يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَتَّخِذُوا عَدُوِّي وَعَدُوَّكُمْ أَوْلِيَاءَ تُلْقُونَ إِلَيْهِم بِالْمَوَدَّةِ وَقَدْ كَفَرُوا بِمَا جَاءَكُم مِّنَ الْحَقِّ يُخْرِجُونَ الرَّسُولَ وَإِيَّاكُمْ ۙ أَن تُؤْمِنُوا بِاللَّهِ رَبِّكُمْ إِن كُنتُمْ خَرَجْتُمْ جِهَادًا فِي سَبِيلِي وَابْتِغَاءَ مَرْضَاتِي ۚ تُسِرُّونَ إِلَيْهِم بِالْمَوَدَّةِ وَأَنَا أَعْلَمُ بِمَا أَخْفَيْتُمْ وَمَا أَعْلَنتُمْ ۚ وَمَن يَفْعَلْهُ مِنكُمْ فَقَدْ ضَلَّ سَوَاءَ السَّبِيلِ (1) Abange mmwe abakkiriza temufuulanga abalabe bange era abalabe ba mmwe mikwano gyammwe egy'omunda, so nga baawakanya amazima agaabajjira okuva ewa Katonda ne bagobaganya omubaka awamu nammwe (okuva mu Makkah), olwokuba nti mukkiriza Katonda omulezi wa mmwe. Bwe muba mufulumye olw'okulwana mu kkubo lyange era nga munoonya okusiima kwange, (temukukutanga ne mubabuulira ebyama byammwe) nga mukolagana nabo mu ngeri y'ekyama ate nga nange manyi ebyo bye mukisa ne byemwolesa. Oyo yenna akikola mu mmwe aba avudde ku kkubo ettuufu |
إِن يَثْقَفُوكُمْ يَكُونُوا لَكُمْ أَعْدَاءً وَيَبْسُطُوا إِلَيْكُمْ أَيْدِيَهُمْ وَأَلْسِنَتَهُم بِالسُّوءِ وَوَدُّوا لَوْ تَكْفُرُونَ (2) Bwe babagwikiriza awantu wonna boolesa obulabe gye muli ne babagalulira emikono gyabwe (mu kubalwanyisa), era ne baboolekeza ennimi zaabwe (mu kubavuma) mu ngeri embi. Era nga beegomba nti singa mukaafuwadde |
لَن تَنفَعَكُمْ أَرْحَامُكُمْ وَلَا أَوْلَادُكُمْ ۚ يَوْمَ الْقِيَامَةِ يَفْصِلُ بَيْنَكُمْ ۚ وَاللَّهُ بِمَا تَعْمَلُونَ بَصِيرٌ (3) Enganda zammwe wadde abaana ba mmwe tebagenda kubagasa ku lunaku lw'enkomerero. Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe, anti Katonda alabira ddala ebyo bye mukola |
قَدْ كَانَتْ لَكُمْ أُسْوَةٌ حَسَنَةٌ فِي إِبْرَاهِيمَ وَالَّذِينَ مَعَهُ إِذْ قَالُوا لِقَوْمِهِمْ إِنَّا بُرَآءُ مِنكُمْ وَمِمَّا تَعْبُدُونَ مِن دُونِ اللَّهِ كَفَرْنَا بِكُمْ وَبَدَا بَيْنَنَا وَبَيْنَكُمُ الْعَدَاوَةُ وَالْبَغْضَاءُ أَبَدًا حَتَّىٰ تُؤْمِنُوا بِاللَّهِ وَحْدَهُ إِلَّا قَوْلَ إِبْرَاهِيمَ لِأَبِيهِ لَأَسْتَغْفِرَنَّ لَكَ وَمَا أَمْلِكُ لَكَ مِنَ اللَّهِ مِن شَيْءٍ ۖ رَّبَّنَا عَلَيْكَ تَوَكَّلْنَا وَإِلَيْكَ أَنَبْنَا وَإِلَيْكَ الْمَصِيرُ (4) Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ekya Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye, mu kiseera we baagambira bannaabwe nti mazima ffe tubesammudde n'ebyo bye musinza ebitali Katonda (ali omu). Tubawakanyizza era waliwo wakati waffe nammwe obulabe n'obukyayi obw'olubeerera, mpozzi nga mukkirizza Katonda ali omu. Okugyako ekigambo kya Ibrahim kye yagamba kitaawe oluberyeberye nti nja kwegayirira ddala Katonda akusonyiwe, era sirina kintu kyonna kyenyinza kukugasa ewa Katonda. Ayi Katonda waffe ggwe wekka gwetwesiga. Era tukwenenyerezza. Era gyoli gyetujja okudda |
رَبَّنَا لَا تَجْعَلْنَا فِتْنَةً لِّلَّذِينَ كَفَرُوا وَاغْفِرْ لَنَا رَبَّنَا ۖ إِنَّكَ أَنتَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (5) Ayi Mukama Katonda waffe totufuula kikemo eri abo abaagaana okukkiriza era tusonyiwe ayi mukama waffe, anti mazima ggwe nantakubwa ku mukono, assa buli kintu mussa lyakyo |
لَقَدْ كَانَ لَكُمْ فِيهِمْ أُسْوَةٌ حَسَنَةٌ لِّمَن كَانَ يَرْجُو اللَّهَ وَالْيَوْمَ الْآخِرَ ۚ وَمَن يَتَوَلَّ فَإِنَّ اللَّهَ هُوَ الْغَنِيُّ الْحَمِيدُ (6) Mazima mulina ekyokulabirako ekirungi ku bo (Nabbi Ibrahim n'abakkiriza abaali naye) ekyo kiri eri buli asuubira okufuna e mpeera okuva ewa Katonda ku lunaku lw'enkomerero. Naye oyo yenna anaaba akyuse (naava ku kukkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero), mazima ddala Katonda yye talina kye yetaaga okuva eri bitondebye, atenderezebwa bulijjo |
۞ عَسَى اللَّهُ أَن يَجْعَلَ بَيْنَكُمْ وَبَيْنَ الَّذِينَ عَادَيْتُم مِّنْهُم مَّوَدَّةً ۚ وَاللَّهُ قَدِيرٌ ۚ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (7) Wabula Katonda asobola okussa wakati wa mmwe ne be muwalaggana nabo e nkolagana ennungi. Anti Katonda muyinza, era Katonda musonyiyi omusaasizi |
لَّا يَنْهَاكُمُ اللَّهُ عَنِ الَّذِينَ لَمْ يُقَاتِلُوكُمْ فِي الدِّينِ وَلَمْ يُخْرِجُوكُم مِّن دِيَارِكُمْ أَن تَبَرُّوهُمْ وَتُقْسِطُوا إِلَيْهِمْ ۚ إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الْمُقْسِطِينَ (8) Katonda tabagaana ku kolagana naabo ababa tebabalwanyisizza olw'eddiini, era abatabagobaganya mu nsi yammwe mutuuke okuba nga temubayisa bulungi n'okubakolera obwenkanya, anti mazima Katonda ayagala abenkanya |
إِنَّمَا يَنْهَاكُمُ اللَّهُ عَنِ الَّذِينَ قَاتَلُوكُمْ فِي الدِّينِ وَأَخْرَجُوكُم مِّن دِيَارِكُمْ وَظَاهَرُوا عَلَىٰ إِخْرَاجِكُمْ أَن تَوَلَّوْهُمْ ۚ وَمَن يَتَوَلَّهُمْ فَأُولَٰئِكَ هُمُ الظَّالِمُونَ (9) Mazima ddala Katonda abagaana okukolagana naabo abaabalwanyisa olw'eddiini, ne babagobaganya okuva mu nsi yammwe, ne bakola kinene nnyo mu kubagobaganya. Oyo yenna akolagana nabo, abo nno be balyazamanyi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا إِذَا جَاءَكُمُ الْمُؤْمِنَاتُ مُهَاجِرَاتٍ فَامْتَحِنُوهُنَّ ۖ اللَّهُ أَعْلَمُ بِإِيمَانِهِنَّ ۖ فَإِنْ عَلِمْتُمُوهُنَّ مُؤْمِنَاتٍ فَلَا تَرْجِعُوهُنَّ إِلَى الْكُفَّارِ ۖ لَا هُنَّ حِلٌّ لَّهُمْ وَلَا هُمْ يَحِلُّونَ لَهُنَّ ۖ وَآتُوهُم مَّا أَنفَقُوا ۚ وَلَا جُنَاحَ عَلَيْكُمْ أَن تَنكِحُوهُنَّ إِذَا آتَيْتُمُوهُنَّ أُجُورَهُنَّ ۚ وَلَا تُمْسِكُوا بِعِصَمِ الْكَوَافِرِ وَاسْأَلُوا مَا أَنفَقْتُمْ وَلْيَسْأَلُوا مَا أَنفَقُوا ۚ ذَٰلِكُمْ حُكْمُ اللَّهِ ۖ يَحْكُمُ بَيْنَكُمْ ۚ وَاللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ (10) Abange mmwe abakkiriza singa abakyala abakkiriza babajjira nga basenguse mubagezesenga. Yye Katonda obukkiriza bwabwe aba abumanyi, bwe mukakasa nti bakkiriza temubaddizanga abakafiiri, abakyala bano tebali Halali ku bakafiiri abo nga n'abakafiiri abo bwe batali halali ku bakyala abo, wabula bo abasajja (Abakafiiri) mubaddize bye baawaayo mu kubawasa, olwo nno tekiba kibi bwe mubawasa nga mubawadde amahare gaabwe. Temwesiba ku kuwoowa okwekikafiiri kwe mwakola nabo. Mubasabe babaddize byemwawaayo nga nabo bwe basobola okusaba bye bawaayo. Ebyo nno kwe kulamula kwa Katonda kwabalamuza. Anti Katonda mumanyi nnyo ateeka buli kintu mussa lyakyo |
وَإِن فَاتَكُمْ شَيْءٌ مِّنْ أَزْوَاجِكُمْ إِلَى الْكُفَّارِ فَعَاقَبْتُمْ فَآتُوا الَّذِينَ ذَهَبَتْ أَزْوَاجُهُم مِّثْلَ مَا أَنفَقُوا ۚ وَاتَّقُوا اللَّهَ الَّذِي أَنتُم بِهِ مُؤْمِنُونَ (11) Singa omukyala w'omu ku mmwe ava mu busiramu nadda mu bukafiiri kemulwanagana nabo ne mumala mufunayo eminyago muteekwa okusasula abo abaddukwako bakyala baabwe ekigero kyekyo kye bawaayo nga babawasa. Bulijjo muteekwa okuba nga mutya Katonda oyo gwemukkiriza |
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ إِذَا جَاءَكَ الْمُؤْمِنَاتُ يُبَايِعْنَكَ عَلَىٰ أَن لَّا يُشْرِكْنَ بِاللَّهِ شَيْئًا وَلَا يَسْرِقْنَ وَلَا يَزْنِينَ وَلَا يَقْتُلْنَ أَوْلَادَهُنَّ وَلَا يَأْتِينَ بِبُهْتَانٍ يَفْتَرِينَهُ بَيْنَ أَيْدِيهِنَّ وَأَرْجُلِهِنَّ وَلَا يَعْصِينَكَ فِي مَعْرُوفٍ ۙ فَبَايِعْهُنَّ وَاسْتَغْفِرْ لَهُنَّ اللَّهَ ۖ إِنَّ اللَّهَ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (12) Owange ggwe Nabbi abakkiriza abakyala bwebajja gyoli nga bakuba ekirayiro mu maasogo, nti tebagenda kugatta ku Katonda kintu kyonna, era nga tebagenda kubba, wadde okwenda oba okutta abaana baabwe, era nti tebagenda kuwaayiriza nga bajingirira wakati w'emikono gyabwe n'amagulu gaabwe, nga era bwe batagenda kukujeemera mu kukola ekirungi kyonna, naawe nno bawe obukakafu era wegayirire Katonda abasonyiwe, anti mazima ddala Katonda musonyiyi nnyo omusaasizi |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لَا تَتَوَلَّوْا قَوْمًا غَضِبَ اللَّهُ عَلَيْهِمْ قَدْ يَئِسُوا مِنَ الْآخِرَةِ كَمَا يَئِسَ الْكُفَّارُ مِنْ أَصْحَابِ الْقُبُورِ (13) Abange mmwe abakkiriza temukwanagana n'abantu Katonda beyasunguwalira. Anti bo tebalina ssuubi ku lunaku lw'enkomerero, nga abakafiiri bwebatalina ssuubi ku bikwata ku bantu abali emagombe |