وَالْمُرْسَلَاتِ عُرْفًا (1) Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana |
فَالْعَاصِفَاتِ عَصْفًا (2) Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi |
وَالنَّاشِرَاتِ نَشْرًا (3) Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba) |
فَالْفَارِقَاتِ فَرْقًا (4) Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba |
فَالْمُلْقِيَاتِ ذِكْرًا (5) Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza |
عُذْرًا أَوْ نُذْرًا (6) Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa |
إِنَّمَا تُوعَدُونَ لَوَاقِعٌ (7) Mazima bye mulaganyisibwa ebikwata ku lunaku lw'enkomerero n'okusasulwa bya kubaawo |
فَإِذَا النُّجُومُ طُمِسَتْ (8) Emunyeenye lweziriggibwawo (newataba kitangaala kyaazo) |
وَإِذَا السَّمَاءُ فُرِجَتْ (9) Era eggulu bweririwumulwa (nerirabika nga emiryango) |
وَإِذَا الْجِبَالُ نُسِفَتْ (10) Era ensozi bwezirimerengulwa |
وَإِذَا الرُّسُلُ أُقِّتَتْ (11) Era ababaka b'a Katonda bwebaliweebwa akadde k'okuwa obujulizi kwabo bebaatumwamu |
لِأَيِّ يَوْمٍ أُجِّلَتْ (12) (Ebintu ebyo ebyentiisa) biribaawo ddi |
لِيَوْمِ الْفَصْلِ (13) Bigenda kubaawo ku lunaku olwokusalawo n'okulamula wakati w'ebitonde |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا يَوْمُ الْفَصْلِ (14) Abaffe omanyi olunaku lw'okusalawo kyekki |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (15) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa |
أَلَمْ نُهْلِكِ الْأَوَّلِينَ (16) Abaffe tetwazikiriza ababasokawo |
ثُمَّ نُتْبِعُهُمُ الْآخِرِينَ (17) Netubagoberezaako abalala |
كَذَٰلِكَ نَفْعَلُ بِالْمُجْرِمِينَ (18) Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (19) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
أَلَمْ نَخْلُقكُّم مِّن مَّاءٍ مَّهِينٍ (20) Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa |
فَجَعَلْنَاهُ فِي قَرَارٍ مَّكِينٍ (21) Netugateeka mukifo ekigakuuma |
إِلَىٰ قَدَرٍ مَّعْلُومٍ (22) Okutuusa ebbanga eggere erimanyiddwa |
فَقَدَرْنَا فَنِعْمَ الْقَادِرُونَ (23) Bwetutyo nno bwetwateekateeka okutondebwa kwabwe tuli bateesiteesi abasinga obulungi |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (24) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
أَلَمْ نَجْعَلِ الْأَرْضَ كِفَاتًا (25) Abaffe ensi tetwagikola nga ekungaanya |
أَحْيَاءً وَأَمْوَاتًا (26) Abalamu n'abafu (bonna ngabali muyo) |
وَجَعَلْنَا فِيهَا رَوَاسِيَ شَامِخَاتٍ وَأَسْقَيْنَاكُم مَّاءً فُرَاتًا (27) Netugiteekamu e nsozi eziginyweza entumbiivu ne tubawa amazzi amalungi |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (28) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
انطَلِقُوا إِلَىٰ مَا كُنتُم بِهِ تُكَذِّبُونَ (29) Ku lunaku lw'enkomerero abakafiiri baliragirwa nti mugende eri ebyo bye mwali mulimbisa |
انطَلِقُوا إِلَىٰ ظِلٍّ ذِي ثَلَاثِ شُعَبٍ (30) Mugende eri ekisiikirize ekyomuliro ngakirimu ebitundu bisatu |
لَّا ظَلِيلٍ وَلَا يُغْنِي مِنَ اللَّهَبِ (31) Wabula tebaliba na kibasiikiriza wadde e kibataasa nnimi z'amuliro |
إِنَّهَا تَرْمِي بِشَرَرٍ كَالْقَصْرِ (32) Mazima omuliro ogwo gukasuka ebitawuliro nga biringa ebizimbe ebigulumivu |
كَأَنَّهُ جِمَالَتٌ صُفْرٌ (33) Ebitawuliro ebyo nga biringa engamiya ez'akyenvu |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (34) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
هَٰذَا يَوْمُ لَا يَنطِقُونَ (35) Olwo lunaku lwebatagenda kwogera |
وَلَا يُؤْذَنُ لَهُمْ فَيَعْتَذِرُونَ (36) Wadde okukkirizibwa okwetonda |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (37) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
هَٰذَا يَوْمُ الْفَصْلِ ۖ جَمَعْنَاكُمْ وَالْأَوَّلِينَ (38) Luno lwe lunaku lw'okulamula tubakunganyizza mwenna n'aba bakulembera |
فَإِن كَانَ لَكُمْ كَيْدٌ فَكِيدُونِ (39) Bwe muba mulina engeri gyemuyinza okwebulankanyamu kale munnebulankanyeko |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (40) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
إِنَّ الْمُتَّقِينَ فِي ظِلَالٍ وَعُيُونٍ (41) Naye mazima abatya Katonda bagenda kubeera mu bisiikirize n'emigga egikulukuta |
وَفَوَاكِهَ مِمَّا يَشْتَهُونَ (42) N'ebibala byebaliba bagala |
كُلُوا وَاشْرَبُوا هَنِيئًا بِمَا كُنتُمْ تَعْمَلُونَ (43) Nga bagambibwa nti mulye era munywe nga mweyagala |
إِنَّا كَذَٰلِكَ نَجْزِي الْمُحْسِنِينَ (44) Mazima ffe bwetutyo bwetusasula abakozi b'obulungi |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (45) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
كُلُوا وَتَمَتَّعُوا قَلِيلًا إِنَّكُم مُّجْرِمُونَ (46) (Kuno ku nsi abakafiiri bagambwa nti) mulye, era mweyagale kitono, wabula mumanye nti muli bonoonyi (naye mukimanye nti waliyo enkomerero) |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (47) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
وَإِذَا قِيلَ لَهُمُ ارْكَعُوا لَا يَرْكَعُونَ (48) Bwebalagirwa okusaala tebasaala |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (49) Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kwabo abalulimbisa |
فَبِأَيِّ حَدِيثٍ بَعْدَهُ يُؤْمِنُونَ (50) Olwo bigamboki ebitali Kur'ani byebagenda okukkiriza |