The Quran in Ganda - Surah Humazah translated into Ganda, Surah Al-Humazah in Ganda. We provide accurate translation of Surah Humazah in Ganda - لوغندا, Verses 9 - Surah Number 104 - Page 601.

| وَيْلٌ لِّكُلِّ هُمَزَةٍ لُّمَزَةٍ (1) Okubonaabona okwamaanyi kugenda kubeera ku buli muntu atambuza engambo, ageya banne n'abaggya obumogo | 
| الَّذِي جَمَعَ مَالًا وَعَدَّدَهُ (2) Oyo akungaanya ebyo bugagga n’abituuma | 
| يَحْسَبُ أَنَّ مَالَهُ أَخْلَدَهُ (3) Alowooza nti eby'obugaggabye byakumukuumira ku nsi obugenderevu | 
| كَلَّا ۖ لَيُنبَذَنَّ فِي الْحُطَمَةِ (4) Nedda, ajja kukanyugwa mu muliro oguyitibwa “Hutwama” | 
| وَمَا أَدْرَاكَ مَا الْحُطَمَةُ (5) Ye omanyi “Hutwama” kye ki | 
| نَارُ اللَّهِ الْمُوقَدَةُ (6) (Hutwama) muliro gwa Katonda omukume, ogubumbujja | 
| الَّتِي تَطَّلِعُ عَلَى الْأَفْئِدَةِ (7) Ogwo ogwokya negutuukira ddala ku mitima | 
| إِنَّهَا عَلَيْهِم مُّؤْصَدَةٌ (8) Mazima ddala omuliro ogwo (Hutwama) ku bantu abo (abogeddwaako) gugenda kubabuutikira | 
| فِي عَمَدٍ مُّمَدَّدَةٍ (9) Mu midumu emiwanvu |