×

Surah As-Saff in Ganda

Quran Ganda ⮕ Surah Saff

Translation of the Meanings of Surah Saff in Ganda - لوغندا

The Quran in Ganda - Surah Saff translated into Ganda, Surah As-Saff in Ganda. We provide accurate translation of Surah Saff in Ganda - لوغندا, Verses 14 - Surah Number 61 - Page 551.

بسم الله الرحمن الرحيم

سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۖ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (1)
Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda. Yye Katonda yemuwanguzi, assa buli kintu mu ssa lyakyo
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لِمَ تَقُولُونَ مَا لَا تَفْعَلُونَ (2)
Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera ebyo bye mutakola
كَبُرَ مَقْتًا عِندَ اللَّهِ أَن تَقُولُوا مَا لَا تَفْعَلُونَ (3)
Kisunguwalirwa nnyo ewa Katonda okwogera bye mutakola
إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الَّذِينَ يُقَاتِلُونَ فِي سَبِيلِهِ صَفًّا كَأَنَّهُم بُنْيَانٌ مَّرْصُوصٌ (4)
Mazima Katonda ayagala abo abalwana mu kkubolye, nga basimbye ennyiriri, ne baba nga ekizimbe, nga e bitundu byakyo bikwatagana bulungi
وَإِذْ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوْمِهِ يَا قَوْمِ لِمَ تُؤْذُونَنِي وَقَد تَّعْلَمُونَ أَنِّي رَسُولُ اللَّهِ إِلَيْكُمْ ۖ فَلَمَّا زَاغُوا أَزَاغَ اللَّهُ قُلُوبَهُمْ ۚ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْفَاسِقِينَ (5)
Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu
وَإِذْ قَالَ عِيسَى ابْنُ مَرْيَمَ يَا بَنِي إِسْرَائِيلَ إِنِّي رَسُولُ اللَّهِ إِلَيْكُم مُّصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيَّ مِنَ التَّوْرَاةِ وَمُبَشِّرًا بِرَسُولٍ يَأْتِي مِن بَعْدِي اسْمُهُ أَحْمَدُ ۖ فَلَمَّا جَاءَهُم بِالْبَيِّنَاتِ قَالُوا هَٰذَا سِحْرٌ مُّبِينٌ (6)
Era bajjukize e kyafaayo kya Isa mutabani wa Mariam bwe yagamba abaana ba Israel nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gye muli, nga nkakasa Taurat eyankulembera era nga mpa amawulire ag'essanyu ag'omubaka alijja oluvanyuma lwange, nga erinyalye ye Ahmad. Wabula omubaka (Muhammad) oyo bwe yabajjira n'obubonero obunnyonnyofu, ate bo ne bagamba nti lino ddogo eryeyolefu
وَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ وَهُوَ يُدْعَىٰ إِلَى الْإِسْلَامِ ۚ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (7)
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda ebyobulimba, so nga bulijjo ayitibwa okujja eri obusiramu. Katonda talungamya bantu abeeyisa obubi
يُرِيدُونَ لِيُطْفِئُوا نُورَ اللَّهِ بِأَفْوَاهِهِمْ وَاللَّهُ مُتِمُّ نُورِهِ وَلَوْ كَرِهَ الْكَافِرُونَ (8)
(Mu kukola ekyo) baagala kuzikiza kitangaala kya Katonda n'emimwa gyabwe. Sso nga Katonda waakujjuza e kitangaalakye newakubadde nga abakafiiri tebakyagala
هُوَ الَّذِي أَرْسَلَ رَسُولَهُ بِالْهُدَىٰ وَدِينِ الْحَقِّ لِيُظْهِرَهُ عَلَى الدِّينِ كُلِّهِ وَلَوْ كَرِهَ الْمُشْرِكُونَ (9)
Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا هَلْ أَدُلُّكُمْ عَلَىٰ تِجَارَةٍ تُنجِيكُم مِّنْ عَذَابٍ أَلِيمٍ (10)
Abange mmwe abakkiriza mwandyagadde mbalagirire ebyettunzi ebiribawonya e bibonerezo ebiruma
تُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ وَتُجَاهِدُونَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ بِأَمْوَالِكُمْ وَأَنفُسِكُمْ ۚ ذَٰلِكُمْ خَيْرٌ لَّكُمْ إِن كُنتُمْ تَعْلَمُونَ (11)
(Nabyo) muteekwa okukkiriza Katonda n'omubakawe, ne mulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, nga muwaayo emmaali yammwe, nga nammwe mwennyini mwenyigiramu. Ekyo nno kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi
يَغْفِرْ لَكُمْ ذُنُوبَكُمْ وَيُدْخِلْكُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ وَمَسَاكِنَ طَيِّبَةً فِي جَنَّاتِ عَدْنٍ ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (12)
(Anti bwe mukola ebyo) Katonda ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, abayingize e jjana ezikulukutiramu emigga era mugenda kufuna obutuulo obulungi mu jjana ez'olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusuffu
وَأُخْرَىٰ تُحِبُّونَهَا ۖ نَصْرٌ مِّنَ اللَّهِ وَفَتْحٌ قَرِيبٌ ۗ وَبَشِّرِ الْمُؤْمِنِينَ (13)
Era mufune n'ekirala nga nakyo mukyagala, nakyo kwe kutaasa kwa Katonda n'obuwanguzi obwamangu. Era sanyusa abakkiriza (nti byonna bagenda kubifuna)
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا كُونُوا أَنصَارَ اللَّهِ كَمَا قَالَ عِيسَى ابْنُ مَرْيَمَ لِلْحَوَارِيِّينَ مَنْ أَنصَارِي إِلَى اللَّهِ ۖ قَالَ الْحَوَارِيُّونَ نَحْنُ أَنصَارُ اللَّهِ ۖ فَآمَنَت طَّائِفَةٌ مِّن بَنِي إِسْرَائِيلَ وَكَفَرَت طَّائِفَةٌ ۖ فَأَيَّدْنَا الَّذِينَ آمَنُوا عَلَىٰ عَدُوِّهِمْ فَأَصْبَحُوا ظَاهِرِينَ (14)
Abange mmwe abakkiriza musituke mutaase e ddiini y'a Katonda. Kibe nga Issa mutabani wa Mariam bwe yagamba abagoberezibe abenjawulo nti, baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda. Abagoberezibe abenjawulo kwe kuddamu nti ffe twewaddeyo okutaasa e ddiini ya Katonda. Ekyavaako ogutundu ku baana ba Israel okukkiriza, n'ekitundu ekirala okukaafuwala. Naffe ne tutaasa abo abakkiriza ku mulabe waabwe, ne bukya enkya nga be bali waggulu
❮ Previous Next ❯

Surahs from Quran :

1- Fatiha2- Baqarah
3- Al Imran4- Nisa
5- Maidah6- Anam
7- Araf8- Anfal
9- Tawbah10- Yunus
11- Hud12- Yusuf
13- Raad14- Ibrahim
15- Hijr16- Nahl
17- Al Isra18- Kahf
19- Maryam20- TaHa
21- Anbiya22- Hajj
23- Muminun24- An Nur
25- Furqan26- Shuara
27- Naml28- Qasas
29- Ankabut30- Rum
31- Luqman32- Sajdah
33- Ahzab34- Saba
35- Fatir36- Yasin
37- Assaaffat38- Sad
39- Zumar40- Ghafir
41- Fussilat42- shura
43- Zukhruf44- Ad Dukhaan
45- Jathiyah46- Ahqaf
47- Muhammad48- Al Fath
49- Hujurat50- Qaf
51- zariyat52- Tur
53- Najm54- Al Qamar
55- Rahman56- Waqiah
57- Hadid58- Mujadilah
59- Al Hashr60- Mumtahina
61- Saff62- Jumuah
63- Munafiqun64- Taghabun
65- Talaq66- Tahrim
67- Mulk68- Qalam
69- Al-Haqqah70- Maarij
71- Nuh72- Jinn
73- Muzammil74- Muddathir
75- Qiyamah76- Insan
77- Mursalat78- An Naba
79- Naziat80- Abasa
81- Takwir82- Infitar
83- Mutaffifin84- Inshiqaq
85- Buruj86- Tariq
87- Al Ala88- Ghashiya
89- Fajr90- Al Balad
91- Shams92- Lail
93- Duha94- Sharh
95- Tin96- Al Alaq
97- Qadr98- Bayyinah
99- Zalzalah100- Adiyat
101- Qariah102- Takathur
103- Al Asr104- Humazah
105- Al Fil106- Quraysh
107- Maun108- Kawthar
109- Kafirun110- Nasr
111- Masad112- Ikhlas
113- Falaq114- An Nas