سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي السَّمَاوَاتِ وَمَا فِي الْأَرْضِ ۖ وَهُوَ الْعَزِيزُ الْحَكِيمُ (1) Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda. Yye Katonda yemuwanguzi, assa buli kintu mu ssa lyakyo |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا لِمَ تَقُولُونَ مَا لَا تَفْعَلُونَ (2) Abange mmwe abakkiriza lwaki mwogera ebyo bye mutakola |
كَبُرَ مَقْتًا عِندَ اللَّهِ أَن تَقُولُوا مَا لَا تَفْعَلُونَ (3) Kisunguwalirwa nnyo ewa Katonda okwogera bye mutakola |
إِنَّ اللَّهَ يُحِبُّ الَّذِينَ يُقَاتِلُونَ فِي سَبِيلِهِ صَفًّا كَأَنَّهُم بُنْيَانٌ مَّرْصُوصٌ (4) Mazima Katonda ayagala abo abalwana mu kkubolye, nga basimbye ennyiriri, ne baba nga ekizimbe, nga e bitundu byakyo bikwatagana bulungi |
وَإِذْ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوْمِهِ يَا قَوْمِ لِمَ تُؤْذُونَنِي وَقَد تَّعْلَمُونَ أَنِّي رَسُولُ اللَّهِ إِلَيْكُمْ ۖ فَلَمَّا زَاغُوا أَزَاغَ اللَّهُ قُلُوبَهُمْ ۚ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الْفَاسِقِينَ (5) Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu |
وَإِذْ قَالَ عِيسَى ابْنُ مَرْيَمَ يَا بَنِي إِسْرَائِيلَ إِنِّي رَسُولُ اللَّهِ إِلَيْكُم مُّصَدِّقًا لِّمَا بَيْنَ يَدَيَّ مِنَ التَّوْرَاةِ وَمُبَشِّرًا بِرَسُولٍ يَأْتِي مِن بَعْدِي اسْمُهُ أَحْمَدُ ۖ فَلَمَّا جَاءَهُم بِالْبَيِّنَاتِ قَالُوا هَٰذَا سِحْرٌ مُّبِينٌ (6) Era bajjukize e kyafaayo kya Isa mutabani wa Mariam bwe yagamba abaana ba Israel nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gye muli, nga nkakasa Taurat eyankulembera era nga mpa amawulire ag'essanyu ag'omubaka alijja oluvanyuma lwange, nga erinyalye ye Ahmad. Wabula omubaka (Muhammad) oyo bwe yabajjira n'obubonero obunnyonnyofu, ate bo ne bagamba nti lino ddogo eryeyolefu |
وَمَنْ أَظْلَمُ مِمَّنِ افْتَرَىٰ عَلَى اللَّهِ الْكَذِبَ وَهُوَ يُدْعَىٰ إِلَى الْإِسْلَامِ ۚ وَاللَّهُ لَا يَهْدِي الْقَوْمَ الظَّالِمِينَ (7) Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera Katonda ebyobulimba, so nga bulijjo ayitibwa okujja eri obusiramu. Katonda talungamya bantu abeeyisa obubi |
يُرِيدُونَ لِيُطْفِئُوا نُورَ اللَّهِ بِأَفْوَاهِهِمْ وَاللَّهُ مُتِمُّ نُورِهِ وَلَوْ كَرِهَ الْكَافِرُونَ (8) (Mu kukola ekyo) baagala kuzikiza kitangaala kya Katonda n'emimwa gyabwe. Sso nga Katonda waakujjuza e kitangaalakye newakubadde nga abakafiiri tebakyagala |
هُوَ الَّذِي أَرْسَلَ رَسُولَهُ بِالْهُدَىٰ وَدِينِ الْحَقِّ لِيُظْهِرَهُ عَلَى الدِّينِ كُلِّهِ وَلَوْ كَرِهَ الْمُشْرِكُونَ (9) Katonda yooyo eyatuma omubakawe ng'amuwadde obulungamu n'eddiini entuufu. Bulyoke bukye enkya nga yeddiini ewangudde newakubadde nga abagatta ku Katonda ebintu ebirala tebakyagala |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا هَلْ أَدُلُّكُمْ عَلَىٰ تِجَارَةٍ تُنجِيكُم مِّنْ عَذَابٍ أَلِيمٍ (10) Abange mmwe abakkiriza mwandyagadde mbalagirire ebyettunzi ebiribawonya e bibonerezo ebiruma |
تُؤْمِنُونَ بِاللَّهِ وَرَسُولِهِ وَتُجَاهِدُونَ فِي سَبِيلِ اللَّهِ بِأَمْوَالِكُمْ وَأَنفُسِكُمْ ۚ ذَٰلِكُمْ خَيْرٌ لَّكُمْ إِن كُنتُمْ تَعْلَمُونَ (11) (Nabyo) muteekwa okukkiriza Katonda n'omubakawe, ne mulafuubana mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, nga muwaayo emmaali yammwe, nga nammwe mwennyini mwenyigiramu. Ekyo nno kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi |
يَغْفِرْ لَكُمْ ذُنُوبَكُمْ وَيُدْخِلْكُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ وَمَسَاكِنَ طَيِّبَةً فِي جَنَّاتِ عَدْنٍ ۚ ذَٰلِكَ الْفَوْزُ الْعَظِيمُ (12) (Anti bwe mukola ebyo) Katonda ajja kubasonyiwa ebyonoono byammwe, abayingize e jjana ezikulukutiramu emigga era mugenda kufuna obutuulo obulungi mu jjana ez'olubeerera, okwo nno kwe kwesiima okusuffu |
وَأُخْرَىٰ تُحِبُّونَهَا ۖ نَصْرٌ مِّنَ اللَّهِ وَفَتْحٌ قَرِيبٌ ۗ وَبَشِّرِ الْمُؤْمِنِينَ (13) Era mufune n'ekirala nga nakyo mukyagala, nakyo kwe kutaasa kwa Katonda n'obuwanguzi obwamangu. Era sanyusa abakkiriza (nti byonna bagenda kubifuna) |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا كُونُوا أَنصَارَ اللَّهِ كَمَا قَالَ عِيسَى ابْنُ مَرْيَمَ لِلْحَوَارِيِّينَ مَنْ أَنصَارِي إِلَى اللَّهِ ۖ قَالَ الْحَوَارِيُّونَ نَحْنُ أَنصَارُ اللَّهِ ۖ فَآمَنَت طَّائِفَةٌ مِّن بَنِي إِسْرَائِيلَ وَكَفَرَت طَّائِفَةٌ ۖ فَأَيَّدْنَا الَّذِينَ آمَنُوا عَلَىٰ عَدُوِّهِمْ فَأَصْبَحُوا ظَاهِرِينَ (14) Abange mmwe abakkiriza musituke mutaase e ddiini y'a Katonda. Kibe nga Issa mutabani wa Mariam bwe yagamba abagoberezibe abenjawulo nti, baani abanannyamba ku mulimu gwa Katonda. Abagoberezibe abenjawulo kwe kuddamu nti ffe twewaddeyo okutaasa e ddiini ya Katonda. Ekyavaako ogutundu ku baana ba Israel okukkiriza, n'ekitundu ekirala okukaafuwala. Naffe ne tutaasa abo abakkiriza ku mulabe waabwe, ne bukya enkya nga be bali waggulu |