وَالطُّورِ (1) Ndayidde olusozi (Sinaa) |
وَكِتَابٍ مَّسْطُورٍ (2) Ndayidde ekitabo ekiwandiike |
فِي رَقٍّ مَّنشُورٍ (3) Mu mpapula ennyanjuluze |
وَالْبَيْتِ الْمَعْمُورِ (4) Era ndayidde e nyumba etaggwako basinza (ba Malayika bagyetoloola olubeerera) |
وَالسَّقْفِ الْمَرْفُوعِ (5) Era ndayidde akasolya (k'eggulu) akasitufu |
وَالْبَحْرِ الْمَسْجُورِ (6) Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi |
إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ لَوَاقِعٌ (7) Ddala ebibonerezo bya Mukama omulabirizi wo bya kutuukirira |
مَّا لَهُ مِن دَافِعٍ (8) Tewali kigenda kubiremesa |
يَوْمَ تَمُورُ السَّمَاءُ مَوْرًا (9) Ku lunaku eggulu lwe liri yuguuma oluyuguuma |
وَتَسِيرُ الْجِبَالُ سَيْرًا (10) Ensozi nezitambula butambuzi |
فَوَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (11) N’olwekyo okubonabona ku lunaku olwo kuliba ku balimbisa |
الَّذِينَ هُمْ فِي خَوْضٍ يَلْعَبُونَ (12) Abo bo ababeera mu byolusaago nga bazannya |
يَوْمَ يُدَعُّونَ إِلَىٰ نَارِ جَهَنَّمَ دَعًّا (13) Ku lunaku lwe bali sindikirizibwa olusindikirizibwa, okuyingira omuliro Jahannama |
هَٰذِهِ النَّارُ الَّتِي كُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ (14) Baligambibwa nti guno gwe muliro ogwo gwe mwali mulimbisa |
أَفَسِحْرٌ هَٰذَا أَمْ أَنتُمْ لَا تُبْصِرُونَ (15) Abaffe lino ddogo oba mmwe temulaba |
اصْلَوْهَا فَاصْبِرُوا أَوْ لَا تَصْبِرُوا سَوَاءٌ عَلَيْكُمْ ۖ إِنَّمَا تُجْزَوْنَ مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (16) Mugwesogge, wabula ka mugumikirize oba temugumikiriza byonna kyekimu gye muli mazima ddala musasulwa ebyo bye mwali mukola |
إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي جَنَّاتٍ وَنَعِيمٍ (17) Mazima abatya Katonda baliba mu jjana n'ebyengera |
فَاكِهِينَ بِمَا آتَاهُمْ رَبُّهُمْ وَوَقَاهُمْ رَبُّهُمْ عَذَابَ الْجَحِيمِ (18) Nga beyagala olwebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa, era Mukama omulabirizi waabwe nabawonya ebibonerezo ebyomuliro Jahiimu |
كُلُوا وَاشْرَبُوا هَنِيئًا بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (19) (Abeeyisa obulungi baligambibwa nti) mulye era munywe, nga muyozayozebwa olwebyo bye mwakola |
مُتَّكِئِينَ عَلَىٰ سُرُرٍ مَّصْفُوفَةٍ ۖ وَزَوَّجْنَاهُم بِحُورٍ عِينٍ (20) Baliba besigamye ku bitanda nga bisimbiddwa ennyiriri era tugenda ku bagatta na bakyala abo mu jjana |
وَالَّذِينَ آمَنُوا وَاتَّبَعَتْهُمْ ذُرِّيَّتُهُم بِإِيمَانٍ أَلْحَقْنَا بِهِمْ ذُرِّيَّتَهُمْ وَمَا أَلَتْنَاهُم مِّنْ عَمَلِهِم مِّن شَيْءٍ ۚ كُلُّ امْرِئٍ بِمَا كَسَبَ رَهِينٌ (21) Abo abakkiriza, era ezzadde lyabwe neribagoberera mu bukkiriza, twakkiriza ezzadde lyabwe okubagoberera (baleme kufuna kiwubaalo obutaba nabo) era tetulikendeeza ku mirimu gyabwe kintu kyonna, era nga buli muntu (yye) gwe musingo gwebyo bye yakola |
وَأَمْدَدْنَاهُم بِفَاكِهَةٍ وَلَحْمٍ مِّمَّا يَشْتَهُونَ (22) Era (nga ogyeko ebyogeddwa waggulu) tulibongeza ebibala n'ennyama ebyo bye baliyagala |
يَتَنَازَعُونَ فِيهَا كَأْسًا لَّا لَغْوٌ فِيهَا وَلَا تَأْثِيمٌ (23) (Nga bali mu jjana) baliyayaanira amagiraasi ge byo kunywa, naye nga ssi kujikubiramu lwogoolo wadde ebigambo ebikyafu |
۞ وَيَطُوفُ عَلَيْهِمْ غِلْمَانٌ لَّهُمْ كَأَنَّهُمْ لُؤْلُؤٌ مَّكْنُونٌ (24) Era abalenzi abaliba balabika nga l'ulu akuumwa ennyo baliba babetoololamu nga babaweereza |
وَأَقْبَلَ بَعْضُهُمْ عَلَىٰ بَعْضٍ يَتَسَاءَلُونَ (25) Era (abaliba mu jjana) abamu balyolekera bannabwe nga bewunaganya |
قَالُوا إِنَّا كُنَّا قَبْلُ فِي أَهْلِنَا مُشْفِقِينَ (26) Nga bagamba nti mazima ffe mukusooka twabanga mu bantu baffe nga tutya (ebibonerezo bya Katonda) |
فَمَنَّ اللَّهُ عَلَيْنَا وَوَقَانَا عَذَابَ السَّمُومِ (27) Katonda natugonnomolako ekyengera, naatuwonya ebibonerezo byo muliro samuumu |
إِنَّا كُنَّا مِن قَبْلُ نَدْعُوهُ ۖ إِنَّهُ هُوَ الْبَرُّ الرَّحِيمُ (28) (Anti) mazima ffe okusooka twamusabanga (twamusinzanga), mazima yye yaayisa obulungi, omusaasizi ennyo |
فَذَكِّرْ فَمَا أَنتَ بِنِعْمَتِ رَبِّكَ بِكَاهِنٍ وَلَا مَجْنُونٍ (29) Kale nno buulirira (ggwe Muhammad) anti ggwe olwe kyengera kya Mukama omulabirizi wo, toli mulaguzi wadde mulalu (nga abamu bwe babijweteka) |
أَمْ يَقُولُونَ شَاعِرٌ نَّتَرَبَّصُ بِهِ رَيْبَ الْمَنُونِ (30) Oba bagamba nti (Muhammad) mutontomi gwetulekedde okukwata kwa walumbe |
قُلْ تَرَبَّصُوا فَإِنِّي مَعَكُم مِّنَ الْمُتَرَبِّصِينَ (31) Bagambe nti mulindirire, anti mazima nze ndi wamu na mmwe mu balindirira |
أَمْ تَأْمُرُهُمْ أَحْلَامُهُم بِهَٰذَا ۚ أَمْ هُمْ قَوْمٌ طَاغُونَ (32) Abaffe amagezi gaabwe ge gabalagira kino oba bo bantu abaabula |
أَمْ يَقُولُونَ تَقَوَّلَهُ ۚ بَل لَّا يُؤْمِنُونَ (33) Oba bagamba nti (Muhammad) yajegunjirawo (Kur’ani ssi bwekiri) wabula tebakkiriza |
فَلْيَأْتُوا بِحَدِيثٍ مِّثْلِهِ إِن كَانُوا صَادِقِينَ (34) (Bwekiba nga yajigunjaawo) kale baleete ebigambo ebigifaanana bwebaba nga boogera mazima |
أَمْ خُلِقُوا مِنْ غَيْرِ شَيْءٍ أَمْ هُمُ الْخَالِقُونَ (35) Oba batondwa awatali kintu (nti tewali Katonda yabatonda!) oba bo be batonda (ebitonde byonna nga nabo mwebali) |
أَمْ خَلَقُوا السَّمَاوَاتِ وَالْأَرْضَ ۚ بَل لَّا يُوقِنُونَ (36) Oba be baatonda eggulu omusanvu ne nsi, nedda wabula bo tebakkiriza |
أَمْ عِندَهُمْ خَزَائِنُ رَبِّكَ أَمْ هُمُ الْمُصَيْطِرُونَ (37) Oba be balina amawanika ga Mukama omulabirizi wo, oba bo be balina obuyinza (ku buli kintu) |
أَمْ لَهُمْ سُلَّمٌ يَسْتَمِعُونَ فِيهِ ۖ فَلْيَأْتِ مُسْتَمِعُهُم بِسُلْطَانٍ مُّبِينٍ (38) Oba balina amadaala nga gebakozesa okuwuliriza ebifa waggulu (bwekiba bwekityo) kale abawuliriza baabwe baleete obujulizi obweyolefu |
أَمْ لَهُ الْبَنَاتُ وَلَكُمُ الْبَنُونَ (39) Oba (Katonda) alina abaana ba buwala ate nga mmwe mulina abo bulenzi |
أَمْ تَسْأَلُهُمْ أَجْرًا فَهُم مِّن مَّغْرَمٍ مُّثْقَلُونَ (40) Oba obasaba musaala olwo nno bo nebaba nga bakaluubirirwa kusasula |
أَمْ عِندَهُمُ الْغَيْبُ فَهُمْ يَكْتُبُونَ (41) Oba balina okumanya ebyekusifu ne baba nga bo bawandiika (ebyekusifu bye bamanyi nebaba nga tebetaaga ggwe kubategeeza) |
أَمْ يُرِيدُونَ كَيْدًا ۖ فَالَّذِينَ كَفَرُوا هُمُ الْمَكِيدُونَ (42) Oba baagala kukola nkwe (bakulemese) wabula abo abakaafuwala be bakosebwa enkwe (ezo) |
أَمْ لَهُمْ إِلَٰهٌ غَيْرُ اللَّهِ ۚ سُبْحَانَ اللَّهِ عَمَّا يُشْرِكُونَ (43) Oba balina ekisinzibwa ekitali Katonda (nga kye kibayinula), Katonda musukkulumu kwebyo bye bamugattako |
وَإِن يَرَوْا كِسْفًا مِّنَ السَّمَاءِ سَاقِطًا يَقُولُوا سَحَابٌ مَّرْكُومٌ (44) Olw'obutakkiriza bwabwe ne bwe balaba ekibajjo nga kigwa okuva waggulu (kibazikirize) bandigambye nti bire ebyetuumye |
فَذَرْهُمْ حَتَّىٰ يُلَاقُوا يَوْمَهُمُ الَّذِي فِيهِ يُصْعَقُونَ (45) Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa |
يَوْمَ لَا يُغْنِي عَنْهُمْ كَيْدُهُمْ شَيْئًا وَلَا هُمْ يُنصَرُونَ (46) Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa |
وَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُوا عَذَابًا دُونَ ذَٰلِكَ وَلَٰكِنَّ أَكْثَرَهُمْ لَا يَعْلَمُونَ (47) Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi |
وَاصْبِرْ لِحُكْمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعْيُنِنَا ۖ وَسَبِّحْ بِحَمْدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ (48) Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala) |
وَمِنَ اللَّيْلِ فَسَبِّحْهُ وَإِدْبَارَ النُّجُومِ (49) Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira |