الْحَمْدُ لِلَّهِ فَاطِرِ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ جَاعِلِ الْمَلَائِكَةِ رُسُلًا أُولِي أَجْنِحَةٍ مَّثْنَىٰ وَثُلَاثَ وَرُبَاعَ ۚ يَزِيدُ فِي الْخَلْقِ مَا يَشَاءُ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (1) Ebitendo byonna bya Katonda omutonzi w'eggulu omusanvu n'ensi, eyafuula ba Malayika ababaka abalina ebiwawaatiro, ow'ebibiri n'ow'ebisatu n'ow'ebina ayongera mu kutonda ekyo kyaba ayagadde mazima Katonda muyinza ku buli kintu |
مَّا يَفْتَحِ اللَّهُ لِلنَّاسِ مِن رَّحْمَةٍ فَلَا مُمْسِكَ لَهَا ۖ وَمَا يُمْسِكْ فَلَا مُرْسِلَ لَهُ مِن بَعْدِهِ ۚ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (2) Okusaasira Katonda kwaba agguliddewo abantu tewali ayinza kukulemesa, ate okwo kwalemesa tewali ayinza kukuleeta atali yye, era yye ye nantakubwa ku mukono mugoba nsonga |
يَا أَيُّهَا النَّاسُ اذْكُرُوا نِعْمَتَ اللَّهِ عَلَيْكُمْ ۚ هَلْ مِنْ خَالِقٍ غَيْرُ اللَّهِ يَرْزُقُكُم مِّنَ السَّمَاءِ وَالْأَرْضِ ۚ لَا إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ۖ فَأَنَّىٰ تُؤْفَكُونَ (3) Abange mmwe abantu mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abaffe waliyo omutonzi atali Katonda abagabirira okuva waggulu ne mu nsi, tewali kisinzibwa kyonna okugyako yye, olwo nno ate muwugulwa mutya |
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدْ كُذِّبَتْ رُسُلٌ مِّن قَبْلِكَ ۚ وَإِلَى اللَّهِ تُرْجَعُ الْأُمُورُ (4) Bwe bakulimbisa mazima ababaka baalimbisibwa oluberyeberyelwo, era nga bulijjo ewa Katonda ensonga zonna gyezizzibwa |
يَا أَيُّهَا النَّاسُ إِنَّ وَعْدَ اللَّهِ حَقٌّ ۖ فَلَا تَغُرَّنَّكُمُ الْحَيَاةُ الدُّنْيَا ۖ وَلَا يَغُرَّنَّكُم بِاللَّهِ الْغَرُورُ (5) Abange mmwe abantu mazima endagaano ya Katonda ya mazima, obulamu bwensi tebubagayaazanga era ebigayaaza byonna tebibajjanga ku Katonda |
إِنَّ الشَّيْطَانَ لَكُمْ عَدُوٌّ فَاتَّخِذُوهُ عَدُوًّا ۚ إِنَّمَا يَدْعُو حِزْبَهُ لِيَكُونُوا مِنْ أَصْحَابِ السَّعِيرِ (6) Mazima Sitane mulabe wa mmwe kale (na mmwe) mumufuule mulabe. Anti mazima akoowoola ekibiinakye balyoke babeere mu bantu bo mu muliro Sa-iri |
الَّذِينَ كَفَرُوا لَهُمْ عَذَابٌ شَدِيدٌ ۖ وَالَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُم مَّغْفِرَةٌ وَأَجْرٌ كَبِيرٌ (7) Abo abaakaafuwala balina ebibonerezo ebikakali ate abo abakkiriza nebakola emirimu emirungi balina ekisonyiwo n'empeera ensuffu |
أَفَمَن زُيِّنَ لَهُ سُوءُ عَمَلِهِ فَرَآهُ حَسَنًا ۖ فَإِنَّ اللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَاءُ وَيَهْدِي مَن يَشَاءُ ۖ فَلَا تَذْهَبْ نَفْسُكَ عَلَيْهِمْ حَسَرَاتٍ ۚ إِنَّ اللَّهَ عَلِيمٌ بِمَا يَصْنَعُونَ (8) Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola |
وَاللَّهُ الَّذِي أَرْسَلَ الرِّيَاحَ فَتُثِيرُ سَحَابًا فَسُقْنَاهُ إِلَىٰ بَلَدٍ مَّيِّتٍ فَأَحْيَيْنَا بِهِ الْأَرْضَ بَعْدَ مَوْتِهَا ۚ كَذَٰلِكَ النُّشُورُ (9) Katonda yooyo asindika empewo nezitambuza ebire (eby'enkuba, enkuba eyo) netunywekereza nayo ensi enfu (enkalu) olwo nno netuzza nayo mu bulamu ettaka eriba lifudde nabwekityo okuzuukira (bwe kuliba) |
مَن كَانَ يُرِيدُ الْعِزَّةَ فَلِلَّهِ الْعِزَّةُ جَمِيعًا ۚ إِلَيْهِ يَصْعَدُ الْكَلِمُ الطَّيِّبُ وَالْعَمَلُ الصَّالِحُ يَرْفَعُهُ ۚ وَالَّذِينَ يَمْكُرُونَ السَّيِّئَاتِ لَهُمْ عَذَابٌ شَدِيدٌ ۖ وَمَكْرُ أُولَٰئِكَ هُوَ يَبُورُ (10) Oyo yenna ayagala ekitiibwa, ebitiibwa byonna biri wa Katonda. Gyali ebigambo ebirungi gye byambuka n’emirimu emirongoofu agisitula ate abo abakola enkwe okukola ebibi balina ebibonerezo ebikakali era enkwe zaabo zeezigwa obutaka |
وَاللَّهُ خَلَقَكُم مِّن تُرَابٍ ثُمَّ مِن نُّطْفَةٍ ثُمَّ جَعَلَكُمْ أَزْوَاجًا ۚ وَمَا تَحْمِلُ مِنْ أُنثَىٰ وَلَا تَضَعُ إِلَّا بِعِلْمِهِ ۚ وَمَا يُعَمَّرُ مِن مُّعَمَّرٍ وَلَا يُنقَصُ مِنْ عُمُرِهِ إِلَّا فِي كِتَابٍ ۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى اللَّهِ يَسِيرٌ (11) Era Katonda yabakola (mmwe) nga abajja mu ttaka oluvanyuma abajja mu mazzi agazaala oluvanyuma yabatonda nga muli bibiri bibiri (ekisajja n’ekikazi). Tewali kikazi kifuna lubuto wadde ekizaala okugyako nga amanyi, tewali kiwangaazibwa mu biwangaazibwa era tewali kikendezebwa ku buwangaazi bwakyo okugyako nga kiri mu kitabo (nga Katonda yakisalawo dda) mazima ekyo kyangu nnyo ku Katonda |
وَمَا يَسْتَوِي الْبَحْرَانِ هَٰذَا عَذْبٌ فُرَاتٌ سَائِغٌ شَرَابُهُ وَهَٰذَا مِلْحٌ أُجَاجٌ ۖ وَمِن كُلٍّ تَأْكُلُونَ لَحْمًا طَرِيًّا وَتَسْتَخْرِجُونَ حِلْيَةً تَلْبَسُونَهَا ۖ وَتَرَى الْفُلْكَ فِيهِ مَوَاخِرَ لِتَبْتَغُوا مِن فَضْلِهِ وَلَعَلَّكُمْ تَشْكُرُونَ (12) Amazzi ag'ennyanja ebbiri tegayinza kufaanagana, nga (emu) amazzi gaayo malungi mawoomu ganyweka, nga ate endala ya mazzi ag’omunnyu lukalabule, ate nga mulya mu buli emu ku zo ebyenyanja ebibisi era mujjamu eby'okwewunda bye mwambala era olaba amaato mu zo nga gakola amakubo olwo nno musobole okunoonya mu bigabwabye olwo nno mubeere abeebaza |
يُولِجُ اللَّيْلَ فِي النَّهَارِ وَيُولِجُ النَّهَارَ فِي اللَّيْلِ وَسَخَّرَ الشَّمْسَ وَالْقَمَرَ كُلٌّ يَجْرِي لِأَجَلٍ مُّسَمًّى ۚ ذَٰلِكُمُ اللَّهُ رَبُّكُمْ لَهُ الْمُلْكُ ۚ وَالَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِهِ مَا يَمْلِكُونَ مِن قِطْمِيرٍ (13) Ayingiza ekiro mu musana era naayingiza omusana mu kiro era yagonza enjuba n'omwezi nga buli kimu kya kutambula okumala ebbanga eggere oyo nno ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe nannyini buyinza bwonna ate abo bemusaba abatali yye tebalina buyinza wadde obwenkana akakuta k'empeke |
إِن تَدْعُوهُمْ لَا يَسْمَعُوا دُعَاءَكُمْ وَلَوْ سَمِعُوا مَا اسْتَجَابُوا لَكُمْ ۖ وَيَوْمَ الْقِيَامَةِ يَكْفُرُونَ بِشِرْكِكُمْ ۚ وَلَا يُنَبِّئُكَ مِثْلُ خَبِيرٍ (14) Bwe mubasaba tebawulira kusaba kwa mmwe ate (katugambe) nti bawulidde tebasobola kubaanukula era nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kwegaana engeri gye mubagatta ku Katonda, (ayagala ategeere) anti tewali ayinza kukutegeeza kufaanana nga oyo amanyi ekintu nemunda waakyo |
۞ يَا أَيُّهَا النَّاسُ أَنتُمُ الْفُقَرَاءُ إِلَى اللَّهِ ۖ وَاللَّهُ هُوَ الْغَنِيُّ الْحَمِيدُ (15) Abange mmwe abantu mmwe beetaavu eri Katonda ate yye Katonda y'atalina bwetaavu atenderezebwa ennyo |
إِن يَشَأْ يُذْهِبْكُمْ وَيَأْتِ بِخَلْقٍ جَدِيدٍ (16) (N'olwekyo) singa aba ayagadde asobola okubajjawo naaleeta ebitonde ebipya |
وَمَا ذَٰلِكَ عَلَى اللَّهِ بِعَزِيزٍ (17) Era ekyo ku Katonda si kinene |
وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٌ وِزْرَ أُخْرَىٰ ۚ وَإِن تَدْعُ مُثْقَلَةٌ إِلَىٰ حِمْلِهَا لَا يُحْمَلْ مِنْهُ شَيْءٌ وَلَوْ كَانَ ذَا قُرْبَىٰ ۗ إِنَّمَا تُنذِرُ الَّذِينَ يَخْشَوْنَ رَبَّهُم بِالْغَيْبِ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ ۚ وَمَن تَزَكَّىٰ فَإِنَّمَا يَتَزَكَّىٰ لِنَفْسِهِ ۚ وَإِلَى اللَّهِ الْمَصِيرُ (18) Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo |
وَمَا يَسْتَوِي الْأَعْمَىٰ وَالْبَصِيرُ (19) Era muzibe n'alaba tebenkana |
وَلَا الظُّلُمَاتُ وَلَا النُّورُ (20) Wadde ebizikiza n'ekitangaala |
وَلَا الظِّلُّ وَلَا الْحَرُورُ (21) Wadde ekisiikirize tekyenkana na ppereketya wa musana |
وَمَا يَسْتَوِي الْأَحْيَاءُ وَلَا الْأَمْوَاتُ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُسْمِعُ مَن يَشَاءُ ۖ وَمَا أَنتَ بِمُسْمِعٍ مَّن فِي الْقُبُورِ (22) Era abalamu n'abafu tebenkana, mazima Katonda awuliza oyo gwaba ayagadde era ggwe (Muhammad) tosobbola kuwuliza abo abali mu kabbuli |
إِنْ أَنتَ إِلَّا نَذِيرٌ (23) Ggwe toli okugyako okuba omutiisa |
إِنَّا أَرْسَلْنَاكَ بِالْحَقِّ بَشِيرًا وَنَذِيرًا ۚ وَإِن مِّنْ أُمَّةٍ إِلَّا خَلَا فِيهَا نَذِيرٌ (24) Mazima ffe twakutuma mu butuufu nga oli musanyusa (eri abakkiriza) era nga oli mutiisa (eri abatakkiriza) era tewali bantu bonna okugyako nga omutiisa yabatuukamu |
وَإِن يُكَذِّبُوكَ فَقَدْ كَذَّبَ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ جَاءَتْهُمْ رُسُلُهُم بِالْبَيِّنَاتِ وَبِالزُّبُرِ وَبِالْكِتَابِ الْمُنِيرِ (25) Naye bwe bakulimbisa mazima n'abo abaabakulembera baalimbisa ababaka baabwe baabajjira n’obunnyonnyofu n'ebiwandiiko n'ebitabo ebitangaaza |
ثُمَّ أَخَذْتُ الَّذِينَ كَفَرُوا ۖ فَكَيْفَ كَانَ نَكِيرِ (26) Oluvanyuma nnakwata abo abaakaafuwala kale okubonereza kwange kwali kutya |
أَلَمْ تَرَ أَنَّ اللَّهَ أَنزَلَ مِنَ السَّمَاءِ مَاءً فَأَخْرَجْنَا بِهِ ثَمَرَاتٍ مُّخْتَلِفًا أَلْوَانُهَا ۚ وَمِنَ الْجِبَالِ جُدَدٌ بِيضٌ وَحُمْرٌ مُّخْتَلِفٌ أَلْوَانُهَا وَغَرَابِيبُ سُودٌ (27) Abaffe tolaba nti Katonda assa amazzi okuva waggulu netumeza nago ebibala eby'amabala ag'enjawulo nga ne mu nsozi mulimu amakubo ameeru n'amamyufu nga amabala gaago maawukamu na'maddugavu ttibittibi |
وَمِنَ النَّاسِ وَالدَّوَابِّ وَالْأَنْعَامِ مُخْتَلِفٌ أَلْوَانُهُ كَذَٰلِكَ ۗ إِنَّمَا يَخْشَى اللَّهَ مِنْ عِبَادِهِ الْعُلَمَاءُ ۗ إِنَّ اللَّهَ عَزِيزٌ غَفُورٌ (28) Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo |
إِنَّ الَّذِينَ يَتْلُونَ كِتَابَ اللَّهِ وَأَقَامُوا الصَّلَاةَ وَأَنفَقُوا مِمَّا رَزَقْنَاهُمْ سِرًّا وَعَلَانِيَةً يَرْجُونَ تِجَارَةً لَّن تَبُورَ (29) Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba |
لِيُوَفِّيَهُمْ أُجُورَهُمْ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضْلِهِ ۚ إِنَّهُ غَفُورٌ شَكُورٌ (30) Ate alyoke abawe mu bujjuvu empeera zaabwe era abongeze mu birungibye anti mazima yye, musonyiyi nnyo omwebaza |
وَالَّذِي أَوْحَيْنَا إِلَيْكَ مِنَ الْكِتَابِ هُوَ الْحَقُّ مُصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيْهِ ۗ إِنَّ اللَّهَ بِعِبَادِهِ لَخَبِيرٌ بَصِيرٌ (31) N'obubaka obwo bwe twakutumira mu kitabo (Kur’ani) go ge mazima nga gakakasa ebyo ebyagakulembera. Mazima Katonda amanyidde ddala eby'omunda era mulabi nnyo |
ثُمَّ أَوْرَثْنَا الْكِتَابَ الَّذِينَ اصْطَفَيْنَا مِنْ عِبَادِنَا ۖ فَمِنْهُمْ ظَالِمٌ لِّنَفْسِهِ وَمِنْهُم مُّقْتَصِدٌ وَمِنْهُمْ سَابِقٌ بِالْخَيْرَاتِ بِإِذْنِ اللَّهِ ۚ ذَٰلِكَ هُوَ الْفَضْلُ الْكَبِيرُ (32) Oluvanyuma twasikiza ekitabo abo be twalondoba mu baddu baffe olwo nno nemuba mu bo eyeeyisa obubi yennyini nga bwe muli mu bo ow'omumakkati era nga mu bo mulimu assa essira mu kukola ebirungi (ebya Faradha ne Sunna) ku lw'obuyinza bwa Katonda obwo nno bwe bulungi obusuffu |
جَنَّاتُ عَدْنٍ يَدْخُلُونَهَا يُحَلَّوْنَ فِيهَا مِنْ أَسَاوِرَ مِن ذَهَبٍ وَلُؤْلُؤًا ۖ وَلِبَاسُهُمْ فِيهَا حَرِيرٌ (33) (Nga) z'ejjana ez'emirembe ze baliyingira. Balinaanikibwa nga bali mu zo ebikomo ebya zzaabu ne Luulu, era ebyambalo byabwe nga bali mu yo biriba bya Sirik |
وَقَالُوا الْحَمْدُ لِلَّهِ الَّذِي أَذْهَبَ عَنَّا الْحَزَنَ ۖ إِنَّ رَبَّنَا لَغَفُورٌ شَكُورٌ (34) Era ne bagamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atumazeeko ennaku, mazima Mukama omulabirizi waffe musonyiyi nnyo era yeebaza |
الَّذِي أَحَلَّنَا دَارَ الْمُقَامَةِ مِن فَضْلِهِ لَا يَمَسُّنَا فِيهَا نَصَبٌ وَلَا يَمَسُّنَا فِيهَا لُغُوبٌ (35) Oyo atutadde mu nyumba ey'olubeerera nga kugaba kwe ennaku ssi yaakututuukako nga tuli mu yo, era nga tuli mu yo bwe tutagenda kutuukwako kukoowa |
وَالَّذِينَ كَفَرُوا لَهُمْ نَارُ جَهَنَّمَ لَا يُقْضَىٰ عَلَيْهِمْ فَيَمُوتُوا وَلَا يُخَفَّفُ عَنْهُم مِّنْ عَذَابِهَا ۚ كَذَٰلِكَ نَجْزِي كُلَّ كَفُورٍ (36) Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima |
وَهُمْ يَصْطَرِخُونَ فِيهَا رَبَّنَا أَخْرِجْنَا نَعْمَلْ صَالِحًا غَيْرَ الَّذِي كُنَّا نَعْمَلُ ۚ أَوَلَمْ نُعَمِّرْكُم مَّا يَتَذَكَّرُ فِيهِ مَن تَذَكَّرَ وَجَاءَكُمُ النَّذِيرُ ۖ فَذُوقُوا فَمَا لِلظَّالِمِينَ مِن نَّصِيرٍ (37) Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna |
إِنَّ اللَّهَ عَالِمُ غَيْبِ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضِ ۚ إِنَّهُ عَلِيمٌ بِذَاتِ الصُّدُورِ (38) Mazima Katonda amanyi ebyekusifu byo mu ggulu omusanvu n'ensi mazima ddala yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba |
هُوَ الَّذِي جَعَلَكُمْ خَلَائِفَ فِي الْأَرْضِ ۚ فَمَن كَفَرَ فَعَلَيْهِ كُفْرُهُ ۖ وَلَا يَزِيدُ الْكَافِرِينَ كُفْرُهُمْ عِندَ رَبِّهِمْ إِلَّا مَقْتًا ۖ وَلَا يَزِيدُ الْكَافِرِينَ كُفْرُهُمْ إِلَّا خَسَارًا (39) Ye yooyo eyabafuula (mmwe) abadda mu bigere bya bannaabwe mu nsi, oyo akaafuwala obukaafiiri bwe bukosa yye, era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera ewa Mukama omulabirizi waabwe okugyako okukyayibwa era abakaafiiri obukaafiiri bwabwe tebubongera okugyako okufaafaaganirwa |
قُلْ أَرَأَيْتُمْ شُرَكَاءَكُمُ الَّذِينَ تَدْعُونَ مِن دُونِ اللَّهِ أَرُونِي مَاذَا خَلَقُوا مِنَ الْأَرْضِ أَمْ لَهُمْ شِرْكٌ فِي السَّمَاوَاتِ أَمْ آتَيْنَاهُمْ كِتَابًا فَهُمْ عَلَىٰ بَيِّنَتٍ مِّنْهُ ۚ بَلْ إِن يَعِدُ الظَّالِمُونَ بَعْضُهُم بَعْضًا إِلَّا غُرُورًا (40) Bagambe nti mulaba abo bemungattako abo bemusaba nemuleka Katonda (kale) mundage kiki kye batonda ku nsi, oba abaffe balina omugabo mu (kukolebwa) kw'eggulu omusanvu oba (si ekyo) nga twabawa ekitabo olwo nno nebaba nga balina obujulizi okuva mu kyo (obubalagira okukola shiriki oyo) nedda abeeyisa obubi abamu mu bo tebalagaanyisa bannaabwe okugyako ebigayaaza |
۞ إِنَّ اللَّهَ يُمْسِكُ السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ أَن تَزُولَا ۚ وَلَئِن زَالَتَا إِنْ أَمْسَكَهُمَا مِنْ أَحَدٍ مِّن بَعْدِهِ ۚ إِنَّهُ كَانَ حَلِيمًا غَفُورًا (41) Mazima Katonda awanirira eggulu omusanvu n'ensi bibe nga tebivaawo era singa bivaawo teyandibiwaniridde omulala yenna oluvanyuma lwe anti mazima yye wa kisa musonyiyi nnyo |
وَأَقْسَمُوا بِاللَّهِ جَهْدَ أَيْمَانِهِمْ لَئِن جَاءَهُمْ نَذِيرٌ لَّيَكُونُنَّ أَهْدَىٰ مِنْ إِحْدَى الْأُمَمِ ۖ فَلَمَّا جَاءَهُمْ نَذِيرٌ مَّا زَادَهُمْ إِلَّا نُفُورًا (42) (Abakaafiiri be Makkah) baalayira Katonda mu kukakasa ebirayiro byabwe (ne bagamba nti) singa omutiisa alibajjira bagenda kubeerera ddala abasinga obulungamu okusinga (abantu bonna abaali babaddewo), awo nno omutiisa (Muhammad) bwe yabajjira tekyabongera okugyako okwesamba (omubaka) |
اسْتِكْبَارًا فِي الْأَرْضِ وَمَكْرَ السَّيِّئِ ۚ وَلَا يَحِيقُ الْمَكْرُ السَّيِّئُ إِلَّا بِأَهْلِهِ ۚ فَهَلْ يَنظُرُونَ إِلَّا سُنَّتَ الْأَوَّلِينَ ۚ فَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ اللَّهِ تَبْدِيلًا ۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ اللَّهِ تَحْوِيلًا (43) (Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa |
أَوَلَمْ يَسِيرُوا فِي الْأَرْضِ فَيَنظُرُوا كَيْفَ كَانَ عَاقِبَةُ الَّذِينَ مِن قَبْلِهِمْ وَكَانُوا أَشَدَّ مِنْهُمْ قُوَّةً ۚ وَمَا كَانَ اللَّهُ لِيُعْجِزَهُ مِن شَيْءٍ فِي السَّمَاوَاتِ وَلَا فِي الْأَرْضِ ۚ إِنَّهُ كَانَ عَلِيمًا قَدِيرًا (44) Abaffe tebatambula mu nsi olwo nno nebalaba enkomerero yaabo abaabakulembera nga bwe yali ate nga baali ba maanyi okubasinga, kikafuuwe ekintu kyonna mu ggulu omusanvu ne mu nsi okulemesa Katonda anti mazima yye bulijjo mumanyi nnyo muyinza |
وَلَوْ يُؤَاخِذُ اللَّهُ النَّاسَ بِمَا كَسَبُوا مَا تَرَكَ عَلَىٰ ظَهْرِهَا مِن دَابَّةٍ وَلَٰكِن يُؤَخِّرُهُمْ إِلَىٰ أَجَلٍ مُّسَمًّى ۖ فَإِذَا جَاءَ أَجَلُهُمْ فَإِنَّ اللَّهَ كَانَ بِعِبَادِهِ بَصِيرًا (45) Singa Katonda yali avunaana abantu olw'ebyo bye baba bakoze teyaalirese ku ngulu kwayo (ensi) kitambula kyonna naye abalindiriza okutuusa ekiseera ekigere olwo nno entuuko za bwe bwe zituuka (buli muntu nazzibwa eri ekifo ekimusaanira) anti Katonda bulijjo alabira ddala ebikwata ku baddube |