القرآن باللغة لوغندا - سورة العاديات مترجمة إلى اللغة لوغندا، Surah Adiyat in Ganda. نوفر ترجمة دقيقة سورة العاديات باللغة لوغندا - Ganda, الآيات 11 - رقم السورة 100 - الصفحة 599.
وَالْعَادِيَاتِ ضَبْحًا (1) Ndayira embalaasi ezizinda(ezidduka) nga ziweevuuma |
فَالْمُورِيَاتِ قَدْحًا (2) Nezimansula e nsasi z’omuliroolw’okukoona enjazi |
فَالْمُغِيرَاتِ صُبْحًا (3) Ezizinda ku maliiri |
فَأَثَرْنَ بِهِ نَقْعًا (4) Nezisiikuula enfuufu, mu kutyekuula emisinde okwo |
فَوَسَطْنَ بِهِ جَمْعًا (5) Neziyingira mu balabe wakati |
إِنَّ الْإِنسَانَ لِرَبِّهِ لَكَنُودٌ (6) Mazima ddala omuntu mutomi eri omuleziwe |
وَإِنَّهُ عَلَىٰ ذَٰلِكَ لَشَهِيدٌ (7) Era mazima ye (omuntu) ku ky'obutomi mujulizi |
وَإِنَّهُ لِحُبِّ الْخَيْرِ لَشَدِيدٌ (8) Era mazima yye muyitirivu nnyo mu kwagala ebyenfuna |
۞ أَفَلَا يَعْلَمُ إِذَا بُعْثِرَ مَا فِي الْقُبُورِ (9) Abaffe (omuntu) tamanyi nti ebiri mu kabbuli bwe biriba bizuukiziddwa |
وَحُصِّلَ مَا فِي الصُّدُورِ (10) N’ebiri mu bifuba ne byolesebwa |
إِنَّ رَبَّهُم بِهِمْ يَوْمَئِذٍ لَّخَبِيرٌ (11) Mazima Katonda omulezi waabwe (nga bulijjo ne) ku lunaku olwo agenda kuba ng'amanyi byonna ebibakwatako |