إِذَا الشَّمْسُ كُوِّرَتْ (1) Enjuba bw'erizingwako |
وَإِذَا النُّجُومُ انكَدَرَتْ (2) Nga n’emunyeenye zikunkumuse |
وَإِذَا الْجِبَالُ سُيِّرَتْ (3) Era ensozi bwe zirikungunsibwa (ne zigibbwawo) |
وَإِذَا الْعِشَارُ عُطِّلَتْ (4) Nga n’ebisolo ebyo mu maka nga tebikyafiibwako (newakubadde nga biriba mawako) |
وَإِذَا الْوُحُوشُ حُشِرَتْ (5) N’ebisolo by’omu nsiko nabyo nga bikungaanyiziddwa |
وَإِذَا الْبِحَارُ سُجِّرَتْ (6) Nga n’ennyanja zikuumiddwako omuliro (ne zibumbujja) |
وَإِذَا النُّفُوسُ زُوِّجَتْ (7) Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi) |
وَإِذَا الْمَوْءُودَةُ سُئِلَتْ (8) Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa |
بِأَيِّ ذَنبٍ قُتِلَتْ (9) Kibi ki ekyamussa |
وَإِذَا الصُّحُفُ نُشِرَتْ (10) Ebiwandiiko bwe biribeera nga bisasaanyiziddwa (nga buli kiwandiiko kituuka ku nnannyini kyo, omuli ebyo bye yakola ku nsi) |
وَإِذَا السَّمَاءُ كُشِطَتْ (11) E ggulu bwe liriba liggyiddwawo |
وَإِذَا الْجَحِيمُ سُعِّرَتْ (12) Nga n’omuliro gukoleezeddwa |
وَإِذَا الْجَنَّةُ أُزْلِفَتْ (13) Nga n’ejjana esembezeddwa |
عَلِمَتْ نَفْسٌ مَّا أَحْضَرَتْ (14) Olwo omuntu alimanya ekyo kye yakola (kibe kirungi oba kibi) |
فَلَا أُقْسِمُ بِالْخُنَّسِ (15) Ndayira e munyeenye ezibulawo |
الْجَوَارِ الْكُنَّسِ (16) Ezibula emisana ne zirabika ekiro |
وَاللَّيْلِ إِذَا عَسْعَسَ (17) Era ndayira ekiro bwe kiba nga kyolekedde okuggwaawo |
وَالصُّبْحِ إِذَا تَنَفَّسَ (18) Era ndayira n’amakya g’obudde nga busaasaana |
إِنَّهُ لَقَوْلُ رَسُولٍ كَرِيمٍ (19) Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad) |
ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي الْعَرْشِ مَكِينٍ (20) Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi |
مُّطَاعٍ ثَمَّ أَمِينٍ (21) Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa |
وَمَا صَاحِبُكُم بِمَجْنُونٍ (22) Era munnammwe (Nabbi Muhammad) si mulalu |
وَلَقَدْ رَآهُ بِالْأُفُقِ الْمُبِينِ (23) Mazima ddala ye (Muhammad) yamulaba (Jiburilu) mu bweyolefu nga ajjudde obwengula |
وَمَا هُوَ عَلَى الْغَيْبِ بِضَنِينٍ (24) Era tali (Nabbi Muhammad) ku bigambo ebyekwese (ebikwata ku bubaka obuva eri Katonda n'ebigambo by'omu ggulu) ayinza obutatuukiriza |
وَمَا هُوَ بِقَوْلِ شَيْطَانٍ رَّجِيمٍ (25) (Ebigambo bya Kur'ani Muhammad byayogera) si bigambo bya sitaani omukolimire |
فَأَيْنَ تَذْهَبُونَ (26) Naye ddala mulaga wa |
إِنْ هُوَ إِلَّا ذِكْرٌ لِّلْعَالَمِينَ (27) Wabula Yo (Kur'ani) kyakubuulirira eri ebitonde byonna |
لِمَن شَاءَ مِنكُمْ أَن يَسْتَقِيمَ (28) Eri oyo mu mmwe aba ayagadde okulungama |
وَمَا تَشَاءُونَ إِلَّا أَن يَشَاءَ اللَّهُ رَبُّ الْعَالَمِينَ (29) Naye ate temujja kwagala okugyako nga Katonda Omulezi w’ebitonde ayagadde |