The Quran in Ganda - Surah Qariah translated into Ganda, Surah Al-Qariah in Ganda. We provide accurate translation of Surah Qariah in Ganda - لوغندا, Verses 11 - Surah Number 101 - Page 600.

| الْقَارِعَةُ (1) Ekikoona (ekyentiisa) |
| مَا الْقَارِعَةُ (2) Ekikoona kye ki |
| وَمَا أَدْرَاكَ مَا الْقَارِعَةُ (3) Naye omanyi ekikoona kye ki |
| يَوْمَ يَكُونُ النَّاسُ كَالْفَرَاشِ الْمَبْثُوثِ (4) Lwe lunaku abantu lwe balibeera nga e biwojjolo ebisaasaanye |
| وَتَكُونُ الْجِبَالُ كَالْعِهْنِ الْمَنفُوشِ (5) N’ensozi lwe zirifuuka nga pamba omusuunsule afuumuuka |
| فَأَمَّا مَن ثَقُلَتْ مَوَازِينُهُ (6) Naye, omuntu alibeera n'emirimu e mirungi nga gizitowa (okusinga ebibibye) |
| فَهُوَ فِي عِيشَةٍ رَّاضِيَةٍ (7) Oyo agenda kubeera mu bulamu obw’okwesiima |
| وَأَمَّا مَنْ خَفَّتْ مَوَازِينُهُ (8) Ate oyo aliwewukirwa emirimu gye emirungi (ebibi bye n’ebisinga obuzito) |
| فَأُمُّهُ هَاوِيَةٌ (9) Oyo nno, obuddo n'obutuulo bwe muliro oguyitibwa “Haawiya” |
| وَمَا أَدْرَاكَ مَا هِيَهْ (10) Naye omanyi ‘Haawiya’ kye ki |
| نَارٌ حَامِيَةٌ (11) Gwe muliro ogwengeredde (ogwokya ennyo) |