عَبَسَ وَتَوَلَّىٰ (1) (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega |
أَن جَاءَهُ الْأَعْمَىٰ (2) Muzibe bw’amujjidde |
وَمَا يُدْرِيكَ لَعَلَّهُ يَزَّكَّىٰ (3) Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza |
أَوْ يَذَّكَّرُ فَتَنفَعَهُ الذِّكْرَىٰ (4) Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa |
أَمَّا مَنِ اسْتَغْنَىٰ (5) Oyo eyeegaggawaza nga yeematira |
فَأَنتَ لَهُ تَصَدَّىٰ (6) Ate ggwe gwe weemalira |
وَمَا عَلَيْكَ أَلَّا يَزَّكَّىٰ (7) Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako |
وَأَمَّا مَن جَاءَكَ يَسْعَىٰ (8) So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa |
وَهُوَ يَخْشَىٰ (9) Era ng’atya Katonda |
فَأَنتَ عَنْهُ تَلَهَّىٰ (10) Ate ggwe gw’otofaako |
كَلَّا إِنَّهَا تَذْكِرَةٌ (11) Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira |
فَمَن شَاءَ ذَكَرَهُ (12) Aba ayagadde yeebuulirira nayo |
فِي صُحُفٍ مُّكَرَّمَةٍ (13) Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo |
مَّرْفُوعَةٍ مُّطَهَّرَةٍ (14) Ebigulumizibwa, ebitukuvu |
بِأَيْدِي سَفَرَةٍ (15) Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi |
كِرَامٍ بَرَرَةٍ (16) Ab'ebitiibwa, abatukuvu |
قُتِلَ الْإِنسَانُ مَا أَكْفَرَهُ (17) Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda |
مِنْ أَيِّ شَيْءٍ خَلَقَهُ (18) (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda |
مِن نُّطْفَةٍ خَلَقَهُ فَقَدَّرَهُ (19) Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako) |
ثُمَّ السَّبِيلَ يَسَّرَهُ (20) Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa |
ثُمَّ أَمَاتَهُ فَأَقْبَرَهُ (21) Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli |
ثُمَّ إِذَا شَاءَ أَنشَرَهُ (22) Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde |
كَلَّا لَمَّا يَقْضِ مَا أَمَرَهُ (23) Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola |
فَلْيَنظُرِ الْإِنسَانُ إِلَىٰ طَعَامِهِ (24) Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu) |
أَنَّا صَبَبْنَا الْمَاءَ صَبًّا (25) Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde) |
ثُمَّ شَقَقْنَا الْأَرْضَ شَقًّا (26) Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera) |
فَأَنبَتْنَا فِيهَا حَبًّا (27) Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke |
وَعِنَبًا وَقَضْبًا (28) E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri |
وَزَيْتُونًا وَنَخْلًا (29) N’emizayituni n’emitende |
وَحَدَائِقَ غُلْبًا (30) N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu) |
وَفَاكِهَةً وَأَبًّا (31) N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo |
مَّتَاعًا لَّكُمْ وَلِأَنْعَامِكُمْ (32) Bibagase n’ebisolo bya mmwe |
فَإِذَا جَاءَتِ الصَّاخَّةُ (33) Naye okuboggola bwe kuliba kuzze |
يَوْمَ يَفِرُّ الْمَرْءُ مِنْ أَخِيهِ (34) Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe |
وَأُمِّهِ وَأَبِيهِ (35) Ne maamawe, ne kitaawe |
وَصَاحِبَتِهِ وَبَنِيهِ (36) Ne mukyalawe, n’abaanabe |
لِكُلِّ امْرِئٍ مِّنْهُمْ يَوْمَئِذٍ شَأْنٌ يُغْنِيهِ (37) Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka |
وُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ مُّسْفِرَةٌ (38) Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana |
ضَاحِكَةٌ مُّسْتَبْشِرَةٌ (39) Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu |
وَوُجُوهٌ يَوْمَئِذٍ عَلَيْهَا غَبَرَةٌ (40) Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye |
تَرْهَقُهَا قَتَرَةٌ (41) Nga ekizikiza kibibisse |
أُولَٰئِكَ هُمُ الْكَفَرَةُ الْفَجَرَةُ (42) Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi |