۚ وَإِنَّ فِرْعَوْنَ لَعَالٍ فِي الْأَرْضِ وَإِنَّهُ لَمِنَ الْمُسْرِفِينَ (83)
Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Firawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Firawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi
وَقَالَ مُوسَىٰ يَا قَوْمِ إِن كُنتُمْ آمَنتُم بِاللَّهِ فَعَلَيْهِ تَوَكَّلُوا إِن كُنتُم مُّسْلِمِينَ (84)
Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Katonda mwekwase yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda)
فَقَالُوا عَلَى اللَّهِ تَوَكَّلْنَا رَبَّنَا لَا تَجْعَلْنَا فِتْنَةً لِّلْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (85)
(Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Katonda waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula e kikemo eri abo abeeyisa obubi
وَنَجِّنَا بِرَحْمَتِكَ مِنَ الْقَوْمِ الْكَافِرِينَ (86)
Era otuwonye (otutaase) olw'okusaasirakwo ku bantu abaakaafuwala
وَأَوْحَيْنَا إِلَىٰ مُوسَىٰ وَأَخِيهِ أَن تَبَوَّآ لِقَوْمِكُمَا بِمِصْرَ بُيُوتًا وَاجْعَلُوا بُيُوتَكُمْ قِبْلَةً وَأَقِيمُوا الصَّلَاةَ ۗ وَبَشِّرِ الْمُؤْمِنِينَ (87)
Netutumira Musa ne Mugandawe (Haruna) nti muteereewo abantu ba mmwe amayumba mu Misiri era mufuule amayumba ga mmwe nga bwolekero nga musaala era muyimirizeewo e sswala era wa amawulire ag'essanyu eri abakkiriza
وَقَالَ مُوسَىٰ رَبَّنَا إِنَّكَ آتَيْتَ فِرْعَوْنَ وَمَلَأَهُ زِينَةً وَأَمْوَالًا فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا رَبَّنَا لِيُضِلُّوا عَن سَبِيلِكَ ۖ رَبَّنَا اطْمِسْ عَلَىٰ أَمْوَالِهِمْ وَاشْدُدْ عَلَىٰ قُلُوبِهِمْ فَلَا يُؤْمِنُوا حَتَّىٰ يَرَوُا الْعَذَابَ الْأَلِيمَ (88)
Musa naagamba nga asaba nti, Ayi Mukama omulabirizi waffe mazima ggwe wawa Firawo n'abakungube eby'okwewunda, n'ebyobugagga mu bulamu buno obw'ensi, ayi Mukama omulabirizi waffe ngenkomerero y'abyo kubuza (bantu) ku baggya ku kkubo lyo, ayi Mukama omulabirizi waffe saanyaawo e mmaali yaabwe era osse obukakanyavu ku mitima gyabwe olwo nno baleme kukkiriza okutuusa nga balabye ebibonerezo ebiruma (nga ate okukkiriza okwo tekukyabagasa)
قَالَ قَدْ أُجِيبَت دَّعْوَتُكُمَا فَاسْتَقِيمَا وَلَا تَتَّبِعَانِّ سَبِيلَ الَّذِينَ لَا يَعْلَمُونَ (89)
(Katonda) naagamba nti mazima okusaba kwa mmwe mwembiriri kukkiriziddwa, mubeere beesimbu mwembi era temugoberera mwembi ekkubo ly'abo abatamanyi (abatategeera bukakafu bwa ndagaano za Katonda)
۞ وَجَاوَزْنَا بِبَنِي إِسْرَائِيلَ الْبَحْرَ فَأَتْبَعَهُمْ فِرْعَوْنُ وَجُنُودُهُ بَغْيًا وَعَدْوًا ۖ حَتَّىٰ إِذَا أَدْرَكَهُ الْغَرَقُ قَالَ آمَنتُ أَنَّهُ لَا إِلَٰهَ إِلَّا الَّذِي آمَنَتْ بِهِ بَنُو إِسْرَائِيلَ وَأَنَا مِنَ الْمُسْلِمِينَ (90)
Netusomosa abaana ba Israil ennyanja olwo ne Firawo n'abawondera n'amagyege mu ngeri ey'obulabe n’obulumbaganyi, okutuusa lwe yatuukibwako okuzikirira mu mazzi olwo naagamba nti: nzikirizza nti mazima ddala tewali Katonda asinzibwa mu butuufu okugyako oyo abaana ba Israil gwe bakkiriza era nze ndi mu basiramuse
آلْآنَ وَقَدْ عَصَيْتَ قَبْلُ وَكُنتَ مِنَ الْمُفْسِدِينَ (91)
(Firawo naagambibwa nti kati olwo okkiriza) so nga wajeema dda n'obeera mu boonoonyi
فَالْيَوْمَ نُنَجِّيكَ بِبَدَنِكَ لِتَكُونَ لِمَنْ خَلْفَكَ آيَةً ۚ وَإِنَّ كَثِيرًا مِّنَ النَّاسِ عَنْ آيَاتِنَا لَغَافِلُونَ (92)
Kale nno olwa leero tujja kukuwonya (kukuuma) omulambogwo (guleme kuvunda) olyoke obeere eky'okulabirako eri abalijja oluvanyumalwo, mazima abantu abasinga obungi tebafaayo (kwegasa na bubonero bwaffe)
وَلَقَدْ بَوَّأْنَا بَنِي إِسْرَائِيلَ مُبَوَّأَ صِدْقٍ وَرَزَقْنَاهُم مِّنَ الطَّيِّبَاتِ فَمَا اخْتَلَفُوا حَتَّىٰ جَاءَهُمُ الْعِلْمُ ۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقْضِي بَيْنَهُمْ يَوْمَ الْقِيَامَةِ فِيمَا كَانُوا فِيهِ يَخْتَلِفُونَ (93)
Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu
فَإِن كُنتَ فِي شَكٍّ مِّمَّا أَنزَلْنَا إِلَيْكَ فَاسْأَلِ الَّذِينَ يَقْرَءُونَ الْكِتَابَ مِن قَبْلِكَ ۚ لَقَدْ جَاءَكَ الْحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الْمُمْتَرِينَ (94)
Bwoba nga olimu okubuusabuusa (Ggwe Muhammad) ku ebyo bye twassa gyoli buuza abo abaasoma e kitabo oluberyeberyelwo, ddala amazima gakujjidde okuva ewa Mukama omulabiriziwo kale togeza nga n'obeera mu babuusabuusa
وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الَّذِينَ كَذَّبُوا بِآيَاتِ اللَّهِ فَتَكُونَ مِنَ الْخَاسِرِينَ (95)
Era ddala tobeeranga mu abo abalimbisa e bigambo bya Katonda n'obeera mu bafaafaganirwa
إِنَّ الَّذِينَ حَقَّتْ عَلَيْهِمْ كَلِمَتُ رَبِّكَ لَا يُؤْمِنُونَ (96)
Mazima abo abaakakatako ekigambo kya Mukama omulabiriziwo tebagenda kukkiriza
وَلَوْ جَاءَتْهُمْ كُلُّ آيَةٍ حَتَّىٰ يَرَوُا الْعَذَابَ الْأَلِيمَ (97)
Nebwebanajjirwa buli kabonero okutuusa lwe baliraba e bibonerezo ebiruma
فَلَوْلَا كَانَتْ قَرْيَةٌ آمَنَتْ فَنَفَعَهَا إِيمَانُهَا إِلَّا قَوْمَ يُونُسَ لَمَّا آمَنُوا كَشَفْنَا عَنْهُمْ عَذَابَ الْخِزْيِ فِي الْحَيَاةِ الدُّنْيَا وَمَتَّعْنَاهُمْ إِلَىٰ حِينٍ (98)
Tewali bantu ba kitundu bakkiriza obukkiriza bwa bwe nebubagasa okugyako abantu ba Yunusu anti bwe bakkiriza twabaggyako ebibonerezo ebiswaza mu bulamu buno obw'ensi netubeeyagaza okutuusa ku ntuuko zaabwe
وَلَوْ شَاءَ رَبُّكَ لَآمَنَ مَن فِي الْأَرْضِ كُلُّهُمْ جَمِيعًا ۚ أَفَأَنتَ تُكْرِهُ النَّاسَ حَتَّىٰ يَكُونُوا مُؤْمِنِينَ (99)
Singa Mukama omulabiriziwo yayagala abantu abali mu nsi bandikkirizza bonna, kaakati ggwe oyagala kukaka bantu bonna babeere bakkiriza
وَمَا كَانَ لِنَفْسٍ أَن تُؤْمِنَ إِلَّا بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ وَيَجْعَلُ الرِّجْسَ عَلَى الَّذِينَ لَا يَعْقِلُونَ (100)
Tewali muntu ayinza kukikkiriza okugyako ng’akkiriza lwa kwagala kwa Katonda, era Katonda assa ekibi ku abo abatategeera
قُلِ انظُرُوا مَاذَا فِي السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ وَمَا تُغْنِي الْآيَاتُ وَالنُّذُرُ عَن قَوْمٍ لَّا يُؤْمِنُونَ (101)
Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza
فَهَلْ يَنتَظِرُونَ إِلَّا مِثْلَ أَيَّامِ الَّذِينَ خَلَوْا مِن قَبْلِهِمْ ۚ قُلْ فَانتَظِرُوا إِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُنتَظِرِينَ (102)
Abaffe balina kye balindirira mpozzi ekifaananako ne nnaku zaabo abaabakulembera., bagambe nti: mulindirire nange ndi wamu na mmwe mu balindirira
ثُمَّ نُنَجِّي رُسُلَنَا وَالَّذِينَ آمَنُوا ۚ كَذَٰلِكَ حَقًّا عَلَيْنَا نُنجِ الْمُؤْمِنِينَ (103)
Oluvanyuma ne tuwonya (ne tutaasa) ababaka baffe n'abo abakkiriza bwe tutyo nno bulijjo kikakafu kuffe okutaasa abakkiriza
قُلْ يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِن كُنتُمْ فِي شَكٍّ مِّن دِينِي فَلَا أَعْبُدُ الَّذِينَ تَعْبُدُونَ مِن دُونِ اللَّهِ وَلَٰكِنْ أَعْبُدُ اللَّهَ الَّذِي يَتَوَفَّاكُمْ ۖ وَأُمِرْتُ أَنْ أَكُونَ مِنَ الْمُؤْمِنِينَ (104)
Bagambe nti: abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa mu ddiini yange (mukitegeere nti) sisinza abo be musinza nemuva ku Katonda, wabula nsinza Katonda oyo abatta ,era nnalagirwa mbeere mu bakkiriza
وَأَنْ أَقِمْ وَجْهَكَ لِلدِّينِ حَنِيفًا وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ الْمُشْرِكِينَ (105)
Era tereera mu ddiini ya Katonda n'goli mwesimbu era ddala tobeeranga mu bagatta e bintu e birala ku Katonda
وَلَا تَدْعُ مِن دُونِ اللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكَ وَلَا يَضُرُّكَ ۖ فَإِن فَعَلْتَ فَإِنَّكَ إِذًا مِّنَ الظَّالِمِينَ (106)
Tolekanga Katonda n'osaba e kintu e kirala ekyo ekitakugasa era ekitayinza kukutuusako kabi naye bwonookikola mazima ddala ggwe olwo nno onoobeera mu abo abeeyisa obubi
وَإِن يَمْسَسْكَ اللَّهُ بِضُرٍّ فَلَا كَاشِفَ لَهُ إِلَّا هُوَ ۖ وَإِن يُرِدْكَ بِخَيْرٍ فَلَا رَادَّ لِفَضْلِهِ ۚ يُصِيبُ بِهِ مَن يَشَاءُ مِنْ عِبَادِهِ ۚ وَهُوَ الْغَفُورُ الرَّحِيمُ (107)
Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala
قُلْ يَا أَيُّهَا النَّاسُ قَدْ جَاءَكُمُ الْحَقُّ مِن رَّبِّكُمْ ۖ فَمَنِ اهْتَدَىٰ فَإِنَّمَا يَهْتَدِي لِنَفْسِهِ ۖ وَمَن ضَلَّ فَإِنَّمَا يَضِلُّ عَلَيْهَا ۖ وَمَا أَنَا عَلَيْكُم بِوَكِيلٍ (108)
Bagambe (Ggwe Muhammad) nti; abange mmwe abantu amazima gabajjidde okuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe oyo yenna alungama aba yeelungamidde, ate oyo abula okubulakwe kukosa yye. Nze siri mukuumi ku mmwe
وَاتَّبِعْ مَا يُوحَىٰ إِلَيْكَ وَاصْبِرْ حَتَّىٰ يَحْكُمَ اللَّهُ ۚ وَهُوَ خَيْرُ الْحَاكِمِينَ (109)
Era goberera ebyo ebitumwa gyoli era ogumiikirize okutuusa Katonda lwa naasalawo, anti bulijjo yye yaasinga abasalawo bonna
❮ السورة السابقة السورة التـالية ❯

قراءة المزيد من سور القرآن الكريم :

1- الفاتحة2- البقرة3- آل عمران
4- النساء5- المائدة6- الأنعام
7- الأعراف8- الأنفال9- التوبة
10- يونس11- هود12- يوسف
13- الرعد14- إبراهيم15- الحجر
16- النحل17- الإسراء18- الكهف
19- مريم20- طه21- الأنبياء
22- الحج23- المؤمنون24- النور
25- الفرقان26- الشعراء27- النمل
28- القصص29- العنكبوت30- الروم
31- لقمان32- السجدة33- الأحزاب
34- سبأ35- فاطر36- يس
37- الصافات38- ص39- الزمر
40- غافر41- فصلت42- الشورى
43- الزخرف44- الدخان45- الجاثية
46- الأحقاف47- محمد48- الفتح
49- الحجرات50- ق51- الذاريات
52- الطور53- النجم54- القمر
55- الرحمن56- الواقعة57- الحديد
58- المجادلة59- الحشر60- الممتحنة
61- الصف62- الجمعة63- المنافقون
64- التغابن65- الطلاق66- التحريم
67- الملك68- القلم69- الحاقة
70- المعارج71- نوح72- الجن
73- المزمل74- المدثر75- القيامة
76- الإنسان77- المرسلات78- النبأ
79- النازعات80- عبس81- التكوير
82- الإنفطار83- المطففين84- الانشقاق
85- البروج86- الطارق87- الأعلى
88- الغاشية89- الفجر90- البلد
91- الشمس92- الليل93- الضحى
94- الشرح95- التين96- العلق
97- القدر98- البينة99- الزلزلة
100- العاديات101- القارعة102- التكاثر
103- العصر104- الهمزة105- الفيل
106- قريش107- الماعون108- الكوثر
109- الكافرون110- النصر111- المسد
112- الإخلاص113- الفلق114- الناس