يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ لِمَ تُحَرِّمُ مَا أَحَلَّ اللَّهُ لَكَ ۖ تَبْتَغِي مَرْضَاتَ أَزْوَاجِكَ ۚ وَاللَّهُ غَفُورٌ رَّحِيمٌ (1) Owange ggwe Nabbi lwaki oziza ebyo Katonda bye yakukkiriza, nga onoonya okusiimisa bakyalabo. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira |
قَدْ فَرَضَ اللَّهُ لَكُمْ تَحِلَّةَ أَيْمَانِكُمْ ۚ وَاللَّهُ مَوْلَاكُمْ ۖ وَهُوَ الْعَلِيمُ الْحَكِيمُ (2) Katonda yabateerawo engeri gye muva mu birayiro byemuba mukoze, anti bulijjo aba nammwe, ate nga yye muyitirivu wa kumanya, buli kyakola akikola lwa nsonga |
وَإِذْ أَسَرَّ النَّبِيُّ إِلَىٰ بَعْضِ أَزْوَاجِهِ حَدِيثًا فَلَمَّا نَبَّأَتْ بِهِ وَأَظْهَرَهُ اللَّهُ عَلَيْهِ عَرَّفَ بَعْضَهُ وَأَعْرَضَ عَن بَعْضٍ ۖ فَلَمَّا نَبَّأَهَا بِهِ قَالَتْ مَنْ أَنبَأَكَ هَٰذَا ۖ قَالَ نَبَّأَنِيَ الْعَلِيمُ الْخَبِيرُ (3) Era jjukira Nabbi bwe yabuulira omu ku bakyalabe (Hafuswa) ekyama, omukyala oyo bwe yamala okwogera ekyama ekyo, ate Katonda n'akitegeeza Nabbi. Nabbi n'amubuulirako ebimu ebirala n'abireka. Nabbi olwa kibuulira omukyala oyo (omukyala n'amubuuza) nti ani yakikugambye (Nabbi n'amuddamu nti) eyakintegeezezza ye muyitirivu w'okumanya omukenkufu (Katonda) |
إِن تَتُوبَا إِلَى اللَّهِ فَقَدْ صَغَتْ قُلُوبُكُمَا ۖ وَإِن تَظَاهَرَا عَلَيْهِ فَإِنَّ اللَّهَ هُوَ مَوْلَاهُ وَجِبْرِيلُ وَصَالِحُ الْمُؤْمِنِينَ ۖ وَالْمَلَائِكَةُ بَعْدَ ذَٰلِكَ ظَهِيرٌ (4) Singa munaaba mwenenyezza mwembiriri (Hafuswa ne Aisha) ewa Katonda (kye kirungi gye muli), anti emitima gya mmwe gyawaganyadde. Naye bwe munamwekalakaasizaako, (mumanye nti) mazima Katonda ali ku luddalwe, ne Jiburilu, n'abakkiriza abalongoofu, ne ba Malayika bonna oluvanyuma lw'ekyo ba kumuyambako |
عَسَىٰ رَبُّهُ إِن طَلَّقَكُنَّ أَن يُبْدِلَهُ أَزْوَاجًا خَيْرًا مِّنكُنَّ مُسْلِمَاتٍ مُّؤْمِنَاتٍ قَانِتَاتٍ تَائِبَاتٍ عَابِدَاتٍ سَائِحَاتٍ ثَيِّبَاتٍ وَأَبْكَارًا (5) Singa anaba abatadde, Katonda omuleziwe, ajja kumuwaanyisizaamu abakyala abalala abasinga ku mmwe, nga basiramu nnyo, bakkirizza, nga bagonvu nnyo, nga beenenya era nga basinza nnyo Katonda, abatambulira mu kumutya, kababe nga baafumbirwako oba nga tebafumbirwangako |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا قُوا أَنفُسَكُمْ وَأَهْلِيكُمْ نَارًا وَقُودُهَا النَّاسُ وَالْحِجَارَةُ عَلَيْهَا مَلَائِكَةٌ غِلَاظٌ شِدَادٌ لَّا يَعْصُونَ اللَّهَ مَا أَمَرَهُمْ وَيَفْعَلُونَ مَا يُؤْمَرُونَ (6) Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Katonda mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ كَفَرُوا لَا تَعْتَذِرُوا الْيَوْمَ ۖ إِنَّمَا تُجْزَوْنَ مَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (7) (Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baligambibwa nti) Abange mmwe abakafiiri temwetonda olwaleero, mazima mugenda kusasulwa ebyo bye mwakola |
يَا أَيُّهَا الَّذِينَ آمَنُوا تُوبُوا إِلَى اللَّهِ تَوْبَةً نَّصُوحًا عَسَىٰ رَبُّكُمْ أَن يُكَفِّرَ عَنكُمْ سَيِّئَاتِكُمْ وَيُدْخِلَكُمْ جَنَّاتٍ تَجْرِي مِن تَحْتِهَا الْأَنْهَارُ يَوْمَ لَا يُخْزِي اللَّهُ النَّبِيَّ وَالَّذِينَ آمَنُوا مَعَهُ ۖ نُورُهُمْ يَسْعَىٰ بَيْنَ أَيْدِيهِمْ وَبِأَيْمَانِهِمْ يَقُولُونَ رَبَّنَا أَتْمِمْ لَنَا نُورَنَا وَاغْفِرْ لَنَا ۖ إِنَّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيْءٍ قَدِيرٌ (8) Abange mmwe abakkiriza mwenenyeze Katonda olwenenya olwa namaddala. Omulezi wa mmwe Katonda kikakafu ajja ku basangulako ebyonoono bya mmwe era abayingize e jjana ezikulukutirwamu e migga. Olunaku Katonda lwataliweebuula Nabbi na bakkiriza abali naye. E kitangaala kyabwe nga kibeetoolodde mu maaso ne ku ddyo waabwe, nga bagamba nti ayi omulezi waffe tulekerewo e kitangaala kyaffe era otusonyiwe (ebyonoono byaffe) anti mazima ggwe oli musobozi ku buli kintu |
يَا أَيُّهَا النَّبِيُّ جَاهِدِ الْكُفَّارَ وَالْمُنَافِقِينَ وَاغْلُظْ عَلَيْهِمْ ۚ وَمَأْوَاهُمْ جَهَنَّمُ ۖ وَبِئْسَ الْمَصِيرُ (9) Owange ggwe Nabbi funvubira mu kulwanyisa abakafiiri n'abannanfusi era obazitoowereze. Obuddo bwabwe muliro Jahannama, ate obuddo obwo bubi nnyo |
ضَرَبَ اللَّهُ مَثَلًا لِّلَّذِينَ كَفَرُوا امْرَأَتَ نُوحٍ وَامْرَأَتَ لُوطٍ ۖ كَانَتَا تَحْتَ عَبْدَيْنِ مِنْ عِبَادِنَا صَالِحَيْنِ فَخَانَتَاهُمَا فَلَمْ يُغْنِيَا عَنْهُمَا مِنَ اللَّهِ شَيْئًا وَقِيلَ ادْخُلَا النَّارَ مَعَ الدَّاخِلِينَ (10) Katonda yakubira abakafiiri ekifananyi kya muka Nuhu ne muka Luutu. Baali bakyala b'a baddu ababiri mu baddu baffe abalongoofu, naye nno ne babakumpanya (n'obutakkiriza Katonda). Nabbi Nuhu ne Luutu tebaalina kye baagasa bakyala baabwe ewa Katonda. Ne bagambwa (Abakyala bombi) nti muyingire omuliro awamu naabo abaguyingira |
وَضَرَبَ اللَّهُ مَثَلًا لِّلَّذِينَ آمَنُوا امْرَأَتَ فِرْعَوْنَ إِذْ قَالَتْ رَبِّ ابْنِ لِي عِندَكَ بَيْتًا فِي الْجَنَّةِ وَنَجِّنِي مِن فِرْعَوْنَ وَعَمَلِهِ وَنَجِّنِي مِنَ الْقَوْمِ الظَّالِمِينَ (11) Era Katonda yakubira abakkiriza e kifaananyi kya muka Firawo mu kiseera weyasabira (Katonda) nti: Ayi omulezi wange nzimbirayo e nyumba gyoli mu jjana era omponye Firawo n'ebikolwabye, omponye n'abantu abeeyisa obubi |
وَمَرْيَمَ ابْنَتَ عِمْرَانَ الَّتِي أَحْصَنَتْ فَرْجَهَا فَنَفَخْنَا فِيهِ مِن رُّوحِنَا وَصَدَّقَتْ بِكَلِمَاتِ رَبِّهَا وَكُتُبِهِ وَكَانَتْ مِنَ الْقَانِتِينَ (12) Era Katonda yakuba e kifananyi kya Mariyamu muwala wa Imran oyo eyeekuuma kale netufuuwa mu ye omwoyo ogwava gye tuli era Mariam nakkiriza ebigambo bya Katondawe n'ebitabobye, n'abeera nga ali mu basinza Katonda abagonvu |