| إِذَا السَّمَاءُ انشَقَّتْ (1) Eggulu bwe liryeyasaamu
 | 
| وَأَذِنَتْ لِرَبِّهَا وَحُقَّتْ (2) Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde
 | 
| وَإِذَا الْأَرْضُ مُدَّتْ (3) Ensi bw'eriseeteezebwa
 | 
| وَأَلْقَتْ مَا فِيهَا وَتَخَلَّتْ (4) N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere
 | 
| وَأَذِنَتْ لِرَبِّهَا وَحُقَّتْ (5) N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde
 | 
| يَا أَيُّهَا الْإِنسَانُ إِنَّكَ كَادِحٌ إِلَىٰ رَبِّكَ كَدْحًا فَمُلَاقِيهِ (6) Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana
 | 
| فَأَمَّا مَنْ أُوتِيَ كِتَابَهُ بِيَمِينِهِ (7) Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo
 | 
| فَسَوْفَ يُحَاسَبُ حِسَابًا يَسِيرًا (8) Agenda kubalwa olubala olwangu
 | 
| وَيَنقَلِبُ إِلَىٰ أَهْلِهِ مَسْرُورًا (9) Era adde eri banne nga musanyufu
 | 
| وَأَمَّا مَنْ أُوتِيَ كِتَابَهُ وَرَاءَ ظَهْرِهِ (10) Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe
 | 
| فَسَوْفَ يَدْعُو ثُبُورًا (11) Agenda kukuba e biwoobe
 | 
| وَيَصْلَىٰ سَعِيرًا (12) Yeesogge omuliro Sa-iira
 | 
| إِنَّهُ كَانَ فِي أَهْلِهِ مَسْرُورًا (13) Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda)
 | 
| إِنَّهُ ظَنَّ أَن لَّن يَحُورَ (14) Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira
 | 
| بَلَىٰ إِنَّ رَبَّهُ كَانَ بِهِ بَصِيرًا (15) So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba
 | 
| فَلَا أُقْسِمُ بِالشَّفَقِ (16) Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa)
 | 
| وَاللَّيْلِ وَمَا وَسَقَ (17) Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya
 | 
| وَالْقَمَرِ إِذَا اتَّسَقَ (18) Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde
 | 
| لَتَرْكَبُنَّ طَبَقًا عَن طَبَقٍ (19) Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala)
 | 
| فَمَا لَهُمْ لَا يُؤْمِنُونَ (20) Naye lwaki tebakkiriza
 | 
| وَإِذَا قُرِئَ عَلَيْهِمُ الْقُرْآنُ لَا يَسْجُدُونَ ۩ (21) Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama
 | 
| بَلِ الَّذِينَ كَفَرُوا يُكَذِّبُونَ (22) Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani)
 | 
| وَاللَّهُ أَعْلَمُ بِمَا يُوعُونَ (23) So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe)
 | 
| فَبَشِّرْهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ (24) Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma
 | 
| إِلَّا الَّذِينَ آمَنُوا وَعَمِلُوا الصَّالِحَاتِ لَهُمْ أَجْرٌ غَيْرُ مَمْنُونٍ (25) Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo
 |