| عَبَسَ وَتَوَلَّىٰ (1) (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega
 | 
| أَن جَاءَهُ الْأَعْمَىٰ (2) Muzibe bw’amujjidde
 | 
| وَمَا يُدْرِيكَ لَعَلَّهُ يَزَّكَّىٰ (3) Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza
 | 
| أَوْ يَذَّكَّرُ فَتَنفَعَهُ الذِّكْرَىٰ (4) Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa
 | 
| أَمَّا مَنِ اسْتَغْنَىٰ (5) Oyo eyeegaggawaza nga yeematira
 | 
| فَأَنتَ لَهُ تَصَدَّىٰ (6) Ate ggwe gwe weemalira
 | 
| وَمَا عَلَيْكَ أَلَّا يَزَّكَّىٰ (7) Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako
 | 
| وَأَمَّا مَن جَاءَكَ يَسْعَىٰ (8) So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa
 | 
| وَهُوَ يَخْشَىٰ (9) Era ng’atya Katonda
 | 
| فَأَنتَ عَنْهُ تَلَهَّىٰ (10) Ate ggwe gw’otofaako
 | 
| كَلَّا إِنَّهَا تَذْكِرَةٌ (11) Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira
 | 
| فَمَن شَاءَ ذَكَرَهُ (12) Aba ayagadde yeebuulirira nayo
 | 
| فِي صُحُفٍ مُّكَرَّمَةٍ (13) Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo
 | 
| مَّرْفُوعَةٍ مُّطَهَّرَةٍ (14) Ebigulumizibwa, ebitukuvu
 | 
| بِأَيْدِي سَفَرَةٍ (15) Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi
 | 
| كِرَامٍ بَرَرَةٍ (16) Ab'ebitiibwa, abatukuvu
 | 
| قُتِلَ الْإِنسَانُ مَا أَكْفَرَهُ (17) Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda
 | 
| مِنْ أَيِّ شَيْءٍ خَلَقَهُ (18) (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda
 | 
| مِن نُّطْفَةٍ خَلَقَهُ فَقَدَّرَهُ (19) Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako)
 | 
| ثُمَّ السَّبِيلَ يَسَّرَهُ (20) Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa
 | 
| ثُمَّ أَمَاتَهُ فَأَقْبَرَهُ (21) Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli
 | 
| ثُمَّ إِذَا شَاءَ أَنشَرَهُ (22) Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde
 | 
| كَلَّا لَمَّا يَقْضِ مَا أَمَرَهُ (23) Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola
 | 
| فَلْيَنظُرِ الْإِنسَانُ إِلَىٰ طَعَامِهِ (24) Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu)
 | 
| أَنَّا صَبَبْنَا الْمَاءَ صَبًّا (25) Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde)
 | 
| ثُمَّ شَقَقْنَا الْأَرْضَ شَقًّا (26) Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera)
 | 
| فَأَنبَتْنَا فِيهَا حَبًّا (27) Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke
 | 
| وَعِنَبًا وَقَضْبًا (28) E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri
 | 
| وَزَيْتُونًا وَنَخْلًا (29) N’emizayituni n’emitende
 | 
| وَحَدَائِقَ غُلْبًا (30) N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu)
 | 
| وَفَاكِهَةً وَأَبًّا (31) N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo
 | 
| مَّتَاعًا لَّكُمْ وَلِأَنْعَامِكُمْ (32) Bibagase n’ebisolo bya mmwe
 | 
| فَإِذَا جَاءَتِ الصَّاخَّةُ (33) Naye okuboggola bwe kuliba kuzze
 | 
| يَوْمَ يَفِرُّ الْمَرْءُ مِنْ أَخِيهِ (34) Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe
 | 
| وَأُمِّهِ وَأَبِيهِ (35) Ne maamawe, ne kitaawe
 | 
| وَصَاحِبَتِهِ وَبَنِيهِ (36) Ne mukyalawe, n’abaanabe
 | 
| لِكُلِّ امْرِئٍ مِّنْهُمْ يَوْمَئِذٍ شَأْنٌ يُغْنِيهِ (37) Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka
 | 
| وُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ مُّسْفِرَةٌ (38) Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana
 | 
| ضَاحِكَةٌ مُّسْتَبْشِرَةٌ (39) Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu
 | 
| وَوُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ عَلَيْهَا غَبَرَةٌ (40) Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye
 | 
| تَرْهَقُهَا قَتَرَةٌ (41) Nga ekizikiza kibibisse
 | 
| أُولَٰئِكَ هُمُ الْكَفَرَةُ الْفَجَرَةُ (42) Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi
 |