The Quran in Ganda - Surah Takathur translated into Ganda, Surah At-Takathur in Ganda. We provide accurate translation of Surah Takathur in Ganda - لوغندا, Verses 8 - Surah Number 102 - Page 600.
أَلْهَاكُمُ التَّكَاثُرُ (1) Okunoonya okufuna ebingi, kubalabankanyizza (ne kubajja ku kugondera amateeka ga Katonda) |
حَتَّىٰ زُرْتُمُ الْمَقَابِرَ (2) Okutuusa lwe muyingira kabbuli |
كَلَّا سَوْفَ تَعْلَمُونَ (3) Nedda, kyaddaki mujja kumanya (mu kiseera ky'okufa) |
ثُمَّ كَلَّا سَوْفَ تَعْلَمُونَ (4) Ate era oluvanyuma, kyaddaki mujja kumanya (nga muyingidde kabbuli) |
كَلَّا لَوْ تَعْلَمُونَ عِلْمَ الْيَقِينِ (5) Nedda, singa nga mubadde mumanyi mu bukakafu bw'okumanya (temwandirabankanyiziddwa na kukungaanya bingi) |
لَتَرَوُنَّ الْجَحِيمَ (6) Mujja kulabira ddala omuliro “Jahiim” |
ثُمَّ لَتَرَوُنَّهَا عَيْنَ الْيَقِينِ (7) Ate oluvanyuma omuliro ogwo mujja kugulaba mugutegeerere ddala |
ثُمَّ لَتُسْأَلُنَّ يَوْمَئِذٍ عَنِ النَّعِيمِ (8) Ate ddala oluvanyuma mugenda kubuuzibwa e byengera bye mwafuna ku nsi (mwabifuna mu makubo ki, era mwabisaasaanya mu makubo ki) |