إِذَا السَّمَاءُ انفَطَرَتْ (1) E ggulu bwe ririba lyeyasizzaamu |
وَإِذَا الْكَوَاكِبُ انتَثَرَتْ (2) N'emunyenye bwe ziriba nga zivudde waggulu ne zisaasaana |
وَإِذَا الْبِحَارُ فُجِّرَتْ (3) N'ennyanja bwe ziriba nga ziwaguludde |
وَإِذَا الْقُبُورُ بُعْثِرَتْ (4) Ne Kabbuli bwe ziriba nga zifuukuddwa (abafu bonna ne bavaayo) |
عَلِمَتْ نَفْسٌ مَّا قَدَّمَتْ وَأَخَّرَتْ (5) Omuntu alimanya ebyo bye yakulembeza okukola ne bye yasembyayo |
يَا أَيُّهَا الْإِنسَانُ مَا غَرَّكَ بِرَبِّكَ الْكَرِيمِ (6) Owange ggwe omuntu kale kiki ekyakugayaaza okukuggya ku muleziwo (Katonda) Omugabi |
الَّذِي خَلَقَكَ فَسَوَّاكَ فَعَدَلَكَ (7) Oyo eyakutonda n’akutereeza era n’akwenkanyankanya |
فِي أَيِّ صُورَةٍ مَّا شَاءَ رَكَّبَكَ (8) Mu kifaananyi kyonna kye yayagala mwe yakutondera |
كَلَّا بَلْ تُكَذِّبُونَ بِالدِّينِ (9) Nedda, wabula mulimbisa olunaku olw’okusasulwa (olw’enkomerero) |
وَإِنَّ عَلَيْكُمْ لَحَافِظِينَ (10) Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika) |
كِرَامًا كَاتِبِينَ (11) Abeekitiibwa abawandiisi (abawandiika ebyo byonna ebikolebwa) |
يَعْلَمُونَ مَا تَفْعَلُونَ (12) Bamanyi ebyo byonna byemukola |
إِنَّ الْأَبْرَارَ لَفِي نَعِيمٍ (13) Mazima abakozi b’obulungi balibeera mu byengera |
وَإِنَّ الْفُجَّارَ لَفِي جَحِيمٍ (14) Era mazima abakozi b’ebibi bagenda kubeera mu muliro oguyitibwa Jahiimu |
يَصْلَوْنَهَا يَوْمَ الدِّينِ (15) Bagenda kuguyingira ku lunaku olw’okusasulwa (olw'enkomerero) |
وَمَا هُمْ عَنْهَا بِغَائِبِينَ (16) Tebagenda ku gwebulankanyako |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا يَوْمُ الدِّينِ (17) On'omanyira ku ki olunaku olw'okusasulwa (olw’enkomerero) |
ثُمَّ مَا أَدْرَاكَ مَا يَوْمُ الدِّينِ (18) Naye ddala on'omanyira ku ki olunaku olwokusasulwa (Katonda yakiddamu olwokuggumiza obukulu bw’olunaku olwo) |
يَوْمَ لَا تَمْلِكُ نَفْسٌ لِّنَفْسٍ شَيْئًا ۖ وَالْأَمْرُ يَوْمَئِذٍ لِّلَّهِ (19) Olunaku omwoyo lwe gutaliba na buyinza bugasa mwoyo mulala na kintu kyonna. N’ebiragiro ku lunaku olwo biriba bya Katonda yekka |