وَيْلٌ لِّلْمُطَفِّفِينَ (1) Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo |
الَّذِينَ إِذَا اكْتَالُوا عَلَى النَّاسِ يَسْتَوْفُونَ (2) Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe |
وَإِذَا كَالُوهُمْ أَو وَّزَنُوهُمْ يُخْسِرُونَ (3) So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo) |
أَلَا يَظُنُّ أُولَٰئِكَ أَنَّهُم مَّبْعُوثُونَ (4) Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa |
لِيَوْمٍ عَظِيمٍ (5) Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero) |
يَوْمَ يَقُومُ النَّاسُ لِرَبِّ الْعَالَمِينَ (6) Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde |
كَلَّا إِنَّ كِتَابَ الْفُجَّارِ لَفِي سِجِّينٍ (7) Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا سِجِّينٌ (8) Naye omanyi Sijjiin kye ki |
كِتَابٌ مَّرْقُومٌ (9) Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu |
وَيْلٌ يَوْمَئِذٍ لِّلْمُكَذِّبِينَ (10) Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa |
الَّذِينَ يُكَذِّبُونَ بِيَوْمِ الدِّينِ (11) Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero) |
وَمَا يُكَذِّبُ بِهِ إِلَّا كُلُّ مُعْتَدٍ أَثِيمٍ (12) Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi |
إِذَا تُتْلَىٰ عَلَيْهِ آيَاتُنَا قَالَ أَسَاطِيرُ الْأَوَّلِينَ (13) Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka |
كَلَّا ۖ بَلْ ۜ رَانَ عَلَىٰ قُلُوبِهِم مَّا كَانُوا يَكْسِبُونَ (14) Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe |
كَلَّا إِنَّهُمْ عَن رَّبِّهِمْ يَوْمَئِذٍ لَّمَحْجُوبُونَ (15) Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda) |
ثُمَّ إِنَّهُمْ لَصَالُو الْجَحِيمِ (16) Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu |
ثُمَّ يُقَالُ هَٰذَا الَّذِي كُنتُم بِهِ تُكَذِّبُونَ (17) Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga |
كَلَّا إِنَّ كِتَابَ الْأَبْرَارِ لَفِي عِلِّيِّينَ (18) Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina |
وَمَا أَدْرَاكَ مَا عِلِّيُّونَ (19) Naye omanyi Illiyyiina kye ki |
كِتَابٌ مَّرْقُومٌ (20) Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu |
يَشْهَدُهُ الْمُقَرَّبُونَ (21) Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda |
إِنَّ الْأَبْرَارَ لَفِي نَعِيمٍ (22) Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera |
عَلَى الْأَرَائِكِ يَنظُرُونَ (23) Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde |
تَعْرِفُ فِي وُجُوهِهِمْ نَضْرَةَ النَّعِيمِ (24) Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu |
يُسْقَوْنَ مِن رَّحِيقٍ مَّخْتُومٍ (25) Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi |
خِتَامُهُ مِسْكٌ ۚ وَفِي ذَٰلِكَ فَلْيَتَنَافَسِ الْمُتَنَافِسُونَ (26) (Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye |
وَمِزَاجُهُ مِن تَسْنِيمٍ (27) Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim |
عَيْنًا يَشْرَبُ بِهَا الْمُقَرَّبُونَ (28) Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda |
إِنَّ الَّذِينَ أَجْرَمُوا كَانُوا مِنَ الَّذِينَ آمَنُوا يَضْحَكُونَ (29) Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza |
وَإِذَا مَرُّوا بِهِمْ يَتَغَامَزُونَ (30) Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso |
وَإِذَا انقَلَبُوا إِلَىٰ أَهْلِهِمُ انقَلَبُوا فَكِهِينَ (31) Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana |
وَإِذَا رَأَوْهُمْ قَالُوا إِنَّ هَٰؤُلَاءِ لَضَالُّونَ (32) Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala |
وَمَا أُرْسِلُوا عَلَيْهِمْ حَافِظِينَ (33) Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali |
فَالْيَوْمَ الَّذِينَ آمَنُوا مِنَ الْكُفَّارِ يَضْحَكُونَ (34) Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza |
عَلَى الْأَرَائِكِ يَنظُرُونَ (35) (Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka |
هَلْ ثُوِّبَ الْكُفَّارُ مَا كَانُوا يَفْعَلُونَ (36) (Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola |